Beginning
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi.
9 (A)Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;
nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.
2 (B)Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.
Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.
3 Abalabe bange bazzeeyo emabega,
beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.
4 (C)Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange;
era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.
5 (D)Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi;
erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.
6 (E)Abalabe obamaliddewo ddala,
n’ebibuga byabwe obizikirizza,
era tewali aliddayo kubijjukira.
7 (F)Naye Mukama afuga emirembe gyonna;
era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.
8 (G)Aliramula ensi mu butuukirivu,
era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.
9 (H)Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;
era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.
10 (I)Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;
kubanga abakunoonya tobaleka bokka.
11 (J)Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;
mutegeeze amawanga gonna by’akoze.
12 (K)Ajjukira n’awoolera eggwanga
era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.
13 (L)Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya,
onzigye ku miryango gy’okufa.
14 (M)Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu
mu miryango[a] gy’omuwala wa Sayuuni:
era njagulizenga mu bulokozi bwo.
15 (N)Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima;
era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.
16 Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.
Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.
17 (O)Ababi balisuulibwa emagombe;
ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.
18 (P)Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna,
era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.
19 Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula;
leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
20 (Q)Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama;
amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.
10 (R)Lwaki otwekwese, Ayi Mukama?
Lwaki otwekwese mu biseera eby’emitawaana?
2 Omubi, mu malala ge, ayigganya abanafu;
muleke agwe mu nkwe ezo z’asaze.
3 (S)Kubanga omubi yeewaana ng’anyumya ku bibi ebiri mu mutima gwe,
agabula aboomululu n’avuma Mukama.
4 (T)Omubi mu malala ge
tanoonya Katonda.
5 Buli ky’akola kimugendera bulungi.
Amateeka go tagafaako,
era n’abalabe be abanyooma.
6 (U)Ayogera mu mutima gwe nti, “Sikangibwa,
nzija kusanyuka emirembe gyonna.”
7 (V)Mu kamwa ke mujjudde okukolima n’obulimba awamu n’okutiisatiisa;
ebigambo bye bya mutawaana era bibi.
8 (W)Yeekukuma mu byalo
okutemula abantu abataliiko musango.
Yeekweka ng’aliimisa b’anatta.
9 (X)Asooba mu kyama ng’empologoma,
ng’alindirira okuzinduukiriza abateesobola.
Abakwasa n’abatwalira mu kitimba kye.
10 B’abonyaabonya bagwa wansi
ne babetentebwa ng’amaanyi g’omubi gabasukkiridde.
11 (Y)Ayogera mu mutima gwe nti, “Katonda yeerabidde, amaaso ge agakwese,
era takyaddayo kubiraba.”
12 (Z)Golokoka, Ayi Mukama, ozikirize omubi, Ayi Katonda;
abanaku tobeerabiranga.
13 Omuntu omubi ayinza atya okukunyooma, Ayi Katonda,
n’agamba mu mutima gwe nti
“Sigenda kwennyonnyolako?”
14 (AA)Naye ggwe, Ayi Katonda, ennaku zaabwe n’okubonaabona kwabwe obiraba
era ojja kubikolako.
Ateesobola yeewaayo mu mikono gyo,
kubanga gwe mubeezi w’abatalina bakitaabwe.
15 (AB)Malawo amaanyi g’omwonoonyi,
muyite abyogere ebyo
ebibadde bitajja kuzuulwa.
16 (AC)Mukama ye Kabaka emirembe n’emirembe.
Amawanga galizikirizibwa mu nsi ye.
17 (AD)Mukama awulira okwetaaga kw’ababonyaabonyezebwa, ogumye emitima gyabwe;
otege okutu kwo obaanukule.
18 (AE)Olwanirira abataliiko bakitaabwe n’abajoogebwa;
omuntu obuntu ow’oku nsi n’ataddayo kubatiisa.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
11 (AF)Mu Mukama mwe neekweka;
ate muyinza mutya okuŋŋamba nti,
“Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?
2 (AG)Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe
egy’obusaale,
balase abalina omutima
omulongoofu.
3 (AH)Emisingi nga gizikirizibwa,
omutuukirivu ayinza kukola ki?”
4 (AI)Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;
Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.
Amaaso ge gatunuulira
era geetegereza abaana b’abantu.
5 (AJ)Mukama akebera abatuukirivu
naye omutima gwe gukyawa ababi,
n’abakola eby’obukambwe.
6 (AK)Ababi alibayiwako
amanda ag’omuliro;
n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.
7 (AL)Kubanga Mukama mutuukirivu
era ayagala eby’obutuukirivu;
abo abalongoofu be balimulaba.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
12 (AM)Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
abantu abeesigwa bonna baweddewo.
2 (AN)Buli muntu alimba munne;
akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.
3 (AO)Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
na buli lulimi olwenyumiriza;
4 nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
kubanga ani alitukuba ku mukono.”
5 (AP)Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,
n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,
nnaasituka kaakano
ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
6 (AQ)Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.
Bigeraageranyizibwa n’effeeza
erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.
7 (AR)Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,
n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.
8 (AS)Ababi beeyisaayisa
nga bagulumiza ebitaliimu nsa.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
13 (AT)Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna?
Olikomya ddi okunkweka amaaso go?
2 (AU)Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi,
n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi?
Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?
3 (AV)Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange;
onzizeemu amaanyi nneme okufa.
4 (AW)Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;”
abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.
5 (AX)Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;
era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.
6 (AY)Nnaayimbiranga Mukama,
kubanga ankoledde ebirungi.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
14 (AZ)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
“Tewali Katonda.”
Aboogera bwe batyo boonoonefu,
bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.
2 (BA)Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi
ng’asinziira mu ggulu,
okulaba obanga mulimu mu bo ategeera,
era abanoonya Katonda.
3 (BB)Naye bonna bakyamye
boonoonese;
teri akola kirungi,
era teri n’omu.
4 (BC)Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga?
Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere;
so tebakoowoola Mukama.
5 Balitya nnyo!
Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.
6 (BD)Mulemesa entegeka z’omwavu,
songa Mukama kye kiddukiro kye.
7 (BE)Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni!
Mukama bw’alirokola abantu be,
Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.
Zabbuli ya Dawudi.
15 (BF)Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo?
Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?
2 (BG)Oyo ataliiko kya kunenyezebwa,
akola eby’obutuukirivu,
era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.
3 (BH)Olulimi lwe talwogeza bya bulimba,
era mikwano gye tagiyisa bubi,
so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.
4 (BI)Anyooma ababi,
naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.
Atuukiriza ky’asuubiza
ne bwe kiba nga kimulumya.
5 (BJ)Bw’awola tasaba magoba;
so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna.
Oyo akola ebyo
aliba munywevu emirembe gyonna.
Ya Dawudi.
16 (BK)Onkuume, Ayi Katonda,
kubanga ggwe buddukiro bwange.
2 (BL)Nagamba Mukama nti, “Ggwe Mukama wange,
ebirungi byonna bye nnina biva gy’oli.”
3 (BM)Abatukuvu abali mu nsi be njagala
era mu bo mwe nsanyukira.
4 (BN)Ennaku y’abo abagoberera bakatonda abalala
yeeyongera.
Siriwaayo ssaddaaka zaabwe ez’omusaayi,[b]
wadde okusinza bakatonda baabwe.
5 (BO)Mukama, ggwe mugabo gwange,
era ggw’oliisa obulamu bwange; era ggw’olabirira ebyange.
6 (BP)Ensalo zange ziri mu bifo ebisanyusa,
ddala ddala omugabo omulungi.
7 (BQ)Nnaatenderezanga Mukama kubanga annuŋŋamya
ne mu kiro ayigiriza omutima gwange.
8 (BR)Nkulembeza Mukama buli kiseera,
era ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
siinyeenyezebwenga.
9 (BS)Noolwekyo omutima gwange gusanyuka, n’akamwa kange ne kajaguza;
era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe.
10 (BT)Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe,
wadde okukkiriza Omutukuvu wo okuvunda.
11 (BU)Olindaga ekkubo ery’obulamu;
w’oli we wanaabanga essanyu erijjuvu,
era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.