Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 46-50

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

46 (A)Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;
    omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
(B)Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
    ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
(C)amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu
    ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.

(D)Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
    kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
(E)Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera.
    Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
(F)Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa;
    ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.

(G)Mukama ow’Eggye ali naffe,
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

(H)Mujje, mulabe Mukama by’akola,
    mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
(I)Y’akomya entalo mu nsi yonna;
    akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya;
    amagaali n’engabo abyokya omuliro.
10 (J)Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda.
    Nnaagulumizibwanga mu mawanga.
    Nnaagulumizibwanga mu nsi.

11 Katonda ow’Eggye ali naffe;
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

47 (K)Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna;
    muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;
(L)Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa.
    Ye Kabaka afuga ensi yonna.
(M)Yatujeemululira abantu,
    n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.
(N)Yatulondera omugabo gwaffe,
    Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.

(O)Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi.
    Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.
(P)Mutendereze Katonda, mumutendereze.
    Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze.[a]
(Q)Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna,
    mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo.

(R)Katonda afuga amawanga gonna;
    afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.
(S)Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye
    ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu;
kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi.
    Katonda agulumizibwenga nnyo.

Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

48 (T)Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo
    mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.

(U)Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu,
    olusanyusa ensi yonna.
Ku ntikko Zafoni kwe kuli
    ekibuga kya Kabaka Omukulu;
(V)Katonda mw’abeera;
    yeeraze okuba ekigo kye.

(W)Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana
    ne bakyolekera bakirumbe;
(X)bwe baakituukako ne bakyewuunya,
    ne batya nnyo ne badduka;
nga bakankana,
    ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.
(Y)Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba
    bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.

(Z)Ebyo bye twawuliranga obuwulizi,
    kaakano tubirabye
mu kibuga kya Mukama ow’Eggye,
    mu kibuga kya Katonda waffe,
    kyalinywereza ddala emirembe gyonna.

(AA)Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo
    nga tuli mu Yeekaalu yo.
10 (AB)Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda,
    bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna.
    Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
11 (AC)Sanyuka gwe Sayuuni,
    musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda;
    kubanga Katonda alamula bya nsonga.

12 Mutambule mu Sayuuni, mukibune;
    mubale n’ebigo byakyo.
13 (AD)Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo
    n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna;
    mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.

14 (AE)Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna;
    y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

49 (AF)Muwulire mmwe amawanga gonna,
    mutege amatu mmwe mwenna abali mu nsi.
Ab’ekitiibwa n’abakopi, abagagga n’abaavu, mwenna;
    muwulirize ebigambo byange.
(AG)Kubanga ebigambo by’omu kamwa kange bya magezi,
    ebiva mu mutima gwange bijjudde okutegeera.
(AH)Nnaakozesanga ebikwata ku ngero,
    nga nnyinnyonnyola amakulu gaazo n’oluyimba ku nnanga.

(AI)Siityenga ne bwe nnaabanga mu buzibu;
    newaakubadde ng’abalabe bange banneetoolodde,
(AJ)abantu abeesiga obugagga bwabwe
    beenyumiririza mu bintu ebingi bye balina.
Ddala ddala, tewali muntu ayinza kununula bulamu bwa munne,
    wadde okwegula okuva eri Katonda.
(AK)Kubanga omuwendo ogununula obulamu munene nnyo,
    tewali n’omu agusobola;
(AL)alyoke awangaale ennaku zonna
    nga tatuuse magombe.
10 (AM)Kubanga n’abantu abagezi bafa;
    abasirusiru n’abatalina magezi bonna baaggwaawo,
    obugagga bwabwe ne babulekera abalala.
11 (AN)Entaana zaabwe ge ganaabanga amaka gaabwe ennaku zonna;
    nga bye bisulo ebya buli mulembe oguliddawo;
    baafuna ettaka mu mannya gaabwe.

12 Omuntu tabeerera mirembe gyonna, ne bw’aba mugagga atya,
    alifa ng’ensolo bwe zifa.

13 (AO)Ako ke kabi akatuuka ku beesiga ebitaliimu,
    era ye nkomerero y’abo abeesiga obugagga bwabwe.
14 (AP)Okufaanana ng’endiga, bateekwa kufa;
    olumbe ne lubalya.
Bakka butereevu emagombe,
    obulungi bwabwe ne bubula,
    amagombe ne gafuuka amaka gaabwe.
15 (AQ)Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu magombe,
    ddala ddala alintwala gy’ali.
16 Omuntu bw’agaggawalanga n’ekitiibwa ky’ennyumba ye nga kyeyongedde,
    tomutyanga,
17 (AR)kubanga bw’alifa taliiko ky’alitwala, wadde n’ekitiibwa kye tekirigenda naye.
18 (AS)Newaakubadde nga mu bulamu yeerowoozaako ng’aweereddwa omukisa
    kubanga omugagga abantu bamugulumiza,
19 (AT)kyokka alikka emagombe eri bajjajjaabe,
    n’ayingira mu kizikiza ekikutte.

20 (AU)Omuntu omugagga naye nga simutegeevu tabeerera mirembe gyonna,
    alizikirira ng’ensolo ez’omu nsiko.

Zabbuli ya Asafu.

50 (AV)Oyo Owaamaanyi, Mukama Katonda,
    akoowoola ensi
    okuva enjuba gy’eva okutuuka gy’egwa.
(AW)Katonda ayakaayakana
    ng’ava mu Sayuuni n’obulungi bw’ekitiibwa kye ekituukiridde.
(AX)Katonda waffe ajja, naye tajja kasirise,
    omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera,
    n’omuyaga ogw’amaanyi ne gumwetooloola.
(AY)Akoowoola abali mu ggulu ne ku nsi,
    azze okusalira abantu be omusango.
(AZ)Agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abantu bange abaayawulibwa,
    abaakola nange endagaano nga bawaayo ssaddaaka.”
(BA)Eggulu litegeeza obutuukirivu bwa Katonda
    kubanga Katonda yennyini ye mulamuzi.

(BB)“Muwulirize, mmwe abantu bange, nange nnaayogera.
    Ggwe Isirayiri bino bye nkuvunaana:
    Nze Katonda, Katonda wo.
(BC)Sikunenya lwa ssaddaaka zo,
    oba ebiweebwayo ebyokebwa by’ossa mu maaso gange bulijjo.
(BD)Sikyakkiriza nte nnume n’emu evudde mu kiralo kyo,
    wadde embuzi ennume ezivudde mu bisibo byo.
10 (BE)Kubanga buli nsolo ey’omu kibira yange,
    awamu n’ente eziri ku nsozi olukumi.
11 Ennyonyi zonna ez’oku nsozi nzimanyi,
    n’ebiramu byonna eby’omu nsiko byange.
12 (BF)Singa nnumwa enjala sandikubuulidde:
    kubanga ensi n’ebigirimu byonna byange.
13 Ndya ennyama y’ente ennume,
    wadde okunywa omusaayi gw’embuzi?

14 (BG)“Owangayo ssaddaaka ey’okwebaza eri Katonda;
    era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu Ennyo.
15 (BH)Bw’obanga mu buzibu,
    nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.”

16 (BI)Naye omubi Katonda amugamba nti,

“Lekeraawo okwatulanga amateeka gange,
    n’endagaano yange togyogerangako.
17 (BJ)Kubanga okyawa okuluŋŋamizibwa,
    n’ebigambo byange tobissaako mwoyo.
18 (BK)Bw’olaba omubbi, ng’omukwana;
    era weetaba n’abenzi.
19 (BL)Okolima era olimba;
    olulimi lwo lwogera ebitali bya butuukirivu.
20 (BM)Muganda wo omwogerako bibi byereere buli kiseera,
    era owayiriza omwana wa nnyoko yennyini.
21 (BN)Ebyo byonna obikoze, ne nsirika,
    n’olowooza nti twenkanankana.
Naye kaakano ka nkunenye,
    ebisobyo byonna mbikulage.

22 (BO)“Ggwe eyeerabira Katonda, ebyo bisseeko omwoyo,
    nneme kukuyuzaayuza nga tewali na wa kukuwonya.
23 (BP)Oyo awaayo ssaddaaka ey’okwebaza angulumiza,
    era ateekateeka ekkubo
    ndyoke mulage obulokozi bwa Katonda.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.