Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yobu 5-7

(A)“Koowoola kaakano, waliwo anaakuyitaba?
    Era ani ku batukuvu gw’onoolaajaanira?
(B)Obukyayi butta atalina magezi,
    n’obuggya butta omusirusiru.
(C)Ndabye abasirusiru nga banywevu,
    naye mangu ddala ne nkolimira ekifo kye batuulamu.
(D)Abaana baabwe tebalina bukuumi,
    babetenterwa mu luggya nga tewali abawolereza.
(E)Omuyala alya amakungula gaabwe
    era atwala n’ag’omu maggwa
    era awankirawankira eby’obugagga byabwe.
Kubanga okulaba ennaku tekuva mu nsi,
    wadde obuzibu okuva mu ttaka,
(F)wabula abantu bazaalibwa kulaba nnaku,
    ng’ensasi bwe zibuuka waggulu.
(G)Naye nze, nzija kunoonya Katonda
    era mmulekere ensonga zange.
(H)Akola ebikulu, ebitanoonyezeka,
    ebyewuunyisa ebitabalika.
10 (I)Atonnyesa enkuba ku nsi,
    n’aweereza amazzi mu byalo.
11 (J)Ayimusa abo abanyigirizibwa
    n’abo abakaaba ne basitulibwa mu mirembe.
12 (K)Aziyiza enkwe z’ababi,
    emikono gyabwe gireme okutuukiriza bye bateesa.
13 (L)Agwikiririza abagezigezi mu bukujjukujju bwabwe,
    n’enkwe zaabwe n’aziziyiriza ddala.
14 (M)Ekizikiza kibabuutikira emisana,
    ne bawammanta mu ttuntu ng’ekiro.
15 (N)Naye aggya abali mu bwetaavu mu mukono gw’abo ab’amaanyi,
    n’abawonya ekitala kyabwe.
16 (O)Abaavu ne balyoka baba n’essuubi,
    n’akamwa k’abatali benkanya ne kazibibwa.

17 (P)“Alina omukisa omuntu Katonda gw’abuulirira;
    noolwekyo tonyooma kukangavvula kw’oyo Ayinzabyonna.
18 (Q)Kubanga ye y’afumita ate era y’anyiga,
    y’alumya era y’awonya.
19 (R)Alikuwonya mu buzibu bwa ngeri mukaaga.
    Weewaawo ne mu ngeri musanvu tootuukibwengako kulumizibwa.
20 (S)Mu njala alikuwonya okufa,
    era anaakuwonyanga mu lutalo olw’ekitala.
21 (T)Onookuumibwanga eri olulimi olukambwe,
    era tootyenga okuzikirira bwe kunaabanga kujja gy’oli.
22 (U)Oliseka ng’okuzikirira n’enjala bizze,
    era tootyenga nsolo nkambwe ez’oku nsi.
23 (V)Onoobanga n’enkolagana n’amayinja ag’omu nnimiro,
    era onoobanga n’emirembe awali ensolo enkambwe.
24 (W)Olimanya nti, ensiisira yo eri mirembe;
    era eby’obugagga byo olibibala n’olaba nga tewali kibuzeeko.
25     (X)Olimanya ng’ezzadde lyo liriba ddene,
    ne bazzukulu bo baliba bangi ng’omuddo ogw’oku nsi.
26 (Y)Olituusibwa ku ntaana yo nga wakaddiyira ddala,
    ng’eŋŋaano bwe tuukira mu kiseera kyayo.

27 “Ekyo twakyekenneenya, kituufu.
    Kimanye nga kikwata ku ggwe.”

Yobu Ayanukula

Yobu n’ayanukula ng’agamba nti,

(Z)“Singa okweraliikirira kwange,
    n’okubonaabona kwange bipimibwa ne biteekebwa ku minzaani!
(AA)Weewaawo byandisinze omusenyu gw’ennyanja okuzitowa;
    ebigambo byange kyenvudde mbyanguyiriza.
(AB)Obusaale bwa Ayinzabyonna buli mu nze
    n’omwoyo gwange gunywedde obusagwa bwabwo:
    entiisa ya Katonda erwana nange.
Entulege ekaaba awali omuddo,
    oba ente ennume eŋŋooŋŋa awali emmere yaayo?
Emmere etaliimu nsa eriika omutali munnyo,
    oba amazzi g’eggi okubaamu akawoomerera?
(AC)Omutima gwange tegusikirizibwa kubikombako,
    biri ng’emmere etangasa.

(AD)“Singa Katonda ampa kye nsaba,
    n’ampa kye nsuubira,
(AE)yandisiimye okumbetenta
    ne mmalibwawo omukono gwe.
10 (AF)Kino kyandikkakkanyizza
    obulumi obutakoma
    kubanga sigaanye bigambo bya Mutukuvu.
11 (AG)Amaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe n’essuubi?
    Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize?
12 Amaanyi gange ga mayinja
    oba omubiri gwange gwa kikomo?
13 (AH)Mu mazima sirina maanyi
    n’obusobozi bwanzigwako.
14 Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe
    tafaayo kutya Ayinzabyonna.
15 (AI)Baganda bange tebeesigika, bali ng’akagga akabooga
    ate ne kakalira,
16 akaddugalirira
    buli lwe kakwata, ng’omuzira,
17 (AJ)ate ne kaggwaawo
    buli lwe wabaawo ebbugumu.
18 Ebibinja by’abatambuze we biviira ku mugendo
    ne biraga mu ddungu ne bizikirira.
19 (AK)Abatambuze b’e Teema banoonya,
    bo ab’e Seeba ne balindirira n’essuubi.
20 (AL)Baalina essuubi
    naye bwe baatuukayo ne banyolwa nnyo.
21 (AM)Kaakano bwe mundabye ne mutya
    ne mukakasizza ddala nga temuliiko kye muyinza kukola.
22 Nnali mbagambye nti, ‘Mumpe ekirabo,’
    oba nti, ‘Mumpeereyo ekintu ku by’obugagga bwammwe,
23 okumponya nve mu mukono gw’omulabe,
    n’okumpeerayo ekintu mpone emitego gy’abakambwe’? 

24 (AN)“Njigiriza nange n’aba musirise;
    ndaga we nsobezza.
25 (AO)Ebigambo eby’amazima nga bya bulumi!
    Naye okuwakana kwammwe kukakasa ki?
26 (AP)Mugezaako okugolola ebigambo byange,
    ne mufuula ebigambo by’omuntu ali obubi okuba ng’empewo?
27 (AQ)Mukubira ne bamulekwa akalulu
    ate ne mukubira ne mukwano gwammwe.

28 (AR)“Naye kaakano mubeere ba kisa muntunuulire.
    Ndabika ng’omulimba?
29 (AS)Mufumiitirize, temusuula bwenkanya;
    Mukirowoozeeko, kubanga obujulirwa bwange buli ku kalebwerebwe.
30 (AT)Emimwa gyange girabika ng’egirimba?
    Emimwa gyange tegisobola kutegeera ttima?”
(AU)“Ebiseera by’omuntu ku nsi, tebyagerebwa?
    Ennaku ze tezaagerebwa nga ez’omupakasi?
(AV)Ng’omuddu eyeegomba ekisiikirize okujja,
    ng’omupakasi bwe yeesunga empeera ye;
(AW)bwe ntyo bwe nnaweebwa emyezi egy’okubonaabona,
    ebiro ebyokutegana bwe byangererwa.
(AX)Bwe ngalamira neebake, njogera nti, ‘Ndiyimuka ddi, ekiro kinaakoma ddi?’
    Nga nzijudde okukulungutana okutuusa obudde lwe bukya.
(AY)Omubiri gwange gujjudde envunyu n’ebikakampa,
    n’olususu lwange lukutusekutuse era lulabika bubi.

(AZ)“Ennaku zange zidduka okusinga ekyuma ky’omulusi w’engoye bw’atambuza ky’alusisa engoye ze;
    era zikoma awatali ssuubi.
(BA)Ojjukira Ayi Katonda, nti obulamu bwange tebuliimu, wabula mukka bukka,
    amaaso gange tegaliddayo kulaba bulungi.
(BB)Eriiso ly’oyo eryali lindabyeko teririddayo kundaba;
    amaaso gammwe galinnoonya, naye nga sikyaliwo.
(BC)Nga ekire bwe kibulawo ne kigenda,
    bw’atyo n’aziikwa mu ntaana talivaayo.
10 (BD)Taliddayo mu nnyumba ye,
    amaka ge tegaliddayo kumumanya nate.
11 (BE)Noolwekyo sijja kuziyiza kamwa kange, nzija kwogera okulumwa kw’omutima gwange;
    nzija kwemulugunyiza mu bulumi bw’emmeeme yange.
12 (BF)Ndi nnyanja oba ndi lukwata ow’omu buziba,
    olyoke onkuume?
13 (BG)Bwe ndowooza nti, obuliri bwange bunampa ku mirembe,
    ekiriri kyange kinakendeeza ku kulumwa kwange;
14 (BH)n’olyoka ontiisa n’ebirooto
    era n’onkanga okuyita mu kwolesebwa.
15 (BI)Emmeeme yange ne yeegomba okwetuga,
    nfe okusinga okuba omulamu.
16 (BJ)Sikyeyagala, neetamiddwa. Sijja kubeera mulamu emirembe gyonna.
    Ndeka; kubanga ennaku zange butaliimu.
17 (BK)Omuntu kye ki ggwe okumugulumiza,
    n’omulowoozaako?
18 (BL)Bw’otyo n’omwekebejja buli makya,
    n’omugezesa buli kaseera?
19 (BM)Olituusa ddi nga tonvuddeeko
    n’ondeka ne mmira ku malusu?
20 (BN)Nyonoonye;
    kiki kye nakukola, ggwe omukuumi w’abantu?
Lwaki onfudde nga akabonero ak’obulabe gy’oli,
    ne neefuukira omugugu?
21 (BO)Era lwaki tosonyiwa kwonoona kwange,
    n’oggyawo obutali butuukirivu bwange?
Kubanga kaakano nzija kwebaka mu ntaana;
    era ojja kunnoonya ku makya naye naaba sikyaliwo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.