Add parallel Print Page Options

(A)Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa;
    asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.

Read full chapter

(A)Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
    kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.

Read full chapter

(A)Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma

olusozi okuli ennyumba ya Mukama Katonda
    lulinywezebwa lusinge ensozi zonna okugulumira,
luliyimusibwa lusukke ku ndala zonna,
    era amawanga gonna galilwolekera.

(B)Abantu bangi balijja bagambe nti,

Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama,
    mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo,
alyoke atuyigirize amakubo ge,
    tulyoke tutambulire mu mateeka ge.
Kubanga Mukama aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni,
    era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye.

Read full chapter

Obufuzi bwa Mukama eri Amawanga Gonna

(A)Mu nnaku ez’oluvannyuma
    olusozi lw’ennyumba ya Mukama luligulumizibwa
    okusinga ensozi zonna;
lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi,
    era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli.

Read full chapter

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ndikomawo mu Sayuuni, ndibeera wakati mu Yerusaalemi era Yerusaalemi kiriyitibwa ekibuga ekyesigwa, olusozi olwa Mukama ow’Eggye, Olusozi Olutukuvu.”

Read full chapter