Add parallel Print Page Options

14 Kubanga omulyango mufunda, n’ekkubo eridda eri obulamu ffunda, era n’abaliraba batono.”

Read full chapter

25 (A)Kubanga Dawudi amwogerako nti,

“ ‘Nalaba nga Mukama ali nange bulijjo,
    kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
    nneme okusagaasagana.
26 Noolwekyo omutima gwange kyeguvudde gusanyuka, n’olulimi lwange ne lukutendereza.
    Era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi.
27 (B)Kubanga tolireka mwoyo gwange kuzikirira
    so toliganya mutukuvu wo kuvunda.
28 Wandaga amakubo g’obulamu,
    era olinzijuza essanyu nga ndi mu maaso go.’ 

Read full chapter

    (A)Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika.
Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa
    baddukira mu biwaawaatiro byo.
(B)Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta;
    obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.

Read full chapter