Book of Common Prayer
Zabbuli ya Dawudi.
25 (A)Eri ggwe, Ayi Mukama,
gye ndeeta okusaba kwange.
2 (B)Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
3 (C)Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
naye ab’enkwe baliswazibwa.
4 (D)Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
5 Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
6 (E)Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
kubanga byava dda.
7 (F)Tojjukira bibi byange
n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.
8 (G)Mukama mulungi, era wa mazima,
noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.
9 (H)Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu
n’abayigiriza ekkubo lye.
10 (I)Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima
eri abo abagondera endagaano ye n’ebiragiro bye.
11 (J)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama,
onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.
12 (K)Omuntu wa ngeri ki atya Katonda?
Oyo gw’anaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.
13 (L)Obulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda,
era bazzukulu be ensi eriba yaabwe.
14 (M)Mikwano gya Mukama be bo abamugondera;
anaababikkuliranga ekyama eky’endagaano ye.
15 (N)Ntunuulira Mukama buli kiseera,
kubanga yekka y’anzigya mu kabi.
16 (O)Nkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa,
kubanga nsigadde bw’omu, era ndi munafu.
17 (P)Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange;
mponya okweraliikirira kwange.
18 (Q)Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange;
onzigyeko ebibi byange byonna.
19 (R)Laba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi
n’okunkyawa kwe bankyawamu!
20 (S)Labiriranga obulamu bwange, obamponye;
tondekanga mu buswavu,
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
21 (T)Amazima n’obulongoofu bindabirirenga,
essubi lyange liri mu ggwe.
22 (U)Nunula Isirayiri, Ayi Katonda,
omuwonye emitawaana gye gyonna.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi.
9 (A)Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;
nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.
2 (B)Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.
Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.
3 Abalabe bange bazzeeyo emabega,
beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.
4 (C)Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange;
era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.
5 (D)Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi;
erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.
6 (E)Abalabe obamaliddewo ddala,
n’ebibuga byabwe obizikirizza,
era tewali aliddayo kubijjukira.
7 (F)Naye Mukama afuga emirembe gyonna;
era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.
8 (G)Aliramula ensi mu butuukirivu,
era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.
9 (H)Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;
era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.
10 (I)Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;
kubanga abakunoonya tobaleka bokka.
11 (J)Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;
mutegeeze amawanga gonna by’akoze.
12 (K)Ajjukira n’awoolera eggwanga
era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.
13 (L)Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya,
onzigye ku miryango gy’okufa.
14 (M)Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu
mu miryango[a] gy’omuwala wa Sayuuni:
era njagulizenga mu bulokozi bwo.
15 (N)Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima;
era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.
16 Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.
Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.
17 (O)Ababi balisuulibwa emagombe;
ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.
18 (P)Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna,
era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.
19 Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula;
leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
20 (Q)Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama;
amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.
Zabbuli ya Dawudi.
15 (A)Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo?
Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?
2 (B)Oyo ataliiko kya kunenyezebwa,
akola eby’obutuukirivu,
era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.
3 (C)Olulimi lwe talwogeza bya bulimba,
era mikwano gye tagiyisa bubi,
so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.
4 (D)Anyooma ababi,
naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.
Atuukiriza ky’asuubiza
ne bwe kiba nga kimulumya.
5 (E)Bw’awola tasaba magoba;
so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna.
Oyo akola ebyo
aliba munywevu emirembe gyonna.
44 (A)Ekigambo ne kijjira Yeremiya ekikwata ku Bayudaaya bonna abaali mu nsi y’e Misiri e Migudooli n’e Tapaneese n’e Noofu ne mu nsi ey’e Pasuloosi nga kigamba nti, 2 (B)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mwalaba ekikangabwa ekinene kye naleeta ku Yerusaalemi ne ku bibuga byonna ebya Yuda. Leero matongo 3 (C)olw’ebibi bye baakola. Bankwasa obusungu olw’okwotereza bakatonda abalala obubaane n’okusinza, bo newaakubadde mmwe wadde bajjajjammwe be batamanyangako. 4 (D)Emirundi mingi natuma abaddu bange bannabbi, abaabagamba nti, ‘Temukola bintu bino eby’omuzizo bye nkyawa!’ 5 (E)Naye tebaawulira wadde okufaayo; tebaalekayo mpisa zaabwe embi wadde okulekayo okwotereza bakatonda abalala obubaane. 6 Noolwekyo, obusungu bwange obungi ennyo kyebwava bubabuubuukira; ne buzinda ebibuga bya Yuda n’enguudo za Yerusaalemi era ne bifuuka amatongo, ne leero.
7 (F)“Kale kaakano bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Lwaki mweretako akabi akanene bwe kati nga musala ku Yuda abasajja n’abakazi, n’abaana abato n’abawere aba Yuda ne mutalekaawo muntu? 8 (G)Lwaki munsunguwaza olw’ebyo emikono gyammwe bye gikoze, nga mwotereza bakatonda abalala obubaane e Misiri, gye mwajja okubeera? Mujja kwezikiriza mufuuke eky’omuzizo n’eky’okukolimirwa mu mawanga gonna ag’omu nsi. 9 (H)Mwerabidde ebibi bakitammwe ne bakabaka ba Yuda ne bakazi bammwe bye baakola era n’ebibi bye mwakola mmwe ne bakazi bammwe mu nsi ya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi? 10 (I)Naye n’okutuusa leero tebeetoowazizza wadde okutya, wadde okugondera amateeka gange n’ebiragiro bye nabateekerawo mmwe ne bajjajjammwe.
11 (J)“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mmaliridde okubazikiriza mmwe ne Yuda yonna. 12 (K)Ndiggyawo abaasigalira mu Yuda abaamalirira okugenda e Misiri okusenga eyo. Bonna balizikiririra mu Misiri, balifa ekitala oba enjala. Okuva ku muto okutuuka ku mukulu asingayo balifa era balifuuka ekyenyinyalwa n’eky’okusekererwa era n’okukolimirwa. 13 (L)Ndibonereza abo ababeera mu Misiri, bafe ekitala, n’enjala ne kawumpuli, nga bwe nabonereza Yerusaalemi. 14 (M)Tewali n’omu ku baasigalawo mu Yuda eyaddukira e Misiri, aliwona oba alisigalawo okudda mu nsi ya Yuda, gye beegomba okudda, tewali aliddayo okuggyako abatono ennyo.”
30 (A)Era ffe lwaki tuli mu kabi buli kaseera? 31 (B)Abooluganda, olw’okwenyumiriza kwe munninamu, era kwe nnina mu Kristo Yesu Mukama waffe, nkakasa nti nfa buli lunaku. 32 (C)Kale obanga nze omuntu obuntu nalwana n’ensolo enkambwe mu Efeso, kingasa ki? Obanga abafu tebazuukizibwa,
“Kale tulye tunywe
kubanga enkya tuli ba kufa.”
33 Temulimbibwalimbibwanga, kubanga “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” 34 Mweddemu, mutambulirenga mu butuukirivu mulekeraawo okukola ebibi, kubanga abamu mu mmwe tebamanyi Katonda. Kino nkyogera kubakwasa nsonyi.
Okuzuukira kw’Omubiri
35 (D)Naye omuntu ayinza okubuuza nti, “Abafu bazuukizibwa batya?” Era nti, mubiri gwa ngeri ki gwe bajja nagwo? 36 (E)Musirusiru ggwe! Ensigo gy’osiga temeruka nga tennafa. 37 Era ensigo eyo gy’osiga eba mpeke buweke; so si ekirivaamu oba ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala. 38 (F)Naye Katonda agiwa omubiri nga bw’ayagala, era buli ngeri ya nsigo agiwa omubiri gwayo. 39 Kubanga emibiri gyonna tegiba gya ngeri emu. Waliwo omubiri ogw’abantu, waliwo ogw’ensolo, waliwo ogw’ennyonyi, era waliwo n’ogw’ebyennyanja. 40 Noolwekyo waliwo emibiri egy’omu ggulu, n’emibiri egy’omu nsi. Naye ekitiibwa ky’emibiri egy’omu ggulu kirala, era n’eky’egy’omu nsi kirala. 41 Waliwo ekitiibwa ky’enjuba, waliwo eky’omwezi, era waliwo ekitiibwa eky’emmunyeenye. Naye era n’emmunyeenye tezenkanankana mu kwaka kubanga buli munyeenye ya njawulo mu kwaka.
16 “Eggwanga lino nnaaligeraageranya ku ki? Bafaanana ng’abaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagamba bato bannaabwe nti,
17 “ ‘Twabafuuyira omulere,
ne mutazina;
ne tuyimba oluyimba olw’okukungubaga,
ne mutakungubaga.’
18 (A)Kubanga Yokaana eyali talya wadde okunywa yajja ne mugamba nti, ‘Aliko dayimooni.’ 19 (B)Omwana w’Omuntu, bwe yajja ng’alya era ng’anywa, ne boogera nti, ‘Wa mululu, muntu munywi, era mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi. B’abeeramu!’ So nga amagezi geeragira mu bikolwa.”
20 Yesu n’anenya nnyo ebibuga mwe yakolera ebyamagero ebisinga obungi, kubanga tebeenenya. 21 (C)“Zikusanze, ggwe Kolaziini! Zikusanze ggwe Besusayida! Kubanga ebyamagero bye nakolera mu mmwe, singa nabikolera mu Ttuulo ne mu Sidoni, bandibadde beenenya dda nga bali mu bibukutu n’evvu ku mitwe gyabwe. 22 (D)Ddala ddala Ttuulo ne Sidoni biriyisibwa bulungiko okusinga mmwe ku lunaku olw’okusalirako omusango! 23 (E)Naawe Kaperunawumu, newaakubadde nga wagulumizibwa okutuuka eggulu gye likoma, naye oliserengesebwa wansi emagombe. Kubanga ebyamagero eby’ekitalo ebyakolebwa ewuwo, singa byakolerwa mu Sodomu, kyandibadde kikyaliwo ne leero. 24 (F)Ddala ddala Sodomu kigenda kuyisibwa bulungiko, okusinga ggwe, ku lunaku olw’okusalirako omusango!”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.