Book of Common Prayer
Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
140 (A)Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,
omponye abantu abakambwe;
2 (B)abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;
abanoonya entalo buli kiseera.
3 (C)Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;
ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.
4 (D)Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;
omponye abantu abakambwe
abateesa okunkyamya.
5 (E)Abantu ab’amalala banteze omutego;
banjuluzza ekitimba kyabwe;
ne batega emitego mu kkubo lyange.
6 (F)Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
7 (G)Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,
ggwe engabo yange mu lutalo.
8 (H)Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,
era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;
baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.
Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.
142 (A)Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
neegayirira Mukama ansaasire.
2 (B)Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
ne mmwanjulira ebinteganya byonna.
3 (C)Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
4 (D)Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.
5 (E)Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”
Zabbuli Ya Dawudi.
141 (A)Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi!
Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola.
2 (B)Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go,
n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.
3 Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange,
era bwe njogera onkomeko.
4 (C)Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi,
n’okwemalira mu bikolwa ebibi;
nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu,
wadde okulya ku mmere yaabwe.
5 (D)Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa;
muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange;
sijja kugagaana.
Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe.
6 Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango,
olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima.
7 (E)Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike,
n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.”
Zabbuli Ya Dawudi.
143 (A)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
wulira okwegayirira kwange!
Ggwe omwesigwa
era omutuukirivu jjangu ombeere.
2 (B)Tonsalira musango,
kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
3 Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi;
anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
4 (C)Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi,
n’omutima gwange gwennyise.
5 (D)Nzijukira ennaku ez’edda,
ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna,
ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
6 (E)Ngolola emikono gyange gy’oli,
ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.
7 (F)Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama,
kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi.
Tonkisa maaso go,
nneme okufaanana ng’abafu.
8 (G)Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
9 (H)Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange,
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10 (I)Njigiriza okukola by’oyagala,
kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.
Yekoyakimu, Kabaka wa Yuda
36 (A)Yekoyakimu we yafuukira kabaka yali awezezza emyaka amakumi abiri mu etaano, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Zebida muwala wa Pedaya ow’e Luuma. 37 Naye n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga bajjajjaabe be bwe baakola.
24 (B)Mu biro ebyo, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alumba, era n’afuula Yekoyakimu omuddu we okumala emyaka esatu. Naye Yekoyakimu oluvannyuma n’ajeema, n’akola olutalo ku Nebukadduneeza. 2 (C)Awo Mukama n’asindikira Yekoyakimu ebibinja by’Abakaludaaya, n’Abasuuli, n’Abamowaabu, n’Abamoni, n’abatuma okulumba Yuda, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu baweereza be bannabbi bwe kyali. 3 (D)Era ddala ebyo by’atuukirira ku Yuda ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali, okubaggya mu maaso ge olw’ebibi bya Manase n’ebirala byonna bye yakola, 4 (E)ng’okwo kwe kuli okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango. Yajjuza Yerusaalemi n’omusaayi ogutaliiko musango, Mukama kye yali tagenda kusonyiwa.
5 Ebyafaayo ebirala ebyaliwo ku mulembe gwa Yekoyakimu ne byonna bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 6 (F)Awo Yekoyakimu n’afa, mutabani we Yekoyakini n’amusikira okuba kabaka. 7 (G)Kabaka w’e Misiri teyava nate mu nsi ye, kubanga kabaka w’e Babulooni yali awambye ebibye byonna okuviira ddala ku mukutu gw’Omugga ogw’e Misiri oguyiwa ku Nnyanja Ennene okutuuka ku Mugga Fulaati.
Yekoyakini Kabaka wa Yuda
8 (H)Yekoyakini we yafuukira kabaka yalina emyaka kkumi na munaana, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani ow’e Yerusaalemi. 9 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola.
10 (I)Mu biro ebyo eggye lya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ne lirumba ekibuga ky’e Yerusaalemi, ne kizingizibwa. 11 Nebukadduneeza yennyini n’ajja mu kibuga, ng’eggye lye likyakizingizza. 12 (J)Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda, ne nnyina, n’abaddu ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami be bonna ne beewaayo eri kabaka w’e Babulooni mu mwaka gwe ogw’omunaana bukya alya bwakabaka, era Yekoyakini n’atwalibwa nga musibe. 13 (K)Era mu kiseera kye kimu, Nebukadduneeza n’atwala eby’obugagga byonna okuva mu yeekaalu ya Mukama, n’okuva mu lubiri lwa kabaka, era n’atemaatema ebibya byonna ebya zaabu, Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yali akoze ng’abitadde mu yeekaalu ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira. 14 (L)N’atwala Yerusaalemi kyonna, n’abakungu bonna, n’abasajja abalwanyi bonna, ne baffundi bonna n’abaweesi bonna mu buwaŋŋanguse, awamu ne bawera abantu ng’omutwalo gumu. Abasemberayo ddala obwavu be yalekamu bokka.
15 (M)Nebukadduneeza n’atwala Yekoyakini e Babulooni nga musibe okuva mu Yerusaalemi, era n’atwala ne nnyina, ne bakyala ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami abaali ab’ekitiibwa mu nsi. 16 (N)Ate era yawamba abasajja ab’amaanyi kasanvu, ne baffundi n’abaweesi lukumi, bonna n’abatwala e Babulooni nga basibe. 17 (O)Nebukadduneeza n’addira Mataniya kitaawe wa Yekoyakini omuto, n’amufuula kabaka, era n’amukyusa n’erinnya n’amutuuma Zeddekiya.
Omubiri guli gumu naye ebitundu byagwo bingi
12 (A)Kuba omubiri nga bwe guli ogumu, ne guba n’ebitundu bingi, ate ebitundu byonna ne byegatta ne biba omubiri gumu, kale, ne Kristo bw’ali bw’atyo. 13 (B)Bwe tutyo ffenna twabatizibwa mu Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, oba Bayudaaya, oba baamawanga, oba baddu, oba ba ddembe, era ne tunywa ku Mwoyo oyo omu.
14 Kubanga omubiri tegulina kitundu kimu, naye gulina ebitundu bingi. 15 Singa ekigere kigamba nti, “Nze siri mukono, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri. 16 Era singa okutu kugamba nti, “Siri liiso, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo kikiggyako okubeera ekitundu ky’omubiri? 17 Kale singa omubiri gwonna gwali liiso, olwo okuwulira kwandibadde wa? Era singa omubiri gwonna gwali kutu, olwo okuwunyiriza kwandibadde wa? 18 (C)Naye kaakano Katonda yakola ebitundu bingi eby’enjawulo n’alyoka abifuula omubiri gwaffe nga bwe yayagala. 19 Singa byonna byali ekitundu kimu olwo omubiri gwandibadde wa? 20 (D)Naye kaakano ebitundu bingi naye ng’omubiri guli gumu.
21 Eriiso terisobola kugamba mukono nti, “Ggwe sikwetaaga,” oba n’omutwe teguyinza kugamba bigere nti, “Mmwe sibeetaaga.” 22 Era ebitundu ebyo eby’omubiri ebirabika ng’ebisinga obunafu bye byetaagibwa ennyo. 23 Era n’ebitundu ebyo eby’omubiri bye tulowooza obutaba bya kitiibwa bye bisinga okwambazibwa, n’ebitundu ebitukwasa ensonyi bye tusinga okulabirira, 24 so ng’ebitundu byaffe ebisinga okwolekebwa mu bantu tebikyetaaga. Bw’atyo Katonda bwe yakola omubiri, ebitundu ebyandibadde biragajjalirwa n’abyongera ekitiibwa, 25 olwo omubiri ne guteeyawulamu naye ebitundu byonna, ne biyambagana byokka ne byokka. 26 Ekitundu ekimu bwe kirumwa, ebitundu ebirala byonna birumirwa. Era ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bijaguliza wamu nakyo.
Yesu Awonya Bamuzibe ne Bakiggala
27 (A)Awo Yesu bwe yava eyo, abazibe b’amaaso babiri ne bamugoberera nga bwe baleekaana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, otusaasire!”
28 Bwe yatuuka mu nju, bamuzibe ne bajja w’ali. Yesu n’ababuuza nti, “Mukkiriza nga nnyinza okubazibula amaaso?” Ne bamuddamu nti, “Weewaawo, Mukama waffe.”
29 (B)Awo n’akoma ku maaso gaabwe n’abagamba nti, “Kale, olw’okukkiriza kwammwe, kye musabye mukiweereddwa.” 30 (C)Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n’abakuutira nnyo baleme kubuulirako muntu yenna ng’abagamba nti, “Mulabe nga tewaba n’omu ategeera bibaddewo.” 31 (D)Naye bwe baava awo, ne bagenda nga basaasaanya ebigambo ebyo, nga babuulira buli muntu gwe baasisinkananga mu kitundu ekyo.
32 (E)Awo Yesu ne be yali nabo, bwe baali bafuluma ne bamuleetera kiggala eyali tayogera kubanga yaliko dayimooni. 33 (F)Yesu n’amugobako dayimooni, era amangwago abadde kiggala n’ayogera. Ekibiina ky’abantu ne beewuunya nnyo nga bagamba nti, “Kino tekibangawo mu Isirayiri.”
34 (G)Naye Abafalisaayo ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni lwa kubanga ye mukulu wa baddayimooni!”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.