Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
31 Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange,
leka nneme kuswazibwa.
Ndokola mu butuukirivu bwo.
2 (A)Ontegere okutu kwo
oyanguwe okunziruukirira.
Beera ekiddukiro kyange eky’olwazi
era ekigo eky’amaanyi eky’okumponya.
3 (B)Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange;
olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.
4 (C)Omponye mu mutego gwe banteze;
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
5 (D)Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo;
ondokole, Ayi Mukama, Katonda ow’amazima.
6 (E)Nkyawa abo abeesiga bakatonda abalala;
nze nneesiga Mukama.
7 (F)Nnaajaguzanga ne nsanyukira mu kwagala kwo,
kubanga olabye okubonaabona kwange
era omanyi ennaku endi ku mwoyo.
8 (G)Tompaddeeyo mu balabe bange,
naye otadde ebigere byange mu kifo ekigazi.
9 (H)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi;
amaaso gange gakooye olw’ennaku;
omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.
10 (I)Obulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyange
ne giggwaawo olw’okusinda.
Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange,
n’amagumba ganafuye.
11 (J)Abalabe bange bonna bansekerera,
banneetamiddwa.
Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange,
n’abandaba mu kkubo banziruka.
12 (K)Nneerabiddwa ng’eyafa edda;
nfuuse ng’ekibumbe ekyatifu.
13 (L)Buli ludda mpulirayo obwama
nga bangeya;
bye banteesaako
nga basala olukwe okunzita.
14 (M)Naye nneesiga ggwe, Ayi Mukama;
nga njogera nti, “Oli Katonda wange.”
15 (N)Entuuko zange ziri mu mikono gyo;
ondokole mu mikono gy’abalabe bange
n’abangigganya.
16 (O)Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo;
ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo.
17 (P)Ayi Mukama tondeka kuswazibwa,
kubanga nkukoowoola;
leka abo ababi baswale,
era bagalamire emagombe nga basirise.
18 (Q)Akamwa kaabwe akayogera eby’obulimba
kasirisibwe,
kubanga boogera ebitaliimu ku batuukirivu bo,
nga babyogeza amalala n’okunyooma.
19 (R)Obulungi bwo,
bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu,
n’obuwa mu lwatu
abo abaddukira gy’oli.
20 (S)Obalabirira n’obawonya enkwe z’abalabe baabwe,
n’obakuuma bulungi mu nnyumba yo,
n’ennyombo z’abantu
ne zitabatuukako.
Zabbuli ya Dawudi.
35 (A)Ayi Mukama, wakanya abo abampakanya,
lwanyisa abo abannwanyisa.
2 (B)Golokoka okwate engabo,
n’akagabo onziruukirire.
3 Galula effumu,
abangigganya obazibire ekkubo;
otegeeze omwoyo gwange nti,
“Nze bulokozi bwo.”
4 (C)Abo bonna abannoonya okunzita bajolongebwe
era baswazibwe;
abo abateesa okunsanyaawo
bazzibweyo ennyuma babune emiwabo.
5 (D)Babe ng’ebisusunku ebifuumuulibwa empewo,
malayika wa Mukama ng’abagoba.
6 Ekkubo lyabwe libe lya kizikiza era lijjule obuseerezi, ne malayika wa Mukama ng’abagoba.
7 Nga bwe bantega omutego nga siriiko kye mbakoze,
ne bansimira n’ekinnya mu kkubo lyange awatali nsonga,
8 (E)bazikirizibwe nga tebategedde,
n’omutego gwe banteze be baba bagugwamu,
era bagwe ne mu kinnya kiri bazikirire.
9 (F)Omwoyo gwange ne gulyoka gujaguliza mu Mukama,
ne gusanyukira mu bulokozi bwe.
10 (G)Amagumba gange galyogera nti,
“Ani afaanana nga ggwe, Ayi Mukama?
Kubanga abaavu obadduukirira n’obawonya ababasinza amaanyi,
n’abali mu kwetaaga n’obawonya abanyazi.”
11 (H)Abajulizi abakambwe bagolokoka
ne bambuuza ebintu bye sirinaako kye mmanyi.
12 (I)Bwe mbayisa obulungi bo bampisa bubi,
ne banakuwaza omwoyo gwange.
13 (J)So nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu,
ne neerumya nga nsiiba, ne nsaba Mukama nga nkotese omutwe,
naye okusaba kwange bwe kutaddibwamu,
14 ne mbeera mu nnaku
ng’ankungubagira ow’omukwano
oba owooluganda nkoteka omutwe gwange mu buyinike
ng’akaabira nnyina.
15 (K)Naye bwe nagwa mu kabi ne beekuŋŋaanya nga basanyuse;
ne bannumba nga simanyi,
ne bampayiriza obutata.
16 (L)Banduulidde n’ettima ng’abatamanyi Katonda bwe bakola,
ne bannumira obujiji.
17 (M)Ayi Mukama, olituusa ddi ng’otunula butunuzi?
Nziruukirira nga bannumba, obulamu bwange obuwonye okutaagulwataagulwa,
obulamu bwange obw’omuwendo eri empologoma zino.
18 (N)Nnaakwebalizanga mu lukuŋŋaana olukulu,
ne nkutenderezanga mu kibiina ky’abantu abangi ennyo.
19 (O)Tokkiriza balabe bange kunneeyagalirako,
abankyawa awatali nsonga;
abankyayira obwereere
tobakkiriza kunziimuula.
20 Teboogera bya mirembe,
wabula okuwaayiriza abantu abeetuulidde emirembe mu nsi.
21 (P)Banjasamiza akamwa kaabwe ne boogera nti,
“Leero luno, ky’okoze tukirabye n’amaaso gaffe.”
22 (Q)Bino byonna obirabye, Ayi Mukama.
Noolwekyo tosirika. Tonsuulirira, Ayi Mukama.
23 (R)Golokoka ojje onnyambe;
nnwanirira Ayi Katonda wange era Mukama wange.
24 Mu butuukirivu bwo nnejjeereza, Ayi Mukama Katonda wange,
tobaganya kunneeyagalirako.
25 (S)Tobaleka kulowooza nti, “Leero luno! Kino kye twali twagala!”
Oba nti, “Tumusaanyizzaawo!”
26 (T)Abo bonna abanneeyagalirako olw’ennaku yange ne beesanyusa,
batabulwetabulwe era baswazibwe;
abo bonna abanneegulumirizaako
baswazibwe era banyoomebwe.
27 (U)Abo abasanyuka ng’annejjeereza,
baleekaanire waggulu olw’essanyu n’okujaganya;
era boogerenga nti, “Mukama agulumizibwe,
asanyuka omuweereza we ng’atebenkedde.”
28 (V)Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo,
era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.
Okuddaabiriza Ekyoto
3 (A)Omwezi ogw’omusanvu bwe gwatuuka, Abayisirayiri ne bava mu bibuga gye baali, ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi nga bali bumu. 2 (B)Awo Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne bakabona banne, ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri n’ab’ennyumba ye ne batandika okuzimba ekyoto kya Katonda wa Isirayiri, okuweerangako ebiweebwayo ebyokebwa nga bwe kyawandiikibwa, mu Mateeka ga Musa omusajja wa Katonda. 3 (C)Newaakubadde nga baalina entiisa ey’abamawanga agaali gabeetoolodde, basooka okuzimba ekyoto ku musingi gwakyo ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, nga bawaayo eby’enkya n’eby’akawungeezi. 4 (D)Era ng’etteeka bwe liri, ne bakwata embaga ey’ensiisira ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli lunaku ng’omuwendo ogwetaagibwa buli lunaku bwe gwali. 5 (E)N’oluvannyuma baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli kiseera, omwezi nga gwa kaboneka ne ku buli mbaga zonna ezaatukuzibwa eza Mukama ezaalagirwa, ate n’ekiweebwayo ekya buli muntu eyawaayo eri Mukama ekiweebwayo awatali kuwalirizibwa. 6 Okuva ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu ne batandika okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, newaakubadde ng’omusingi gwa yeekaalu ya Mukama gwali tegunnazimbibwa.
Okuddaabiriza Yeekaalu
7 (F)Ne bawa abazimbi n’ababazzi ensimbi, ne bawa n’ab’e Sidoni n’ab’e Tuulo ebyokulya n’ebyokunywa n’amafuta, okuleeta emivule okuva mu Lebanooni okugituusa ku nnyanja e Yopa, ng’ekiragiro kya Kuulo kabaka w’e Buperusi bwe kyali.
8 (G)Awo mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri nga batuuse awali yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne baganda baabwe bakabona n’Abaleevi ne bonna abajja e Yerusaalemi okuva mu buwaŋŋanguse ne batandika omulimu ogw’okuzimba, era ne beerondamu abaali ab’emyaka amakumi abiri egy’obukulu, n’okusingawo, okulabirira omulimu ogw’okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama. 9 (H)Awo Yesuwa ne batabani be ne baganda be, ne Kadumyeri ne batabani be, ne bazzukulu ba Yuda, nga bayambibwako ne batabani ba Kenedadi n’Abaleevi bonna ne bavunaanyizibwa okulabirira omulimu ogw’okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.
10 (I)Awo abazimbi bwe baamala okuzimba omusingi gwa yeekaalu ya Mukama, bakabona nga bambadde ebyambalo byabwe ne bavaayo nga bakutte amakondeere, n’abaleevi, bazzukulu ba Asafu, nga bakutte ebitaasa, ne bayimirira mu bifo byabwe okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Isirayiri bwe yateekateeka. 11 (J)Ne bayimba ennyimba ez’okwebaza n’okutendereza Mukama nga boogera nti,
“Mulungi,
n’okwagala kwe eri Isirayiri kubeerera emirembe gyonna.”
Abantu bonna ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga batendereza Mukama, kubanga omusingi gw’ennyumba ya Mukama gwali guzimbiddwa. 12 (K)Naye bangi ku bakabona n’Abaleevi abakadde, n’Abakulu b’ebika, abaalaba yeekaalu eyasooka, ne bakaaba nnyo ng’amaloboozi gaabwe gawulikika bwe baalaba ng’omusingi gwa yeekaalu empya guzimbiddwa, newaakubadde ng’abalala bangi baasanyuka nnyo nga bwe baleekaana; 13 (L)nga si kyangu okwawula amaloboozi g’abo abaali bakaaba n’abaali basanyuka, kubanga abantu bonna baawowogana mu ddoboozi ery’omwanguka, era n’amaloboozi gaabwe ne gawulirwa wala.
10 (A)Timoseewo bw’ajjanga, mumuyambe atereere bulungi mu mmwe, kubanga naye akola omulimu gwa Mukama waffe nga nze. 11 (B)Noolwekyo waleme kubaawo amunyooma. Mumuyambe olugendo lwe lube lwa mirembe, ajje gye ndi. Kubanga nze n’abooluganda tumulindiridde.
12 (C)Naye ebyo ebikwata ku wooluganda Apolo, namwegayirira nnyo ajje gye muli, ng’ali n’abooluganda abalala, kyokka ye n’atayagala kujja kaakano, wabula alijja ng’afunye ebbanga.
Ebikomererayo
13 (D)Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ab’amaanyi. 14 Buli kye mukola mukikolerenga mu kwagala.
15 (E)Abooluganda, mumanyi nti mu Akaya ab’omu nnyumba ya Suteefana be baasooka okukkiriza Mukama waffe, era beewaayo okuyamba n’okuweereza abantu ba Katonda. Kale, abooluganda, mbasaba 16 muwulirenga abantu ng’abo, era na buli omu afube okukoleranga awamu nabo. 17 (F)Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko[a] bwe bajja gye ndi nasanyuka, kubanga baaliwo mu kifo kyammwe. 18 (G)Era bansanyusa, era nga nammwe bwe baabasanyusa. Abantu ng’abo musaana mubalage nga bwe musiimye okuweereza kwabwe.
19 (H)Ekkanisa ey’omu Asiya ebalamusizza.
Akula ne Pulisikira awamu n’Ekkanisa ya Kristo eri mu maka gaabwe babalamusizza nnyo mu Mukama waffe.
20 (I)Era abooluganda bonna babalamusizza.
Mulamusagane mu n’okunywegera okutukuvu.
21 (J)Nze, Pawulo, mbaweereza okulamusa kwange kuno, kwe mpandiika nze nzennyini n’omukono gwange.
22 (K)Obanga waliwo atayagala Mukama, akolimirwe. Mukama waffe Yesu, jjangu!
23 (L)Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
24 Mwenna mbalamusizza n’okwagala mu Kristo Yesu. Amiina.
Yesu ne Beeruzebuli
22 (A)Awo Yesu ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, nga muzibe w’amaaso era nga tayogera. N’amuwonya, omusajja eyali tasobola kwogera n’asobola okwogera n’okulaba. 23 (B)Abantu bonna ne beewuunya ne boogera nti, “Ddala ddala ono si mwana wa Dawudi?”
24 (C)Naye Abafalisaayo bwe baakiwulira ne boogera nti, “Ono agoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni.”
25 (D)Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe n’abagamba nti, “Obwakabaka bwe bwawukanamu, oba ekibuga wadde amaka, tebiyinza kuyimirira. 26 (E)Ne Setaani bw’agoba Setaani munne ku muntu aba yeyawuddemu. Obwakabaka bwe bunaayimirira butya? 27 (F)Obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, kale batabani bammwe babagoba ku bw’ani? Noolwekyo be bali basalira omusango. 28 Naye bwe mba ngoba baddayimooni n’amaanyi g’Omwoyo wa Katonda, kale Obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.
29 “Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y’omuntu ow’amaanyi, n’amunyagako ebintu bye okuggyako ng’asooka okusiba ow’amaanyi oyo? Olwo n’alyoka anyaga ebintu bye.
30 (G)“Oyo atali nange, mulabe wange. N’oyo atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya. 31 (H)Noolwekyo mbategeereza ddala nti omuntu alisonyiyibwa buli kibi kyonna, na buli kuvvoola. Naye alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa. 32 (I)Na buli muntu ayogera ekigambo ekibi ku Mwana w’Omuntu alisonyiyibwa, naye ayogera ekibi ku Mwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa mu mulembe guno wadde ogugenda okujja.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.