Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 107:33-108:13

33 (A)Afuula emigga amalungu,
    n’emikutu gy’amazzi ne giba ng’ettaka ekkalu,
34 (B)ensi engimu n’agifuula olukoola olw’olunnyo
    olw’obwonoonyi bw’abantu baamu.
35 (C)Eddungu yalijjuza ebidiba by’amazzi,
    n’ensi enkalu n’agikulukusizaamu amazzi,
36 abalina enjala n’abateeka omwo,
    ne beezimbira ekibuga eky’okubeeramu,
37 (D)ennimiro zaabwe ne bazisigamu emmere, ne basimba emizabbibu,
    ne bakungula ebibala bingi.
38 (E)Yabawa omukisa gwe, ne beeyongera obungi;
    n’ebisibo byabwe n’atabiganya kukendeera.

39 (F)Ate ne bakendeera obungi, ne bakkakkanyizibwa
    olw’okujeezebwa, n’okujoogebwa n’okulaba ennaku;
40 (G)oyo anyooma n’abakungu,
    n’ababungeetanyiza mu lukoola omutali kantu.
41 (H)Naye abaali mu kwetaaga yabamalako ennaku n’okubonaabona,
    n’ayaza ezzadde lyabwe ng’ebisibo.
42 (I)Abagolokofu, bino babiraba ne basanyuka;
    naye abakola ebibi bo basirika busirisi.

43 (J)Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino
    era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.

Oluyimba. Zabbuli ya Dawudi.

108 Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda;
    nnaayimbanga ne nkutendereza n’omwoyo gwange gwonna.
Muzuukuke, mmwe entongooli n’ennanga ey’enkoba,
    nzija kuyimba okukeesa obudde.
Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama, mu bantu bonna,
    nnaakuyimbiranga mu mawanga gonna.
Okwagala kwo kunene, kutumbiira okutuuka ku ggulu;
    n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
(K)Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okuyisa eggulu;
    n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

Tulokole otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
    abo booyagala banunulibwe.
Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu n’agamba nti,
    “Nga nzijudde essanyu, ndisala mu Sekemu,
    era n’Ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
(L)Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
    Efulayimu mwe muli abalwanyi bange abazira;
    ate mu Yuda mwe munaavanga bakabaka.
Mowaabu be baweereza bange abawulize;
    ate Edomu be baddu bange;
    Abafirisuuti ndibaleekaanira mu ddoboozi ery’omwanguka ery’obuwanguzi.”

10 Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
    Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
11 (M)Si ggwe, ayi Katonda, atusudde,
    atakyatabaala n’amaggye gaffe?
12 Tudduukirire nga tulwanyisa abalabe baffe,
    kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
13 Bwe tunaabeeranga ne Katonda tunaabanga bawanguzi;
    kubanga y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.

Zabbuli 33

Zabbuli ya Dawudi.

33 (A)Muyimbire Mukama n’essanyu mmwe abatuukirivu;
    kisaanira abalongoofu okumutenderezanga.
(B)Mutendereze Mukama n’ennanga,
    mumukubire ennyimba ku ntongooli ey’enkoba ekkumi.
(C)Mumuyimbire oluyimba oluggya;
    musune enkoba ze ntongooli n’amagezi nga bwe muyimba mu ddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu.

(D)Kubanga ekigambo kya Mukama kituufu era kya mazima;
    mwesigwa mu buli ky’akola.
(E)Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.
    Ensi ejjudde okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.

(F)Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa;
    n’assiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna ery’omu ggulu ne litondebwa.
Yakuŋŋaanya amazzi g’ennyanja mu ntuumu,
    agayanja n’agasibira mu masitoowa gaago.
(G)Ensi yonna esaana etyenga Mukama,
    n’abantu ab’omu mawanga gonna bamussengamu ekitiibwa;
(H)kubanga yayogera bwogezi n’etondebwa,
    n’alagira n’eyimirira nga nywevu.

10 (I)Mukama asansulula enteekateeka y’amawanga;
    alemesa abantu okutuukiriza bye bagenderera.
11 (J)Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna;
    n’ebigendererwa by’omutima gwe bya lubeerera.

12 (K)Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo,
    ng’abantu baalyo yabalonda babeere bantu be.
13 (L)Mukama asinziira mu ggulu
    n’alaba abaana b’abantu bonna;
14 (M)asinziira mu kifo kye mw’abeera
    n’alaba abantu bonna abali ku nsi.
15 (N)Ye y’ategeka ebirowoozo byabwe bonna
    ne yeetegereza byonna bye bakola.

16 (O)Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye;
    era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi.
17 (P)Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere;
    newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.
18 (Q)Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya;
    abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,
19 (R)abawonya okufa,
    era abawonya enjala.

20 (S)Tulindirira Mukama nga tulina essuubi,
    kubanga ye mubeezi waffe era ye ngabo yaffe.
21 (T)Mu ye emitima gyaffe mwe gijaguliza,
    kubanga twesiga erinnya lye ettukuvu.
22 Okwagala kwo okutaggwaawo kubeerenga mu ffe,
    Ayi Mukama, ng’essuubi lyaffe bwe liri mu ggwe.

2 Bassekabaka 19:21-36

21 (A)Kino kye kigambo Mukama ky’ayogedde ku bimukwatako:

“ ‘Omuwala wa Sayuuni embeerera akunyooma
    era akusekerera.
Omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyeza omutwe gwe
    nga bw’odduka.
22 (B)Ani gw’ovumye era n’ovvoola?
    Ani gw’okandulidde eddoboozi lyo,
era ani gw’oyimusirizza amaaso go n’amalala?
    Obikoze Omutukuvu wa Isirayiri!
23 (C)Ojereze Mukama
    ng’oyita mu babaka bo.
Era ogambye nti,
    “Nninye ku ntikko z’ensozi
n’amagaali gange amangi,
    ku ntikko ezisingirayo ddala obuwanvu eza Lebanooni.
Ntemye emivule egisingirayo ddala obuwanvu
    n’emiberosi gyayo egisingirayo ddala obulungi.
Ntuuse ne mu bifo ebisingirayo ddala okuba ebikusike
    ne mu bibira ebisingirayo ddala okuba ebirungi.
24 Nsimye enzizi mu bannamawanga,
    n’enywa amazzi gaamu.
Nkazizza emigga egy’e Misiri gyonna,
    nga ngirinnyirira n’ebisinziiro by’ebigere byange.”

25 (D)“ ‘Tewawulira nga nakisalawo dda?
    Mu biro eby’edda nakiteekateeka,
era kaakano nkituukirizza,
    olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe
    okuba ng’entuumo y’amayinja.
26 (E)Ababituulamu tebakyalina buyinza,
    batekemuse era baswazibbwa.
Bafaanana ng’ebimera eby’omu nnimiro,
    ng’omuddo omubisi,
ng’omuddo ogusibuse mu busolya bw’ennyumba,
    ne gutugibwa nga tegunnakula.

27 (F)“ ‘Naye mmanyi obutuuliro bwo
    era mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwo
    n’obuswandi bw’ondaga.
28 (G)Kubanga ondaze obuswandi bwo,
    n’obujoozi bwo
ne mbuwulira mu matu gange,
    kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo
n’olukoba lwange mu mumwa gwo,
    era oliddirayo mu kkubo lye wajjiramu.’

29 (H)“Era kano ke kanaaba akabonero ko, ggwe Keezeekiya.

“Omwaka guno olirya ekyo ekimera kyokka,
    ne mu mwaka ogwokubiri ekiriva mw’ekyo.
Naye mu mwaka ogwokusatu siga era okungule;
    era simba ennimiro ez’emizabbibu, olye ku bibala bya kwo.
30 (I)Ekitundu ekisigaddewo eky’ennyumba ya Isirayiri
    kyekiriva kiddamu ne kisimba emizi wansi, ne kibala ebibala waggulu.
31 (J)Mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifisseewo,
    ne mu Lusozi Sayuuni ne muva abo abaliwona.

Obuggya bwa Mukama ow’Eggye bulikituukiriza.

32 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku kabaka w’e Bwasuli, nti,

“ ‘Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino,
    wadde okulasayo akasaale.
Talikisemberera n’engabo
    newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.
33 (K)Ekkubo lye yakwata ng’ajja, omwo mw’aliddira,
    naye taliyingira mu kibuga kino,
    bw’ayogera Mukama.
34 (L)Ndirwanirira ekibuga kino nkirokole,
    ku lwange, ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’ ”

35 (M)Ekiro ekyo malayika wa Mukama n’agenda mu nkambi ey’Abasuuli n’atta abasajja emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Ku makya abantu bwe baagolokoka, laba nga bonna mirambo. 36 (N)Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ava mu nkambi, n’addayo ewuwe, n’agenda n’abeera e Nineeve.

1 Abakkolinso 10:1-13

Okulabula ku Bakatonda Abalala

10 (A)Abooluganda, musaana mutegeere nga bajjajjaffe bonna baakulemberwa ekire, era bonna ne bayita mu nnyanja, bwe batyo bonna ne bakulemberwa Musa ne babatizibwa mu kire ne mu nnyanja. Bonna baalyanga emmere y’emu ey’omwoyo, (B)era bonna baanywanga ekyokunywa kye kimu eky’omwoyo, kubanga bonna baanywanga mu lwazi olw’omwoyo olwabagobereranga era olwazi olwo yali Kristo. (C)Naye era abasinga obungi Katonda teyabasiima, bwe batyo ne bazikirizibwa mu ddungu.

Ebintu bino ebyabatuukako bitulabula obuteegomba bibi nga bo bwe baakola. (D)Temusinzanga bakatonda balala, ng’abamu ku bo bwe baali, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Abantu baatuula okulya n’okunywa ne basituka ne bakola effujjo.” (E)Tetusaana kubeera benzi ng’abamu ku bo bwe baali, abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu ku bo ne bafa mu lunaku lumu. (F)Era tetusaana kukema Kristo ng’abamu ku bo bwe baakola, emisota ne gibazikiriza. 10 (G)Era temwemulugunyanga ng’abamu ku bo bwe baakola, ne battibwa omuzikiriza.

11 (H)Ebyo byonna byabatuukako ng’ekyokulabirako gye tuli, era byawandiikibwa olw’okutulabula ffe abaliwo abatuukiddwako enkomerero. 12 (I)Kale alowooza ng’ayimiridde, yeekuumenga aleme okugwa. 13 (J)Tewali kukemebwa kubatuukako okutali kwa bantu; kyokka Katonda mwesigwa, kubanga taabalekenga kutuukibwako kukemebwa kwe mutayinza kugumira, naye anaabasobozesanga okubigumira, n’abalaga n’ekkubo ery’okubiwangula.

Matayo 8:18-27

Okugoberera Yesu

18 (A)Awo Yesu bwe yalaba ng’ekibiina ekimwetoolodde kinene n’alagira bawunguke balage ku ludda olulala. 19 Omu ku bawandiisi b’amateeka n’amusemberera n’amugamba nti, “Omuyigiriza, nnaakugobereranga wonna w’onoogendanga!”

20 (B)Yesu n’amuddamu nti, “Ebibe birina obunnya mwe bisula, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirina ebisu, naye Omwana w’Omuntu talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe.”

21 Omuyigirizwa we omu n’amugamba nti, “Mukama wange, nzikiriza mmale okugenda okuziika kitange.” 22 (C)Naye Yesu n’amuddamu nti, “Ngoberera! Leka abo abafu baziike abafu baabwe.”

23 Yesu n’ayingira mu lyato n’abayigirizwa be. 24 Awo omuyaga mungi ogw’amaanyi ne gujja ku nnyanja, amayengo amagulumivu ne gaba kumpi okubuutikira eryato. Naye yali yeebase. 25 Abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Mukama waffe, tulokole, tusaanawo!”

26 (D)Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono! Lwaki mutya bwe mutyo?” N’agolokoka n’aboggolera omuyaga. Omuyaga ne guggwaawo, ennyanja n’eteeka. 27 Naye abayigirizwa ne bawuniikirira nnyo! Ne beebuuza nti, “Muntu ki ono, omuyaga n’ennyanja gwe bigondera?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.