Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 102

Okusaba kw’oyo ali mu buyinike ng’ayigganyizibwa nga yeeyongedde okunafuwa, n’afukumula byonna ebimuli ku mutima mu maaso ga Mukama.

102 (A)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
    okkirize okukoowoola kwange kutuuke gy’oli.
(B)Tonneekweka
    mu biseera eby’obuyinike bwange.
Ntegera okutu kwo
    onnyanukule mangu bwe nkukoowoola!

(C)Kubanga ennaku zange zifuumuuka ng’omukka,
    n’amagumba gange gaaka ng’amanda.
(D)Omutima gwange gulinnyirirwa ng’omuddo, era guwotose;
    neerabira n’okulya emmere yange.
Olw’okwaziirana kwange okunene,
    nzenna nfuuse ŋŋumbagumba.
(E)Ndi ng’ekiwuugulu eky’omu ddungu,
    era ng’ekiwuugulu eky’omu nsiko.
(F)Nsula ntunula,
    nga ndi ng’ekinyonyi ekitudde kyokka ku kasolya k’ennyumba.
Abalabe bange banvuma olunaku lwonna;
    abo abanduulira bakozesa linnya lyange nga bakolima.
(G)Kubanga ndya evvu ng’alya emmere,
    n’amaziga gange ne geegattika mu kyokunywa kyange.
10 (H)Olw’obusungu n’okunyiiga kwo;
    onneegobyeko n’onsuula eyo.
11 (I)Ennaku zange ziri ng’ekisiikirize ky’olweggulo nga buziba;
    mpotoka ng’omuddo.

12 (J)Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe;
    erinnya lyo linajjukirwanga ab’omu mirembe gyonna.
13 (K)Olisituka n’osaasira Sayuuni,
    kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano;
    ekiseera kye wateekateeka kituuse.
14 Kubanga amayinja gaakyo abaweereza bo bagaagala nnyo,
    n’enfuufu y’omu kibuga ekyo ebakwasa ekisa.
15 (L)Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama;
    ne bakabaka bonna ab’ensi banaakankananga olw’ekitiibwa kyo.
16 (M)Kubanga Mukama alizimba Sayuuni buto,
    era n’alabika mu kitiibwa kye.
17 (N)Alyanukula okusaba kw’abanaku;
    talinyooma kwegayirira kwabwe.

18 (O)Bino leka biwandiikirwe ab’omu mirembe egirijja,
    abantu abatannatondebwa bwe balibisoma balyoke batendereze Mukama.
19 (P)Bategeere nti Mukama yatunula wansi ng’asinziira waggulu mu kifo kye ekitukuvu;
    Mukama yasinzira mu ggulu n’atunuulira ensi,
20 (Q)okuwulira okusinda kw’abasibe,
    n’okusumulula abo abasaliddwa ogw’okufa.
21 (R)Erinnya lya Mukama, liryoke litenderezebwe mu Sayuuni,
    bamutenderezenga mu Yerusaalemi;
22 abantu nga bakuŋŋaanye, awamu n’obwakabaka,
    okusinza Mukama.

23 Mukama ammazeemu amaanyi nga nkyali muvubuka;
    akendeezezza ku nnaku z’obulamu bwange.
24 (S)Ne ndyoka mmukaabira nti,
    “Ayi Katonda wange, tontwala nga nkyali mu makkati g’emyaka gy’obulamu bwange,
    ggw’abeera omulamu emirembe gyonna.
25 (T)Ku ntandikwa wassaawo omusingi gw’ensi;
    n’eggulu gy’emirimu gy’emikono gyo.
26 (U)Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera.
    Byonna birikaddiwa ng’ebyambalo.
    Olibikyusa ng’ebyambalo, ne bisuulibwa.
27 (V)Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera
    n’emyaka gyo tegirikoma.
28 (W)Abaana b’abaweereza bo baliba mu ddembe;
    ne bazzukulu baabwe banaabeeranga w’oli nga tebalina kye batya.”

Zabbuli 107:1-32

EKITABO V

Zabbuli 107–150

107 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale abanunule ba Mukama boogere bwe batyo;
    abo be yanunula mu mikono gy’abalabe;
(C)abo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba n’Ebuvanjuba,
    n’okuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo.

(D)Abamu baataataaganira mu malungu
    nga babuliddwa ekkubo eribatwala ku kibuga gye banaabeeranga.
Baalumwa ennyonta n’enjala,
    obulamu bwabwe ne butandika okusereba.
(E)Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu kabi;
    n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
(F)Yabakulembera butereevu
    n’abatuusa mu kibuga mwe baabeera.
Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
(G)Kubanga abalina ennyonta abanywesa,
    n’abayala abakkusa ebirungi.

10 (H)Abamu baatuulanga mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;
    abasibiddwa mu byuma era abali mu nnaku ennyingi;
11 (I)kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda,
    ne banyoomoola amagezi g’oyo Ali Waggulu Ennyo.
12 (J)Baakozesebwa emirimu egy’amaanyi, emitima gyabwe ne gijjula obuyinike;
    baagwanga wansi, naye nga tebalina abasitulawo.
13 Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu bizibu byabwe,
    era n’abawonya;
14 (K)n’abaggya mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;
    n’enjegere ezaali zibasibye n’azikutula.
15 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olwebikolwa bye eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
16 Kubanga enzigi ez’ebikomo azaasaayasa,
    n’emitayimbwa egy’ekyuma agimenyamu.

17 (L)Abamu baafuuka basirusiru olw’obujeemu bwabwe;
    ne babonaabona olw’ebikolwa byabwe ebibi.
18 (M)Ne batamwa emmere yonna, ne babulako katono ddala okufa.
19 Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu buzibu obwo,
    n’abawonya.
20 (N)Yabatumira ekigambo kye, n’awonya endwadde zaabwe;
    n’abalokola mu kuzikirira.
21 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
22 (O)Bamuleeterenga ebiweebwayo eby’okwebaza,
    era batendenga ebikolwa bye n’ennyimba ez’essanyu.

23 Abalala baasaabalira mu maato ku nnyanja;
    baali basuubuzi b’oku gayanja aganene.
24 Baalaba Mukama bye yakola,
    ebikolwa bye eby’ekitalo mu buziba bw’ennyanja.
25 (P)Kubanga yalagira omuyaga
    ne gusitula amayengo waggulu.
26 (Q)Ne gagulumira okutuuka ku ggulu, ate ne gakka wansi mu ddubi;
    akabenje ne kabayitirira, ne baggwaamu amaanyi.
27 Ne beesunda, eruuyi n’eruuyi ne baba ng’omutamiivu atagala;
    n’amagezi ne gabaggwaako.
28 Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu buzibu;
    n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
29 (R)Omuyaga yagusirisa,
    ennyanja n’etteeka.
30 Ne bajjula essanyu kubanga ennyanja yateeka;
    n’abakulembera n’abatuusa bulungi ku mwalo gwabwe.
31 Kale singa abantu beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
32 (S)Bamugulumizenga ng’abantu bakuŋŋaanye,
    era bamutenderezenga mu lukiiko lw’abakulu.

2 Bassekabaka 19:1-20

Okulokolebwa Kwa Yerusaalemi Kutegeezebwa

19 (A)Kabaka Keezeekiya olwawulira ebyo byonna, n’ayuza ebyambalo bye, n’ayambala ebibukutu, n’alaga mu yeekaalu ya Mukama. (B)N’atuma Eriyakimu eyali ssabakaaki, ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona ab’oku ntikko, nga bonna bambadde ebibukutu, okugenda eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi. Ne bamugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Keezeekiya nti Leero lunaku lwa buyinike, era lwa kunenyezebwa, era lwa kuswazibwa, ng’abaana bwe batuuka okuzaalibwa, naye ne wataba maanyi ga ku bazaala. (C)Kiyinzika okuba nga Mukama Katonda wo yawulidde obubaka bwonna obwa Labusake, mukama we kabaka w’e Bwasuli bwe yaweereza ng’anyooma Katonda omulamu, era nti amunenye olw’ebigambo byonna Mukama Katonda wo by’awulidde. Noolwekyo ssabira ekitundu ekikyasigaddewo.”

Awo abakungu ba Kabaka Keezeekiya bwe baatuuka eri Isaaya, (D)Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde, abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa. (E)Wuliriza! Nzija kumuteekamu omwoyo, awulire olugambo ku bikwata ku nsi ye addeyo mu nsi ye, era gye ndimuzikiririza n’ekitala.’ ”

(F)Labusake bwe yawulira nti kabaka w’e Bwasuli avudde mu Lakisi, n’avaayo, n’asanga kabaka ng’alwana ne Libuna.

Awo Sennakeribu n’afuna obubaka obukwata ku Tiraka kabaka w’e Esiyopya nti, “Laba amaliridde okulwana naawe,” era n’addamu n’atuma ababaka eri Keezeekiya ng’agamba nti, 10 (G)“Bwe muti bwe munagamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nti, ‘Tokkiriza Katonda wo gwe weesiga kukulimbalimba ng’akusuubiza nti Yerusaalemi teriweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’ 11 Ekyamazima wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye bakoze amawanga gonna, nga bagasaanyizaawo ddala. Olowooza nti olirokolebwa? 12 (H)Bakatonda baamawanga ag’e Gozani, n’e Kalani, n’e Lezefu, n’abantu ba Adeni abaali mu Terasali, abasaanyizibwawo bajjajjange, babalokola? 13 (I)Kabaka w’e Kamasi, kabaka w’e Alupadi, kabaka w’ekibuga kya Sefavayimu, oba kabaka w’e Kena oba kabaka w’e Yiva, bali ludda wa?”

Okusaba kwa Keezeekiya

14 Keezeekiya n’afuna ebbaluwa eyaleetebwa ababaka, n’agisoma. N’ayambuka n’agenda mu yeekaalu ya Mukama, n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama. 15 (J)Keezeekiya n’asaba eri Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, atuula waggulu ku bakerubi, ggwe wekka, ggwe Katonda ow’obwakabaka bwonna obw’ensi, era ggwe wakola eggulu n’ensi. 16 (K)Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire; ozibule amaaso go Ayi Mukama, olabe; owulire ebigambo bya Sennakeribu, byayogedde ng’avvoola Katonda omulamu.

17 “Kya mazima, Ayi Mukama, nti bakabaka b’e Bwasuli baazikiriza amawanga n’ensi zaabwe, 18 (L)ne basuula bakatonda baabwe mu muliro. Naye abo tebaali Katonda, baali mirimu gy’emikono gy’abantu, nga mbaawo n’amayinja, era kyebaava bazikirizibwa. 19 (M)Kaakano, Ayi Mukama, Katonda waffe, tukwegayiridde, otulokole mu mukono gwe, amawanga gonna ku nsi gamanye nga ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wekka.”

Isaaya Ayogera Ebyobunnabbi ku kugwa kwa Sennakeribu

20 (N)Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’aweereza Keezeekiya obubaka nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mpulidde okusaba kwo ku bikwata ku Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli.

1 Abakkolinso 9:16-27

16 (A)Kubanga bwe mbuulira Enjiri sisobola kwenyumiriza, kubanga mpalirizibwa okugibuulira. Era ziba zinsanze bwe sigibuulira. 17 (B)Kubanga bwe mbuulira Enjiri olw’okweyagalira, mbeera n’empeera, naye ne bwe mba nga ssaagala, nkikola lwa kubanga nakwasibwa omulimu ogwo. 18 (C)Kale empeera yange y’eruwa? Empeera yange kwe kubuulira Enjiri nga sisasulwa era nga sibasaba nsasulwe olw’omulimu ogwo nga bwe nsaanidde.

19 (D)Kubanga newaakubadde nga ndi wa ddembe eri abantu bonna, nfuuka omuddu wa bonna olw’okweyagalira, ndyoke ndeete bangi eri Kristo. 20 (E)Eri Abayudaaya nafuuka ng’Omuyudaaya ndyoke nsobole okubaleeta eri Kristo. N’eri abo abafugibwa amateeka nafuuka ng’afugibwa amateeka, newaakubadde nze nga ssifugibwa mateeka, ndyoke mbaleete eri Kristo. 21 (F)Eri abo abatalina mateeka ga Katonda, nafuuka ng’atafugibwa mateeka, newaakubadde nga ssaaleka mateeka ga Katanda, naye nga ndi mu mateeka ga Kristo, n’abo abatalina mateeka ndyoke mbaleete eri Kristo. 22 (G)Mu banafu nafuuka ng’omunafu ndyoke mbaleete eri Kristo. Eri abantu bonna nfuuse byonna, mu ngeri yonna ndyoke mbeeko beentusa ku kulokolebwa. 23 Byonna mbikola olw’enjiri, era nange ndyoke nfunire wamu nabo ebiva mu Njiri eyo.

24 (H)Temumanyi nga mu mpaka ez’okudduka abo bonna abazeetabamu badduka, naye awangula ekirabo abeera omu? Kale nammwe muddukenga bwe mutyo nga mufubirira okuwangula ekirabo. 25 (I)Buli muzanyi eyeetaba mu mpaka ateekwa okufuna okutendekebwa okw’amaanyi nga yeefuga mu bintu byonna. Ekyo bakikola balyoke bawangule engule eyonooneka. Naye ffe tulifuna engule eteyonooneka. 26 Noolwekyo nziruka nga nnina kye ŋŋenderera. Sirwana ng’omukubi w’ebikonde amala gawujja n’akuba ebbanga. 27 (J)Naye mbonereza omubiri gwange ne ngufuula omuddu wange, si kulwa nga mbuulira abalala Enjiri, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.

Matayo 8:1-17

Yesu Awonya Omugenge

Awo Yesu bwe yava ku lusozi ekibiina kinene ne kimugoberera. (A)Omusajja omugenge n’ajja gy’ali n’amuvuunamira ng’agamba nti, “Mukama wange, bw’obanga oyagala oyinza okunnongoosa.”

Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwatako n’amugamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago omusajja n’awona ebigenge. (B)Yesu n’amugamba nti, “Laba, tobaako muntu n’omu gw’obuulira, wabula genda weerage eri kabona otwaleyo n’ekirabo nga Musa bwe yalagira, kibeere obujulirwa gye bali.”

Okukkiriza kw’Omuserikale Omuruumi

Awo Yesu bwe yayingira mu Kaperunawumu, omuserikale Omuruumi, omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, n’ajja n’amwegayirira, ng’agamba nti, “Mukama omulenzi wange mulwadde nnyo, amaze ebbanga ddene ng’akoozimbye ali ku kitanda era abonaabona nnyo.”

Yesu n’amuddamu nti, “Nnajja ne mmuwonya.”

(C)Omukulu w’ekitongole n’agamba Yesu nti, “Mukama, sisaanira kukuyingiza mu nnyumba yange, yogera bwogezi ekigambo, omulenzi wange anaawona! Kubanga nange waliwo abakulu abantwala, ate nga nange nnina be nfuga. Bwe ndagira omu nti, ‘Genda,’ agenda, n’omulala nti, ‘Jjangu,’ era ajja, n’omuddu wange nti, ‘Kola kino,’ akikola.”

10 (D)Yesu bwe yawulira ekyo ne yeewunya nnyo, n’agamba abaali bamugoberera nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Sinnalabayo muntu alina kukkiriza nga kuno wadde mu lsirayiri! 11 (E)Mbagamba nti bangi baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba ne batuula wamu ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo mu bwakabaka obw’omu ggulu. 12 (F)Naye abaana b’obwakabaka, baligoberwa ebweru mu kizikiza ekikutte, eriba okukuba ebiwoobe n’okuluma obujiji.”

13 (G)Awo Yesu n’agamba omukulu w’ekitongole Omuruumi nti, “Ggenda. Nga bw’okkirizza kikukolerwe.” Omulenzi we n’awonerawo mu kiseera ekyo.

Yesu Awonya Nnyina wa muka Peetero

14 Awo Yesu bwe yayingira mu maka ga Peetero yasanga nnyina wa muka Peetero alwadde omusujja mungi, ng’agalamidde ku kitanda. 15 Yesu n’amukwata ku mukono omusujja ne gumuwonako, n’agolokoka n’amuweereza.

16 (H)Obudde bwe bwawungeera, ne bamuleetera abalwadde bangi abaaliko baddayimooni. N’ayogera bwogezi kigambo baddayimooni n’abagoba, era n’awonya n’abalala bonna abaali balwadde. 17 (I)Bwe kityo ekigambo ekyayogerebwa mu nnabbi Isaaya ne kituukirira bwe yagamba nti:

“Yatuwonya endwadde zaffe,
    era n’atwala obunafu bwaffe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.