Book of Common Prayer
Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.
83 (A)Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego.
Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.
2 (B)Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo;
abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.
3 (C)Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo;
basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.
4 (D)Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize,
n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”
5 (E)Basala olukwe n’omwoyo gumu;
beegasse wamu bakulwanyise.
6 (F)Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri,
n’eza Mowaabu, n’Abakagale;
7 (G)Gebali ne Amoni, ne Amaleki,
n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo.
8 (H)Era ne Asiriya yeegasse nabo,
okuyamba bazzukulu ba Lutti.
9 (I)Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani,
era nga bwe wakola Sisera ne Yabini[a] ku mugga Kisoni,
10 (J)abaazikiririra mu Endoli
ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.
11 (K)Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,[b]
n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,
12 (L)abaagamba nti, “Ka tutwale
amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”
13 (M)Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu,
obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.
14 (N)Ng’omuliro bwe gwokya ekibira;
n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi,
15 (O)naawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo,
obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi.
16 (P)Baswaze nnyo,
balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.
146 (A)Tendereza Mukama!
Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!
2 (B)Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;
nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
3 (C)Teweesiganga bafuzi,
wadde abantu obuntu omutali buyambi.
4 (D)Kubanga bafa ne bakka emagombe;
ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
5 (E)Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;
ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
6 (F)eyakola eggulu n’ensi
n’ennyanja ne byonna ebirimu,
era omwesigwa emirembe gyonna.
7 (G)Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,
n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.
Mukama asumulula abasibe.
8 (H)Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,
era awanirira abazitoowereddwa.
Mukama ayagala abatuukirivu.
9 (I)Mukama alabirira bannamawanga,
era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;
naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.
10 (J)Mukama anaafuganga emirembe gyonna,
Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.
Mutendereze Mukama!
147 (K)Mutendereze Mukama!
Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe;
kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.
2 (L)Mukama azimba Yerusaalemi;
era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
3 Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,
era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
4 (M)Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;
era buli emu n’agituuma erinnya.
5 (N)Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,
n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
6 (O)Mukama awanirira abawombeefu,
naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.
7 (P)Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;
mumukubire entongooli ezivuga obulungi.
8 (Q)Mukama abikka eggulu n’ebire,
ensi agitonnyeseza enkuba,
n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.
9 (R)Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.
10 (S)Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi,
wadde mu magulu g’omuntu,
11 wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa,
era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.
12 Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi,
tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni,
13 kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza,
n’abantu bo abasulamu n’abawa omukisa.
14 (T)Aleeta emirembe ku nsalo zo;
n’akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.
15 (U)Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
ekigambo kye ne kibuna mangu.
16 (V)Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru,
n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu.
17 Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja;
bw’aleeta obutiti ani ayinza okubusobola?
18 (W)Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka;
n’akunsa empewo, amazzi ne gakulukuta.
19 (X)Yategeeza Yakobo ekigambo kye;
Isirayiri n’amanya amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye.
20 (Y)Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo;
amawanga amalala tegamanyi mateeka ge.
Mutendereze Mukama!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
85 (A)Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama;
Yakobo omuddizza ebibye.
2 (B)Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe,
n’ebibi byabwe byonna n’obibikkako.
3 (C)Ekiruyi kyo kyonna okirese,
n’oleka n’obusungu bwo obubuubuuka.
4 (D)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda w’obulokozi bwaffe,
oleke okutusunguwalira.
5 (E)Onootusunguwaliranga emirembe gyonna?
Onootunyiigiranga emirembe n’emirembe?
6 (F)Tolituzaamu ndasi,
abantu bo basanyukirenga mu ggwe?
7 Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda,
era otuwe obulokozi bwo.
8 (G)Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
9 (H)Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.
10 (I)Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 (J)Obwesigwa bulose mu nsi,
n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 (K)Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.
Okusaba kwa Dawudi.
86 (L)Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire okusaba kwange, onnyanukule,
kubanga ndi mwavu atalina kintu.
2 (M)Okuume obulamu bwange, kubanga nkuweereza n’obwesigwa.
Katonda wange, ondokole
nze omuddu wo akwesiga.
3 (N)Onsaasire, Ayi Mukama,
kubanga olunaku lwonna nsiiba nkukoowoola.
4 (O)Osanyuse omuweereza wo Ayi Mukama;
kubanga omwoyo gwange
nguyimusa eyo gy’oli.
5 (P)Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama;
n’abo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.
6 Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama;
owulirize eddoboozi erikaabirira ekisa kyo.
7 (Q)Bwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga;
kubanga ononnyanukulanga.
8 (R)Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama;
era teriiyo akola bikolwa ng’ebibyo.
9 (S)Ayi Mukama amawanga gonna ge watonda
ganajjanga mu maaso go ne gakusinza;
era ne bagulumiza erinnya lyo ery’ekitiibwa.
10 (T)Kubanga oli mukulu, era okola ebyewunyisa;
ggwe wekka ggwe Katonda.
11 (U)Onjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama,
ntambulirenga mu mazima go;
ompe omutima omunywevu ogutasagaasagana,
ntyenga erinnya lyo.
12 Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, n’omutima gwange gwonna;
erinnya lyo nnaaligulumizanga emirembe gyonna.
13 Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi;
wawonya omwoyo gwange amagombe.
14 (V)Ayi Katonda, ab’amalala bannumba,
ekibinja ky’abantu abataliimu kusaasira bannoonya okunzita,
be bantu abatakufiirako ddala.
15 (W)Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa,
olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.
16 (X)Onkyukire, onsaasire,
ompe amaanyi go nze omuweereza wo;
nze omwana w’omuweereza wo omukazi ondokole.
17 Nkolera akabonero akalaga ebirungi byo,
abalabe bange bakalabe baswale;
kubanga ggwe, Ayi Mukama, onnyambye era onzizizzaamu amaanyi.
9 (A)Nnabbi Erisa n’ayita omu ku bannabbi abato n’amugamba nti, “Weesibe ekimyu, otwale eccupa eno ey’amafuta, ogende nayo e Lamosugireyaadi. 2 Bw’otuuka eyo, onoonye Yeeku mutabani wa Yekosafaati, muzzukulu wa Nimusi, omuggye mu banne, omutwale mu kisenge eky’omunda. 3 (B)Oddire eccupa ey’amafuta, ogafuke ku mutwe gwe, oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Nkufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri.’ Oluvannyuma oggulewo oluggi odduke, so tolwawo n’akatono.”
4 Awo omuvubuka nnabbi n’agenda e Lamosugireyaadi. 5 Bwe yatuuka, n’asanga ng’abaserikale abakulu ab’omu ggye bakuŋŋaanye n’ayogera nti, “Nnina obubaka bwo, ssebo omuduumizi.” Yeeku n’amubuuza nti, “Bw’ani ku ffe ffenna?” N’amuddamu nti, “Bubwo, ggwe omuduumizi.”
6 (C)Yeeku n’asituka n’ayingira mu nnyumba, nnabbi n’amufukako amafuta, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nkufukako amafuta okuba kabaka w’abantu ba Mukama, Abayisirayiri. 7 (D)Olizikiriza ennyumba ya Akabu mukama wo, nga mpalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaddu ba Mukama bonna, Yezeberi gwe yayiwa. 8 (E)Ennyumba yonna eya Akabu erisaanyizibwawo, era ndizikiririza ddala buli mwana wabulenzi, oba muddu oba wa ddembe mu Isirayiri. 9 (F)Ndifuula ennyumba ya Akabu okuba ng’ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, era n’okufaanana ng’ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya. 10 (G)N’embwa ziririira Yezeberi mu kibanja eky’e Yezuleeri era tewaliba muntu n’omu amuziika.’ ” Oluvannyuma olw’okwogera ebyo n’aggulawo oluggi n’adduka. 11 (H)Yeeku bwe yafuluma okugenda eri bakungu banne, omu ku bo n’amubuuza nti, “Kiri bulungi? Omulalu oyo abadde akunoonyeza ki?”
Yeeku n’addamu nti, “Omusajja mumumanyi n’enjogera ye mugimanyi.”
12 Ne bamugamba nti, “Ekyo si kituufu! Tutegeeze amazima.” Yeeku n’ayogera nti, “Bw’ati bw’aŋŋambye nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti nkufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri.’ ”
13 (I)Ne banguwa okuggyako eminagiro gyabwe, ne bagyaliira wansi ku madaala, ne bafuuwa ekkondeere, nga bwe baleekaana nti, “Yeeku ye kabaka.”
Yeeku atta Yolaamu ne Akaziya
14 (J)Awo Yeeku mutabani wa Yekosafaati, muzzukulu wa Nimusi n’asalira Yolaamu olukwe. Yolaamu wamu ne Isirayiri yenna baali bakuuma e Lamosugireyaadi, Kazayeeri kabaka w’e Busuuli aleme okubalumba. 15 (K)Naye Yolaamu yali azeeyo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu Abasuuli bye baali bamutaddeko, mu kulwanagana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Yeeku n’ayogera nti, “Bwe muba nga bwe mutyo bwe muwulira, kale waleme okubaawo omuntu yenna atoloka okuva mu kibuga anaabunyisa amawulire mu Yezuleeri.” 16 (L)N’alinnya mu ggaali lye, n’agenda e Yezuleeri, kubanga Yolaamu yali awummulidde eyo, nga ne Akaziya aserengese okugenda okumulabako.
Ekibi eky’obwenzi
12 (A)Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola, mu mateeka, naye byonna tebinsanira. Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola naye sigenda kufugibwa kintu na kimu. 13 (B)Ebyokulya bya lubuto, n’olubuto lwa byakulya. Naye byombi Katonda alibizikiriza. Omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama. 14 (C)Era Katonda eyazuukiza Mukama waffe alituzuukiza olw’amaanyi ge. 15 (D)Temumanyi ng’emibiri gyammwe bitundu bya Kristo? Ate nzirire ebitundu bya Kristo mbifuule eby’omwenzi? Kikafuuwe. 16 (E)Oba temumanyi nti omuntu yenna eyeegatta n’omwenzi, emibiri gyammwe gifuuka gumu? Kubanga kigambibwa nti, “Bombi balifuuka omubiri gumu.” 17 (F)Naye eyeegatta ne Mukama waffe bafuuka omu mu mwoyo.
18 (G)Mudduke obwenzi. Buli kibi omuntu ky’akola kiba ku mubiri, naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye yennyini. 19 (H)Oba temumanyi ng’omubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era n’emibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe? 20 (I)Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.
Okuwa Abaavu
6 (A)“Mwegendereze, ebikolwa byammwe eby’obutuukirivu obutabikoleranga mu lujjudde lw’abantu nga mwagala babasiime, kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo Kitammwe ali mu ggulu talibawa mpeera.”
2 “Bw’obanga ogabira omwavu ekintu teweeraganga nga bannanfuusi bwe bakola ne basooka okufuuwa eŋŋombe mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, nga bagenda okugabira abaavu, abantu babalabe babawe ekitiibwa. Ddala ddala mbagamba nti Abo, eyo y’empeera yaabwe. 3 Naye ggwe bw’obanga ogabira omuntu yenna ekintu omukono gwo ogwa kkono guleme kumanya ogwa ddyo kye gukola. 4 (B)Kale Kitaawo amanyi ebyama byonna alikuwa empeera.”
Okusaba
5 (C)“Era bwe mubanga musaba mwekuume obutaba nga bannanfuusi abaagala okweraga nga bwe bali bannaddiini, ne basabira mu makuŋŋaaniro ne ku nguudo mu lujjudde, abantu babalabe. Abo, eyo y’empeera yokka gye balifuna. 6 (D)Naye ggwe bw’obanga osaba, oyingiranga mu nnyumba yo, ne weggalira mu kisenge kyo n’osabira eyo mu kyama. Kitaawo ategeera ebyama byo byonna alikuwa by’omusabye.
Okusiiba
16 (A)“Bwe musiibanga, temukiraganga nga bannanfuusi bwe bakola. Kubanga batunuza ennaku balyoke balabike mu bantu nti basiiba, mbategeeza ng’abo, eyo y’empeera yokka gye bagenda okufuna. 17 Naye ggwe bw’osiibanga olongoosanga enviiri zo n’onaaba ne mu maaso, 18 (B)abantu baleme kutegeera nti osiiba, okuggyako Kitaawo ali mu ggulu era alaba mu kyama alikuwa empeera.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.