Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 80

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu.

80 (A)Wulira, Ayi Omusumba wa Isirayiri;
    ggwe akulembera Yusufu ng’alunda ekisibo kyo;
ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu bakerubi, twakire.
    (B)Amaanyi go galabike mu Efulayimu,
ne mu Benyamini ne mu Manase,[a]
    ojje otulokole.

(C)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda,
    otutunuulize amaaso ag’ekisa,
    otulokole.

Ayi Katonda, Mukama ow’Eggye,
    olituusa ddi okusunguwalira okusaba kw’abantu bo?
(D)Wabaliisa emmere ejjudde amaziga;
    n’obanywesa ebikopo by’amaziga musera.
(E)Otufudde eky’okusekererwa mu baliraanwa baffe,
    n’abalabe baffe ne batuduulira.

Tukomyewo gy’oli, Ayi Mukama ow’Eggye,
    otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
    tulokolebwe.

(F)Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri;
    n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.
Wagulongooseza ettaka, ne gumera,
    emirandira ne ginywera bulungi, ne gwagaagala mu nsi.
10 Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi,
    n’amatabi gaagwo ne gaba ng’emivule egy’amaanyi.
11 (G)Amatabi gaagwo ne gatuuka ku Nnyanja eya Wakati
    n’amatabi g’ennyanja gaayo ne gatuuka ku Mugga Fulaati.

12 (H)Kale wamenyera ki ebisenge byagwo,
    abayitawo bonna ne beenogera ebibala byagwo?
13 (I)Embizzi ez’omu kibira zigwonoona,
    na buli nsolo ey’omu nsiko egulya.
14 (J)Tukyukire, Ayi Katonda ow’Eggye,
    otunuulire ensi ng’osinziira mu ggulu;
olabirire omuzabbibu guno.
15     Gwe wagwesimbira n’omukono gwo ogwa ddyo,
    era ggwe weerondera omwana wo.

16 (K)Bagutemye, ne bagwokya omuliro;
    abakoze ekyo banenye mu bukambwe, obazikirize.
17 Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala
    era omwana oyo gwe weerondera.
18 Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega.
    Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.

19 Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,
    otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
    tulyoke tulokolebwe.

Zabbuli 77

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.

77 (A)Nnaakaabirira Katonda ambeere,
    ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire.
(B)Bwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama,
    ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa;
    emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.

(C)Nakujjukiranga, Ayi Katonda ne nsinda,
    ne nfumiitiriza emmeeme yange n’ezirika.
Tewaŋŋanya kwebaka; natawaanyizibwa nnyo ne sisobola kwogera.
(D)Ne ndowooza ku biseera eby’edda,
    ne nzijukira emyaka egyayita.
Najjukiranga ennyimba zange ekiro,
    ne nfumiitiriza nga bwe neebuuza mu mutima gwange nti:

(E)“Mukama anaatusuuliranga ddala ennaku zonna
    naataddayo kutulaga kisa kye?
(F)Okwagala kwe okutaggwaawo kukomedde ddala?
    Kye yasuubiza kibulidde ddala emirembe n’emirembe?
(G)Katonda yeerabidde ekisa kye?
    Asunguwalidde ddala ne yeggyako n’okusaasira kwe?”

10 (H)Awo ne ndowooza nti, “Ebyo bye mmanyi
    eby’emyaka emingi eby’omukono ogwa ddyo ogw’oyo Ali Waggulu Ennyo.”
11 (I)Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama,
    weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda.
12 Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi;
    nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
13 (J)Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu.
    Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
14 Ggwe Katonda akola eby’amagero;
    era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
15 (K)Wanunula abantu bo n’omukono gwo,
    abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu.

16 (L)Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda;
    amazzi bwe gaakulaba ne gatya,
    n’obuziba ne bukankanira ddala.
17 (M)Ebire byayiwa amazzi
    ne bivaamu n’okubwatuka,
    era n’obusaale bwo ne bubuna.
18 (N)Eddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta
    okumyansa kwo ne kumulisa ensi.
    Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa.
19 (O)Ekkubo lyo lyali mu nnyanja;
    wayita mu mazzi amangi,
    naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.

20 (P)Wakulembera abantu bo ng’ekisibo,
    nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.

Zabbuli 79

Zabbuli ya Asafu.

79 (A)Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga;
    boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa,
    ne kifuuka entuumo.
(B)Emirambo gy’abaweereza bo bagifudde
    mmere ya nnyonyi ez’omu bbanga,
    n’emibiri gy’abatukuvu bo giweereddwa ensolo ez’omu nsiko.
(C)Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi
    okwetooloola Yerusaalemi,
    so nga abafudde tewali muntu abaziika.
(D)Baliraanwa baffe batuyisaamu amaaso,
    era tufuuse ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.

(E)Ayi Mukama olitusunguwalira kutuusa ddi, nnaku zonna?
    Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng’omuliro?
(F)Obusungu bwo bubuubuukire ku mawanga
    agatakumanyi,
ne ku bwakabaka
    obutakoowoola linnya lyo.
Kubanga bazikirizza Yakobo,
    ne basaanyaawo ensi ye.

(G)Totubalira kibi kya bajjajjaffe;
    tukusaba oyanguwe okutusaasira
    kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo.
(H)Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo,
    Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe
    olw’erinnya lyo.
10 (I)Lwaki abamawanga babuuza nti,
    “Katonda waabwe ali ludda wa?”

Kkiriza okuwalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bo ogwayiyibwa,
    kumanyibwe mu mawanga gonna nga naffe tulaba.
11 Wuliriza okusinda kw’omusibe;
    okozese omukono gwo ogw’amaanyi
    owonye abo abasaliddwa ogw’okufa.
12 (J)Ayi Mukama, baliraanwa baffe abakuduulira,
    bawalane emirundi musanvu.
13 (K)Kale nno, ffe abantu bo era endiga ez’omu ddundiro lyo,
    tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna;
    buli mulembe gulyoke gukutenderezenga emirembe gyonna.

2 Samwiri 7:1-17

Ekisuubizo kya Katonda eri Dawudi

(A)Awo olwatuuka kabaka n’atereera mu lubiri lwe, Mukama n’amuwa okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola. (B)N’agamba Nasani nnabbi nti, “Laba ntudde mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye essanduuko ya Katonda eri mu weema.” Nasani n’addamu kabaka nti, “Genda okole ng’omutima gwo bwe gukugamba, kubanga Mukama ali wamu naawe.”

Ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti,

(C)“Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ggwe olinzimbira ennyumba ey’okubeeramu? (D)Sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe naggya Abayisirayiri mu Misiri, ne leero. Ntambudde okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala nga mbeera mu weema. (E)Mu bifo byonna bye ntambudde n’Abayisirayiri bonna, nnina ekigambo n’ekimu kye nagamba abafuzi baabwe be nalagira okukulembera abantu bange, Isirayiri nti, “Kiki ekibalobedde okunzimbira ennyumba ey’emivule?” ’ 

(F)“Kaakano tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, ow’Eggye nti, “Nakuggya mu ddundiro gye walundiranga endiga ne nkufuula omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. (G)Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja ab’ekitiibwa ennyo mu nsi. 10 (H)Ndifunira abantu bange Isirayiri ekifo ekyabwe ku bwabwe, balemenga okutawanyizibwanga. Abantu ababi tebalibacocca nate, nga bwe baakolanga olubereberye, 11 (I)okuva lwe nalonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Era ndikuwa ebiseera eby’emirembe abalabe bo baleme okukuyigganya.

“ ‘ “Mukama akugamba nti Mukama Katonda yennyini, alinyweza ennyumba yo. 12 (J)Ennaku zo bwe ziriggwaako, n’owummula ne bajjajjaabo, ndikuza ezzadde lyo eririva munda yo likusikire, era ndinyweza obwakabaka bwe. 13 (K)Oyo yalizimbira Erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe ennaku zonna. 14 (L)Nnaabeeranga kitaawe, naye aliba mwana wange. Bw’anasobyanga nnaamukangavvulanga n’omuggo ogw’abantu n’enga ez’abantu. 15 (M)Naye okwagala kwange tekumuvengako, nga bwe kwava ku Sawulo, gwe naggya mu maaso go. 16 (N)Ennyumba yo n’obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso gange, era entebe yo ey’obwakabaka erinywezebwa ennaku zonna.” ’ ”

17 Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo byonna eby’okubikkulirwa kwe.

Ebikolwa by’Abatume 18:1-11

Pawulo mu Kkolinso

18 (A)Oluvannyuma lw’ebyo, Pawulo n’asitula okuva mu Asene n’alaga mu Kkolinso. (B)Eyo gye yasisinkana omusajja Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalibwa mu Ponto, nga yaakava mu ltaliya ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulawudiyo yali awadde ekiragiro okugoba Abayudaaya bonna mu Ruumi. (C)Olw’okuba nga baali bakola omulimu gwe gumu ogw’okukola weema, n’abeeranga nabo, era n’akolanga nabo. (D)Buli lwa Ssabbiiti Pawulo yabeeranga mu kkuŋŋaaniro ng’amatiza Abayudaaya n’Abayonaani.

(E)Era Siira ne Timoseewo bwe baatuuka nga bava mu Makedoniya, Pawulo n’awaayo ekiseera kye kyonna mu kubuulira Ekigambo n’okukakasa Abayudaaya nti Yesu ye Kristo. (F)Naye Abayudaaya bwe baatandika okumuwakanya, era n’okuvvoola erinnya lya Yesu, n’akunkumula ebyambalo bye, n’abagamba nti, “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze ndi mulongoofu. Okuva kaakano nnaagendanga eri Abaamawanga.”

Awo Pawulo n’ava eyo n’alaga mu nnyumba ya Tito Yusito, eyasinzanga Katonda, ng’amaka ge galiraanye n’ekkuŋŋaaniro. (G)Kulisupo, eyali omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’ennyumba ye yonna, ne bakkiriza Mukama waffe, n’abalala bangi ku Bakkolinso abaawulira ne bakkiriza era ne babatizibwa.

Awo ekiro kimu Mukama n’ayogera ne Pawulo mu kwolesebwa, n’amugamba nti, “Totya! Weeyongere okubuulira, so tosirika! 10 (H)Kubanga ndi wamu naawe, tewali ayinza kukulumba n’akukola kabi. Era mu kibuga muno mulimu abantu bange bangi.” 11 Bw’atyo Pawulo n’abeerayo ebbanga lya mwaka mulamba n’ekitundu ng’ayigiriza ekigambo kya Katonda.

Makko 8:11-21

Abafalisaayo Basaba Yesu Akabonero Akava mu Ggulu

11 (A)Abafalisaayo ne bajja gy’ali ne batandika okuwakana naye nga banoonya akabonero akava mu ggulu nga bamugezesa. 12 (B)Yesu n’assa ekikkowe, n’abagamba nti, “Lwaki omulembe guno gunoonya akabonero? Ddala ddala mbagamba nti, Tewali kabonero kajja kuweebwa mulembe guno.” 13 N’abaviira n’asaabala mu lyato n’alaga ku ludda olulala olw’ennyanja.

Ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’ekya Kerode

14 Abayigirizwa beerabira okutwala emigaati egiwera; baalina omugaati gumu gwokka mu lyato. 15 (C)Yesu n’abakuutira nti, “Mwekuume ekizimbulukusa eky’Abafalisaayo n’ekizimbulukusa ekya Kerode.”

16 Ne boogeraganya bokka ne bokka nti tebalina migaati.

17 (D)Yesu bwe yakimanya n’abagamba nti, “Lwaki mugambagana nti temulina migaati? Era temunnategeera? Emitima gyammwe gikyali mikakanyavu? 18 Lwaki temulaba, ate nga mulina amaaso? Lwaki temuwulira ate nga mulina amatu? Temujjukira? 19 (E)Mwerabidde emigaati etaano gye namenyamenyamu okuliisa abantu enkumi ettaano? Ebisero byali bimeka eby’obukunkumuka bye mwakuŋŋaanya?”

Ne baddamu nti, “Kkumi na bibiri.”

20 (F)N’ababuuza nti, “Ate abantu bwe baali enkumi ennya n’emigaati omusanvu, mwakuŋŋaanya ebisero by’obutundutundu bwe baalemwa bimeka?”

Ne baddamu nti, “Musanvu.” 21 (G)N’abagamba nti, “Era temunnategeera?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.