Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 140

Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.

140 (A)Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,
    omponye abantu abakambwe;
(B)abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;
    abanoonya entalo buli kiseera.
(C)Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;
    ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.

(D)Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;
    omponye abantu abakambwe
    abateesa okunkyamya.
(E)Abantu ab’amalala banteze omutego;
    banjuluzza ekitimba kyabwe;
    ne batega emitego mu kkubo lyange.

(F)Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
    Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
(G)Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,
    ggwe engabo yange mu lutalo.
(H)Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,
    era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;
    baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.

(I)Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe
    zibeekyusizeeko baboneebone.
10 (J)Amanda agaaka omuliro gabagwire;
    basuulibwe mu muliro,
    bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.
11 (K)Tokkiriza balimba kweyongera bungi;
    abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.

12 (L)Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
13 (M)Abatuukirivu banaakutenderezanga,
    era w’oli we banaabeeranga.

Zabbuli 142

Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.

142 (A)Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
    neegayirira Mukama ansaasire.
(B)Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
    ne mmwanjulira ebinteganya byonna.

(C)Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
    gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
(D)Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
    sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.

(E)Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
    nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
    ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”

(F)Owulire okukaaba kwange,
    kubanga njeezebwa nnyo!
Mponya abanjigganya,
    kubanga bansinza nnyo amaanyi.
(G)Nziggya mu kkomera,
    ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo.
Abatuukirivu balinneetooloola,
    ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.

Zabbuli 141

Zabbuli Ya Dawudi.

141 (A)Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi!
    Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola.
(B)Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go,
    n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.

Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange,
    era bwe njogera onkomeko.
(C)Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi,
    n’okwemalira mu bikolwa ebibi;
nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu,
    wadde okulya ku mmere yaabwe.

(D)Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa;
    muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange;
    sijja kugagaana.
Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe.
    Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango,
    olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima.
(E)Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike,
    n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.”

(F)Naye nze amaaso ngatadde ku ggwe, Ayi Mukama Katonda;
    mu ggwe mwe neekwese, tondeka nga sirina anambeera!
(G)Nkuuma omponye omutego gwe banteze,
    n’ebitimba by’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
10 (H)Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babigwemu, kyokka nze mpone.

Zabbuli 143

Zabbuli Ya Dawudi.

143 (A)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
    wulira okwegayirira kwange!
Ggwe omwesigwa
    era omutuukirivu jjangu ombeere.
(B)Tonsalira musango,
    kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi;
    anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
(C)Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi,
    n’omutima gwange gwennyise.
(D)Nzijukira ennaku ez’edda,
    ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna,
    ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
(E)Ngolola emikono gyange gy’oli,
    ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.

(F)Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama,
    kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi.
Tonkisa maaso go,
    nneme okufaanana ng’abafu.
(G)Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
    kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
    kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
(H)Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange,
    kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10 (I)Njigiriza okukola by’oyagala,
    kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
    antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.

11 (J)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume,
    mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
12 (K)Omalewo abalabe bange olw’okwagala kwo,
    ozikirize n’abanjigganya bonna,
    kubanga nze ndi muddu wo.

2 Samwiri 19:24-43

24 (A)Mefibosesi muzzukulu wa Sawulo naye n’aserengeta okusisinkana kabaka; yali tanaabanga bigere bye newaakubadde okumwa ekirevu kye newaakubadde okwoza engoye ze, okuva ku lunaku kabaka lwe yagenderako okutuusa ku lunaku lwe yakomawo emirembe. 25 (B)Awo bwe yatuuka okuva e Yerusaalemi n’asisinkana kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Kiki ekyakulobera okugenda nange Mefibosesi?”

26 (C)N’addamu nti, “Mukama wange, kabaka, okimanyi nga omuweereza wo mulema. Nagamba omuddu wange nti, ‘Ntekerateekera endogoyi, njebagale, ŋŋende ne kabaka,’ naye n’ambuzaabuza, n’abulawo. 27 (D)Yajja eri mukama wange kabaka n’ayogera ku muddu wo ebya kalebule. Naye mukama wange kabaka ali nga malayika wa Katonda, noolwekyo kola nga bw’osiima. 28 (E)Ab’ennyumba ya jjajjange bonna baali basaanira kufa bufi mu maaso ga mukama wange kabaka, naye nange n’omala gansaasira n’onzikiriza okuba ku abo abatuula ku mmeeza yo. Kale kiki kye sifunye okuva eri kabaka?”

29 Awo kabaka n’amugamba nti, “Lwaki weeyongera okweyogerako? Ndagidde kaakano, ggwe ne Ziba mugabane ettaka eryo.” 30 Mefibosesi n’agamba kabaka nti, “Atwale lyonna, kubanga mukama wange kabaka akomyewo mirembe mu bwakabaka bwe.”

31 (F)Baluzirayi Omugireyaadi naye n’aserengeta okuva e Logerimu n’agenda okusomosa kabaka, Yoludaani. 32 (G)Baluzirayi yali musajja mukadde nnyo, ng’awezezza emyaka kinaana, era yali agabiridde kabaka ebyokulya we yabeerera e Makanayimu kubanga yali musajja mugagga nnyo. 33 Awo kabaka n’agamba Baluzirayi nti, “Somoka nange, tugende ffenna e Yerusaalemi, n’akulabiriranga.”

34 Naye Baluzirayi n’addamu kabaka nti, “Nnina ennaku meka okuba omulamu, ndyoke ŋŋende ne kabaka e Yerusaalemi? 35 (H)Mpezezza emyaka kinaana, olowooza nkyayinza okwawula ekirungi n’ekibi? Olowooza nga omuddu wo akyayinza okutegeera ky’alya ne ky’anywa? Nkyayinza okuwuliriza amaloboozi g’abasajja abayimba n’abakyala abayimbi? Lwaki nzitoowerera mukama wange kabaka? 36 Omuweereza wo anasomosa busomosa kabaka, Yoludaani, naye nga siraba kiki enkimpeesa empeera eyenkana awo. 37 (I)Nkwegayiridde, kkiriza omuddu wo addeyo, nfiire mu kibuga kyange okumpi n’ebiggya bya kitange ne mmange. Naye omuddu wo Kimamu wuuyo. Leka asomoke ne mukama wange kabaka, onoomukolera byonna nga bw’onoosiima.”

38 Kabaka n’ayogera nti, “Kale Kimamu anaasomoka nange, era ndimukolera nga bw’olisiima; ne kyonna ky’onooyagala n’akikukolera.”

39 (J)Awo abantu bonna ne basomoka Yoludaani, kabaka n’asomoka nabo. Kabaka n’anywegera Baluzirayi n’amusabira omukisa, n’addayo ewuwe. 40 Kabaka n’agenda e Girugaali ne Kimamu n’agenda naye; abantu bonna aba Yuda, n’ekimu kyakubiri ku bantu ba Isirayiri ne bawerekera kabaka.

41 (K)Oluvannyuma lwe bbanga ttono, abasajja bonna aba Isirayiri ne bagenda eri kabaka, ne bagamba kabaka nti, “Lwaki baganda baffe, abasajja aba Yuda, babba kabaka, ne bamutwala ye n’ennyumba ye, ne bamusomosa Yoludaani n’abasajja be?”

42 Abasajja bonna aba Yuda ne baddamu abasajja ba Isirayiri nti, “Ekyo twakikola kubanga tuli ba musaayi gumu naye. Kiki ekibatabudde mu nsonga eyo? Tulina bye tulidde ku bya kabaka? Oba mulowooza nga tulina ebirabo bye tugabanye?”

43 (L)Awo abasajja ba Isirayiri ne baddamu abasajja ba Yuda nti, “Okusooka byonna, obwakabaka tubulinamu emigabo kkumi. N’ekyokubiri, Dawudi wa ku luganda lwaffe n’okusinga mmwe. Kale lwaki mwatunyooma? Si ffe twasooka okwogera ku ky’okukomyawo kabaka waffe?”

Naye ebigambo eby’abasajja ba Yuda ne biba bisongovu nnyo n’okusinga ebigambo eby’abasajja ba Isirayiri.

Ebikolwa by’Abatume 24:24-25:12

24 (A)Awo nga wayiseewo ennaku ntonotono, Ferikisi n’ajja ne mukyala we Dulusira, eyali Omuyudaaya. N’atumya Pawulo, ne bamuwuliriza ng’abategeeza ku kukkiriza Kristo Yesu. 25 (B)Awo Pawulo bwe yagenda abannyonnyola ebikwata ku butuukirivu, n’okwefuga mu bikolwa, n’okusalirwa omusango okugenda okujja, Ferikisi n’atya nnyo, n’agamba Pawulo nti, “Ebyo binaagira bimala! Kaakano genda, bwe ndifuna ekiseera ekirungi ndyongera okukuyita.” 26 Era Ferikisi yali asuubira nti Pawulo ajja kumuwa enguzi, kyeyava amutumya emirundi mingi n’ayogera naye.

27 (C)Ne wayitawo emyaka ebiri, Polukiyo Fesuto n’adda mu bigere bya Ferikisi. Naye Ferikisi olw’okwagala Abayudaaya bamusiime, bwe yali agenda n’aleka nga Pawulo musibe mu kkomera.

Pawulo Ajulira ewa Kayisaali

25 (D)Fesuto yamala ennaku ssatu mu Kayisaliya ng’azze okutandika emirimu gye emiggya, n’asitula okugenda e Yerusaalemi. (E)Bwe yali ali eyo, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bamutegeeza bye baali bavunaana Pawulo. Ne bamwegayirira abayambe atumye Pawulo aleetebwe mu Yerusaalemi, kubanga baali bategeka bamuttire mu kkubo. (F)Naye Fesuto n’abaddamu nti, “Nga Pawulo bw’ali mu Kayisaliya, ate nga nange nzija kuddayo mu nnaku ntono, abakulembeze mu nsonga ezo tugende nabo nga nzirayo.” Obanga waliwo omusango Pawulo gw’azizza baguleete mu mbuga z’amateeka awozesebwe.

(G)Oluvannyuma lw’ennaku nga munaana oba kkumi, Fesuto n’aserengeta mu Kayisaliya, era bwe yatuuka, enkeera n’alagira Pawulo aleetebwe mu mbuga z’amateeka. (H)Awo Pawulo bwe yaleetebwa, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne baleeta emisango mingi egy’amaanyi bamuvunaane kyokka nga tebayinza kulaga bukakafu bwagyo. (I)Pawulo n’awoza ng’agamba nti, “Simenyanga mateeka ga Kiyudaaya n’akamu, era siyonoonanga Yeekaalu, so sijeemeranga Kayisaali.” (J)Fesuto, olw’okwagala okusanyusa Abayudaaya, n’abuuza Pawulo nti, “Oyagala okugenda e Yerusaalemi gy’oba owoleza emisango gino mu maaso gange?”

10 Awo Pawulo n’addamu nti, “Kaakano nyimiridde mu maaso g’embuga ya Kayisaali era we nteekwa okuwozesebwa. Naawe omanyidde ddala bulungi nga bwe sirina musango gwonna gwe nazza ku Bayudaaya. 11 Naye obanga waliwo omusango gwe nazza, ne gunsaanyiza okufa, nange sigaana kufa! Naye obanga siriiko musango, ng’emisango gyonna Abayudaaya bano gye bankakaatikako gya bulimba bwereere, ggwe tolina kw’osinziira wadde omuntu omulala yenna, okumpaayo gye bali okunzita. Njulidde eri Kayisaali.” 12 Fesuto, bwe yamala okuteesaamu n’abamuwa amagezi, n’addamu nti, “Nga bw’ojulidde ewa Kayisaali, kale, onootwalibwa ewa Kayisaali.”

Makko 12:35-44

Kristo Mwana wa Ani

35 (A)Bwe waayitawo akabanga, Yesu yali ayigiriza mu Yeekaalu, n’ababuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti Kristo Mwana wa Dawudi? 36 (B)Kubanga Mwoyo Mutukuvu bwe yali ali ku Dawudi, Dawudi yennyini yagamba ku bwa Mwoyo Mutukuvu nti,

“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti,
    “Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe nditeeka abalabe bo
    wansi w’ebigere byo.” ’

37 (C)Dawudi yennyini amuyita Mukama we, ayinza atya ate okuba Omwana we?”

Ekibiina kyalimu abantu bangi, ne bamuwuliriza n’essanyu.

38 Awo Yesu n’ayigiriza ng’agamba nti, “Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka, kubanga baagala nnyo okwambala ne batambulatambula mu butale ng’abantu babalamusa. 39 (D)Baagala nnyo okutuula mu bifo ebisinga obulungi mu makuŋŋaaniro, n’okutuula mu bifo eby’ekitiibwa ku mbaga. 40 Kyokka, banyagako bannamwandu ebintu byabwe, ne beeraga nga basaba esaala empanvu ennyo. Ekibonerezo kyabwe kyekiriva kibeera ekinene ddala.”

Ekirabo kya Nnamwandu

41 (E)Awo Yesu bwe yatuula okwolekera eggwanika ly’ensimbi, n’alaba engeri ekibiina ky’abantu gye bateekamu ensimbi mu ggwanika. Abagagga bangi baali bateekamu ensimbi nnyingi.[a] 42 Awo nnamwandu eyali omwavu n’ajja n’ateekamu ebitundu bibiri, ye kodulante.[b]

43 Yesu n’ayita abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu awaddeyo nnyo okusinga bonna bali abatadde mu ggwanika. 44 (F)Kubanga bonna bataddemu ku bibafikkiridde, naye ate nnamwandu ono mu kwetaaga kwe ataddemu kyonna ky’abadde nakyo, ekibadde kijja okumuyamba obulamu bwe bwonna.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.