Book of Common Prayer
105 (A)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;
amawanga gonna mugategeeze by’akoze.
2 (B)Mumuyimbire, mumutendereze;
muyimbe ku byamagero bye.
3 Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;
emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.
4 (C)Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
mumunoonyenga ennaku zonna.
5 (D)Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola,
ebyamagero bye, n’emisango gye yasala;
6 (E)mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be
mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
7 Ye Mukama Katonda waffe;
ye alamula mu nsi yonna.
8 (F)Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,
9 (G)ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,
era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.
10 (H)Yakikakasa Yakobo ng’etteeka,
n’akiwa Isirayiri ng’endagaano eteriggwaawo nti,
11 (I)“Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani
okuba omugabo gwo.”
12 (J)Bwe baali bakyali batono,
nga si bangi n’akamu, era nga bagwira mu nsi omwo,
13 baatambulatambulanga okuva mu ggwanga erimu okulaga mu ddala,
ne bavanga mu bwakabaka obumu ne balaga mu bulala.
14 (K)Teyaganya muntu yenna kubayisa bubi;
n’alabulanga bakabaka ku lwabwe nti,
15 (L)“Abalonde bange,
ne bannabbi bange temubakolangako kabi.”
16 (M)Yaleeta enjala mu nsi,
emmere yaabwe yonna n’agizikiriza.
17 (N)N’atuma omuntu okubeesooka mu maaso,
ye Yusufu eyatundibwa ng’omuddu,
18 (O)ebigere bye ne binuubulwa enjegere ze baamusibya,
obulago bwe ne buteekebwa mu byuma,
19 (P)okutuusa bye yategeeza lwe byatuukirira,
okutuusa ekigambo kya Mukama lwe kyamukakasa nti bye yayogera bya mazima.
20 (Q)Kabaka n’atuma ne bamusumulula;
omufuzi w’ensi eyo yamuggya mu kkomera.
21 Yamufuula omukulu w’eby’omu maka ge,
n’akulira byonna omufuzi oyo bye yalina;
22 (R)okukangavvulanga abalangira be nga bwe yalabanga,
n’okuyigiriza abakulu eby’amagezi.
23 (S)Oluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri;
Yakobo bw’atyo n’atuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga.
24 (T)Mukama n’ayaza nnyo abantu be;
ne baba bangi nnyo, n’abalabe baabwe ne beeraliikirira,
25 (U)n’akyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be,
ne basalira abaweereza be enkwe.
26 (V)Yatuma abaweereza be Musa
ne Alooni, be yalonda.
27 (W)Ne bakola obubonero bwe obw’ekitalo mu bantu abo;
ne bakolera ebyamagero bye mu nsi ya Kaamu.
28 (X)Yaleeta ekizikiza ensi yonna n’ekwata,
kubanga baali bajeemedde ekigambo kye.
29 (Y)Amazzi gaabwe yagafuula omusaayi,
ne kireetera ebyennyanja byabwe okufa.
30 (Z)Ensi yaabwe yajjula ebikere,
ebyatuukira ddala ne mu bisenge by’abafuzi baabwe.
31 (AA)Yalagira, ebiwuka ebya buli ngeri ne bijja,
n’ensekere ne zeeyiwa mu bitundu byonna eby’ensi yaabwe.
32 (AB)Yafuula enkuba okuba amayinja g’omuzira;
eggulu ne libwatuka mu nsi yaabwe yonna.
33 (AC)Yakuba emizeeyituuni n’emizabbibu,
n’azikiriza emiti gy’omu nsi yaabwe.
34 (AD)Yalagira, enzige ne zijja
ne bulusejjera obutabalika muwendo.
35 Ne birya buli kimera kyonna mu nsi yaabwe,
na buli kisimbe kyonna mu ttaka lyabwe ne kiriibwa.
36 (AE)N’azikiriza abaana ababereberye bonna mu nsi yaabwe,
nga bye bibala ebisooka eby’obuvubuka bwabwe.
37 (AF)Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu;
era bonna baali ba maanyi.
38 (AG)Abamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze,
kubanga baali batandise okubatiira ddala.
39 (AH)Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka,
n’omuliro ne gubamulisiza ekiro.
40 (AI)Baamusaba, n’abaweereza enkwale
era n’abaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta.
41 (AJ)Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika,
ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.
42 (AK)Kubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvu
kye yawa omuweereza we Ibulayimu.
43 (AL)Abantu be yabaggyayo nga bajaguza,
abalonde be nga bayimba olw’essanyu.
44 (AM)Yabawa ensi eyali ey’amawanga amalala,
ne basikira ebyo abalala bye baakolerera;
45 (AN)balyoke bakwatenga amateeka ge,
era bagonderenga ebiragiro bye.
Mumutendereze Mukama.
Obujeemu bwa Abusaalomu
15 (A)Bwe waayitawo ebbanga, Abusaalomu ne yeefunira amagaali, n’embalaasi, n’abasajja amakumi ataano okumukulemberangamu. 2 (B)Yagolokokanga mu makya n’ayimirira ku mabbali g’ekkubo okwolekera wankaaki w’ekibuga. Omuntu yenna bwe yabanga n’ensonga gye yaleeteranga kabaka okulamula, Abusaalomu yamuyitanga n’amubuuza nti, “Oviira mu kibuga ki?” Bwe yaddangamu nti, “Omuddu wo aviira mu kimu ku bika bya Isirayiri,” 3 (C)Abusaalomu n’alyoka amugamba nti, “Laba, ensonga ntuufu era etegeerekeka, naye tewali muntu anaagikulamulira.” 4 (D)Ate era Abusaalomu yayongerangako ne kino nti, “Singa nnondebwa okuba omukulembeze mu nsi, olwo buli muntu alina ensonga anajjanga gye ndi, ne mukolera ku nsonga ye.”
5 Ate era omuntu yenna eyajjanga n’amuvuunamira ng’amuwa ekitiibwa, yagololanga omukono gwe, n’amukwatako n’amunywegera ng’amulamusa. 6 (E)Bw’atyo Abusaalomu bwe yeeyisanga eri Abayisirayiri bonna abajjanga eri kabaka nga baagala okubalamulira ensonga zaabwe. Ekyavaamu n’abba emitima gy’abantu ba Isirayiri.
7 Oluvannyuma lw’emyaka ena, Abusaalomu n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende e Kebbulooni, ntuukirize obweyamo bwange bwe nakola eri Mukama. 8 (F)Omuweereza wo bwe yabeeranga e Gesuli mu Busuuli, nakola obweyamo nga ŋŋamba nti, ‘Mukama bw’alinzizaayo e Yerusaalemi, ndisinza Mukama.’ ” 9 Kabaka n’amuddamu nti, “Ggenda mirembe.” N’asitula n’alaga e Kebbulooni.
10 (G)Abusaalomu n’atuma ababaka kyama mu bika byonna ebya Isirayiri, babagambe nti, “Amangwago nga muwulidde okuvuga kw’amakondeere, mwogere nti, ‘Abusaalomu ye kabaka e Kebbulooni.’ ” 11 Abasajja ebikumi bibiri be baawerekera Abusaalomu oluvannyuma olw’okuyitibwa ng’abagenyi, songa tebaalina kye baamanya ku nsonga eyo. 12 (H)Mu kiseera ekyo, Abusaalomu bwe yali ng’awaayo ssaddaaka, n’atumya Akisoferi[a] Omugiro, omuwi w’amagezi owa Dawudi, okuva mu kibuga ky’e Giro. Obujeemu ne bwongerwamu amaanyi n’abagoberezi ba Abusaalomu ne beeyongeranga obungi.
13 Omubaka n’ajja n’ategeeza Dawudi nti, “Emitima gy’abantu ba Isirayiri gigoberedde Abusaalomu.”
14 (I)Awo Dawudi n’agamba abakungu be bonna abaali naye e Yerusaalemi nti, “Mugolokoke tudduke kubanga bwe tutaakole bwe tutyo tewaabeewo n’omu ku ffe anaawona Abusaalomu. Tuteekwa okuvaawo amangu nga bwe kisoboka, aleme okutusaangiriza wano okusaanyaawo ekibuga n’ekitala.” 15 Abakungu ba kabaka ne bamuddamu nti, “Abaddu bo beetegefu okukola kyonna, mukama waffe kabaka ky’anaaba asazeewo.”
16 (J)Awo Kabaka n’asitula n’ennyumba ye yonna ne bamugoberera, naye n’alekawo abakyala be kkumi okulabirira olubiri. 17 Kabaka n’abantu bonna abaagenda naye, bwe baatambulako akabanga, ne batuuka mu kifo ekimu ewalako n’olubiri ne bayimirira awo. 18 (K)Abasajja be bonna ne bamukulemberamu, n’Abakeresi bonna n’Abaperesi bonna, n’Abagitti olukaaga bonna abaali bamugoberedde okuva e Gaasi ne bakumba nga bamukulembeddemu.
Pawulo Akwatibwa
27 (A)Awo ekiseera eky’ennaku omusanvu bwe kyali kiri kumpi okuggwaako, ne wabaawo Abayudaaya abaava mu Asiya ne balaba Pawulo mu Yeekaalu, ne basasamaza ekibiina kyonna, ne bakwata Pawulo 28 (B)nga bwe baleekaana nti, “Abasajja Abayisirayiri! Mutuyambe! Ono ye musajja agenda ayogera obubi ku ggwanga lyaffe ne ku mateeka gaffe ne ku kifo kino, ng’ayigiriza buli muntu buli wantu. Era ayonoonye Yeekaalu yaffe ng’agireetamu Abayonaani.” 29 (C)Kubanga baamulabako ng’atambula mu kibuga ne Tulofiimo, eyava mu Efeso, ne balowooza nti Pawulo yamutwala ne mu Yeekaalu.
30 (D)Ekibuga kyonna ne kijagalala olw’okuwulira ebigambo ebyo, era abantu ne bajja nga badduka okuva mu buli nsonda y’ekibuga. Ne bakwata Pawulo ne bamufulumya ebweru wa Yeekaalu, amangwago ne baggalawo enzigi. 31 Naye bwe baayagala okumutta, amawulire ne gatuuka ku mukulu w’ekitongole ky’abaserikale Abaruumi nti Yerusaalemi kiguddemu akeegugungo. 32 (E)Amangwago n’asindika abaserikale n’abaduumizi baabwe, ne badduka okugenda eri ekibiina ky’abantu. Awo bwe baalaba omuduumizi n’abaserikale nga bajja, ne balekeraawo okukuba Pawulo.
33 (F)Awo omukulu w’abaserikale n’akwata Pawulo n’alagira asibibwe mu njegere bbiri, n’alyoka abuuza nti, “Y’ani, era akoze ki?” 34 (G)Ne bamuddamu nga baleekaana, ng’abamu bamugamba kino n’abalala nga bagamba kiri. N’alemwa okubaako ekiramu ky’aggyamu olw’okuleekaana okungi. Kyeyava alagira batwale Pawulo mu nkambi y’abaserikale. 35 (H)Bwe yamutuusa ku madaala, ekibiina ky’abantu ne bayitirira obukambwe, abaserikale ne basitula Pawulo. 36 (I)Ekibiina ky’abantu abaali bagoberera ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mumutte!”
Yesu Ayongera Okwogera ku Kufa kwe
32 (A)Awo bwe baali nga bali mu kkubo, nga bagenda e Yerusaalemi, Yesu ng’akulembeddemu, abayigirizwa be ne bamuvaako emabega nga bamugoberera naye nga bajjudde okutya n’okweraliikirira. Yesu n’abazza wa bbali, n’abannyonnyola byonna ebyali bijja okumutuukako nga batuuse mu Yerusaalemi. 33 (B)N’ababuulira nti, “Bwe tunaatuuka eyo, Omwana w’Omuntu aliweebwayo, atwalibwe mu maaso ga bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka. Bajja kumusalira omusango ogw’okufa era balimuwaayo eri Abamawanga bamusalire ekibonerezo eky’okufa. 34 (C)Bajja kumuduulira bamuwandire n’amalusu bamukube embooko era bamutte, naye nga wayiseewo ennaku ssatu alizuukira.”
Okusaba kwa Yakobo ne Yokaana
35 Awo Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo ne bajja eri Yesu ne boogera naye mpola mu kyama nti. “Omuyigiriza, waliwo ekintu kye tukusaba otukolere.”
36 N’ababuuza nti, “Kiki ekyo?”
37 (D)Ne bamuddamu nti, “Tusaba mu bwakabaka bwo tutuule ku ntebe eziriraanye eyiyo, omu atuule ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono?”
38 (E)Naye Yesu n’abaddamu nti, “Kye musaba temukitegeera! Musobola okunywa ku kikompe eky’okubonaabona kye ŋŋenda okunywako? Oba okubatizibwa mu kubonaabona nga bwe ŋŋenda okubatizibwa?”
39 (F)Ne bamuddamu nti, “Tusobola.” Yesu n’abagamba nti, “Okunywa ku kikompe kyange mugenda kukinywako era mulibatizibwa ne mu kubatizibwa kwange. 40 Naye sirina buyinza kubatuuza ku ntebe eziriraanye eyange. Enteekateeka eyo yamala dda okukolebwa.”
41 Abayigirizwa bali ekkumi bwe baategeera Yakobo ne Yokaana kye baasaba, ne babanyiigira nnyo. 42 Yesu n’abayita n’abagamba nti, “Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga, n’abakulu baabwe bakuluusanya abantu, 43 (G)naye mu mmwe si bwe kiri bwe kityo. Yenna ayagala okuba omukulembeze mu mmwe, asaanira abeerenga muweereza wa banne. 44 Ne buli ayagala okuba omwami mu mmwe, asaana abeere muddu wa banne bonna. 45 (H)N’Omwana w’Omuntu, teyajja ku nsi kuweerezebwa, wabula okuweereza abalala, era n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.