Book of Common Prayer
Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba.
87 Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.
2 (A)Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni
okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.
3 (B)Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako,
ggwe ekibuga kya Katonda.
4 (C)“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,
ne Babulooni;
era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo
ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”
5 Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti,
“Ono n’oli baazaalirwa omwo,”
n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.
6 (D)Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati,
omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”
7 (E)Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti,
“Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”
EKITABO IV
Zabbuli 90–106
Okusaba kwa Musa, omusajja wa Katonda.
90 (A)Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu
emirembe gyonna.
2 (B)Ensozi nga tezinnabaawo,
n’ensi yonna nga tonnagitonda;
okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.
3 (C)Omuntu omuzzaayo mu nfuufu,
n’oyogera nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana b’abantu.”
4 (D)Kubanga emyaka olukumi,
gy’oli giri ng’olunaku olumu olwayita,
oba ng’ekisisimuka mu kiro.
5 (E)Obeera n’obamalirawo ddala nga bali mu tulo otw’okufa.
Ku makya baba ng’omuddo omuto.
6 (F)Ku makya guba munyirivu,
naye olw’eggulo ne guwotoka ne gukala.
7 Ddala ddala obusungu bwo butumalawo,
n’obukambwe bwo bututiisa nnyo.
8 (G)Ebyonoono byaffe obyanjadde mu maaso go,
n’ebyo bye tukoze mu kyama obyanise awo w’oli.
9 (H)Ddala ddala tumala ennaku z’obulamu bwaffe zonna ng’otunyiigidde;
tukomekkereza emyaka gyaffe n’okusinda.
10 (I)Obungi bw’ennaku zaffe gy’emyaka nsanvu,
oba kinaana bwe tubaamu amaanyi.
Naye emyaka egyo gijjula ennaku n’okutegana,
era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo.
11 (J)Ani amanyi amaanyi g’obusungu bwo?
Kubanga ekiruyi kyo kingi ng’ekitiibwa kye tusaana okukuwa bwe kyenkana.
12 (K)Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe,
tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.
13 (L)Ayi Mukama, komawo gye tuli. Olitusuula kutuusa ddi?
Abaweereza bo bakwatirwe ekisa.
14 (M)Tujjuze okwagala kwo okutaggwaawo ku makya,
tulyoke tuyimbenga nga tujaguza n’essanyu era tusanyukenga obulamu bwaffe bwonna.
15 Tusanyuse, Ayi Mukama, okumala ennaku nga ze tumaze ng’otubonyaabonya,
era n’okumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku.
16 (N)Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo,
n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.
17 (O)Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe,
otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe;
weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.
136 (A)Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 (B)Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
3 Mwebaze Mukama w’abafuzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
4 (C)Oyo yekka akola ebyamagero ebikulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
5 (D)Oyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
6 (E)Oyo eyabamba ensi ku mazzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
7 (F)Oyo eyakola ebyaka ebinene,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
8 (G)Enjuba yagikola okufuganga emisana,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
9 Omwezi n’emmunyeenye yabikola okufuganga ekiro,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
10 (H)Oyo eyatta ababereberye b’Abamisiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
11 (I)N’aggya Isirayiri mu Misiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
12 (J)Yabaggyamu n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
13 (K)Oyo eyayawulamu amazzi g’Ennyanja Emyufu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
14 (L)N’ayisa abaana ba Isirayiri wakati waayo,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
15 (M)Naye n’asaanyaawo Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emyufu;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
16 (N)Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
17 (O)Ye yafufuggaza bakabaka abaatiikirivu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
18 (P)N’atta bakabaka ab’amaanyi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
19 (Q)Ye yatta ne Sikoni, kabaka w’Abamoli,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
20 Era ye yatta ne Ogi kabaka wa Basani,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
21 (R)N’awaayo ensi yaabwe okuba obutaka,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
22 Okuba obutaka bwa Isirayiri omuddu we,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
23 (S)Oyo eyatujjukira nga tuweddemu ensa,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
24 (T)N’atuwonya abalabe baffe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
25 (U)Oyo awa abantu n’ebiramu byonna ekyokulya,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
26 Kale mwebaze Katonda w’eggulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Asaliya ne Yekoyaasi
11 (A)Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba mutabani we ng’afudde, n’atandika okusaanyaawo olulyo olulangira lwonna. 2 (B)Naye omumbejja Yekoseba muwala wa kabaka Yolaamu mwannyina Akaziya n’abba Yekoyaasi[a] n’amuggya mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n’abateeka ye n’omukuza we mu kisenge ekimu ng’abakweka Asaliya, era Yekoyaasi n’atattibwa. 3 N’abeera mu yeekaalu ya Mukama n’omukuza we okumala emyaka mukaaga, Asaliya nga y’afuga ensi.
4 (C)Mu mwaka ogw’omusanvu Yekoyaada n’atumya abaduumizi ab’ebibinja by’ekikumi, ab’oku Bakali n’abakuumi, ne babaleeta gy’ali mu yeekaalu ya Mukama. N’alagaana nabo endagaano, n’abalayiriza mu yeekaalu ya Mukama, n’oluvannyuma n’abalaga mutabani wa kabaka. 5 (D)N’abawa ebiragiro bino nti, “Kino kye muteekwa okukola: kimu kya kusatu ku kibinja ekikuuma ku ssabbiiti, kye kinaakuumanga olubiri lwa kabaka, 6 n’ekimu kya kusatu ekirala ne kikuuma Omulyango Suuli, n’ekimu kya kusatu ekirala ne kikuuma emanju w’omulyango ewabeera abakuumi abakuuma yeekaalu mu mpalo; 7 n’ebibiina byammwe ebibiri ebitatera kukuuma ku ssabbiiti, mwenna mugenda kuvunaanyizibwa okukuuma yeekaalu ya Mukama ku lwa kabaka. 8 Era muneetooloola kabaka enjuuyi zonna, buli muntu ng’akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe, ne buli anaŋŋaanga okubasemberera attibwe. Mukuumenga kabaka butiribiri, bw’anaafulumanga ne bw’anaayingiranga.”
9 Abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi ne bakola byonna nga Yekoyaada kabona bwe yalagira, buli omu n’afuna abasajja be, abaali ab’okukola ku ssabbiiti, n’abaali bamaze oluwalo lwabwe, ne bajja eri Yekoyaada kabona. 10 (E)Kabona n’awa abaduumizi amafumu n’engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu yeekaalu ya Mukama, 11 buli mukuumi n’ayimirira n’ebyokulwanyisa bye nga beetoolodde kabaka enjuuyi zonna, okuliraana ekyoto ne yeekaalu okuva ku luuyi olw’obukiikaddyo okutuuka ku luuyi olw’obukiikakkono.
12 (F)Awo Yekoyaada n’afulumya mutabani wa kabaka, n’amutikkira engule, n’amuwa n’endagaano gye baali bakoze, ne bamufuula kabaka. N’afukibwako amafuta, abantu ne bakuba mu ngalo nga bwe bayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Wangaala kabaka!” 13 Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw’abakuumi n’olw’abantu, n’alaga eri abantu ku yeekaalu ya Mukama. 14 (G)Bwe yatunula, laba, nga kabaka ayimiridde awali empagi, ng’empisa bwe yabanga, n’abaami n’abafuuwa amakondeere nga bayimiridde okuliraana kabaka, n’abantu bonna ab’omu nsi nga basanyuka era nga bwe bafuuwa amakondeere. Awo Asaliya n’ayuza ebyambalo bye, n’aleekaanira waggulu nti, “Bujeemu, bujeemu!”
15 (H)Amangwago Yekoyaada kabona n’alagira abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi, abaali bakulira eggye nti, “Mumufulumye wakati w’ennyiriri, na buli amugoberera mumutte n’ekitala.” Kabona yali agambye nti, “Temumuttira mu yeekaalu ya Mukama.” 16 (I)Ne bakwata Asaliya, ng’anaatera okuyita mu mulyango gw’embalaasi w’eziyingira mu luggya lw’olubiri, ne bamuttira awo.
17 (J)Awo Yekoyaada n’akola endagaano ne Mukama, ne kabaka n’abantu, nti banaabeera abantu ba Mukama, era n’akola n’endagaano ne kabaka n’abantu. 18 (K)Abantu bonna ab’omu nsi ne bagenda ku ssabo lya Baali ne balimenyaamenya; ne bamenyaamenya ebyoto n’ebifaananyi, era ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g’ebyoto ebyo.
Yekoyaada kabona n’ateekawo abakuumi ku yeekaalu ya Mukama. 19 (L)Awo n’alaga n’abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi, n’Abakali, n’abakuumi, n’abantu bonna ab’omu nsi ku yeekaalu, n’aggyayo kabaka mu yeekaalu ya Mukama n’amutwala mu lubiri ng’ayita mu mulyango ogw’abakuumi. Kabaka n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka, 20 (M)abantu bonna ab’omu nsi ne bajaguza, n’ekibuga n’ekitereera, kubanga Asaliya yali attiddwa n’ekitala okumpi n’olubiri.
10 (A)Naye abafumbo mbawa etteeka eriva eri Mukama waffe: omukazi tanobanga ku bba. 11 Singa baawukana, omukazi ateekwa kubeerera awo, oba si ekyo addeyo ewa bba basonyiwagane; n’omusajja tagobanga mukazi we.
12 (B)Abalala njogera gye bali kubanga si tteeka eriva eri Mukama waffe, naye mbagamba nti owooluganda bw’abeera n’omukazi atali mukkiriza ng’ayagala okubeera naye, tamugobanga. 13 Era omukazi omukkiriza alina bba atali mukkiriza naye ng’amwagala, tamuvangako. 14 (C)Kubanga omusajja atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ng’ayambibwa mukyala we omukkiriza, oba omukyala atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ng’ayambibwa bba omukkiriza. Kubanga bwe kitaba ekyo abaana bammwe banditwaliddwa ng’abatali balongoofu naye ku lw’ekyo abaana bammwe baba balongoofu. 15 (D)Kyokka oyo atali mukkiriza bw’ayagala okwawukana, baawukane; mu nsonga eyo omusajja omukkiriza oba omukyala taasibwenga mu ekyo, kubanga Katonda ayagala abaana be okubeera n’eddembe. 16 (E)Ggwe omukazi omukkiriza omanyi otya ng’olirokola balo? Oba ggwe omusajja omukkiriza omanyi otya ng’olirokola mukazi wo?
17 (F)Buli omu abeere mu bulamu Mukama bwe yamuwa, era Katonda mwe yamuyitira mw’abatambuliranga. Ekyo ky’ekiragiro kye mpa ekkanisa zonna. 18 (G)Eyayitibwa ng’amaze okukomolebwa aleme kugamba nti ssinga teyakomolebwa, n’oyo eyakkiriza nga si mukomole aleme kufaayo ku kukomolebwa. 19 (H)Kubanga okukomolebwa si kintu era obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kwe kukwata amateeka ga Katonda. 20 (I)Buli omu abeerenga mu kuyitibwa Katonda kwe yamuyitiramu. 21 Oba nga wayitibwa ng’oli muddu ekyo kireme okuba ekikulu; naye bw’oba ng’ofunye omukisa okufuuka ow’eddembe, gukozese. 22 (J)Kubanga eyayitibwa Mukama nga muddu, Mukama yamufuula wa ddembe, n’oyo eyali ow’eddembe yafuuka muddu wa Kristo. 23 (K)Mwagulibwa na muwendo noolwekyo temufuukanga baddu ba bantu. 24 (L)Kale abooluganda, buli kifo kyonna omuntu yenna ky’alimu, mwe yayitirwa abeere mu ekyo.
Obugagga obw’Amazima
19 (A)“Temweterekeranga byabugagga wano ku nsi kwe biyinza okwonoonebwa ennyenje n’obutalagge, n’ababbi kwe bayinza okubibbira. 20 (B)Naye mweterekerenga obugagga bwammwe mu ggulu gye butayinza kwonoonebwa nnyenje wadde obutalagge, n’ababbi gye batayinza kuyingira kububba. 21 (C)Kubanga obugagga bwo gye buli n’omutima gwo gye gunaabeeranga.”
22 “Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo, noolwekyo eriiso bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula ekitangaala ng’eky’omusana. 23 Naye eriiso lyo bwe liba ebbi, omubiri gwo gwonna gunaabeeranga n’ekizikiza, noolwekyo ekizikiza ekyo kiba kikwafu nnyo!”
24 (D)“Tewali n’omu ayinza kuweereza bakulu babiri, kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.[a] ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.