Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 31

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

31 Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange,
    leka nneme kuswazibwa.
    Ndokola mu butuukirivu bwo.
(A)Ontegere okutu kwo
    oyanguwe okunziruukirira.
Beera ekiddukiro kyange eky’olwazi
    era ekigo eky’amaanyi eky’okumponya.
(B)Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange;
    olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.
(C)Omponye mu mutego gwe banteze;
    kubanga ggwe kiddukiro kyange.
(D)Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo;
    ondokole, Ayi Mukama, Katonda ow’amazima.

(E)Nkyawa abo abeesiga bakatonda abalala;
    nze nneesiga Mukama.
(F)Nnaajaguzanga ne nsanyukira mu kwagala kwo,
    kubanga olabye okubonaabona kwange
    era omanyi ennaku endi ku mwoyo.
(G)Tompaddeeyo mu balabe bange,
    naye otadde ebigere byange mu kifo ekigazi.

(H)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi;
    amaaso gange gakooye olw’ennaku;
    omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.
10 (I)Obulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyange
    ne giggwaawo olw’okusinda.
Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange,
    n’amagumba ganafuye.
11 (J)Abalabe bange bonna bansekerera,
    banneetamiddwa.
Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange,
    n’abandaba mu kkubo banziruka.
12 (K)Nneerabiddwa ng’eyafa edda;
    nfuuse ng’ekibumbe ekyatifu.
13 (L)Buli ludda mpulirayo obwama
    nga bangeya;
bye banteesaako
    nga basala olukwe okunzita.

14 (M)Naye nneesiga ggwe, Ayi Mukama;
    nga njogera nti, “Oli Katonda wange.”
15 (N)Entuuko zange ziri mu mikono gyo;
    ondokole mu mikono gy’abalabe bange
    n’abangigganya.
16 (O)Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo;
    ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo.
17 (P)Ayi Mukama tondeka kuswazibwa,
    kubanga nkukoowoola;
leka abo ababi baswale,
    era bagalamire emagombe nga basirise.
18 (Q)Akamwa kaabwe akayogera eby’obulimba
    kasirisibwe,
kubanga boogera ebitaliimu ku batuukirivu bo,
    nga babyogeza amalala n’okunyooma.

19 (R)Obulungi bwo,
    bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu,
n’obuwa mu lwatu
    abo abaddukira gy’oli.
20 (S)Obalabirira n’obawonya enkwe z’abalabe baabwe,
    n’obakuuma bulungi mu nnyumba yo,
n’ennyombo z’abantu
    ne zitabatuukako.

21 (T)Mukama atenderezebwenga
    kubanga yandaga okwagala kwe okungi,
    bwe nnali mu kibuga kye baali bazingizza.
22 (U)Bwe natya ennyo
    ne njogera nti, “Ngobeddwa mu maaso go.”
Kyokka wampulira nga nkukaabirira
    n’onsaasira.

23 (V)Mwagalenga Mukama abatukuvu be mwenna!
    Mukama akuuma abo abamwesiga,
    naye ab’amalala ababonereza mu bujjuvu.
24 (W)Muddeemu amaanyi mugume omwoyo
    mmwe mwenna abalina essuubi mu Mukama.

Zabbuli 35

Zabbuli ya Dawudi.

35 (A)Ayi Mukama, wakanya abo abampakanya,
    lwanyisa abo abannwanyisa.
(B)Golokoka okwate engabo,
    n’akagabo onziruukirire.
Galula effumu,
    abangigganya obazibire ekkubo;
otegeeze omwoyo gwange nti,
    “Nze bulokozi bwo.”

(C)Abo bonna abannoonya okunzita bajolongebwe
    era baswazibwe;
abo abateesa okunsanyaawo
    bazzibweyo ennyuma babune emiwabo.
(D)Babe ng’ebisusunku ebifuumuulibwa empewo,
    malayika wa Mukama ng’abagoba.
Ekkubo lyabwe libe lya kizikiza era lijjule obuseerezi, ne malayika wa Mukama ng’abagoba.

Nga bwe bantega omutego nga siriiko kye mbakoze,
    ne bansimira n’ekinnya mu kkubo lyange awatali nsonga,
(E)bazikirizibwe nga tebategedde,
    n’omutego gwe banteze be baba bagugwamu,
    era bagwe ne mu kinnya kiri bazikirire.
(F)Omwoyo gwange ne gulyoka gujaguliza mu Mukama,
    ne gusanyukira mu bulokozi bwe.
10 (G)Amagumba gange galyogera nti,
    “Ani afaanana nga ggwe, Ayi Mukama?
Kubanga abaavu obadduukirira n’obawonya ababasinza amaanyi,
    n’abali mu kwetaaga n’obawonya abanyazi.”

11 (H)Abajulizi abakambwe bagolokoka
    ne bambuuza ebintu bye sirinaako kye mmanyi.
12 (I)Bwe mbayisa obulungi bo bampisa bubi,
    ne banakuwaza omwoyo gwange.
13 (J)So nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu,
    ne neerumya nga nsiiba, ne nsaba Mukama nga nkotese omutwe,
naye okusaba kwange bwe kutaddibwamu,
14     ne mbeera mu nnaku
    ng’ankungubagira ow’omukwano
oba owooluganda nkoteka omutwe gwange mu buyinike
    ng’akaabira nnyina.
15 (K)Naye bwe nagwa mu kabi ne beekuŋŋaanya nga basanyuse;
    ne bannumba nga simanyi,
    ne bampayiriza obutata.
16 (L)Banduulidde n’ettima ng’abatamanyi Katonda bwe bakola,
    ne bannumira obujiji.
17 (M)Ayi Mukama, olituusa ddi ng’otunula butunuzi?
    Nziruukirira nga bannumba, obulamu bwange obuwonye okutaagulwataagulwa,
    obulamu bwange obw’omuwendo eri empologoma zino.
18 (N)Nnaakwebalizanga mu lukuŋŋaana olukulu,
    ne nkutenderezanga mu kibiina ky’abantu abangi ennyo.
19 (O)Tokkiriza balabe bange kunneeyagalirako,
    abankyawa awatali nsonga;
abankyayira obwereere
    tobakkiriza kunziimuula.
20 Teboogera bya mirembe,
    wabula okuwaayiriza abantu abeetuulidde emirembe mu nsi.
21 (P)Banjasamiza akamwa kaabwe ne boogera nti,
    “Leero luno, ky’okoze tukirabye n’amaaso gaffe.”

22 (Q)Bino byonna obirabye, Ayi Mukama.
    Noolwekyo tosirika. Tonsuulirira, Ayi Mukama.
23 (R)Golokoka ojje onnyambe;
    nnwanirira Ayi Katonda wange era Mukama wange.
24 Mu butuukirivu bwo nnejjeereza, Ayi Mukama Katonda wange,
    tobaganya kunneeyagalirako.
25 (S)Tobaleka kulowooza nti, “Leero luno! Kino kye twali twagala!”
    Oba nti, “Tumusaanyizzaawo!”

26 (T)Abo bonna abanneeyagalirako olw’ennaku yange ne beesanyusa,
    batabulwetabulwe era baswazibwe;
abo bonna abanneegulumirizaako
    baswazibwe era banyoomebwe.
27 (U)Abo abasanyuka ng’annejjeereza,
    baleekaanire waggulu olw’essanyu n’okujaganya;
era boogerenga nti, “Mukama agulumizibwe,
    asanyuka omuweereza we ng’atebenkedde.”

28 (V)Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo,
    era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.

1 Bassekabaka 11:26-43

Yerobowaamu Ajeemera Sulemaani

26 (A)Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Omwefulayimu ow’e Zereda, nnyina nga ye nnamwandu wa Zeruwa, ate nga y’omu ku bakungu ba Sulemaani, n’ajeemera kabaka. 27 (B)Eno y’engeri gye yajeemeramu kabaka: Sulemaani yali azimbye obusenge obuwagika, ng’azibye ebituli ebyali mu bbugwe ow’ekibuga kya Dawudi kitaawe. 28 (C)Yerobowaamu yali musajja mwesimbu, era Sulemaani bwe yalaba omulimu gwe omulungi, n’amusiima n’amufuula omukulu w’emirimu gyonna egy’amaanyi mu nnyumba ya Yusufu. 29 (D)Awo mu biro ebyo Yerobowaamu bwe yali ng’ava mu Yerusaalemi, n’asisinkana Akiya nnabbi w’e Siiro ng’ayambadde ekyambalo ekiggya, baali bokka ku ttale. 30 (E)Akiya n’addira ekyambalo kye n’akiyuzaamu ebitundu kkumi na bibiri. 31 (F)N’agamba Yerobowaamu nti, “Weetwalire ebitundu kkumi, kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Laba, ŋŋenda kuggya ku Sulemaani obwakabaka, nkuweeko ebika kkumi. 32 Naye olw’omuddu wange Dawudi n’ekibuga Yerusaalemi, kye neerondera mu bika byonna ebya Isirayiri, alisigazaako ekika kimu. 33 (G)Kino ndikikola kubanga banvuddeko ne basinza Asutoleesi katonda omukazi ow’Abamoni, ne batatambulira mu kkubo lyange, wadde okukola ebituufu mu maaso gange newaakubadde okugondera ebiragiro byange oba amateeka gange, nga Dawudi kitaawe wa Sulemaani bwe yakola.

34 “ ‘Naye Sulemaani sirimuggyako bwakabaka bwonna, wabula ndimuleka nga y’afuga ennaku zonna ez’obulamu bwe olw’omuddu wange Dawudi, gwe nalonda era eyagondera amateeka n’ebiragiro byange. 35 Ndiggya obwakabaka ku mutabani wa Sulemaani, ne nkuwa ebika kkumi. 36 (H)Ekika ekimu ndikiwa mutabani we, omuddu wange Dawudi abeerenga n’ettabaaza mu maaso gange mu Yerusaalemi, ekibuga kye neeroboza olw’erinnya lyange. 37 (I)Wabula, ggwe ndikutwala, era olifuga wonna omutima gwo gye gulisiima, era olibeera kabaka wa Isirayiri. 38 (J)Bw’onoogonderanga byonna bye nkulagira n’otambuliranga mu makubo gange, era n’okolanga ebituufu mu maaso gange ng’okugonderanga ebiragiro n’amateeka gange, nga Dawudi omuddu wange bwe yakola, nnaabeeranga naawe. Ndikukolera ekika eky’enkalakkalira, nga kye nakolera Dawudi, era ndikuwa ne Isirayiri. 39 Kyendiva nzikakkanya ezzadde lya Dawudi, naye si bbanga lyonna.’ ”

40 (K)Sulemaani n’agezaako okutta Yerobowaamu, naye Yerobowaamu n’addukira e Misiri, ewa Sisaki[a] kabaka waayo, n’abeera eyo okutuusa Sulemaani bwe yafa.

Okufa kwa Sulemaani

41 Ebyo byonna ebyabaawo ku mulembe gwa Sulemaani, ne byonna bye yakola, n’amagezi ge yalaga, byawandiikibwa mu bitabo eby’ebyafaayo ebya Sulemaani. 42 Sulemaani yafuga Isirayiri yonna ng’ali mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi ana. 43 (L)N’afa n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe. Awo Lekobowaamu mutabani we n’amusikira.

Yakobo 4:13-5:6

Okulabula ku kwekulumbaza

13 (A)Muwulire mmwe abagamba nti, “Leero oba enkya nzija kugenda egindi maleyo omwaka gumu, era ntandikeyo omulimu ogunanfunyisa ensimbi ennyingi.” 14 (B)Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ng’olufu olulabika ate mangwago ne lubula. 15 (C)Kino kye musaanira okwogera nti, “Katonda bw’anaaba ng’asiimye tuliba balamu ne tukola kino oba kiri.” 16 (D)Bwe mutakola mutyo muba mwekuluntaza olw’entegeka zammwe, songa okwekuluntaza okw’engeri eyo tekusanyusa Katonda. 17 (E)Okumanya ekituufu ekiteekwa okukolwa, naye ne mutakikola, kuba kwonoona.

Okulabula abagagga

(F)Kale, mmwe abagagga, mukaabe era mwaziirane. Mugenda kujjirwa ennaku. (G)Eby’obugagga byammwe bivunze, n’ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje. (H)Ezaabu yammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge bwabyo bwe buliba obujulirwa obulibalumiriza omusango, ne bumalawo omubiri gwammwe ng’omuliro. Mweterekera obugagga olw’ennaku ez’oluvannyuma. (I)Laba abakozi abaakola mu nnimiro zammwe ne mulyazaamaanya empeera yaabwe, bakaaba, n’abaakungula bakungubaga, era amaloboozi g’okwaziirana kwabwe gatuuse mu matu ga Mukama ow’Eggye. (J)Mwesanyusiza ku nsi ne mwejalabya mu bugagga bwammwe. Mwagezza emitima gyammwe nga muli ng’abeetegekera olunaku olw’okubaagirako ebyassava. (K)Atasobyanga mwamusalira omusango okumusinga ne mumutta, ng’ate ye talina bwe yeerwanirako.

Makko 15:22-32

22 Awo ne batwala Yesu ne bamutuusa mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu gaakyo nti Ekifo ky’Ekiwanga. 23 (A)Ne baddira wayini atabuddwamu envumbo ne bamuwa anyweko, naye n’amugaana.[a] 24 (B)Awo ne bamukomerera ku musaalaba.

Ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu. 25 Baamukomerera ku ssaawa ssatu ez’enkya. 26 (C)Ne batimba ekipande waggulu w’omutwe gwa Yesu, okwawandiikibwa nti,

“Kabaka w’Abayudaaya.”

27 Waaliwo abanyazi babiri abaakomererwa awamu naye, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, n’omulala ku kkono. 28 Bwe kityo Ekyawandiikibwa ne kituukirira ekigamba nti, “Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka.” 29 (D)Awo abaali bayitawo, ne bakoteka ku mitwe gyabwe nga bamuduulira, nga bwe bagamba nti, “Mumulaba! Wagamba okumenya Yeekaalu n’okugizimbira ennaku ssatu, 30 weerokole, okke wansi okuva ku musaalaba.”

31 (E)Bakabona abakulu n’abawandiisi nabo baali bayimiridde awo nga baduulira Yesu, nga bagamba nti, “Yalokola balala, naye ye tasobola kwerokola! 32 (F)Ggwe! Kristo, Kabaka wa Isirayiri! Kale kka ove ku musaalaba naffe tunaakukkiriza!” N’abanyazi ababiri abaakomererwa naye, nabo ne bamuvuma.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.