Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 137

137 (A)Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni,
    ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.
Ne tuwanika ennanga zaffe
    ku miti egyali awo.
(B)Abaatunyaga ne batulagira okuyimba,
    abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka;
    nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”

Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama
    mu nsi eteri yaffe?
Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,
    omukono gwange ogwa ddyo gukale!
(C)Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange
    singa nkwerabira,
ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako
    okusinga ebintu ebirala byonna.

(D)Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,[a]
    ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;
ne baleekaana nti, “Kisuule,
    kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”
(E)Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,
    yeesiimye oyo alikusasula ebyo
    nga naawe bye watukola.
(F)Yeesiimye oyo aliddira abaana bo
    n’ababetentera[b] ku lwazi.

Zabbuli 144

Zabbuli ya Dawudi.

144 (A)Atenderezebwe Mukama, olwazi lwange,
    atendeka emikono gyange okulwana,
    era ateekerateekera engalo zange olutalo.
(B)Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange,
    ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange.
Ye ngabo yange mwe neekweka.
    Awangula amawanga n’agassa wansi w’ebigere byange.

(C)Ayi Mukama, omuntu kye ki ggwe okumufaako,
    oba omwana w’omuntu, ggwe okumulowoozaako?
(D)Omuntu ali nga mukka.
    Ennaku ze ziri ng’ekisiikirize ekiyita obuyisi.

(E)Yawula mu ggulu lyo, Ayi Mukama, okke!
    Kwata ku nsozi zinyooke omukka!
(F)Myansa abalabe basaasaane,
    era lasa obusaale bwo obazikirize.
(G)Ogolole omukono gwo ng’osinziira waggulu ennyo,
    omponye,
onzigye mu mazzi amangi,
    era onzigye mu mikono gya bannamawanga;
(H)ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
    abalayira nti kya mazima, so nga bulimba bwereere.

(I)Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya;
    nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,
10 (J)ggwe awa bakabaka obuwanguzi;
    amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.

11 (K)Ndokola, omponye onzigye
    mu mukono gwa bannamawanga bano
ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
    era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.

12 (L)Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,
    babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi,
ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda
    okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
13 Amawanika gaffe gajjule ebibala
    ebya buli ngeri.
Endiga zaffe zizaale
    enkumi n’obukumi zijjule amalundiro gaffe.
14     Ente zaffe ziwalule ebizito.
Ebisenge by’ekibuga bireme kumenyebwa.
    Waleme kubaawo kukaaba
    n’okwaziirana kwonna mu nguudo ez’omu bibuga byaffe.
15 (M)Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye!
    Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.

Zabbuli 104

104 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.

Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo;
    ojjudde obukulu n’ekitiibwa.

(B)Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalo
    n’abamba eggulu ng’eweema,
    (C)n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
ebire abifuula amagaali ge,
    ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.
(D)Afuula empewo ababaka be,
    n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be.

(E)Yassaawo ensi ku misingi gyayo;
    teyinza kunyeenyezebwa.
(F)Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
    amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
(G)Bwe wagaboggolera ne gadduka;
    bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
(H)gaakulukutira ku nsozi ennene,
    ne gakkirira wansi mu biwonvu
    mu bifo bye wagategekera.
Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
    na kuddayo kubuutikira nsi.

10 (I)Alagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu;
    ne gakulukutira wakati w’ensozi.
11 Ne ganywesa ebisolo byonna eby’omu nsiko;
    n’endogoyi ne gazimalako ennyonta.
12 (J)Ebinyonyi eby’omu bbanga bizimba ebisu byabyo ku mabbali g’amazzi,
    ne biyimbira mu matabi.
13 (K)Afukirira ensozi ennene ng’osinziira waggulu gy’obeera;
    ensi n’ekkuta ebibala by’emirimu gyo.
14 (L)Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente,
    n’ebirime abantu bye balima,
    balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka.
15 (M)Ne wayini okusanyusa omutima gwe,
    n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye,
    n’emmere okumuwa obulamu.
16 Emiti gya Mukama gifuna amazzi mangi;
    gy’emivule gy’e Lebanooni gye yasimba.
17 (N)Omwo ebinyonyi mwe bizimba ebisu byabyo;
    ne ssekanyolya asula mu miti omwo.
18 (O)Ku nsozi empanvu eyo embulabuzi ez’omu nsiko gye zibeera;
    n’enjazi kye kiddukiro ky’obumyu.

19 (P)Wakola omwezi okutegeeza ebiro;
    n’enjuba bw’egwa n’eraga olunaku.
20 (Q)Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro;
    olwo ebisolo byonna eby’omu bibira ne biryoka bivaayo.
21 (R)Empologoma ento zikaabira emmere gye zinaalya;
    nga zinoonya ebyokulya okuva eri Katonda.
22 (S)Enjuba bw’evaayo ne zigenda, n’oluvannyuma
    ne zikomawo ne zigalamira mu mpuku zaazo.
23 (T)Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe,
    ne bakola okutuusa akawungeezi.

24 (U)Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
    Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
    ensi ejjudde ebitonde byo.
25 (V)Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,
    ejjudde ebitonde ebitabalika,
    ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.
26 (W)Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;
    ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.

27 (X)Ebyo byonna bitunuulira ggwe
    okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.
28 (Y)Bw’ogibiwa,
    nga bigikuŋŋaanya;
bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi
    ne bikkusibwa.
29 (Z)Bw’okweka amaaso go
    ne byeraliikirira nnyo;
bw’obiggyamu omukka nga bifa,
    nga biddayo mu nfuufu.
30 Bw’oweereza Omwoyo wo,
    ne bifuna obulamu obuggya;
    olwo ensi n’ogizza buggya.

31 (AA)Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna;
    era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.
32 (AB)Atunuulira ensi, n’ekankana;
    bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.

33 (AC)Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna;
    nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.
34 (AD)Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;
    kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.
35 (AE)Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;
    aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.

Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.

Mumutenderezenga Mukama.

Yeremiya 35

Abalekabu

35 (A)Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya mu bufuzi bwa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, mutabani wa Yosiya nga kigamba nti, (B)“Genda eri ekika eky’Abalekabu obayite bajje mu kimu ku bisenge mu nnyumba ya Mukama obawe envinnyo banywe.”

Awo ne ntwala Yaazaniya mutabani wa Yeremiya, mutabani wa Kabazziniya ne baganda be ne batabani be bonna, ekika kyonna eky’Abalekabu. (C)Ne mbayingiza mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya batabani ba Kanani mutabani wa Igudaliya omusajja wa Katonda. Kyali kiriraanye ekisenge kya bakungu, ekyali waggulu w’ekisenge kya Maaseya mutabani wa Sallumu omukuumi w’oluggi. Ne nteeka ebibya ebijjudde envinnyo n’ebikopo ebimu mu maaso g’abasajja ab’ennyumba y’Abalekabu ne mbagamba nti, “Munywe ku nvinnyo.”

(D)Naye ne baddamu nti, “Tetujja kunywa nvinnyo kubanga jjajjaffe Yonadabu mutabani wa Lekabu yatulagira nti, ‘Tewabanga n’omu ku mmwe wadde abaana bammwe anywanga envinnyo. (E)Era temuzimbanga ennyumba, wadde okusiganga ensigo wadde okusimba emizabbibu; temubanga na bintu bino byonna, naye mubeeranga mu weema zokka. Olwo munaawangaliranga mu nsi gye munaaberangamu.’ (F)Twagondera ekiragiro kya jjajjaffe Yonadabu mutabani wa Lekabu kye yatulagira. Ffe wadde bakazi baffe wadde batabani baffe wadde bawala baffe tetunywangako ku nvinnyo, (G)oba okuzimba ennyumba okusulamu oba okuba n’ennimiro ez’emizabbibu, oba ebibanja oba ebirime. 10 Tusula mu weema era tugondedde bulambalamba byonna jjajjaffe Yonadabu bye yatulagira. 11 (H)Naye Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni bwe yazinda ensi eno ne tugamba nti, ‘Tugende e Yerusaalemi tuwone eggye ery’Abakaludaaya n’ery’Abasuuli,’ kyetuvudde tubeera mu Yerusaalemi.”

12 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, 13 (I)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Genda ogambe abantu ba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi nti, ‘Temuyinza kubaako kye muyiga, ne mugondera ebigambo byange? 14 (J)Yonadabu mutabani wa Lekabu yalagira batabani be obutanywa nvinnyo n’ekiragiro kino kyakumibwa. Okutuusa ne leero tebanywa nvinnyo, kubanga baagondera etteeka lya jjajjaabwe. Naye njogedde nammwe emirundi mingi, naye temuŋŋondedde. 15 (K)Emirundi mingi, natuma abaddu bange bonna bannabbi gye muli. Babagamba nti, “Buli omu ku mmwe ateekwa okuva mu makubo ge amabi akyuse ebikolwa bye, muleme kugoberera bakatonda balala okubaweereza, mulyoke mubeere mu nsi gye nabawa ne bajjajjammwe.” Naye temwanfaako wadde okumpuliriza. 16 (L)Ab’enda ya Yonadabu mutabani wa Lekabu baakuuma ekiragiro jjajjaabwe kye yabalagira, naye abantu bano tebaŋŋondedde.’

17 (M)“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ŋŋenda kuleeta ku Yuda ne ku buli muntu yenna atuula mu Yerusaalemi buli kibonoobono kye naboogerako. Nayogera nabo, naye tebampuliriza; nabayita, naye tebanziramu.’ ”

18 Awo Yeremiya n’agamba ennyumba y’Abalekabu nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Mugondedde ekiragiro kya jjajjaammwe Yonadabu ne mukwata byonna bye yabalagira ne mutuukiriza byonna bye yabagamba.’ 19 (N)Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Yonadabu mutabani wa Lekabu talirema kuba na mwana we alimpeereza.’ ”

1 Abakkolinso 12:27-13:3

27 (A)Kale mwenna awamu muli mubiri gwa Kristo, era buli omu ku mmwe kitundu kyagwo. 28 (B)Era abamu Katonda yabateekawo mu kkanisa: abasooka be batume, abookubiri be bannabbi, n’abookusatu be bayigiriza, ne kuddako abakola eby’amagero, ne kuddako abalina ebirabo eby’okuwonya endwadde, n’okuyamba abali mu kwetaaga, abakulembeze, era n’aboogezi b’ennimi. 29 Bonna batume? Bonna bannabbi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero? 30 (C)Bonna balina ekirabo ky’okuwonya endwadde? Bonna boogera mu nnimi? Bonna bavvuunula ennimi? 31 (D)Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu, naye ka mbalage ekkubo eddungi erisinga gonna.

Okwagala

13 (E)Singa njogera ennimi z’abantu n’eza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba ng’ekidde, ekireekaana oba ng’ekitaasa ekisaala. (F)Ne bwe mba n’ekirabo eky’okwogera eby’obunnabbi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba n’okukkiriza okungi ne kunsobozesa n’okusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba siri kintu. (G)Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuyamba abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne nneewaana, naye ne siba na kwagala, sibaako kye ngasibbwa.

Matayo 9:35-10:4

35 (A)Yesu n’agenda ng’ayita mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo, ne mu byalo ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka. Era buli we yatuukanga n’awonya abalwadde n’abakoozimbye bonna. 36 (B)Awo bwe yatunuulira ekibiina ky’abantu nga bajja gy’ali, nga bakooye nnyo, era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba, n’abasaasira nnyo. 37 (C)N’agamba abayigirizwa be nti, “Eby’okukungula bingi nnyo, naye abakozi abakungula batono. 38 Noolwekyo musabe nannyini nnimiro, aweereze abakozi mu nnimiro ye.”

Yesu Atuma Abayigirizwa Ekkumi n’Ababiri

10 (D)Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, ne bajja gy’ali n’abawa obuyinza okugobanga baddayimooni, n’okuwonyanga buli ndwadde n’okukozimba ebya buli ngeri.

Amannya g’abayigirizwa ekkumi n’ababiri ge gano:

Simooni, ayitibwa Peetero; ne Andereya, muganda wa Peetero;

ne Yakobo, omwana wa Zebbedaayo; ne Yokaana, muganda wa Yakobo;

Firipo; ne Battolomaayo;

ne Tomasi; ne Matayo, omusolooza w’omusolo;

ne Yakobo, omwana wa Alufaayo; ne Saddayo;

(E)ne Simooni, Omukananaayo; ne Yuda Isukalyoti, eyalya mu Yesu olukwe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.