Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:49-72

ז Zayini

49 Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo,
    kubanga gwe wampa essuubi.
50 (A)Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi
    kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.
51 (B)Ab’amalala banduulira obutamala,
    naye nze siva ku mateeka go.
52 (C)Bwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama,
    biwummuza omutima gwange.
53 (D)Nkyawa nnyo abakola ebibi,
    abaleka amateeka go.
54 Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba
    buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.
55 (E)Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama,
    ne neekuuma amateeka go.
56 Olw’okukugonderanga
    nfunye emikisa gyo mingi.

ח Esi

57 (F)Ggwe mugabo gwange, Ayi Mukama;
    nasuubiza okukugonderanga.
58 (G)Nkwegayirira n’omutima gwange gwonna,
    ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.
59 (H)Bwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte,
    ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.
60 Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go,
    so seekunya.
61 (I)Newaakubadde ng’emiguwa gy’ababi ginsibye,
    naye seerabirenga mateeka go.
62 (J)Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza,
    olw’ebiragiro byo ebituukirivu.
63 (K)Ntambula n’abo abakutya,
    abo bonna abakwata amateeka go.
64 (L)Ensi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo;
    onjigirize amateeka go.

ט Teesi

65 Okoze bulungi omuddu wo, Ayi Mukama,
    ng’ekigambo kyo bwe kiri.
66 Njigiriza okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi, era ompe okumanya;
    kubanga nzikiririza mu mateeka go.
67 (M)Bwe wali tonnambonereza nakyama nnyo,
    naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.
68 (N)Ayi Mukama, oli mulungi era okola ebirungi;
    onjigirize amateeka go.
69 (O)Ab’amalala banjogeddeko nnyo eby’obulimba,
    naye nze nkwata ebyo bye walagira, n’omutima gwange gwonna.
70 (P)Omutima gwabwe gugezze ne gusavuwala;
    naye nze nsanyukira amateeka go.
71 Okubonerezebwa kwangasa,
    ndyoke njige amateeka go.
72 (Q)Amateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi
    okusinga enkumi n’enkumi eza ffeeza ne zaabu.

Zabbuli 49

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

49 (A)Muwulire mmwe amawanga gonna,
    mutege amatu mmwe mwenna abali mu nsi.
Ab’ekitiibwa n’abakopi, abagagga n’abaavu, mwenna;
    muwulirize ebigambo byange.
(B)Kubanga ebigambo by’omu kamwa kange bya magezi,
    ebiva mu mutima gwange bijjudde okutegeera.
(C)Nnaakozesanga ebikwata ku ngero,
    nga nnyinnyonnyola amakulu gaazo n’oluyimba ku nnanga.

(D)Siityenga ne bwe nnaabanga mu buzibu;
    newaakubadde ng’abalabe bange banneetoolodde,
(E)abantu abeesiga obugagga bwabwe
    beenyumiririza mu bintu ebingi bye balina.
Ddala ddala, tewali muntu ayinza kununula bulamu bwa munne,
    wadde okwegula okuva eri Katonda.
(F)Kubanga omuwendo ogununula obulamu munene nnyo,
    tewali n’omu agusobola;
(G)alyoke awangaale ennaku zonna
    nga tatuuse magombe.
10 (H)Kubanga n’abantu abagezi bafa;
    abasirusiru n’abatalina magezi bonna baaggwaawo,
    obugagga bwabwe ne babulekera abalala.
11 (I)Entaana zaabwe ge ganaabanga amaka gaabwe ennaku zonna;
    nga bye bisulo ebya buli mulembe oguliddawo;
    baafuna ettaka mu mannya gaabwe.

12 Omuntu tabeerera mirembe gyonna, ne bw’aba mugagga atya,
    alifa ng’ensolo bwe zifa.

13 (J)Ako ke kabi akatuuka ku beesiga ebitaliimu,
    era ye nkomerero y’abo abeesiga obugagga bwabwe.
14 (K)Okufaanana ng’endiga, bateekwa kufa;
    olumbe ne lubalya.
Bakka butereevu emagombe,
    obulungi bwabwe ne bubula,
    amagombe ne gafuuka amaka gaabwe.
15 (L)Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu magombe,
    ddala ddala alintwala gy’ali.
16 Omuntu bw’agaggawalanga n’ekitiibwa ky’ennyumba ye nga kyeyongedde,
    tomutyanga,
17 (M)kubanga bw’alifa taliiko ky’alitwala, wadde n’ekitiibwa kye tekirigenda naye.
18 (N)Newaakubadde nga mu bulamu yeerowoozaako ng’aweereddwa omukisa
    kubanga omugagga abantu bamugulumiza,
19 (O)kyokka alikka emagombe eri bajjajjaabe,
    n’ayingira mu kizikiza ekikutte.

20 (P)Omuntu omugagga naye nga simutegeevu tabeerera mirembe gyonna,
    alizikirira ng’ensolo ez’omu nsiko.

Zabbuli 53

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

53 (A)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
    “Tewali Katonda.”
Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo;
    tewali n’omu akola kirungi.
(B)Katonda atunuulira abaana b’abantu
    ng’asinziira mu ggulu,
alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera
    era abamunoonya.
(C)Bonna bamukubye amabega
    ne boonooneka;
tewali akola kirungi,
    tewali n’omu.

Aboonoonyi tebaliyiga?

Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere;
    so tebakoowoola Katonda.
(D)Balitya okutya okutagambika;
    kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be.
Baliswazibwa
    kubanga Katonda yabanyooma.

Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni,
    Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be,
    Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.

Ezera 6

Ekiragiro kya Daliyo

(A)Awo kabaka Daliyo n’awa ekiragiro okunoonyereza mu bitabo ebyabeeranga mu ggwanika e Babulooni. Awo omuzingo gw’ekitabo ogwawandiikibwamu ekijjukizo ne guzuulibwa mu kibuga ekikulu Yakumesa eky’essaza ly’e Bumeedi nga kigamba nti:

Ekiwandiiko:

(B)Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa kabaka Kuulo, kabaka yateeka etteeka erikwata ku yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, nga ligamba nti:

Yeekaalu eddaabirizibwe ebeere ekifo eky’okuweerangayo ssaddaaka, n’emisingi gyayo giteekebwewo ginywezebwe. Eriba mita amakumi abiri mu musanvu obugulumivu (27), ne mita amakumi abiri mu musanvu obugazi (27), (C)ng’erina embu ssatu ez’amayinja amanene, n’olubu olulala nga lwa mbaawo. Omuwendo gwonna gwakusasulibwa okuva mu gwanika lya kabaka. (D)Ate era n’ebintu ebya zaabu n’ebya ffeeza eby’omu nnyumba ya Katonda, Nebukadduneeza bye yaggya mu yeekaalu e Yerusaalemi n’abireeta e Babulooni, bizibweyo mu bifo byabyo mu yeekaalu e Yerusaalemi; mulibiteeka mu nnyumba ya Katonda.

(E)Kale nno, Tattenayi ow’essaza ery’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi, n’abakungu abeeyo mwewale okutabulatabula. Temuyingirira mulimu ogukolebwa ku yeekaalu ya Katonda eyo. Muleke ow’essaza ly’Abayudaaya n’abakulu b’Abayudaaya bazzeewo ennyumba ya Katonda mu kifo kyayo.

(F)Ate era nteeka etteeka erikwata ku bye muteekwa okukolera abakulu abo ab’Abayudaaya nga bazimba yeekaalu ya Katonda:

Ebirikozesebwa abasajja abo byonna, bya kusasulibwa okuva mu ggwanika lya Kabaka, ku misolo egiva emitala w’omugga Fulaati, omulimu guleme okuyimirira. (G)Bwe baliba beetaaze okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda w’eggulu, oba nte nnume ento, oba ndiga nnume, oba ndiga nnume ento, oba ŋŋaano, oba munnyo, oba nvinnyo, oba mafuta, muteekwa okuwa bakabona ab’omu Yerusaalemi byonna nga bwe baliba basabye buli lunaku obutayosa, 10 (H)basobole okuwaayo ssaddaaka ezisiimibwa Katonda w’eggulu, era basabire kabaka ne batabani be.

11 (I)Era nteeka etteeka, omuntu yenna bwalikyusa ekiragiro ekyo, empagi eyazimba ennyumba ye eriggyibwa ku nnyumba ye, era n’awanikibwa ku mpagi eyo. N’ennyumba ye erifuulibwa olubungo olw’ekikolwa ekyo. 12 (J)Katonda eyaleetera Erinnya lye okubeera mu kifo ekyo, aggyewo kabaka yenna n’eggwanga eririyimusa omukono gwalyo okukyusa etteeka eryo oba n’okuzikiriza eyeekaalu eyo mu Yerusaalemi.

Nze Daliyo ntaddewo etteeka eryo. Likwatibwe butiribiri.

Yeekaalu eggwa okuzimbibwa

13 (K)Olw’ekiragiro kabaka Daliyo kye yaweereza, Tattenayi ow’essaza ly’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi ne bannaabwe ne bakola bye baalagibwa n’obunyiikivu bwonna. 14 (L)Abakadde b’Abayudaaya ne bagenda mu maaso n’okuzimba era ne balaba omukisa ng’okutegeeza kwa nnabbi Kaggayi n’okwa nnabbi Zekkaliya muzzukulu wa Ido bwe kwali. Ne bamaliriza okuzimba yeekaalu, ng’ekiragiro kya Katonda wa Isirayiri bwe kyali, era ng’amateeka ga Kuulo, ne Daliyo ne Alutagizerugizi bakabaka b’e Buperusi bwe gaali. 15 (M)Awo yeekaalu eyo n’emalirizibwa ku lunaku olwokusatu olw’omwezi Adali, mu mwaka ogw’omukaaga ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo.

Okutukuza Yeekaalu

16 (N)Awo abantu ba Isirayiri, bakabona n’Abaleevi n’abalala abaali mu buwaŋŋanguse ne bakomawo mu ssanyu ne bakola embaga ey’okutukuza ennyumba ya Katonda nga balina essanyu. 17 (O)Olw’okutukuza ennyumba eyo eya Katonda, baawaayo ente ennume kikumi, n’endiga ennume ebikumi bibiri, n’endiga ennume ento ebikumi bina, ate n’ekiweebwayo olw’ekibi ku lwa Isirayiri yenna, embuzi ennume kkumi na bbiri, ng’omuwendo bwe gwali ogw’ebika bya Isirayiri. 18 (P)Ne bateeka bakabona mu bibinja byabwe n’Abaleevi mu biti byabwe olw’okuweereza Katonda e Yerusaalemi, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa.

Embaga ey’Okuyitako

19 (Q)Ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye, abawaŋŋaangusibwa baafumba embaga ey’Okuyitako. 20 (R)Bakabona n’Abaleevi baali beetukuzizza era bonna nga balongoofu okukola emikolo. Abaleevi ne batta omwana gw’endiga ogw’Okuyitako, ku lwa baganda baabwe bakabona, nabo bennyini. 21 (S)Awo Abayisirayiri abaava mu buwaŋŋanguse ne bagirya wamu n’abo bonna abaali beeyawudde, nga basinza Mukama Katonda wa Isirayiri. 22 (T)Ne bamala ennaku musanvu nga balya n’essanyu Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa, kubanga Mukama yabajjuza essanyu bwe yakyusa omutima gwa kabaka w’e Bwasuli, n’abayamba mu mulimu ogw’ennyumba ya Katonda wa Isirayiri.

Okubikkulirwa 5:1-10

Omuzingo gw’Ekitabo n’Omwana gw’Endiga

(A)Awo ne ndaba omuzingo gw’ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka, nga guwandiikiddwamu munda ne kungulu era nga guteekeddwako obubonero bw’envumbo musanvu. Ne ndaba malayika ow’amaanyi ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’abuuza nti, “Ani asaanidde okubembulula obubonero obusibiddwa ku muzingo gw’ekitabo guno alyoke aguzingulule?” Ne wataba n’omu mu ggulu newaakubadde ku nsi, wadde wansi w’ensi, eyayinza okugwanjuluza wadde okugutunulamu. Awo ne nkaaba amaziga mangi, kubanga tewaalabikawo n’omu eyasaanira okwanjuluza omuzingo newaakubadde okugutunulamu. (B)Awo omu ku bakadde abiri mu abana n’aŋŋamba nti, “Lekeraawo okukaaba, kubanga, laba, empologoma ey’omu kika kya Yuda, ow’omu lulyo lwa Dawudi, yawangula, era y’ayinza okukutula obubonero omusanvu obw’envumbo n’okuzingulula omuzingo gw’ekitabo.”

(C)Ne ndaba nga ali ng’Omwana gw’Endiga ng’attiddwa ng’ayimiridde wakati w’entebe ey’obwakabaka n’ebiramu ebina, ne wakati w’abakadde, ng’alina amayembe musanvu n’amaaso musanvu, gy’emyoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu buli kitundu eky’ensi. (D)N’asembera n’aggya omuzingo gw’ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka. (E)Bwe yagukwata, ebiramu ebina n’abakadde amakumi abiri mu abana, ne bagwa mu maaso g’Omwana gw’Endiga ne bavuunama, buli omu ng’alina ennanga era ng’akutte ekibya ekya zaabu, ekyali kijjudde obubaane obwakaloosa nga butegeeza okusaba kw’abantu abatukuvu. (F)Baali bamuyimbira oluyimba oluggya nti,

“Ggw’osaanidde okutoola omuzingo gw’ekitabo,
    n’okusumulula ebigusibye n’okuguzingulula,
kubanga wattibwa,
    omusaayi gwo ne gununula abantu ba Katonda okubaggya mu buli kika,
    na buli lulimi, na buli ggwanga, na buli nsi.
10 (G)N’obafuula obwakabaka ne bakabona ba Katonda okumuweerezanga,
    era be balifuga ensi.”

Matayo 13:10-17

10 Abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamubuuza nti, “Lwaki oyogera nabo mu ngero?”

11 (A)N’abaddamu nti, “Mmwe mulina omukisa kubanga mwaweebwa okutegeera ebyama eby’obwakabaka obw’omu ggulu, naye bo tebaakiweebwa. 12 (B)Kubanga buli alina alyongerwako abeerere ddala na bingi, naye oyo atalina aliggyibwako n’ako akatono k’alina. 13 (C)Kyenva njigiriza mu ngero:

“Abalaba baleme okulaba,
    n’abawulira baleme okuwulira wadde okutegeera.

14 Kino kituukiriza nnabbi Isaaya kye yagamba nti,

“ ‘Muliwulira naye temulitegeera
    n’okulaba muliraba naye temulimanya.
15 (D)Kubanga omutima gw’abantu bano
    gwesibye,
    n’amatu gaabwe tegawulira bulungi.
N’amaaso gaabwe gazibiridde baleme okulaba n’amaaso wadde okuwulira n’amatu,
    wadde omutima gwabwe okutegeera,
ne bakyuka
    ne mbawonya.’

16 (E)Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba, n’amatu gammwe kubanga gawulira. 17 (F)Ddala ddala mbagamba nti, Waaliwo bannabbi bangi, n’abatuukirivu bangi abeegombanga okulaba ku bino bye mulaba, n’okuwulira bye muwulira kyokka ne batafuna mukisa ogwo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.