Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 45

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba “olw’Amalanga.” Zabbuli ya Batabani ba Koola.

45 Omutima gwange gujjudde ebigambo ebirungi
    nga nnyimba oluyimba lwa Kabaka.
    Olulimi lwange kkalaamu y’omuwandiisi omukugu.

(A)Ggw’osinga abaana b’abantu obulungi;
    n’akamwa ko nga kafukiddwako amafuta ag’ekisa.
    Kubanga Katonda akuwadde omukisa emirembe gyonna.

(B)Weesibe ekitala kyo, Ayi ggwe ow’amaanyi,
    yambala ekitiibwa kyo n’obukulu bwo!
(C)Weebagale embalaasi yo mu kitiibwa kyo eky’obuwanguzi,
    ng’olwanirira amazima, obuwombeefu, n’obutuukirivu.
    Omukono gwo ogwa ddyo gukole ebyewuunyisa.
Obusaale bwo obwogi bufumite emitima gy’abalabe ba kabaka;
    afuge amawanga.
(D)Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera;
    n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.
(E)Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi;
    noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza
    n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna.
(F)Ebyambalo byo birina akawoowo ka mmooli ne alowe, ne kasiya.
    Ebivuga eby’enkoba bikusanyusiza
    mu mbiri zo ez’amasanga.
(G)Mu bakyala bo mulimu abambejja;
    namasole ali ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zaabu ya Ofiri.

10 (H)Muwala, wuliriza bye nkugamba:
    “Weerabire ab’ewammwe n’ab’omu nnyumba ya kitaawo.
11 (I)Kabaka akulowoozaako nnyo, kubanga walungiwa n’oyitirira;
    nga bw’ali mukama wo, muwenga ekitiibwa.”
12 (J)Muwala w’e Ttuulo[a] alijja n’ekirabo,
    abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo.
13 (K)Omuwala wa kabaka ajjudde ekitiibwa mu kisenge kye,
    ng’ayambadde ekyambalo ekyalukibwa ne zaabu.
14 (L)Aleetebwa mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ebyambalo eby’emidalizo emingi.
    Emperekeze ze zimuwerekerako;
    bonna ne bajja gy’oli.
15 Baleetebwa nga bajjudde essanyu n’okweyagala,
    ne bayingira mu lubiri lwa kabaka.

16 Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe,
    olibafuula ng’abalangira mu nsi omwo.
17 (M)Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna.
    Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe n’emirembe.

Zabbuli 47-48

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

47 (A)Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna;
    muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;
(B)Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa.
    Ye Kabaka afuga ensi yonna.
(C)Yatujeemululira abantu,
    n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.
(D)Yatulondera omugabo gwaffe,
    Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.

(E)Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi.
    Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.
(F)Mutendereze Katonda, mumutendereze.
    Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze.[a]
(G)Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna,
    mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo.

(H)Katonda afuga amawanga gonna;
    afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.
(I)Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye
    ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu;
kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi.
    Katonda agulumizibwenga nnyo.

Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

48 (J)Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo
    mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.

(K)Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu,
    olusanyusa ensi yonna.
Ku ntikko Zafoni kwe kuli
    ekibuga kya Kabaka Omukulu;
(L)Katonda mw’abeera;
    yeeraze okuba ekigo kye.

(M)Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana
    ne bakyolekera bakirumbe;
(N)bwe baakituukako ne bakyewuunya,
    ne batya nnyo ne badduka;
nga bakankana,
    ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.
(O)Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba
    bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.

(P)Ebyo bye twawuliranga obuwulizi,
    kaakano tubirabye
mu kibuga kya Mukama ow’Eggye,
    mu kibuga kya Katonda waffe,
    kyalinywereza ddala emirembe gyonna.

(Q)Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo
    nga tuli mu Yeekaalu yo.
10 (R)Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda,
    bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna.
    Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
11 (S)Sanyuka gwe Sayuuni,
    musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda;
    kubanga Katonda alamula bya nsonga.

12 Mutambule mu Sayuuni, mukibune;
    mubale n’ebigo byakyo.
13 (T)Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo
    n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna;
    mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.

14 (U)Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna;
    y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.

Ezera 5

(A)Awo bannabbi Kaggayi ne Zekkaliya muzzukulu wa Iddo ne bategeeza Abayudaaya abaabeeranga mu Yuda ne Yerusaalemi obubaka obuva eri Katonda wa Isirayiri, Katonda waabwe. (B)Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne bagolokoka ne bagenda mu maaso n’omulimu gw’okuddaabiriza ennyumba ya Katonda mu Yerusaalemi, era ne bannabbi ba Katonda nga babayambako.

(C)Mu kiseera kyekimu Tattenayi ow’essaza ly’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi ne bagenda gye bali ne bababuuza nti, “Ani eyabawa obuyinza okuddaabiriza yeekaalu eyo n’okuzaawo bbugwe oyo?” Ate era ne bababuuza n’amannya g’abasajja abaakolanga ku kizimbe ekyo. (D)Naye Katonda waabwe n’abeeranga wamu n’abakulu b’Abayudaaya, ne bataziyizibwa kugenda mu maaso n’omulimu okutuusa ekigambo nga kivudde eri Daliyo, n’okuddamu kwe nga kuli mu buwandiike.

Kopi ey’ebbaluwa Tattenayi ow’essaza ly’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi ne bannaabwe abakungu ab’emitala w’omugga Fulaati gye baaweereza Kabaka Daliyo, yalimu ebigambo bino wansi.

Eri Kabaka Daliyo,

Mirembe myereere.

(E)Kitugwanidde okumanyisa kabaka nga bwe twagenze mu ssaza lya Yuda ku yeekaalu ya Katonda omukulu. Abantu bagizimba n’amayinja amanene era bateeka n’embaawo mu bbugwe, era n’omulimu gukolebwa n’obunyiikivu n’okugenda gugenda mu maaso olw’okufuba kwabwe.

(F)Twabuuza abakulu nti, “Ani eyabawa obuyinza okuddaabiriza yeekaalu eyo n’okuzzaawo bbugwe oyo?” 10 Era twababuuza n’amannya gaabwe, tusobole okukuweereza amannya g’abakulembeze baabwe.

11 (G)Baatuddamu nti:

“Tuli baddu ba Katonda w’eggulu n’ensi, era tuddaabiriza yeekaalu eyazimbibwa emyaka egy’edda omu ku bakabaka abakulu aba Isirayiri, n’agimala. 12 (H)Naye olw’okuba nga bajjajjaffe baasunguwaza Katonda w’eggulu, yabawaayo mu mukono gwa Nebukadduneeza Omukaludaaya, kabaka w’e Babulooni, eyazikiriza yeekaalu eno n’atwala abantu e Babulooni.

13 (I)“Naye mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka w’e Babulooni, kabaka Kuulo oyo n’awa ekiragiro okuddaabiriza ennyumba ya Katonda eno. 14 (J)Ebintu ebya zaabu n’ebya ffeeza eby’omu nnyumba ya Katonda, Nebukadduneeza bye yanyaga mu yeekaalu eyali mu Yerusaalemi n’abitwala mu ssabo ly’e Babulooni, Kabaka Kuulo n’abiggyayo. Kabaka Kuulo n’abikwasa omusajja erinnya lye Sesubazaali, gwe yalonda okuba owessaza, 15 era n’amugamba nti, ‘Twala ebintu ebyo, ogende obiteeke mu yeekaalu eri mu Yerusaalemi, era olabe ng’ennyumba ya Katonda edda mu kifo kyayo.’

16 (K)“Sesubazaali oyo n’ajja n’azimba omusingi gw’ennyumba ya Katonda mu Yerusaalemi, era okuva mu kiseera ekyo n’okutuusa kaakano omulimu gukyagenda mu maaso, tegunnagwa.”

17 (L)Noolwekyo kabaka bw’aba ng’asiimye, wabeewo okunoonyereza mu bitabo mu ggwanika lya kabaka eyo e Babulooni obanga ddala Kabaka Kuulo yawa ekiragiro okuddaabiriza ennyumba ya Katonda mu Yerusaalemi. N’oluvannyuma kabaka atutumire okututegeeza ky’asazeewo ku nsonga eyo.

Okubikkulirwa 4

Entebe ey’Obwakabaka mu Ggulu

(A)Laba, oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba oluggi oluggule mu ggulu, era ne mpulira n’eddoboozi lye limu lye nawulira olubereberye eryali livuga ng’eryekkondere nga liŋŋamba nti, “Yambuka wano nkulage ebyo ebiteekwa okubaawo oluvannyuma lwa biri.” (B)Amangwago, nga ndi mu mwoyo, laba, ne ndaba entebe ey’obwakabaka ng’etegekeddwa mu ggulu, ne ku ntebe eyo nga kuliko atuddeko. (C)Eyali agituddeko yali ayakaayakana ng’amayinja ag’omuwendo omungi aga yasepi ne sadio; era ng’entebe eyo yeetooloddwa musoke ng’ayakaayakana nga zumaliidi. (D)Entebe ey’obwakabaka yali yeetooloddwa entebe endala amakumi abiri mu nnya nga zituuliddwako abakadde amakumi abiri mu bana, bonna nga bambadde engoye enjeru nga balina engule eza zaabu ku mitwe gyabwe. (E)Mu ntebe eyo ey’obwakabaka ne muvaamu okumyansa n’amaloboozi n’okubwatuka. Mu maaso g’entebe eyo waaliwo ettabaaza ezaaka musanvu, nga gy’emyoyo omusanvu egya Katonda. (F)Ne mu maaso g’entebe eyo waaliwo ekiri ng’ennyanja ey’endabirwamu, ekifaanana nga kulusitalo. Waaliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n’emabega waabyo nga biri wakati w’entebe ey’obwakabaka n’okugyetooloola.

(G)Ekisooka ku biramu bino kyali ng’empologoma, ekyokubiri nga kifaanana ng’ennyana, n’ekyokusatu kyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’ekyokuna kyali ng’empungu, ebuuka. (H)Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana n’ekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti,

“Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu,
Mukama Katonda Ayinzabyonna,
Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.”

(I)Era ebiramu ebyo ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa n’ettendo n’okwebaza, Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, abeera omulamu emirembe gyonna, 10 (J)abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, omulamu emirembe n’emirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso g’entebe eyo, nga bwe bagamba nti,

11 (K)“Mukama waffe era Katonda waffe,
    osaanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza,
kubanga gwe watonda ebintu byonna
    era byonna byatondebwa ku lulwo
    era gwe wasiima okubiteekawo.”

Matayo 13:1-9

Olugero lw’Omusizi

13 (A)Ku lunaku olwo Yesu n’afuluma mu nnyumba n’agenda n’atuula ku lubalama lw’ennyanja. (B)Ekibiina kinene ne kimukuŋŋaanirako. Kwe kuyingira mu lyato n’atuula omwo abantu bonna ne bayimirira ku lubalama. N’ababuulira ebintu bingi mu ngero ng’agamba nti, “Omulimi yali asiga ensigo mu nnimiro ye. Bwe yagenda ng’amansa ensigo, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya. Endala ne zigwa ku lwazi okutali ttaka lingi era ne zimera mangu kubanga ettaka teryali ggwanvu. Naye omusana bwe gwayaka ne ziwotoka kubanga emirandira gyazo gyali kumpi. Endala ne zigwa mu maggwa, bwe zaamera amaggwa nago ne gakula ne gazisinga amaanyi, obulimi obwali bwakamera ne bukala. (C)Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zimera ne zibala bulungi, ne zivaamu emirundi amakumi asatu, n’endala emirundi nkaaga n’endala emirundi kikumi. (D)Alina amatu agawulira, awulire.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.