1 Ebyomumirembe 16:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)Weebaze Mukama kubanga mulungi;
era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
1 Ebyomumirembe 16:41
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
41 (A)Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo.
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 7:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Awo Abayisirayiri bonna bwe baalaba omuliro nga gukka, n’ekitiibwa kya Mukama nga kiri ku yeekaalu, ne bavuunama ku lubalaza ng’amaaso gaabwe gatunudde wansi ne basinza era ne beebaza Mukama nga boogera nti,
“Mulungi,
era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
Zabbuli 107:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
EKITABO V
Zabbuli 107–150
107 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Zabbuli 118:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
118 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Nekkemiya 12:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Abakulembeze b’Abaleevi baali: Kasabiya, ne Serebiya, ne Yesuwa mutabani wa Kadumyeri, n’abaabayambangako nga baboolekedde, nga batendereza era nga beebaza, ng’ekibinja ekimu kiddamu ekirala kye biyimba, nga Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.