Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
62 (A)Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka;
oyo obulokozi bwange mwe buva.
2 (B)Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange;
ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga n’akatono.
3 (C)Mulituusa ddi nga mulumba omuntu,
mmwe mwenna okwagala okumusuula wansi
ng’ekisenge ekyewunzise era ng’olukomera oluyuuguuma?
4 (D)Bateesa okumuggya
mu kifo kye ekinywevu,
basanyukira eby’obulimba.
Basaba omukisa n’emimwa gyabwe
so nga munda bakolima.
5 Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka;
kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange.
6 Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange,
ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga.
7 (E)Okulokolebwa kwange n’ekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka;
ye lwe lwazi lwange olw’amaanyi era kye kiddukiro kyange.
8 (F)Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu,
mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe,
kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.
9 (G)Abaana b’abantu mukka bukka,
abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere;
ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani,
n’omukka gubasinga okuzitowa.
10 (H)Temwesigamanga ku bujoozi
wadde ku bintu ebibbe.
Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga,
era temubumalirangako mwoyo gwammwe.
11 Katonda ayogedde ekintu kimu,
kyokka nze nziggyemu ebintu bibiri nti:
Katonda, oli w’amaanyi,
12 (I)era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala.
Ddala olisasula buli muntu
ng’ebikolwa bye bwe biri.
2 (A)Mukama alina ensonga ne Yuda,
era alibonereza Yakobo ng’engeri ze bwe ziri.
Amusasule ng’ebikolwa bye bwe biri.
3 (B)Bwe yali mu lubuto lwa nnyina yakwata muganda we ku kisinziiro,
ne mu bukulu bwe n’ameggana ne Katonda.
4 (C)Yameggana ne malayika n’amuwangula,
n’akaaba n’amwegayirira.
Yamusisinkana e Beseri,
n’ayogera naye.
5 (D)Mukama Katonda ow’Eggye,
Mukama ly’erinnya lye erijjukirwa.
6 (E)Naye oteekwa okudda eri Katonda wo;
kuuma okwagala n’obwenkanya,
olindirirenga Katonda wo ennaku zonna.
7 (F)Omusuubuzi akozesa ebipimo eby’obulimba,
era anyumirwa okukumpanya.
8 (G)Efulayimu yeewaana ng’ayogera nti,
“Ndi mugagga nnyo, nfunye ebintu bingi.
Mu bugagga bwange bwonna, tebayinza kundabamu kibi
wadde okwonoona kwonna.”
9 (H)Nze Mukama Katonda wo,
eyakuggya mu Misiri;
ndikuzzaayo n’obeera mu weema nate,
nga mu nnaku ez’embaga ezaalagirwa.
10 (I)Nayogera eri bannabbi,
ne mbawa okwolesebwa kungi,
ne mbagerera engero nga mpita mu bo.
11 (J)Gireyaadi butali butuukirivu
era n’abantu baamu butaliimu.
Mu Gireyaadi basalirayo ente ennume ne baziwaayo nga ssaddaaka,
era ebyoto byabwe binaaba ng’entuumo ey’amayinja mu nnimiro ennime.
12 (K)Yakobo yaddukira mu nsi ya Alamu;[a]
Isirayiri yaweereza okufuna omukazi,
era okumufuna yalundanga ndiga.
13 (L)Mukama yakozesa nnabbi okuggya Isirayiri mu Misiri,
era n’akozesa nnabbi okumukuuma.
14 (M)Naye Efulayimu amusoomoozezza era amusunguwazizza,
Mukama we kyaliva amutekako omusango olw’omusaayi gwe yayiwa,
n’amusasula olw’obunyoomi bwe.
Omuvubuka Omugagga
16 (A)Awo omuntu omu n’amusemberera n’amubuuza nti, “Omuyigiriza, nkole ki ekirungi okufuna obulamu obutaggwaawo?”
17 (B)Yesu n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza ebikwata ku birungi? Omulungi ali omu, naye bw’obanga oyagala okuyingira mu bulamu, ggondera amateeka.”
18 (C)N’amuddamu nti, “Ge galuwa?”
Yesu n’amugamba nti, “ ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, 19 (D)ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko era yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ ”
20 Omuvubuka oyo n’amuddamu nti, “Ebyo byonna nabikwata dda, ate kiki ekimpeebuuseeko?”
21 (E)Yesu n’amugamba nti, “Obanga oyagala okuba omutuukirivu genda otunde ebibyo, ensimbi ozigabire abaavu, kale oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”
22 Naye omuvubuka bwe yawulira ebyo n’agenda ng’anakuwadde kubanga yali mugagga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.