Revised Common Lectionary (Complementary)
7 (A)Wadde obutali butuukirivu bwaffe butulumiriza, Ayi Mukama,
baako ky’okola olw’erinnya lyo.
Kubanga tuzze ennyuma emirundi mingi,
tukwonoonye nnyo.
8 (B)Ayi ggwe essuubi lya Isirayiri,
Omulokozi waalyo mu biseera eby’okulabiramu ennaku,
lwaki oli ng’omuyise mu nsi,
ng’omutambuze asula ekiro ekimu?
9 (C)Lwaki oli ng’omuntu gwe baguddeko obugwi,
ng’omulwanyi ataliimu maanyi ganunula?
Ggwe, Ayi Mukama Katonda, oli wakati mu ffe,
era tuyitibwa linnya lyo.
Totuleka.
10 (D)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku bantu be nti,
“Baagala nnyo okubula,
tebaziyiza bigere byabwe.
Noolwekyo Mukama tabakkiriza
era kaakano wakujjukira obutali butuukirivu bwabwe
era ababonereze olw’ebibi byabwe.”
19 (A)Yuda ogigaanidde ddala?
Sayuuni ogyetamiriddwa ddala?
Otufumitidde ddala awatali kuwonyezebwa?
Twasuubira emirembe naye tewali kalungi ke tufunye,
ekiseera eky’okuwonyezebwa
naye laba tufunye bulabe bwereere.
20 (B)Ayi Mukama tukkiriza ebibi byaffe
era n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe,
kubanga ddala twayonoona gy’oli.
21 (C)Olw’erinnya lyo totugoba,
tovumaganyisa ntebe yo ey’obwakabaka ey’ekitiibwa.
Jjukira endagaano gye wakola naffe,
togimenya, gituukirize.
22 (D)Waliwo ku bakatonda ababajje bannaggwanga asobola okutonnyesa enkuba?
Eggulu ku bw’alyo lisobola okuleeta enkuba?
Nedda, wabula ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe.
Noolwekyo essuubi lyaffe liri mu ggwe,
kubanga ggwe okola bino byonna.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
84 (A)Eweema zo nga nnungi,
Ayi Mukama ow’Eggye!
2 (B)Omwoyo gwange guyaayaana,
gwagala na kuzirika,
olw’empya za Mukama,
omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
3 (C)Weewaawo,
ne nkazaluggya yeekoledde ekisu,
n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo
awo okumpi n’Ebyoto byo,
Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
4 Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo,
banaakutenderezanga.
6 (A)Nze kaakano mpebwayo, era ekiseera kyange eky’okuva ku nsi kituuse. 7 (B)Nnwanye okulwana okulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange. 8 (C)Kye nsigazza kwe kufuna engule ey’obutuukirivu enterekeddwa, Mukama omulamuzi omutuukirivu gy’alimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa n’abo bonna abeegomba okujja kwe.
16 (A)Mu kuwoza kwange okwasooka, tewaali n’omu yajja kubeera nange, bonna banjabulira. Nsaba Katonda ekyo kireme kubavunaanibwa. 17 (B)Kyokka Mukama waffe yabeera nange, n’ampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala Abaamawanga bonna Enjiri ne bagiwulira, bw’atyo n’anziggya mu kamwa k’empologoma. 18 (C)Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe n’emirembe. Amiina.
9 (A)Awo Yesu n’agerera olugero luno abo abeerowooza nga batuukirivu nga banyoomoola n’abantu abalala, n’agamba nti, 10 (B)“Abantu babiri baayambuka mu Yeekaalu okusaba, omu yali Mufalisaayo n’omulala nga muwooza. 11 (C)Omufalisaayo n’ayimirira n’atandika okusaba nga yeeyogerako nti, ‘Nkwebaza, Katonda, kubanga sifaanana ng’abantu abalala: ab’omululu, abalyazaamaanyi, abenzi, oba omuwooza ono. 12 (D)Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, era mpaayo eri Katonda, ekimu eky’ekkumi ku bintu byonna bye nfuna.’
13 (E)“Naye omuwooza n’ayimirira wala n’atasobola na kuyimusa maaso ge kutunula eri eggulu ng’asaba, wabula ne yeekuba mu kifuba ng’asaba nti, ‘Katonda, onsaasire, nze omwonoonyi.’
14 (F)“Mbagamba nti omusajja ono, omuwooza ye yaddayo eka ng’asonyiyiddwa ebibi bye. Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.