Revised Common Lectionary (Complementary)
Oluyimba nga balinnya amadaala.
121 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
okubeerwa kwange kuva wa?
2 (A)Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.
3 Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
oyo akukuuma taabongootenga.
4 Laba, oyo akuuma Isirayiri
taabongootenga so teyeebakenga.
Yerusaalemi eky’Ebiro Ebijja
11 (A)Mukama agamba nti,
“Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekibonyaabonyezebwa, ekisuukundibwa emiyaga awatali kulaba ku mirembe;
laba ndikuzimba buto n’amayinja ag’amabala amalungi,
emisingi gyo ne gizimbibwa ne safiro.
12 Ebitikkiro byo ndibikola n’amayinja amatwakaavu,
n’emiryango gyo ne ngikola ne kabunkulo,
ne bbugwe yenna ne mwetoolooza amayinja ag’omuwendo.
13 (B)N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama;
n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.
14 (C)Olinywezebwa mu butuukirivu
era toojoogebwenga,
kubanga tolitya,
onoobanga wala n’entiisa kubanga terikusemberera.
15 (D)Omuntu yenna bwakulumbanga kiriba tekivudde gye ndi.
Buli anaakulumbanga anaawangulwanga ku lulwo.
16 Laba nze natonda omuweesi,
awujja amanda agaliko omuliro
n’aweesa ekyokulwanyisa olw’omugaso gwakyo.
Era nze natonda abazikiriza abakozesa ekyokulwanyisa okumalawo obulamu.
17 (E)Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola,
era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe.
Guno gwe mugabo gw’abaddu ba Mukama,
n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
22 Awo Pawulo n’ayimirira mu maaso gaabwe mu Aleyopaago, n’abagamba nti, “Abasajja b’omu Asene! Ntegedde nga bwe muli abannaddiini ennyo; 23 (A)kubanga bwe mbadde ntambulatambula ne ndaba ebyoto bya ssaddaaka bingi, ne ku kimu nga kuliko ebigambo bino nti:
Kya Katonda Atamanyiddwa.
Mubadde mumusinza nga temumumanyi, nange kaakano njagala mbamutegeeze.
24 (B)“Katonda oyo ye yakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama w’eggulu n’ensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa n’emikono gy’abantu, 25 (C)era abantu tebayinza kumuyamba mu byetaago bye, kubanga talina byetaago! Ye yennyini y’awa buli muntu obulamu n’omukka gw’assa n’ebintu byonna. 26 (D)Ye yatonda abantu bonna mu nsi, ng’abaggya mu muntu omu, n’abasaasaanya mu mawanga okubuna ensi yonna. N’ateekateeka amawanga agalisituka n’agaligwa, era n’ebbanga lye galimala. Era n’agakolera n’ensalo zaago. 27 (E)Yakola bw’atyo ng’ayagala abantu bonna banoonye Katonda, nga bafuba okumuvumbula, okumutuukako, newaakubadde nga buli omu ku ffe tamuli wala. 28 (F)Kubanga mu ye mwe tubeera, era mwe tutambulira, era mwe muli obulamu bwaffe. Ng’omu ku bawandiisi bammwe bw’agamba nti, ‘Tuli baana ba Katonda.’
29 (G)“Obanga kino kya mazima nti tuli baana ba Katonda, tetusaana kumulowoozaako ng’ekibajje ekikoleddwa abantu oba ekintu ekyoleddwa mu zaabu oba ffeeza oba ekitemeddwa mu jjinja. 30 (H)Edda mu biseera ebyayita Katonda yagumiikiriza obutamanya bw’omuntu ku bintu ng’ebyo, naye kaakano alagira abantu bonna buli wantu okwenenya. 31 (I)Kubanga yateekawo olunaku, oyo gwe yalonda lw’alisalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Era yamukakasa eri abantu bonna kubanga yamuzuukiza mu bafu.”
32 (J)Awo bwe baawulira Pawulo ng’ayogera ku kuzuukira kw’abafu, abamu ne bamusekerera, abalala ne bamugamba nti, “Twandiyagadde okwongera okukuwuliriza ku nsonga eyo olulala.” 33 Bw’atyo Pawulo n’afuluma mu lukuŋŋaana lwabwe. 34 (K)Naye abamu ku bo ne bamugoberera ne bakkiriza Mukama waffe. Omwo mwe mwali Diyonusiyo Omwaleyopaago, n’omukazi erinnya lye Damali n’abalala.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.