Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli ya Dawudi.
32 (A)Alina omukisa oyo
asonyiyiddwa ebyonoono bye
ekibi ne kiggyibwawo.
2 (B)Alina omukisa omuntu oyo
Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.
3 (C)Bwe nasirikiranga ekibi kyange,
ne nkogga,
kubanga nasindanga olunaku lwonna.
4 (D)Wambonerezanga
emisana n’ekiro,
amaanyi ne ganzigwamu
ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.
5 (E)Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
“Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.
21 (A)“Gonderanga Katonda ofunenga emirembe;
mu ngeri eno ebirungi lwe binajjanga gy’oli.
22 Kkiriza ebiragiro ebiva mu kamwa ke
era oteeke ebigambo bye mu mutima gwo.
23 (B)Bw’onodda eri oyo Ayinzabyonna, onodda buggya,
bwonooteeka ebibi ewala ne weema yo,
24 (C)n’oteeka n’amayinja go ag’omuwendo mu ttaka,
zaabu yo eya Ofiri ku njazi z’omu mugga,
25 (D)awo Ayinzabyonna anaabeeranga zaabu yo,
era ffeeza esingayo obulungi.
26 (E)Ddala ddala olisanyukira mu oyo Ayinzabyonna
era oyimuse amaaso go eri Katonda.
27 (F)Olimusaba, alikuwulira,
era olituukiriza obweyamo bwo.
28 Ky’olisalawo kirikolebwa,
era ekitangaala kirimulisa amakubo go.
29 (G)Abantu abalala bwe balisuulibwa n’ogamba nti, ‘Bayimuse!’
Olwo alirokola abagudde.
30 (H)Alinunula n’oyo aliko omusango,
alinunulwa olw’obulongoofu bw’emikono gyo.”
Yobu Ayanukula
23 Awo Yobu n’addamu nti,
2 (I)“N’okutuusa leero okwemulugunya kwange kubalagala,
omukono gwe gunzitoowerera wadde mbadde mu kusinda.
3 Singa nnali mmanyi aw’okumusanga
nandisobodde okulaga gy’abeera!
4 (J)Nanditutte empoza yange gy’ali,
akamwa kange nga nkajjuzizza ensonga zange.
5 Nanditegedde kye yandinzizeemu,
ne neetegereza kye yandiŋŋambye.
6 (K)Yandimpakanyizza n’amaanyi mangi?
Nedda, teyandinteeseko musango.
7 (L)Eyo omuntu omutuukirivu asobola okutwalayo ensonga ye,
era nandisumuluddwa omulamuzi wange emirembe n’emirembe.
8 “Bwe ŋŋenda ebuvanjuba, nga taliiyo;
ne bwe ŋŋenda ebugwanjuba, simusangayo.
9 (M)Bw’aba akola mu bukiikakkono simulaba,
bw’adda mu bukiikaddyo, simulabako.
10 (N)Naye amanyi amakubo mwe mpita,
bw’anaamala okungezesa, nzija kuvaamu nga zaabu.
11 (O)Ebigere byange bimugoberedde;
ntambulidde mu makubo ge nga sikyamakyama.
12 (P)Saava ku biragiro by’akamwa ke.
Nayagala ebigambo by’akamwa ke okusinga emmere yange gyendya bulijjo.
13 (Q)“Naye yeemalirira, ani ayinza okumuwakanya?
Akola kyonna ekimusanyusa.
14 (R)Weewaawo ajja kutuukiriza by’asazzeewo okunjolekeza,
era bingi byategese by’akyaleeta.
15 Kyenva mba n’entiisa nga ndi mu maaso ge;
bwe ndowooza ku bino byonna, ne mmutya.
16 (S)Katonda anafuyizza nnyo omutima gwange,
Ayinzabyonna antiisizza nnyo.
17 (T)Naye ekizikiza tekinsirisizza,
ekizikiza ekikutte ennyo ekibisse amaaso gange.”
1 (A)Nze Simooni Peetero omuddu era omutume wa Yesu Kristo mpandiikira abo abaafuna okukkiriza okw’omuwendo nga ffe, mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo, 2 (B)ekisa n’emirembe byeyongerenga mu mmwe nga mutegeera Katonda ne Yesu Mukama waffe.
Okuyita n’okulonda kwa Katonda
3 (C)Kubanga mu maanyi g’obwakatonda bwe, mwe twaweerwa ebintu byonna olw’obulamu buno n’okutya Katonda mu kumanya oyo eyatuyita olw’ekitiibwa kye n’obulungi bwe ye. 4 (D)Ebyo bye byatuweesa ebisuubizo eby’omuwendo ebikulu, mu byo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bw’obwakatonda, muwone okuzikirira okuva mu kwegomba okubi okw’omu nsi.
5 (E)Noolwekyo mufubenga nnyo, okukkiriza kwammwe mukwongereko obulungi, ne ku bulungi mwongereko okutegeera, 6 (F)ne ku kutegeera mwongereko okwefuganga, ne ku kwefuganga mwongereko obugumiikiriza, ne ku bugumiikiriza mwongereko okutya Katonda, 7 (G)ne ku kutya Katonda mwongereko okufaayo ku booluganda abalala bonna ne ku kufaayo ku booluganda bonna abalala mwongereko okwagalananga. 8 (H)Kubanga bwe muba n’ebyo ne byeyongera obungi, bibafuula ba mugaso era ababala ebibala olw’okutegeera Mukama waffe Yesu Kristo. 9 (I)Oyo atalina ebyo muzibe wa maaso era awunaawuna, era yeerabidde bwe yanaazibwako ebibi bye eby’edda.
10 (J)Kale, abooluganda mweyongerenga okunywerera mu kulondebwa kwammwe ne mu kuyitibwa kwammwe. Kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temulyesittala n’omulundi n’ogumu. 11 Era mulyanirizibwa n’essanyu lingi nnyo mu bwakabaka bwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.