Revised Common Lectionary (Complementary)
Oluyimba nga balinnya amadaala.
121 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
okubeerwa kwange kuva wa?
2 (A)Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.
3 Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
oyo akukuuma taabongootenga.
4 Laba, oyo akuuma Isirayiri
taabongootenga so teyeebakenga.
3 (A)Awo Yakobo n’atuma ababaka eri Esawu muganda we, mu kitundu kya Seyiri[a] mu nsi ya Edomu. 4 N’abagamba nti, “Mugambe mukama wange Esawu nti, ‘Omuddu wo Yakobo abadde ne Labbaani okutuusa kaakano, 5 (B)alina ente, n’endogoyi, n’endiga era n’embuzi, abaweereza abakazi era n’abasajja. Kaakano aweerezza mukama we Esawu obubaka buno afune okusaasirwa mu maaso ge.’ ”
6 (C)Ababaka bwe baakomawo eri Yakobo ne bamugamba nti, “Twatuuka ewa muganda wo Esawu era ajja okukusisinkana ng’alina abasajja ebikumi bina.” 7 (D)Olwo Yakobo n’atandika okutiira ddala, n’asoberwa. N’ayawulamu abantu be yali nabo, n’ayawulamu n’endiga, ebisibo bye yalina ne mu ŋŋamira, ebibinja bibiri, 8 ng’alowooza nti, “Esawu bw’anaatuuka ku kibinja ekisooka n’akizikiriza, kale ekibinja ekisigaddewo kinadduka.”
9 (E)Awo Yakobo n’agamba nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, Ayi Mukama eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi yammwe, mu bantu bo, nange nnaakugaggawazanga,’ 10 (F)sisaanira wadde akatundu akatono ak’okwagala kwo okutaggwaawo, wadde obwesigwa bwonna bw’olaze omuddu wo. Kubanga nasomoka omugga guno Yoludaani nga nnina muggobuggo; naye kaakano nfuuse ebibinja bibiri. 11 (G)Nkusaba omponye mu mukono gwa muganda wange, Esawu, kubanga mmutya, talwa kujja n’atutta ffenna awamu n’abakazi n’abaana. 12 (H)Naye waŋŋamba nti, ‘Nnaakugaggawazanga, era abalikuvaamu baliba ng’omusenyu gw’ennyanja, ogutabalika obungi bwabwe.’ ”
Ekirabo kya Yakobo eri Esawu
13 (I)N’alyoka asula eyo ekiro ekyo, n’aggya ekirabo kya muganda we Esawu ku ebyo bye yalina: 14 embuzi enkazi ebikumi bibiri, embuzi ennume amakumi abiri, endiga enkazi ebikumi bibiri, endiga ennume amakumi abiri, 15 eŋŋamira enkazi amakumi asatu n’obwana bwazo, ente enkazi amakumi ana n’ennume kkumi, n’endogoyi enkazi amakumi abiri, n’endogoyi ennume kkumi. 16 N’azikwasa abaddu be, buli kisibo ng’akyawudde, n’agamba abaddu be nti, “Kale munkulemberemu, mulekeewo ebbanga wakati wa buli kisibo.”
17 N’alagira eyakulembera nti, “Esawu, muganda wange bw’anaakusisinkana n’akubuuza nti, ‘Oli muntu w’ani? Ogenda wa? Na bino by’olina by’ani?’ 18 (J)N’olyoka omuddamu nti, ‘Bya muddu wo Yakobo, birabo by’aweerezza mukama wange Esawu, era tali wala naffe.’ ” 19 Bw’atyo era n’alagira n’owokubiri n’owookusatu ne bonna abaagobereranga ebisibo nti, “Nammwe mwogere ebigambo bye bimu bwe musisinkana Esawu, 20 (K)era mugambe nti, ‘Omuddu wo Yakobo tali wala naffe.’ ” Kubanga Yakobo yalowooza nti, “Nnaamuwooyawooya n’ekirabo ekinkulembedde, n’oluvannyuma nnaalaba amaaso ge, osanga tankole kabi.” 21 Ekirabo kyekyava kimukulemberamu, ye n’asula mu kifo we yali ekiro ekyo.
Yesu Azibula Battimaayo Amaaso
46 Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka mu Yeriko. Oluvannyuma bwe baali bava mu kibuga ekibiina kinene ne kibagoberera. Waaliwo omusajja omuzibe w’amaaso, erinnya lye Battimaayo (mutabani wa Timaayo) eyasabirizanga, eyali atudde ku mabbali g’oluguudo. 47 (A)Awo Battimaayo bwe yategeera nga Yesu Omunnazaaleesi ajja okuyita we yali, n’atandika okuleekaana nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
48 Abamu ku bantu abaali mu kibiina ne bamuboggolera nti, “Sirika! Totuleekaanira!” Naye ye ne yeeyongera bweyongezi okukoowoola ng’addiŋŋana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
49 Yesu n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumuyite.” Ne bayita omuzibe w’amaaso nti, “Guma omwoyo, situka akuyita!” 50 Battimaayo n’asuula eri ekikooti kye, n’asituka mangu n’ajja eri Yesu.
51 (B)Yesu n’amubuuza nti, “Oyagala nkukolere ki?” Omuzibe w’amaaso n’addamu nti, “Ayi Omuyigiriza, njagala nsobole okulaba!”
52 (C)Awo Yesu n’amugamba nti, “Ggenda, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Amangwago omusajja n’azibuka amaaso, n’agoberera Yesu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.