Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 3

Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu.

Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi!
    Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!
(A)Bangi abanjogerako nti,
    “Katonda tagenda kumununula.”

(B)Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma;
    ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.
(C)Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka,
    n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.

(D)Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi,
    kubanga Mukama ye ampanirira.
(E)Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange
    abanneetoolodde, okunnumba.

(F)Golokoka, Ayi Mukama,
    ondokole Ayi Katonda wange
okube abalabe bange bonna
    omenye oluba lw’abakola ebibi.

(G)Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama.
    Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.

Kaabakuuku 2:5-11

Akabi eri Aboonoonyi

(A)Weewaawo, omwenge mulimba
    guleetera omuntu amalala, ate taguwummulako.
Ate olwokubanga gwa mululu ng’emagombe, mu butakkuta gufaanana okufa.
    Era okufaanana ng’olumbe, tegukkuta,
amawanga gonna gugeekuŋŋanyizaako
    ne gugafuula abasibe.

(B)“Bano bonna si be balimugererako engero bamusekerere nga bagamba nti,

“ ‘Zimusanze oyo eyeyongeza ebitali bibye!
    Oyo eyeetuumako obugagga obuva mu nguzi!’
(C)Abakubanja tebalikuyimukirako nga tomanyiridde,
    era tebalizuukuka ne bakweraliikiriza?
    Oliba togudde mu mikono gyabwe?
(D)Kubanga onyaze amawanga mangi,
    abantu abasigaddewo balikunyaga;
Oyiye omusaayi gw’abantu,
    n’oyonoona ensi n’ebibuga n’abantu bonna ababibeeramu.”

(E)Zimusanze oyo azimbira amaka ge ku bikolwa ebibi,
    azimba ekisu kye waggulu,
    okwekuuma obutatuukwako kabi!
10 (F)Wategeka okuzikirira kw’abantu bangi,
    n’oswaza ennyumba yo ne weefiiriza obulamu bwo.
11 (G)Amayinja g’oku bbugwe galikaaba,
    n’emikiikiro gy’ebibajje girikyasanguza.

1 Yokaana 5:1-5

Obuwanguzi bwaffe

(A)Buli akkiriza nti Yesu ye Kristo, oyo aba mwana wa Katonda, era buli ayagala kitaawe w’omwana ayagala n’omwana we. Ku ekyo kwe tutegeerera nga twagala abaana ba Katonda, bwe twagala Katonda ne tukola by’atulagira. (B)Kubanga okwagala kwa Katonda kwe kukola ebyo by’atulagira okukola. Okukola by’atulagira si kizibu, kubanga buli mwana wa Katonda awangula ekibi n’okwegomba ensi, era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, kwe kukkiriza kwaffe. Naye ani ayinza okuwangula ensi okuggyako oyo akkiriza nti Yesu Mwana wa Katonda?

1 Yokaana 5:13-21

Okumaliriza

13 (A)Ebyo mbiwandiikidde mmwe abakkiriza erinnya ly’Omwana wa Katonda, mulyoke mumanye nti mulina obulamu obutaggwaawo. 14 (B)Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gy’ali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bw’asiima atuwulira. 15 (C)Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.

16 (D)Omuntu yenna bw’alaba muganda we ng’agudde mu kibi ekitali kya kufa, amusabirenga, Katonda talirema kumuwa bulamu. Njogera ku abo bokka abagwa mu kibi ekitali kya kufa. 17 (E)Buli ekitali kya butuukirivu kibi, naye waliwo ekibi ekitaleetera muntu kufa.

18 (F)Tumanyi nga buli muntu yenna azaalibwa Katonda teyeeyongera kukola kibi, kubanga Katonda amukuuma, Setaani n’atamukola kabi. 19 (G)Tumanyi nga tuli ba Katonda, n’ensi yonna eri mu mikono gya Setaani. 20 (H)Era tumanyi ng’Omwana wa Katonda yajja mu nsi, n’atuwa okutegeera tumanye Katonda ow’amazima, era tuli mu oyo Katonda ow’amazima, ne mu Yesu Kristo Omwana we. Oyo ye Katonda ow’amazima n’obulamu obutaggwaawo.

21 Abaana abaagalwa, mwewalenga bakatonda abalala.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.