Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli ya Dawudi.
32 (A)Alina omukisa oyo
asonyiyiddwa ebyonoono bye
ekibi ne kiggyibwawo.
2 (B)Alina omukisa omuntu oyo
Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.
3 (C)Bwe nasirikiranga ekibi kyange,
ne nkogga,
kubanga nasindanga olunaku lwonna.
4 (D)Wambonerezanga
emisana n’ekiro,
amaanyi ne ganzigwamu
ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.
5 (E)Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
“Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.
8 (A)Ssaddaaka y’aboonoonyi ya muzizo eri Mukama,
naye okusaba kw’abalongoofu lye ssanyu lye.
9 (B)Ekkubo ly’omwonoonyi lya muzizo eri Mukama,
naye Mukama ayagala oyo anoonya obutuukirivu.
10 (C)Oyo aleka ekkubo ettuufu alikangavvulwa n’amaanyi,
n’oyo akyawa okunenyezebwa alifa.
11 (D)Okufa n’okuzikirira biri mu maaso ga Mukama,
n’okulaba alaba nnyo emitima gy’abaana b’abantu!
24 Ekkubo ery’obulamu liyimusa omugezi,
ne limuziyiza okukka emagombe.
25 (A)Mukama azikiriza ennyumba y’ab’amalala,
kyokka akuuma ensalo za nnamwandu.
26 (B)Enkwe za muzizo eri Mukama,
naye ebigambo ebisaanidde, bimusanyusa.
27 (C)Oyo anoonya okugaggawalira mu bukyamu aleetera ennyumba ye emitawaana,
naye oyo akyawa enguzi aliba mulamu.
28 (D)Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza bye gunaayanukula,
naye akamwa k’omwonoonyi kafubutula ebitasaana.
29 (E)Mukama ali wala n’aboonoonyi,
naye awulira okusaba kw’abatuukirivu.
30 Amaaso agajjudde essanyu gasanyusa omutima,
n’amawulire amalungi galeetera amagumba obulamu.
31 (F)Oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa okuleeta obulamu,
alituula wamu n’abagezi.
32 (G)Agayaalirira okubuulirirwa yeerumya yekka,
naye oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa afuna okutegeera.
33 (H)Okutya Mukama kuyigiriza omuntu amagezi,
n’obwetoowaze kye kitiibwa ky’omuntu oyo.
Okulamusa n’Okwebaza
1 (A)Pawulo omutume wa Kristo Yesu, olw’okusiima kwa Katonda, n’owooluganda Timoseewo, tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso awamu n’abatukuvu bonna abali mu Akaya yonna, 2 (B)ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.
3 (C)Katonda oyo Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda azaamu bonna amaanyi yeebazibwe, 4 (D)atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olw’okugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi. 5 (E)Kubanga nga bwe tugabana ku kubonaabona kwa Kristo, ne Kristo bw’atyo bw’atuzzaamu amaanyi. 6 (F)Bwe tubonaabona, tubonaabona mulyoke muzibwemu amaanyi era mulokolebwe; oba ne bwe tuba nga tuzzibwamu endasi nammwe muzibwamu endasi, mulyoke mugumire okubonaabona kwe kumu kwe tuyitamu. 7 (G)Essuubi lyaffe gye muli linywevu, nga tumanyi nti nga bwe mugabanira awamu naffe mu kubonaabona, bwe mutyo bwe mugabanira awamu naffe mu kuzibwamu amaanyi.
8 (H)Kubanga tetwagala mmwe abooluganda obutategeera, okubonaabona kwe twayitamu mu Asiya kwali kungi ekiyitiridde n’essuubi ery’okuba abalamu ne lituggwaamu. 9 (I)Naye ffe ffennyini nga tusaliddwa gwa kufa, nga tetusaanidde kwetekamu bwesige bwaffe ffe, wabula mu Katonda azuukiza abafu, 10 (J)eyatuwonya mu kufa okwo okw’entiisa, era anaatulokolanga, era gwe tulinamu essuubi ery’okutuwonyanga. 11 (K)Tukolere wamu nga mutusabira, bangi balyoke batwebalizeeko olw’ekirabo kye twaweebwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.