Revised Common Lectionary (Complementary)
14 (A)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
era ayimusa bonna abagwa.
15 (B)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (C)Oyanjuluza engalo zo,
ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.
17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
era ayagala byonna bye yatonda.
18 (D)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (E)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (F)Mukama akuuma bonna abamwagala,
naye abakola ebibi alibazikiriza.
21 (G)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
emirembe n’emirembe.
Isirayiri Eyalondebwa
44 (A)“Naye kaakano ggwe Yakobo omuweereza wange, wuliriza,
ggwe Isirayiri gwe nalonda.
2 (B)Bw’ati bw’ayogera Mukama oyo,
eyakutonda era eyakubumba mu lubuto,
ajja kukuyamba.
Totya ggwe Yakobo,[a] omuweereza wange,
ggwe Yesuruni gwe nalonda.
3 (C)Kubanga ndifuka amazzi ku ttaka
eririna ennyonta n’enzizi ku ttaka ekkalu.
Ndifuka Omwoyo wange ku zadde lyo,
era n’omukisa gwange ku bazzukulu bo.
4 (D)Era balimera ng’omuddo ku mabbali g’enzizi,
babe ng’emiti egiri ku mabbali g’emigga.
5 (E)Omu aligamba nti, ‘Nze ndi wa Mukama,’
n’omulala ne yeeyita erinnya lya Yakobo,
n’omulala ne yeewandiikako nti, ‘Wa Mukama,’
ne yeetuuma Isirayiri.
Musabe, munoonye, mweyanjule
7 (A)“Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo. 8 (B)Kubanga buli asaba aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, n’oyo akonkona aggulirwawo.”
9 “Oba muntu ki mu mmwe singa omwana we amusaba omugaati, ayinza okumuwa ejjinja? 10 Oba singa asabye ekyennyanja, kitaawe ayinza okumuwa omusota? 11 Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba?
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.