Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Bassekabaka 3:5-12

(A)Mukama n’alabikira Sulemaani ekiro mu kirooto e Gibyoni, Katonda n’amugamba nti, “Saba ky’oyagala kyonna kye mba nkuwa.”

(B)Sulemaani n’addamu nti, “Olaze ekisa kingi eri omuddu wo, Dawudi kitange, kubanga yali mwesigwa gy’oli, era mutuukirivu ate nga mwesimbu gy’oli. Era oyongedde okulaga ekisa kino ekingi gy’ali n’omuwa omwana okutuula ku ntebe ye ey’obwakabaka leero. (C)Kaakano, Ayi Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo okuba kabaka mu kifo kya Dawudi kitange. Naye ndi mwana muto era simanyi ngeri ya kuddukanyaamu mirimu gyange. (D)Omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga ekkulu, eritabalika. (E)Kale omuddu wo muwe amagezi okufuganga abantu bo, njawulenga ekirungi n’ekibi: kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino ekkulu?”

10 Mukama n’asanyuka kubanga Sulemaani yasaba ekyo. 11 (F)Katonda n’amugamba nti, “Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala wadde bugagga, oba okufa kw’abalabe bo, naye weesabidde amagezi okwawulanga emisango, 12 (G)n’akola ky’osabye. Nzija kukuwa omutima omugezi era omutegeevu, so tewalibeerawo eyali akwenkanye oba alikwenkana.

Zabbuli 119:129-136

פ Pe

129 Ebiragiro byo bya kitalo;
    kyenva mbigondera.
130 (A)Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana;
    n’atategeera bulungi bimugeziwaza.
131 (B)Njasamya akamwa kange ne mpejjawejja
    nga njaayaanira amateeka go.
132 (C)Nkyukira, onkwatirwe ekisa,
    nga bw’okolera bulijjo abo abaagala erinnya lyo.
133 (D)Oluŋŋamye ebigere byange ng’ekigambo kyo bwe kiri,
    era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.
134 (E)Mponya okujooga kw’abantu,
    bwe ntyo nkwatenga ebiragiro byo.
135 (F)Ontunuulire, nze omuddu wo, n’amaaso ag’ekisa,
    era onjigirizenga amateeka go.
136 (G)Amaziga gakulukuta mu maaso gange ng’omugga,
    olw’abo abatakwata mateeka go.

Abaruumi 8:26-39

26 (A)N’Omwoyo bw’atyo atubeera mu bunafu bwaffe. Tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra n’okusinda okutayogerekeka. 27 (B)Oyo akebera emitima, amanyi Omwoyo ky’alowooza, kubanga yeegayiririra abatukuvu ng’okusiima kwa Katonda bwe kuli. 28 (C)Era tumanyi nga eri abo abaagala Katonda, era abo abayitibwa ng’okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna bibatuukako olw’obulungi. 29 (D)Kubanga abo be yamanya olubereberye, yabalonda okufaananyizibwa mu kifaananyi ky’Omwana we, ye abeerenga omubereberye mu booluganda abangi. 30 (E)Abo be yalonda, n’okubayita yabayita, n’abo be yayita, yabawa obutuukirivu, n’abo be yawa obutuukirivu yabagulumiza.

31 (F)Kale tunaagamba ki ku bintu bino? Katonda bw’abeera ku lwaffe, ani asobola okutulwanyisa? 32 (G)Oyo ataasaasira Mwana we ye, naye n’amuwaayo ku lwaffe ffenna, talituwa buwi bintu byonna awamu naye? 33 (H)Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda y’awa obutuukirivu. 34 (I)Ani alibasalira omusango? Kristo Yesu yafa, kyokka okusinga byonna yazuukizibwa, era ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’atwegayiririra. 35 (J)Ani alitwawukanya n’okwagala kwa Kristo? Kubonaabona, oba bulumi, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwerere, oba kabi, oba kitala? 36 (K)Kyawandiikibwa nti:

“Ku lulwo tutiisibwatiisibwa n’okuttibwa obudde okuziba,
    era tubalibwa ng’endiga ez’okusalibwa.”

37 (L)Naye mu bino byonna tuwangudde n’okukirawo ku bw’oyo eyatwagala. 38 (M)Kubanga nkakasiza ddala nga newaakubadde okufa, wadde obulamu, wadde bamalayika, wadde abafuzi, wadde ebiriwo, wadde ebigenda okujja, wadde amaanyi, 39 (N)wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya n’okwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.

Matayo 13:31-33

Olugero lw’Akaweke ka Kaladaali n’olw’Ekizimbulukusa

31 (A)N’abagerera olugero olulala ng’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’akaweke ka kaladaali, omusajja ke yasiga mu nnimiro. 32 (B)Kaladaali kaweke katono nnyo okusinga ensigo endala zonna. Naye bwe kasimbibwa ne kakula kavaamu omuti omunene ennyo, n’ennyonyi ez’omu bbanga ne zijja ne zibeera ku matabi gaagwo.”

33 (C)N’abongerayo olugero olulala nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu buyinza okugeraageranyizibwa n’ekizimbulukusa omukazi kye yakweka mu buwunga bw’eŋŋaano, n’apima ebigero bisatu okutuusa lwe bwazimbulukuka bwonna.”

Matayo 13:44-52

44 (A)“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’ekyobugagga ekyakwekebwa[a] mu nnimiro omuntu omu bwe yakigwikiriza. Olw’essanyu lye yafuna n’agenda n’atunda bye yalina byonna, n’agula ennimiro eyo.

45 (B)“Ate era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’omusuubuzi w’amayinja ag’omuwendo omungi eyali anoonya amayinja ag’omuwendo, 46 bwe yazuula ejjinja erimu ery’omuwendo n’agenda n’atunda bye yalina byonna n’aligula.

Olugero lw’Akatimba

47 (C)“Era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’akatimba akategebwa mu nnyanja ne kakwasa ebyennyanja ebya buli ngeri, 48 akatimba bwe kajjula ne bakawalulira ku lubalama ne balondamu ebirungi nga babikuŋŋaanyiza mu bisero, ebibi nga babisuula. 49 (D)Bwe kiriba bwe kityo ne ku nkomerero y’ensi, bamalayika balijja ne baawulamu abantu abatuukirivu n’ababi. 50 (E)Ababi balibasuula mu nkoomi y’omuliro eriba okukaaba n’okuluma obujiji.”

51 Yesu n’ababuuza nti, “Ebintu bino byonna mubitegedde?”

Ne bamuddamu nti, “Weewaawo.”

52 Kyeyava abagamba nti, “Noolwekyo omuwandiisi eyayiga obulungi amateeka g’Ekiyudaaya ate n’afuuka omuyigiriza w’obwakabaka obw’omu ggulu, ali ng’omusajja nnyini nnyumba, aggyayo mu tterekero lye ebipya n’ebikadde.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.