Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti.
92 (A)Kirungi okwebazanga Mukama,
n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
2 (B)okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya,
n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
3 (C)Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga
n’endere awamu n’entongooli.
4 (D)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza;
kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
5 (E)Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama;
ebirowoozo byo nga tebitegeerekeka!
6 (F)Omuntu atalina magezi tamanyi;
n’omusirusiru kino tasobola kukitegeera;
7 newaakubadde ng’abakola ebibi baloka ng’omuddo,
n’aboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi,
boolekedde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe!
8 Naye ggwe, Ayi Mukama, ogulumizibwa emirembe gyonna.
9 (G)Kubanga abalabe bo, Ayi Mukama,
abalabe bo balizikirira,
abakola ebibi bonna balisaasaanyizibwa.
10 (H)Naye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo,
n’onfukako amafuta amalungi.
11 (I)Amaaso gaalaba bbugwe ng’agwa ku balabe bange;
n’amatu gange gawulidde akabi akatuuse ku abo abanjigganya.
12 (J)Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu,
ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
13 (K)Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama.
Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
14 (L)Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala;
baliba balamu era abagimu,
15 (M)kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima,
lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.
23 Abatuukirivu bye beegomba bivaamu birungi byereere,
naye abakozi b’ebibi bye bakola bisunguwaza.
Omuntu Omugabi
24 Omuntu agaba obuteerekereza, yeeyongera bweyongezi kugaggawala;
naye akwatirira kye yandigabye, yeeyongera kwavuwala.
25 (A)Omuntu agaba anagaggawalanga,
n’oyo ayamba talibulako amuyamba.
26 Abantu bakolimira oyo akweka eŋŋaano mu kiseera eky’obwetaavu,
naye oyo agitunda mu kiseera ekyo afuna emikisa.
27 (B)Oyo anyiikira okukola obulungi afuna okuganja,
naye oyo anoonya ekibi, kimujjira.
28 (C)Oyo eyeesiga obugagga bwe aligwa,
naye abatuukirivu banaakulaakulananga ne baba ng’amalagala amalamu.
29 (D)Omuntu aleeta emitawaana mu maka g’ewaabwe, alisikira mpewo;
era n’omusirusiru aliba muddu w’oyo alina omutima ogw’amagezi.
30 (E)Ekibala ky’omutuukirivu muti gwa bulamu,
era n’oyo asikiriza emyoyo gy’abantu ne balokoka wa magezi.
10 Abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamubuuza nti, “Lwaki oyogera nabo mu ngero?”
11 (A)N’abaddamu nti, “Mmwe mulina omukisa kubanga mwaweebwa okutegeera ebyama eby’obwakabaka obw’omu ggulu, naye bo tebaakiweebwa. 12 (B)Kubanga buli alina alyongerwako abeerere ddala na bingi, naye oyo atalina aliggyibwako n’ako akatono k’alina. 13 (C)Kyenva njigiriza mu ngero:
“Abalaba baleme okulaba,
n’abawulira baleme okuwulira wadde okutegeera.
14 Kino kituukiriza nnabbi Isaaya kye yagamba nti,
“ ‘Muliwulira naye temulitegeera
n’okulaba muliraba naye temulimanya.
15 (D)Kubanga omutima gw’abantu bano
gwesibye,
n’amatu gaabwe tegawulira bulungi.
N’amaaso gaabwe gazibiridde baleme okulaba n’amaaso wadde okuwulira n’amatu,
wadde omutima gwabwe okutegeera,
ne bakyuka
ne mbawonya.’
16 (E)Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba, n’amatu gammwe kubanga gawulira. 17 (F)Ddala ddala mbagamba nti, Waaliwo bannabbi bangi, n’abatuukirivu bangi abeegombanga okulaba ku bino bye mulaba, n’okuwulira bye muwulira kyokka ne batafuna mukisa ogwo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.