Revised Common Lectionary (Complementary)
11 (A)Onjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama,
ntambulirenga mu mazima go;
ompe omutima omunywevu ogutasagaasagana,
ntyenga erinnya lyo.
12 Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, n’omutima gwange gwonna;
erinnya lyo nnaaligulumizanga emirembe gyonna.
13 Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi;
wawonya omwoyo gwange amagombe.
14 (B)Ayi Katonda, ab’amalala bannumba,
ekibinja ky’abantu abataliimu kusaasira bannoonya okunzita,
be bantu abatakufiirako ddala.
15 (C)Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa,
olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.
16 (D)Onkyukire, onsaasire,
ompe amaanyi go nze omuweereza wo;
nze omwana w’omuweereza wo omukazi ondokole.
17 Nkolera akabonero akalaga ebirungi byo,
abalabe bange bakalabe baswale;
kubanga ggwe, Ayi Mukama, onnyambye era onzizizzaamu amaanyi.
9 (A)Abo abakola bakatonda abakole n’emikono tebaliimu nsa,
era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa.
Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi,
balyoke bakwatibwe ensonyi.
10 (B)Ani akola Katonda omubajje oba asaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kiyamba?
11 (C)Laba ye ne banne balikwatibwa ensonyi.
N’ababazzi nabo bantu buntu.
Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi n’entiisa.
Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa.
12 (D)Omuweesi akwata ekitundu ky’ekyuma
n’akiyisa mu manda, agaliko omuliro.
Akikolako n’akitereeza n’ennyondo mu maanyi ge.
Enjala emuluma,
n’aggwaamu amaanyi,
tanywa mazzi era akoowa.
13 (E)Omubazzi akozesa olukoba okupima olubaawo
era n’alamba n’ekkalaamu.
Akinyiriza ne landa,
n’akiramba kyonna n’ekyuma ekigera,
n’akikolamu ekifaananyi ky’omuntu ng’omuntu bw’afaanana,
kiryoke kiteekebwe mu nnyumba.
14 Atema emivule oba n’addira enzo oba omuyovu n’agusimba
oba n’aguleka gukule n’emiti mu kibira,
oba n’asimba enkanaga,
enkuba n’egikuza.
15 (F)Abantu bagukozesa ng’enku,
ezimu n’azitwala n’azikozesa okukuma omuliro ne yeebugumya.
Akuma omuliro n’afumba emigaati.
Naye ekitundu ekirala akikolamu katonda n’amusinza,
akola ekifaananyi ekikole n’emikono n’akivuunamira.
16 Ekitundu ky’olubaawo akyokya mu muliro,
ekitundu ekirala akyokesa ennyama
n’agirya n’akutta.
Ayotako n’abuguma nga bw’agamba nti,
“Mbugumye, omuliro ngutegedde!”
17 (G)Ekitundu ekisigaddewo akikolamu katonda,
ekifaananyi ekikole n’emikono,
era n’akivuunamira n’akisinza n’akyegayirira n’agamba nti,
“Mponya, kubanga ggwe katonda wange.”
Obukakafu bw’ebisuubizo bya Katonda
13 (A)Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, nga bwe wataali mulala gw’ayinza kwerayirira amusinga, yeerayirira yekka. 14 (B)Yalayira ng’agamba nti, “Ndikuweera ddala omukisa, era n’okukwaza nnaakwazanga.” 15 (C)Bw’atyo Ibulayimu bwe yalindirira n’obugumiikiriza, n’aweebwa ekyasuubizibwa.
16 (D)Abantu balayira omuntu abasinga obukulu, ku nkomerero kye balayidde kye kisalawo. 17 (E)Ne Katonda bw’atyo, kyeyava ateekawo ekirayiro ng’ayagala okukakasiza ddala abasika b’ekisuubizo nti talijjulula ekyo kye yasuubiza. 18 (F)Katonda yakikola bw’atyo, okutulaga ebintu bibiri ebitajjulukuka, nti akuuma ekisuubizo kye awamu n’ekirayiro kye. Talimba. Noolwekyo ffe abaddukira gy’ali okutulokola, tusaana okuba abagumu kubanga talirema kutuwa ebyo bye yasuubiza. 19 (G)Essuubi eryo lye linywereza ddala emmeeme zaffe ng’ennanga bw’enyweza eryato. Essuubi eryo lituyingiza munda w’eggigi. 20 (H)Yesu eyatusooka yo, eyo gye yayingira ku lwaffe, bwe yafuuka Kabona Asinga Obukulu ow’emirembe gyonna, ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.