Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti.
92 (A)Kirungi okwebazanga Mukama,
n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
2 (B)okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya,
n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
3 (C)Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga
n’endere awamu n’entongooli.
4 (D)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza;
kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
5 (E)Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama;
ebirowoozo byo nga tebitegeerekeka!
6 (F)Omuntu atalina magezi tamanyi;
n’omusirusiru kino tasobola kukitegeera;
7 newaakubadde ng’abakola ebibi baloka ng’omuddo,
n’aboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi,
boolekedde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe!
8 Naye ggwe, Ayi Mukama, ogulumizibwa emirembe gyonna.
9 (G)Kubanga abalabe bo, Ayi Mukama,
abalabe bo balizikirira,
abakola ebibi bonna balisaasaanyizibwa.
10 (H)Naye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo,
n’onfukako amafuta amalungi.
11 (I)Amaaso gaalaba bbugwe ng’agwa ku balabe bange;
n’amatu gange gawulidde akabi akatuuse ku abo abanjigganya.
12 (J)Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu,
ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
13 (K)Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama.
Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
14 (L)Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala;
baliba balamu era abagimu,
15 (M)kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima,
lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.
Emikisa Eri Abawulize
28 (A)Bw’onoogonderanga Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, Mukama Katonda wo alikugulumiza n’akuteeka waggulu w’amawanga gonna ag’oku nsi. 2 (B)Emikisa gino gyonna onoogifunanga n’obeeranga nagyo, bw’onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo n’omugonderanga:
3 (C)Onooweebwanga omukisa bw’onoobeeranga mu kibuga ne bw’onoobeeranga mu kyalo.
4 (D)Abaana ab’omu nda yo banaaweebwanga omukisa, n’ebisimbe eby’omu ttaka lyo, n’ebisibo byo ebinaazaalibwanga, Ennyana z’ente ez’amagana go, n’obwana bw’endiga ez’ebisibo byo.
5 Ekibbo kyo mw’onookuŋŋaanyizanga, n’olutiba lwo mw’onoogoyeranga nabyo binaabanga n’omukisa.
6 (E)Onoobanga n’omukisa ng’oyingira era onoobanga n’omukisa ng’ofuluma.
7 (F)Mukama anaakuwanga okuwangula abalabe bo abanaakulumbanga. Banajjiranga mu kkubo limu okukulumba, naye ne basaasaanira mu makubo musanvu mu maaso go nga bawanguddwa.
8 Mukama anaawanga amawanika go omukisa, ne buli ky’onookwatangako engalo zo okukikola anaakiwanga omukisa. Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’akuwa.
9 (G)Mukama agenda kukufuula eggwanga lye ettukuvu nga bwe yakusuubiza n’ekirayiro, bw’onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo n’otambuliranga mu makubo ge. 10 (H)Kale nno abantu ab’omu mawanga gonna ag’ensi balitegeera nga bw’oyitibwa erinnya lya Mukama era banaakutyanga. 11 (I)Mukama anaakugaggawazanga nnyo mu byonna: mu zadde ery’enda yo, ne mu baana ab’ebisibo byo by’onoolundanga, ne mu bibala eby’omu ttaka lyo, ng’oli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa.
12 (J)Mukama alikuggulirawo eggwanika lye ery’obugagga bwe ery’eggulu, n’atonnyesanga enkuba mu ttaka lyo, mu biseera byayo, ne buli kintu kyonna ky’onookolanga anaakiwanga omukisa. Onoowolanga amawanga mangi, kyokka ggwe toogeewolengako n’akatono. 13 Mukama anaakufuulanga mutwe so si mukira. Bw’onoogonderanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo bye nkutegeeza leero, n’obigobereranga n’obwegendereza, onoobanga ku ntikko waggulu, so tookooberenga. 14 (K)Tokyamanga kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, ng’oleka ebiragiro bino bye nkutegeeza leero, n’ogobereranga bakatonda abalala n’obaweerezanga.
Obulamu obuggya mu Kristo
17 (A)Ng’omugoberezi wa Mukama waffe, mbalagira okulekeraawo okutambula ng’abatamanyi Katonda bwe batambulira mu birowoozo byabwe eby’obusirusiru. 18 (B)Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu by’obulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya era emitima gyabwe mikakanyavu. 19 (C)Tebakyalina nsonyi, beemalidde mu bya buwemu, na mululu gwa kukola bya bugwenyufu ebya buli ngeri.
20 Kyokka mmwe si bwe mwayigirizibwa ku bya Kristo. 21 Obanga ddala mwamuwulira, era ne muyigirizibwa mu ye ng’amazima bwe gali mu Yesu, 22 (D)kale mwambulemu obulamu obw’omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba. 23 (E)Mufuuke baggya olw’Omwoyo afuga ebirowoozo byammwe, 24 (F)era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okw’amazima.
25 (G)Mulekeraawo okulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu. 26 “Bwe musunguwalanga mwekuume muleme kwonoona.” Temuzibyanga budde nga mukyasunguwadde. 27 Temuwanga Setaani bbanga. 28 (H)Abadde omubbi alekeraawo okubba, wabula anyiikirenga okukola eby’omugaso ng’akola n’emikono gye, alyoke afune ky’agabirako n’abo abeetaaga.
29 Mwekuume mulemenga okwogera ebigambo ebitasaana, wabula mwogerenga ebyo byokka ebizimba nga buli muntu bwe yeetaaga, biryoke bigase abo ababiwulira. 30 (I)Era temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu wa Katonda, eyabateekako akabonero akalaga nga mwanunulibwa. 31 Okunyiiga, n’obusungu, n’obukambwe, n’okukaayana, n’okuvuma, na buli kibi kyonna, biremenga kubeera mu mmwe. 32 (J)Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.
Okubeera mu Musana
5 Mufubenga okufaanana Katonda kubanga muli baana ba Katonda abaagalwa. 2 (K)Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe n’afuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.