Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba.
75 (A)Tukwebaza, Ayi Katonda.
Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.
Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.
2 Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera
era nsala omusango gwa bwenkanya.
3 (B)Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,
naye nze nywezezza empagi zaayo.”
4 (C)Nalabula ab’amalala bagaleke,
n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
5 Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu
n’okwogera nga muduula.
6 Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu
era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,
7 (D)wabula biva eri Katonda;
era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.
8 (E)Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe
ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;
akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi
ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.
1 (A)Kuno kwe kwolesebwa Katonda kwe yalaga Nakkumu, Omwerukoosi okukwata ku bibambulira ebyali bijjira Nineeve.
Obusungu bwa Mukama ku Nineeve
2 (B)Katonda wa buggya era Mukama awalana eggwanga.
Mukama awalana eggwanga era ajudde ekiruyi.
Mukama yeesasuza ku balabe be
era aterekera abamuwakanya obusungu bwe.
3 (C)Mukama tatera kusunguwala, ate nga wa maanyi mangi
era tayinza n’akatono butabonereza oyo gwe gusinze.
Ekkubo lye liri mu mpewo ey’akazimu ne mu kibuyaga,
n’ebire ye nfuufu y’ebigere bye.
4 (D)Akangavvula ennyanja n’agikaza
era akaza emigga gyonna,
ennimiro ez’omu Basani zikala, olusozi Kalumeeri lwonna lukayuse,
n’ebimuli bya Lebanooni biwotose.
5 (E)Ensozi zikankanira mu maaso ga Katonda,
obusozi ne busaanuuka,
ettaka ne lyatikayatika mu maaso ge,
ensi n’ekankana n’abantu bonna abagirimu.
6 (F)Ani ayinza okuyimirira mu maaso ge ng’asunguwadde?
Ani ayinza okugumira obusungu bwe obw’amaanyi?
Ekiruyi kye kibuubuuka ng’omuliro,
n’enjazi n’eziyatikayatika.
7 (G)Mukama mulungi,
kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku,
era alabirira abo bonna abamwesiga.
8 Naye alisaanyaawo abalabe be mu mataba amazibu,
ekizikiza kiribawondera.
9 Buli kye mwekobaana okukola Mukama,
alikikomya.
Akabi tekalijja mulundi gwakubiri.
10 (H)Kubanga baliba ng’amaggwa agakwataganye,
era nga batamidde,
balyoke bookebwe omuliro ng’ekisambu ekikalu.
11 Mu ggwe Nineeve muvuddemu omuntu
alowooza akabi
era ateesa ebibi ku Mukama.
12 (I)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Newaakubadde nga balina be bakolagana nabo bangi, ate nga bangi,
balizikirizibwa ne baggwaawo.
Newaakubadde nga mbabonereza mmwe abantu bange,
siriddayo kukikola nate.
13 (J)Kaakano nzija kumenya ekikoligo kyabwe nkibaggyeko
era n’ebibasibye nnaabikutulakutula.”
12 (A)Kino kisaanye okulaga abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda ne bakkiririza mu Yesu ne bagumiikiriza okugezesebwa.”
13 (B)Awo ne mpulira eddoboozi nga liva mu ggulu nga ligamba nti, “Wandiika kino nti okuva kaakano, balina omukisa abafu, abafiira mu Mukama waffe.”
“Balina omukisa ddala,” bw’ayogera Omwoyo. “Banaawummula okutegana kwabwe, kubanga ebikolwa byabwe bibagoberera.”
Okukungula kw’Ensi
14 (C)Ne ndaba, era laba, ekire ekyeru era nga kiriko akituddeko eyali afaanana ng’Omwana w’Omuntu eyalina engule eya zaabu ku mutwe gwe era ng’akutte ekiwabyo ekyogi mu mukono gwe. 15 (D)Awo malayika omulala n’ava mu Yeekaalu, n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Tandika okukozesa ekiwabyo kyo okukungula, kubanga ekiseera kituuse era n’ebyokukungula ku nsi byengedde.” 16 Bw’atyo eyali atudde ku kire n’awuuba ekiwabyo kye era n’akungula ensi.
17 Awo malayika omulala n’ava mu Yeekaalu ey’omu ggulu era naye ng’alina ekiwabyo ekyogi. 18 Malayika omulala eyalina obuyinza ku muliro, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba eyalina ekiwabyo ekyogi nti, “Kozesa ekiwabyo kyo osale ebirimba by’emizabbibu egy’oku nsi, kubanga gyengedde.” 19 (E)Bw’atyo malayika n’awuuba ekiwabyo ekyogi ku nsi, n’akuŋŋaanyiza ebibala ebyo mu ssogolero ly’obusungu bwa Katonda. 20 (F)Emizabbibu egyo ne gisogolerwa ebweru w’ekibuga era omugga gw’omusaayi ne gukulukuta okuva mu ssogolero, obugulumivu bwagwo ne buba ng’okutuuka ku kyuma ky’omu kamwa k’embalaasi, ate obuwanvu bwagwo ne guweza nga kilomita ebikumi bisatu (300).
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.