Revised Common Lectionary (Complementary)
8 (A)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.
9 (B)Mukama mulungi eri buli muntu,
era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (C)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
era banaatendanga amaanyi go.
12 (D)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (E)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.
Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (F)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
era ayimusa bonna abagwa.
Okwolesebwa kwa Nnabbi ku Kikondo ky’Ettaala ekya Zaabu n’Emiti Emizeeyituuni Ebiri
4 (A)Awo malayika eyali ayogera nange n’akomawo, n’anzuukusa ng’omuntu bw’azuukusibwa mu tulo. 2 (B)N’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba?”
Ne muddamu nti, “Ndaba ekikondo ky’ettaala nga kyonna kya zaabu, nga waggulu kiriko n’akabakuli kaakwo, n’ettaala zaakwo omusanvu, nga buli ttaala eriko omumwa gwayo. 3 (C)Era waliwo emiti emizeeyituuni ebiri ku mabbali gaakyo, ogumu ku mukono ogwa ddyo ogw’akabakuli, n’omulala ku mukono ogwa kkono.”
4 Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Bino biki mukama wange?”
5 (D)Malayika eyali ayogera nange n’addamu n’aŋŋamba nti, “Tobimanyi?”
Ne muddamu nti, “Nedda mukama wange.”
6 (E)Awo n’addamu n’aŋŋamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi: ‘Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa Mwoyo wange,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
7 (F)“Ggwe olusozi olunene weyita ki? Mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi, era alireeta ejjinja erya waggulu mu mizira n’okwogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, ‘Liweebwe omukisa, liweebwe omukisa!’ ”
21 (A)Mu kiseera ekyo Yesu n’ajjula essanyu ku bwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Nkutendereza Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga wakweka ebintu bino abagezi n’abayivu, naye n’obibikkulira abaana abato. Weewaawo Kitange, bw’otyo bwe wasiima.
22 (B)“Kitange yankwasa ebintu byonna. Tewali amanyi Mwana wabula Kitange, era tewali amanyi Kitange wabula Omwana awamu n’abo Omwana b’asiima okubamubikkulira.”
23 Awo n’akyukira abayigirizwa be n’abagamba mu kyama nti, “Mulina omukisa mmwe okulaba bino bye mulaba. 24 (C)Kubanga mbagamba nti, bannabbi bangi ne bakabaka bangi abaayagala okulaba bye mulaba n’okuwulira bye muwulira naye tekyasoboka.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.