Add parallel Print Page Options

Mukama, Omutonzi era Omulokozi

21 (A)“Jjukira ebintu bino, ggwe Yakobo;
    oli muweereza wange ggwe Isirayiri.
Nze nakubumba, oli muweereza wange,
    ggwe Isirayiri sirikwerabira.

Read full chapter

10 (A)“ ‘Noolwekyo totya, ggwe Yakobo omuweereza wange,
    toggwaamu maanyi ggwe Isirayiri,’
    bw’ayogera Mukama.
‘Ddala ddala ndibalokola okubaggya mu kifo eky’ewala,
    nziggye ezzadde lyammwe okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse.
Yakobo aliddamu okuba n’emirembe n’obutebenkevu,
    era tewali n’omu alimutiisatiisa.

Read full chapter

27 (A)“Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange;
    toggwaamu maanyi, ggwe Isirayiri.
Ddala ddala ndikununula okuva mu kifo eky’ewala,
    n’ezzadde lyo ndinunule okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse bwalyo.
Yakobo aliddamu okufuna emirembe n’atebenkera,
    era tewali alimutiisa.
28 (B)Totya, ggwe Yakobo omuddu wange,
    kubanga ndi naawe,” bw’ayogera Mukama.
“Wadde nga nazikiririza ddala amawanga gonna
    gye nabasaasaanyiza,
    naye mmwe siribazikiririza ddala.
Ndibabonereza naye mu bwenkanya;
    siribaleka nga temubonerezebbwa.”

Read full chapter