M’Cheyne Bible Reading Plan
Abawala ba Zerofekadi
27 (A)Abawala ba Zerofekadi mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, baali ba mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu. Amannya g’abawala abo nga ge gano: Maala, ne Noowa, ne Kogula, ne Mirika ne Tiruza. 2 Lwali lumu, ne bajja okumpi n’omulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bayimirira mu maaso ga Musa ne Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’abakulembeze n’ag’ekibiina kyonna, ne bagamba nti, 3 (B)“Kitaffe yafiira mu ddungu. Teyali omu ku bajeemu abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama; naye ye yafa bufi lwa bibi bye, naye teyalekawo baana babulenzi. 4 Lwaki erinnya lya kitaffe mu kika linaabulamu olw’obutazaala mwana wabulenzi? Mutuwe omugabo mu baganda ba kitaffe.”
5 (C)Musa n’aleeta ensonga zaabwe awali Mukama Katonda. 6 Mukama n’agamba Musa nti, 7 (D)“Abawala ba Zerofekadi kye bagamba kituufu; bafunire omugabo ogw’obutaka awamu ne baganda ba kitaabwe, era n’omugabo gwa kitaabwe gubaweebwe.
8 “Era gamba abaana ba Isirayiri nti, ‘Omusajja bw’anaafanga nga taleseewo mwana wabulenzi, kale omugabo gwe ogw’obusika bwe gunaaweebwanga omwana we omuwala. 9 Bw’ataabenga na mwana wabuwala, omugabo gwe onooguwanga baganda be. 10 Bw’anaabanga talina baganda be, omugabo gwe onooguwanga baganda ba kitaawe. 11 (E)Kitaawe bw’aba nga teyalina baganda be, omugabo gwe onooguwanga owooluganda asinga okuba ow’okumpi mu kika kye, oyo y’anaagutwalanga. Eryo linaabanga tteeka erinaakwatibwanga abaana ba Isirayiri, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.’ ”
Yoswa Alondebwa Okusikira Musa
12 (F)Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Yambuka waggulu ku lusozi luno Abalimu olengere ensi gye mpadde abaana ba Isirayiri. 13 (G)Bw’onoomala okugiraba, naawe ojja kugenda abantu bo bonna gye baalaga, nga bwe kyali ne ku muganda wo Alooni, 14 (H)kubanga mwembi mwajeemera ekigambo kyange, abantu bwe baajagalala mu ddungu lya Zini ne mutampeesa kitiibwa ng’omutukuvu mu maaso gaabwe.” Ago ge gaali amazzi ag’e Meriba mu Kadesi mu ddungu ly’e Zini.
15 Awo Musa n’agamba Mukama Katonda nti, 16 (I)“Mukama Katonda w’emyoyo gy’abantu bonna, alonde omusajja okulabirira ekibiina kino, 17 (J)afulumenga era ayingirenga mu maaso gaabwe, omuntu anaabafulumyanga era anaabayingizanga, abantu ba Mukama baleme okuba ng’endiga ezitaliiko musumba.”
18 (K)Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Twala Yoswa mutabani wa Nuuni, omusajja alimu omwoyo[a], omusseeko omukono gwo. 19 (L)Muyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g’ekibiina kyonna, omukuutirire mu maaso gaabwe. 20 (M)Mukwase ekitundu ky’obuyinza bwo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri batandike okumugondera. 21 (N)Anajjanga n’ayimirira mu maaso ga Eriyazaali kabona anaamutegeezanga ebinaabanga bisaliddwawo ng’akozesa Ulimu mu maaso ga Mukama Katonda. Abaana ba Isirayiri bonna, bw’anaalagiranga banaafulumanga, era bw’anaalagiranga banaayingiranga.”
22 Awo Musa n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira. Yatwala Yoswa n’amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’ekibiina kyonna. 23 Bw’atyo n’amussaako emikono gye, n’amukuutira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.
70 (A)Ayi Katonda oyanguwa okundokole.
Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.
2 (B)Abo abannoonya okunzita
batabulwetabulwe;
abo abannoonya okunzikiriza,
bagobebwe nga baswadde.
3 Abagamba nti, “Kasonso,”
badduke nga bajjudde ensonyi.
4 Naye bonna abakunoonya
basanyukenga bajagulizenga mu ggwe.
Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
“Katonda agulumizibwenga!”
5 (C)Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga;
oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda.
Ggwe onnyamba era ggwe ondokola,
Ayi Mukama, tolwa!
71 (D)Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka,
tondeka kuswazibwa.
2 (E)Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye;
ontegere okutu ondokole.
3 (F)Onfuukire olwazi obuddukiro bwange,
ekifo eky’amaanyi;
ondokole
kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
4 (G)Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi,
omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.
5 (H)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange;
ggwe, ggwe neesiga, okuviira ddala mu buvubuka bwange.
6 (I)Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa;
ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange.
Nnaakutenderezanga ennaku zonna.
7 (J)Eri abangi nafuuka;
naye ggwe kiddukiro kyange eky’amaanyi.
8 (K)Akamwa kange kajjudde ettendo lyo,
nga ntenda ekitiibwa kyo obudde okuziba.
9 (L)Tonsuula mu kiseera kyange eky’obukadde.
Tondekerera ng’amaanyi gampweddemu.
10 (M)Kubanga abalabe bange banjogerako;
abo abaagala okunzita bansalira olukwe.
11 (N)Bagamba nti, “Katonda amulese,
ka tumugobe tumukwate,
kubanga taliiko anaamuwonya.”
12 (O)Ayi Katonda, tombera wala, Ayi Katonda wange,
yanguwa ojje ombeere.
13 (P)Abo abampawaabira bazikirizibwe nga bajjudde ensonyi,
abanoonya okunnumya baswale
era banyoomebwe.
14 (Q)Naye nze nnaabanga n’essuubi ennaku zonna.
Era nneeyongeranga okukutenderezanga.
15 (R)Akamwa kange kanaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba;
nnaayogeranga ku bulokozi bwo,
wadde siyinza kubupima.
16 (S)Nnaatambuliranga mu maanyi go, Ayi Mukama Katonda,
era ne ntegeezanga nti ggwe wekka ggwe mutuukirivu.
17 (T)Ayi Katonda, ggwe wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange;
n’okutuusa leero nkyatenda ebikolwa byo eby’ekitalo.
18 (U)Ne bwe ndiba nga nkaddiye nga mmeze n’envi,
tonjabuliranga, Ayi Katonda,
okutuusiza ddala nga mmaze okutendera abo abaliddawo amaanyi go amangi,
n’okumanyisa emirembe egigenda okujja obuyinza bwo.
19 (V)N’obutuukirivu bwo, Ayi Katonda, butuuka mu ggulu.
Ggw’okoze ebikulu,
Ayi Katonda, ani akwenkana?
20 (W)Newaakubadde wandeka ne mbonaabona nnyo bwe ntyo,
ggw’olinzizaamu obulamu,
n’ompa amaanyi amaggya,
n’onnyimusa okuva mu kinnya ekiwanvu ennyo wansi w’ensi.
21 (X)Olinnyongerako ekitiibwa
n’oddamu okunsanyusa.
22 (Y)Nnaakutenderezanga ne nnanga ey’enkoba
olw’obwesigwa bwo, Ayi Katonda wange;
nnaakutenderezanga n’entongooli,
Ayi ggwe Omutukuvu wa Isirayiri.
23 (Z)Nnaayimusanga eddoboozi lyange olw’essanyu
nga nkutendereza,
nze gw’onunudde!
24 (AA)Olulimi lwange nalwo lunaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu
obudde okuziba,
kubanga abo ababadde baagala okunkola akabi
otabuddetabudde enkwe zaabwe ne baswazibwa.
Obubaka Obukwata ku Ddamasiko
17 (A)“Laba Ddamasiko tekikyali kibuga,
kifuuse matongo.
2 (B)Ebibuga bya Aloweri babidduseemu:
birirekerwa ensolo mwe zinaagalamiranga
nga tewali azikanga.
3 (C)Ekigo eky’amaanyi kirisaanyizibwawo mu Efulayimu,
n’obwakabaka mu Ddamasiko bulimalibwawo;
naye abalisigalawo mu Busuuli,
baliba n’ekitiibwa ng’eky’abaana ba Isirayiri,”
bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
4 (D)“Awo olulituuka ku lunaku luli, ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera;
era akoggere ddala.
5 (E)Ne kiba ng’omukunguzi bw’akuŋŋaanya eŋŋaano,
n’omukono gwe ne gukungula empeke;
weewaawo kiriba ng’omuntu bw’alonda ebinywa by’eŋŋaano
mu Kiwonvu kya Lefayimu.
6 (F)Naye mulisigalamu ebinywa ebirondererwa
ng’omuzeyituuni bwe gubeera nga gukubiddwa,
ne guleka ebibala bibiri oba bisatu waggulu ku busongezo,
bina oba bitaano ku busongezo bw’omuti omugimu,”
bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri.
7 (G)Ku lunaku luli abantu balirowooza ku Mutonzi waabwe,
n’amaaso gaabwe galikyukira Omutukuvu wa Isirayiri.
8 (H)So tebalirowooza ku byoto bya balubaale baabwe,
emirimu gy’emikono gyabwe, be beekolera,
oba empagi za katonda wa Baasera
oba ebyoto kwe bootereza obubaane.
9 Mu biro ebyo ebibuga byabwe eby’amaanyi Abayisirayiri bye baabalesa, biriba ng’ebifo ebyameramu ebisaka ne kalandalugo. Byonna birisigala matongo.
10 (I)Weerabidde Katonda Omulokozi wo,
so tojjukidde Lwazi lwa maanyi go;
kyova osimbamu ebisimbe eby’okukusanyusa
n’osigamu omuzabbibu oguvudde ebweru.
11 (J)Wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw’obisimbye,
era ne bimerusa ensigo ku makya kwennyini kwe bisimbiddwa,
tolibaako ky’okungula
wabula obulumi obutawonyezeka n’ennaku ey’ekitalo.
12 (K)Woowe oluyoogaano olw’amawanga amangi,
bawuluguma ng’okuwuluguma kw’ennyanja esiikuuse!
Okuwuluguma kw’abantu,
bawuluguma ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi!
13 (L)Wadde amawanga galiwuuma n’okuwulikika ne gawulikika ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi,
Mukama bw’aligagoba, galibulawo mbagirawo.
Galiba ng’ebisusunku bwe bitwalibwa empewo;
era ng’enfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ng’eneetera okutonnya.
14 (M)Entiisa ey’amaanyi eribagwako akawungeezi.
Buliba tebunnakya ng’abalabe bonna tewakyali.
Guno gwe mugabo gw’abo abatunyaga,
era y’empeera y’abo abatunyagako ebyaffe.
Obunnabbi Obukwata ku Kuusi
18 (N)Zikusanze, ggwe ensi ey’ebiwaawaatiro ebikwakwaya,
eri emitala w’emigga gya Kuusi,[a]
2 (O)etuma ababaka ne bagendera mu maato
ag’ebitoogo ku nnyanja.
Mugende mmwe ababaka abangu, eri abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu,
eri abantu abatiibwa abeewala n’ab’okumpi,
eggwanga ery’amaanyi eryogera olulimi olutamanyiddwa,
ensi eyawulwamu emigga.
3 (P)Mmwe mwenna abantu abali mu nsi,
mmwe ababeera ku nsi,
bendera lweriwanikibwa ku nsozi,
muligiraba,
era ekkondeere bwe lirifuuyibwa,
muliriwulira.
4 (Q)Kubanga bw’atyo Mukama bw’aŋŋambye nti,
“Ndyesirikira ntunule nga nsinziira ewange,
ng’olubugumu olutemagana mu musana,
ng’ekire ky’omusulo mu lubugumu olw’omu biro eby’amakungula.”
5 (R)Kubanga okukungula kuliba tekunatuuka,
okumulisa nga kuwedde, n’ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengedde,
aliwawaagula obutabi n’ebiwabyo,
n’amatabi agalanda aligasalira.
6 (S)Gonna galirekerwa ennyonyi ez’oku nsozi ezirya ebiramu
n’ensolo ez’ensi.
Era ennyonyi ezirya ebiramu zirye okwo mu biseera by’ekyeya,
n’ensolo zonna ez’omu nsiko zirye okwo mu biseera by’obunnyogovu.
7 (T)Mu kiseera ekyo Mukama Katonda ow’Eggye balimuleetera ebirabo,
ensi ey’abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu,
abantu abatiibwa abeewala n’abookumpi,
ensi ey’eryanyi,
eyawulwamu emigga,
ku lusozi Sayuuni ekifo ky’erinnya lya Mukama Ayinzabyonna.
Katonda Talemererwa
5 (A)Noolwekyo mbulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe, omujulirwa w’okubonaabona kwa Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulirwa. 2 (B)Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, mukiriisenga nga mukirabirira n’okwagala so si na kwemulugunya, nga mukolerera amagoba ag’obukuusa wabula olw’okujjumbira Katonda. 3 (C)Be mukulembera temubakambuwaliranga wabula mubakulemberenga nga mubalaga ekyokulabirako ekirungi. 4 (D)Era Omusumba Omukulu bw’alikomawo, muliweebwa engule ey’ekitiibwa ekitaliggwaawo.
5 (E)Mmwe abavubuka, mugonderenga abakulu. Muweerezeganenga mwekka na mwekka n’obuwombeefu kubanga
“Katonda akyawa ab’amalala
naye abawombeefu abawa omukisa.”
6 (F)Noolwekyo mwewombeeke wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi, naye alibagulumiza ng’obudde butuuse. 7 (G)Mumutwalirenga byonna bye mweraliikirira kubanga abalumirwa era afaayo ku buli ekibatuukako.
8 (H)Mutunulenga, mwekuume omulabe wammwe Setaani, atambulatambula ng’empologoma enjala gy’eruma egenda ng’ewuluguma ng’enoonya gw’eneerya. 9 (I)Mumwaŋŋange ng’abalumbye, nga mwesiga Mukama, era mujjukire nti ebibonoobono ebiri ng’ebyo bituuka ne ku bakkiriza abalala mu nsi yonna.
10 (J)Bwe mulibonaabonera akaseera, Katonda waffe atukwatirwa ekisa ng’ayita mu Kristo, alibawa ekitiibwa kye ekitaliggwaawo. Alibakomyawo, alibazzaamu amaanyi, alibawanirira era alibanyweza. 11 (K)Ekitiibwa n’amaanyi bibeerenga gy’ali emirembe n’emirembe. Amiina.
12 (L)Ebbaluwa eno nzija kugikwasa Sirwano[a], gwe mmanyi nga waaluganda mwesigwa ddala, agibaleetere. Nsuubira nga mbazizzaamu amaanyi mu bbaluwa eno, era nga mbalaze engeri Katonda gy’agabamu ekisa kye ekingi. Ebyo bye mbategeezezza bibayambe okunywerera mu kwagala kwe.
13 (M)Balonde bannammwe mu kkanisa y’e Babulooni, babalamusizza. Ne mutabani wange Makko naye abalamusizza.
14 Mulamusagane n’okwagala okw’Ekikristaayo.
Emirembe gibeerenga mu mmwe mwenna abali mu Kristo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.