Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubala 30

Amateeka ku Bweyamo

30 (A)Musa n’agamba abakulembeze b’ebika by’abaana ba Isirayiri nti, “Kino Mukama Katonda ky’alagidde: (B)Omusajja bw’aneeyamanga eri Mukama Katonda, oba bw’anaalayiranga okutuukiriza ekisuubizo kye, ekigambo kye ekyo taakimenyengawo, naye anaakolanga nga bw’anaabanga asuubizza.

“Omukazi omuvubuka anaabeeranga akyasula mu maka ga kitaawe, bw’aneeyamanga eri Mukama Katonda, oba bw’anaalayiranga okutuukiriza ekisuubizo kye, kale, obweyamo bwe bwonna n’ebyo by’anaabanga asuubizza binaasigalanga nga bwe biri. (C)Naye kitaawe bw’anaakiteegerangako, n’amuziyiza, kale, tewaabengawo n’ekimu ku ebyo by’anaabanga asuubizza ebinaasigalanga nga bwe biri. Naye kitaawe bw’anaamugaananga ku lunaku lw’anaakiwulira, tewaabengawo ku bweyamo bwe newaakubadde bye yalayira bye yasuubiza ebinaatuukirizibwanga, Mukama Katonda anaabimusonyiwanga, kubanga kitaawe abimuziyizza.

(D)“Bw’anaafumbirwanga ng’amaze okweyama ng’awaddeyo n’ebisuubizo nga tamaze kwerowooza, bba n’abiwulirako, naye n’atabaako ky’ayogera; kale, obweyamo bw’omukazi oyo n’ebisuubizo bye, bye yalagira okubituukiriza, binaasigalanga nga bwe biri. (E)Naye singa bba bw’amala okubiwulirako n’amuziyiza, olwo obweyamo bw’omukazi oyo n’ebyo byonna bye yasuubiza nga teyeerowozezza, biba bifudde, era Mukama Katonda anaasonyiwanga omukazi oyo.

“Obweyamo n’ebisuubizo bwe binaakolebwanga nnamwandu oba omukazi eyayawukanira ddala ne bba mu bufumbo, binaasigalanga nga bwe biri.

10 “Omukazi ali mu bufumbo ng’abeera wamu ne bba mu maka gaabwe, bw’aneeyamanga oba n’asuubiriza ku kirayiro ng’alibaako by’atuukiriza, 11 bba n’abiwulirako, naye n’atabaako ky’agamba mukazi we, n’atamuziyiza; kale, obweyamo bw’omukazi oyo bwonna bunaasigalangawo, ne buli kimu kyonna kye yasuubiza ne yeerayirira, binaasigalangawo. 12 (F)Naye bba bw’anaabanga abiwuliddeko, kyokka n’abidibya n’abisazaamu, olwo tewaabengawo bweyamo oba ebisuubizo ebyava mu kamwa k’omukazi, ebinaasigalangawo, era Mukama Katonda anaabimusonyiwanga. 13 Bba anaayinzanga okukakasa oba okudibya obweyamo bwonna mukazi we bw’anaabanga akoze n’ebisuubizo byonna by’anaabanga yeerayiridde ebirimu n’okwerumya n’okwefiiriza. 14 Naye bba bw’ataabengako ne kyabyogerako nga ky’ajje abiwulire, olwo omukazi anaabanga akakasizza obweyamo bwe bwonna n’ebisuubizo bye yeerayirira. Bba anaabikakasanga bw’ataabengako ky’ategeeza mukazi we bw’anaabanga yaakamala okubiwulirako. 15 Naye bwe wanaayitangawo ennaku ng’amaze okubiwulirako, oluvannyuma n’alyoka abidibya, y’anaavunaanyizibwanga ku bitatuukiridde mu bweyamo bw’omukazi oyo.”

16 Ago ge mateeka Mukama Katonda ge yalagira Musa aganaakwatanga ku musajja ne mukazi we, era ne kitaawe w’omuwala ne muwala we anaabanga akyali omuvubuka ng’akyasula mu nju ya kitaawe.

Zabbuli 74

Zabbuli ya Asafu.

74 (A)Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna?
    Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo?
(B)Ojjukire abantu bo be wagula edda;
    ekika kye wanunula okuba ababo.
    Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.
Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa!
    Olabe omulabe nga bw’azikirizza ennyumba yo.

(C)Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga;
    ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe.
(D)Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi
    abatema emiti mu kibira.
(E)Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole,
    era ne babissessebbula n’obubazzi.
Bookezza awatukuvu wo;
    ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.
(F)Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!”
    Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.

(G)Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu.
    So tewali n’omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.
10 (H)Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira?
    Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize.
11 (I)Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo?
    Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo?

12 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda;
    gw’oleeta obulokozi mu nsi.

13 (K)Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja;
    omulabe n’omuzikiririza mu mazzi.
14 Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene;
    n’oguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde eby’omu ddungu.
15 (L)Ggwe wazibukula ensulo n’emyala;
    ate n’okaza n’emigga
    egyakulukutanga bulijjo.
16 (M)Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo;
    ggwe wakola omwezi n’enjuba.
17 (N)Ggwe wateekawo ensalo z’ensi;
    ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.

18 (O)Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe,
    n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.
19 (P)Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe;
    so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa.
20 (Q)Ojjukire endagaano yo;
    kubanga ensi ejjudde ekizikiza n’abantu abakambwe.
21 (R)Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa;
    era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.
22 (S)Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango.
Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba.
23 (T)Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo,
    n’okuleekaana okwa buli kiseera.

Isaaya 22

Obunnabbi Obufa ku Yerusaalemi

22 (A)Obunnabbi obukwata ku Kiwonvu ky’Okwolesebwa:

Kiki ekikutawanya kaakano,
    n’okulinnya n’olinnya waggulu ku busolya,
(B)ggwe ekibuga ekijjudde oluyoogaano,
    ggwe ekibuga eky’amasanyu era eky’ebinyumu?
Abantu bo abattibwa,
    tebaafa kitala newaakubadde okufiira mu lutalo.
Abakulembeze bo bonna baddukidde wamu;
    bawambiddwa awatali kulwana.
Bonna baakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe,
    kubanga badduka.
(C)Kyenava njogera nti, “Munveeko,
    mundeke nkaabire ddala nnyo.
Temugezaako kunsaasira
    olw’okuzikirizibwa kw’omuwala w’abantu bange.”

(D)Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku
    olw’akatabanguko,
    olw’okulinyirirwa n’entiisa mu Kiwonvu ky’Okwolesebwa;
olunaku olw’okumenya bbugwe,
    n’okukaabirira ensozi.
(E)Eramu ayambalidde omufuko gw’obusaale,
    n’atwala n’abavuzi b’amagaali ge n’embalaasi,
    Kiri[a] asabuukulula engabo.
(F)Ebiwonvu byo ebisinga obulungi bijjudde amagaali,
    n’abeebagala embalaasi bassibbwa ku wankaaki.

(G)Okwerinda kwa Yuda kuggyiddwawo.
    Ku lunaku olwo watunuulira
    ebyokulwanyisa eby’omu Lubiri olw’Ekibira.
(H)Walaba amabanga agaali mu kwerinda
    kw’Ekibuga kya Dawudi,
wakuŋŋaanya amazzi
    mu Kidiba eky’Emmanga.
10 Wabala ebizimbe mu Yerusaalemi
    n’omenya amayumba okusobola okunyweza bbugwe.
11 (I)Wasima ekidiba omuterekebwa amazzi wakati w’ebisenge ebibiri,
    n’okuŋŋaanya ag’ekidiba ekikadde,
naye tewatunuulira Oyo eyakisima,
    wadde okussaamu ekitiibwa Oyo eyakiteekateeka mu biro eby’edda.

12 (J)Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye
    yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe,
n’okwemwako enviiri
    n’okwambala ebibukutu.
13 (K)Naye laba, ssanyu na kujaguza,
    okubaaga ente n’okutta endiga,
    okulya ennyama n’okunywa envinnyo.
Mwogere nti, “Leka tulye, era tunywe
    kubanga enkya tunaafa.”

14 (L)Mukama ow’Eggye akimbikulidde n’aŋŋamba nti, “Ekibi kino tekirisonyiyibwa wadde okuggyibwawo okutuusa lw’olifa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

15 (M)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Genda eri omuwanika oyo,
    eri Sabuna avunaanyizibwa olubiri omugambe nti,
16 (N)Okola ki wano era ani yakuwadde olukusa
    okwetemera entaana wano,
n’otema n’amaanyi entaana yo waggulu mu lwazi,
    ne weerongoosereza eyo ekifo eky’okuwummuliramu?

17 “Weegendereze Mukama Katonda anaatera okukuvumbagira,
    akuggyewo ggwe omusajja ow’amaanyi.
18 (O)Alikuzingazingako,
    n’akukanyuga mu nsi engazi, nga bwe yandikanyuze omupiira ogusambwa.
Eyo gy’olifiira,
    era eyo amagaali go ag’ekitiibwa gye galisigala,
    ggwe ensonyi ez’ennyumba ya Mukama wo.
19 Ndikuggya ku ntebe yo,
    era oliggyibwa mu kifo kyo.

20 (P)“Mu biro ebyo nditumya omuweereza wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya. 21 Ndimwambaza ekyambalo kyo, ne munyweza n’olukoba lwo, ne mukwasa obuyinza bwo. Aliba kitaawe w’abo ababeera mu Yerusaalemi, n’eri ennyumba ya Yuda. 22 (Q)Ndimukwasa ekisumuluzo ky’ennyumba ya Dawudi; bw’aliggulawo tewaliba aggalawo, bw’aliggalawo tewaliba aggulawo. 23 (R)Ndimunyweza mu kifo ng’enkondo ennene, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe. 24 Ekitiibwa ky’ennyumba ye kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye ebinywerwamu, okuva ku bibya okutuuka ku nsumbi.”

25 (S)Bw’ati bw’ayogera Katonda ow’Eggye nti, “Ku lunaku olwo, enkondo ennene eyakomererwa mu kifo n’enywera erisalibwa, n’eneguka, n’egwa, n’omugugu gw’ekutte gulisarwako.” Mukama ayogedde.

2 Peetero 3

Olunaku lwa Mukama

(A)Abaagalwa, eno y’ebbaluwa eyookubiri gye mbawandiikira. Mu bbaluwa zombi ngezezzaako okubakubiriza mutegeerere ddala ebyo ebituufu era ebisaana. Mujjukire ebyo ebyayogerwa bannabbi abatukuvu n’ekiragiro kya Mukama waffe era Omulokozi waffe ekyaweebwa abatume bammwe.

(B)Ekisooka, mutegeerere ddala nga mu nnaku ez’oluvannyuma abantu abagoberera okwegomba kw’omubiri gwabwe balijja mu mmwe nga babasekerera, (C)nga bwe bagamba nti, “Eyasuubiza nti alijja, aluwa? Kubanga kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna biri nga bwe byabanga okuva ensi lwe yatondebwa!” (D)Beefuula abatamanyi nti edda Katonda yalagira bulagizi, era olw’ekigambo eggulu n’ensi ne bitondebwa. Olw’ekigambo kya Katonda ensi yatondebwa ng’eggyibwa mu mazzi era n’ebeera wakati w’amazzi. (E)Era olw’ekigambo ekyo ensi eyo ey’edda, amazzi gaagisaanyaawo n’ezikirira. (F)Era olw’ekigambo ekyo, eggulu n’ensi ebiriwo kaakano bikuumibwa nga birindiridde okwokebwa omuliro ku lunaku olw’okusalirako omusango, n’okuzikirizibwa kw’abo abatatya Katonda.

(G)Naye, abooluganda, temusaana, kwerabira nti mu maaso ga Mukama emyaka olukumi giri ng’olunaku olumu, era n’olunaku olumu luli ng’emyaka olukumi.[a] (H)Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ng’abamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.

10 (I)Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja nga tewali n’omu amanyi; eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, n’ebiririko birizikirizibwa n’omuliro, era ensi n’ebintu ebigirimu birisirikka.

11 Kale obanga ebintu byonna bya kuzikirizibwa, mugwanidde kubeeranga bantu ba mpisa ntukuvu era abatya Katonda, 12 (J)nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olunaku obwengula bwonna[b] bwe buryokebwa ne buzikirizirwa n’ebiburimu ne bisaanuuka ne bisirikka. 13 (K)Naye nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira obwengula obuggya n’ensi empya omuli obutuukirivu.

14 (L)Kale, abaagalwa, nga bwe mulindirira ebintu ebyo okubaawo mufubenga nnyo okuba abalongoofu abataliiko kya kunenyezebwa nga mulina emirembe. 15 (M)Kyokka mulowoozenga ku kubonyaabonyezebwa okw’obulokozi bwa Mukama waffe, nga ne muganda waffe omwagalwa Pawulo kye yabategeeza mu bbaluwa ze yabawandiikira mu magezi Katonda ge yamuwa. 16 (N)Weewaawo ebbaluwa ze zirimu bingi ebizibu okutegeera, kyokka buli lw’awandiika aba ayogera ku nsonga ezo; wabula bo abatamanyi era abatali banywevu babinnyonnyola nga bwe bannyonnyola ebyawandiikibwa ebirala ne beereetako okuzikirira.

17 (O)Kale, mmwe abaagalwa, ebyo nga bwe mubitegedde, mwekuume muleme kukyamizibwa abantu abo abajeemu, si kulwa nga babaleetera okugwa ne muva we munyweredde. 18 (P)Mweyongere okukula mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.

Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano n’emirembe gyonna. Amiina.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.