Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubala 22

Katonda Agaana Balamu Okugenda eri Balaki

22 (A)Awo abaana ba Isirayiri ne basitula, ne batambula ne basiisira mu lusenyi lwa Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.

(B)Balaki mutabani wa Zipoli n’alaba byonna Isirayiri bye yali akoze Abamoli. (C)Mowaabu n’atya nnyo kubanga abantu abo baali bangi nnyo. Mowaabu okutya abaana ba Isirayiri ne kumusukkirira.

Awo Mowaabu n’agamba abakulembeze ba Midiyaani nti, “Ogubiina gw’abantu bano bajja kulya byonna bye tuli nabyo ebitwetoolodde ng’ente bw’erya n’esaanyaawo omuddo ogw’oku ttale.”

Balaki mutabani wa Zipoli, eyali kabaka wa Mowaabu mu biseera ebyo, (D)n’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli, eyali mu Pesoli, ekiriraanye Omugga, mu nsi y’ewaabwe, okumuyita ng’amugamba nti,

“Abantu bali wano, baavudde mu Misiri, basaanikidde ensi yonna we batudde; basiisidde wano okunninaana. (E)Kale nno, nkusaba ojje onkolimirire abantu bano, kubanga bampitiridde amaanyi. Oboolyawo lwe ndisobola okubawangula ne mbagoba mu nsi yange. Kubanga mmanyi nga gw’okolimira akolimirwa, ne gw’osabira omukisa aweebwa omukisa.”

(F)Awo ababaka abaatumibwa, abaali abakulembeze ba Mowaabu n’abakulembeze ba Midiyaani, ne basitula nga batutte n’ensimbi ez’okumusasula. Bwe baatuuka eri Balamu ne bamutegeeza obubaka Balaki bwe yabatuma.

(G)Balamu n’abagamba nti, “Musule wano leero, nange nnaabatuusaako ekigambo Mukama ky’anaaba aŋŋambye.” Bwe batyo abakungu abaava mu Mowaabu ne basula ewa Balamu.

(H)Katonda n’ajja eri Balamu n’amubuuza nti, “Bantu ki bano abali naawe?” 10 Balamu n’addamu Katonda nti, “Balaki mutabani wa Zipoli, Kabaka wa Mowaabu ye yampeereza obubaka buno ng’agamba nti, 11 ‘Abantu abavudde mu Misiri basaanikidde ensi we batudde. Kale nno jjangu obankolimirire. Oboolyawo ekyo kiyinza okunsobozesa okubalwanyisa ne mbagoba mu nsi yange.’ ”

12 (I)Naye Katonda n’agamba Balamu nti, “Togenda na bantu abo. Abantu bali tekikugwanidde kubakolimira, kubanga baaweebwa omukisa.”

13 Enkeera mu makya Balamu n’azuukuka, n’agamba abakungu abaatumibwa Balaki nti, “Muddeeyo mu nsi yammwe, kubanga Mukama Katonda aŋŋaanye okugenda nammwe.”

14 Abakungu aba Mowaabu ne bakomawo eri Balaki ne bamugamba nti, “Balamu yagaanye okujja naffe.”

Katonda Akkiriza Balamu Okugenda

15 Balaki ne yeeyongera okutuma abakungu abalala, nga baabitiibwa binene era nga bangi okusingako ku bali abaasooka. 16 Ne bajja eri Balamu ne bamugamba nti,

“Bw’ati bw’ayogera Balaki mutabani wa Zipoli nti, ‘Nkwegayiridde, tokkiriza kintu kyonna kukuziyiza kujja gye ndi; 17 (J)kubanga nzija kutumbula nnyo ekitiibwa kyo, era ŋŋenda kukukolera kyonna ky’ononsaba. Jjangu onkoliimiririre abantu bano.’ ”

18 (K)Naye Balamu n’addamu abo Balaki be yatuma nti, “Balaki ne bw’alimpa enju ye ng’ejjudde ffeeza ne zaabu sigenda kukola kinene oba kitono nga kisukka ku kiragiro kya Mukama Katonda wange. 19 (L)Kale nno musule wano olwa leero, nga bannammwe bwe baakola, nange mpulire Mukama Katonda ky’anaayongera okuŋŋamba.”

20 (M)Mu kiro ekyo Katonda n’ajja eri Balamu n’amugamba nti, “Obanga abantu abo bakuddukidde, genda nabo, naye okole ekyo kyokka kye nnaakulagira okukola.”

Endogoyi ya Balamu Eyogera

21 Balamu n’agolokoka mu makya, n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’agenda n’abakungu ba Mowaabu. 22 (N)Naye Katonda n’asunguwala nnyo kubanga Balamu yagenda, malayika wa Mukama Katonda n’ayimirira mu kkubo okumuziyiza. Balamu yali yeebagadde endogoyi ye, abaweereza be babiri nabo baali naye. 23 (O)Endogoyi n’eraba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde mu kkubo, n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe; endogoyi n’ekyama n’eva mu kkubo n’eraga mu nnimiro. Balamu n’agikuba agizze mu kkubo.

24 Malayika wa Mukama Katonda n’ayimirira mu kakubo akafunda akayita wakati w’ennimiro z’emizabbibu nga ziriko ekisenge ku buli luuyi. 25 Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda ne yeenyigiriza ku kisenge, n’ebetenterako ekigere kya Balamu. N’ayongera okugikuba.

26 Malayika wa Mukama Katonda ne yeeyongerayo mu maaso, n’ayimirira mu kakubo akafunda ennyo, awataali kabanga ka kwekyusizaamu kulaga ku mukono ogwa ddyo wadde ku gwa kkono. 27 (P)Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda n’egalamira wansi, nga Balamu ye agituddeko; obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, n’akuba endogoyi n’omuggo gwe. 28 (Q)Awo Mukama Katonda n’ayasamya akamwa k’endogoyi, n’egamba Balamu nti, “Nkukoze ki okunkuba emirundi gino gyonsatule?”

29 (R)Balamu n’agamba endogoyi nti, “Kubanga onfudde atategeera! Singa mbadde n’ekitala mu mukono gwange nandikuttiddewo kaakano.”

30 Endogoyi n’egamba Balamu nti, “Siri ndogoyi yo gye weebagadde ebbanga lyonna n’okutuusa ku lunaku lwa leero? Ebadde mpisa yange okukukola bwe nti?” Balamu n’addamu nti, “Nedda.”

Malayika Alabula Balamu

31 (S)Awo Mukama Katonda n’alyoka azibula amaaso ga Balamu, n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde wakati mu kkubo n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe. N’awunzika omutwe gwe, ne yeevuunika wansi n’avuunama.

32 Malayika wa Mukama Katonda n’amugamba nti, “Lwaki endogoyi ogikubye emirundi egyo gyonsatule? Laba, nzize okukuziyiza kubanga ekkubo ly’okutte terinsanyusa. 33 (T)Endogoyi yandabye n’enneebalama emirundi egyo esatu. Singa teyanneebalamye, nandibadde ggwe nkusse, naye yo nga ngirese.”

34 (U)Balamu n’agamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Nnyonoonye. Saategedde nti ggwe oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Kale nno nga kye nkoze bwe kitakusanyusizza, ka nzireyo eka.”

35 Malayika wa Mukama Katonda n’agamba Balamu nti, “Genda n’abasajja abo, naye ebigambo bye nnaakulagira bye byokka by’oba oyogera.” Bw’atyo Balamu n’agenda n’abakungu ba Balaki.

Balamu Akyalira Balaki

36 (V)Balaki bwe yawulira nga Balamu ajja, n’afuluma okugenda okumusisinkana mu kibuga kya Mowaabu ekiri ku nsalo ya Alumoni, ku nkomerero y’amatwale ge. 37 Balaki n’agamba Balamu nti, “Saakutumira nga nkuyita ojje ku bwange? Lwaki tewajja gye ndi? Olowooza siyinza kukuwa bitiibwa bingi?”

38 (W)Balamu n’addamu nti, “Nzuuno kaakano nzize gy’oli! Naye olowooza nnina obuyinza okwogera kyonna kye njagala? Nteekwa okwogera ebyo byokka Katonda by’anassa mu kamwa kange.” 39 Bw’atyo Balamu n’agenda ne Balaki ne bajja e Kiriasikuzosi. 40 (X)Balaki n’awaayo ekiweebwayo eky’ente n’endiga, n’aweerezaako ne ku Balamu n’abakungu abaali naye. 41 (Y)Enkeera Balaki n’atwala Balamu n’amulinnyisa ku bifo bya Bamosi Baali[a], n’asinziira awo okulengera ku kitundu eky’abantu ba Isirayiri abaali okumpi.

Zabbuli 62-63

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.

62 (A)Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka;
    oyo obulokozi bwange mwe buva.
(B)Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange;
    ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga n’akatono.

(C)Mulituusa ddi nga mulumba omuntu,
    mmwe mwenna okwagala okumusuula wansi
    ng’ekisenge ekyewunzise era ng’olukomera oluyuuguuma?
(D)Bateesa okumuggya
    mu kifo kye ekinywevu,
    basanyukira eby’obulimba.
Basaba omukisa n’emimwa gyabwe
    so nga munda bakolima.

Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka;
    kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange.
Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange,
    ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga.
(E)Okulokolebwa kwange n’ekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka;
    ye lwe lwazi lwange olw’amaanyi era kye kiddukiro kyange.
(F)Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu,
    mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe,
    kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.

(G)Abaana b’abantu mukka bukka,
    abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere;
ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani,
    n’omukka gubasinga okuzitowa.
10 (H)Temwesigamanga ku bujoozi
    wadde ku bintu ebibbe.
Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga,
    era temubumalirangako mwoyo gwammwe.

11 Katonda ayogedde ekintu kimu,
    kyokka nze nziggyemu ebintu bibiri nti:
Katonda, oli w’amaanyi,
12     (I)era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala.
Ddala olisasula buli muntu
    ng’ebikolwa bye bwe biri.

Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.

63 (J)Ayi Katonda, oli Katonda wange,
    nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
emmeeme yange ekwetaaga,
    omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,
nga nnina ennyonta ng’ali
    mu nsi enkalu omutali mazzi.

(K)Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu,
    ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
(L)Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu;
    akamwa kange kanaakutenderezanga.
(M)Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;
    nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
(N)Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga;
    nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.

(O)Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange,
    era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.
(P)Olw’okuba ng’oli mubeezi wange,
    nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
(Q)Emmeeme yange yeekwata ku ggwe;
    omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.

(R)Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa,
    baliserengeta emagombe.
10 Balisaanawo n’ekitala;
    ne bafuuka emmere y’ebibe.

11 (S)Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda;
    bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda,
    naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.

Isaaya 11-12

Ettabi Eririva ku Yese

11 (A)Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese,
    ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.
(B)Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
    Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
    ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
    ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.
(C)Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda.

Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba,
    oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka,
(D)naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya,
    era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi;
era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke,
    era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.
(E)Obutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya,
    n’obwesigwa, bw’alyesiba mu kiwato kye.

(F)Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga,
    n’engo egalamire wamu n’omwana gw’embuzi;
era ennyana n’empologoma n’ennyana eya ssava binaagalamiranga wamu;
    era omwana omuto yalizirabirira.
Ente n’eddubu biririira wamu,
    abaana baazo banaagalamiranga wamu.
    Empologoma erirya omuddo ng’ente.
N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera,
    n’omwana omuto aliteeka omukono gwe mu kinnya ky’essalambwa.
(G)Tewalibeera kukolaganako bulabe
    wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu.
Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda,
    ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja.

10 (H)Awo ku lunaku luli, muzzukulu wa Yese aliyimirira ng’ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n’ekifo kye eky’okuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa. 11 (I)Era ku lunaku olwo Mukama aligolola omukono gwe omulundi ogwokubiri[a] okununula abasigalawo ku bantu be, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinaali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby’omu nnyanja.

12 (J)Era aliwanikira amawanga bbendera, akuŋŋaanye abawaŋŋanguse ba Isirayiri;
    aleete wamu abantu ba Yuda abaali basaasaanye mu nsonda ennya ez’ensi.
13 (K)Olwo obuggya bwa Efulayimu bulyoke buggweewo,
    n’abo abateganya Yuda balizikirizibwa.
Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya
    wadde Yuda okubeera omulabe wa Efulayimu.
14 (L)Bombi awamu balirumba ne bamalawo Abafirisuuti mu busozi bw’ebugwanjuba;
    era bombiriri balinyaga abantu b’omu buvanjuba.
Baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu;
    n’abaana ba Amoni balibagondera.
15 (M)Era Mukama Katonda alikaliza
    omukutu gw’ennyanja y’Abamisiri;
era aliwujira omukono gwe ku mugga Fulaati
    ne guleetawo omuyaga ogukaza,
agwawulemu ebitundu musanvu
    abantu bye banaasomokanga ku bigere.
16 (N)Era abo abalisigalawo ku bantu be balibeera n’ekkubo ery’okuyitamu ery’eggwanga
    eryasigala ku Bwasuli
nga bwe kyali eri Isirayiri ku lunaku
    lwe baaviirako mu Misiri.

Okwebaza Mukama olw’Obulokozi bwe

12 (O)Ku lunaku olwo oligamba nti,
    “Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda;
newaakubadde nga wansunguwalira,
    obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi.
(P)Laba Katonda bwe bulokozi bwange;
    nzija kumwesiga era siritya;
kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
    era afuuse obulokozi bwange.”
(Q)Munaasenanga n’essanyu amazzi
    okuva mu nzizi ez’obulokozi.

(R)Era ku lunaku olwo mulyogera nti,

“Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye,
    mubuulire ebikolwa bye mu mawanga,
    mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.
(S)Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo;
    muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna.
(T)Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni,
    kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”

Yakobo 5

Okulabula abagagga

(A)Kale, mmwe abagagga, mukaabe era mwaziirane. Mugenda kujjirwa ennaku. (B)Eby’obugagga byammwe bivunze, n’ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje. (C)Ezaabu yammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge bwabyo bwe buliba obujulirwa obulibalumiriza omusango, ne bumalawo omubiri gwammwe ng’omuliro. Mweterekera obugagga olw’ennaku ez’oluvannyuma. (D)Laba abakozi abaakola mu nnimiro zammwe ne mulyazaamaanya empeera yaabwe, bakaaba, n’abaakungula bakungubaga, era amaloboozi g’okwaziirana kwabwe gatuuse mu matu ga Mukama ow’Eggye. (E)Mwesanyusiza ku nsi ne mwejalabya mu bugagga bwammwe. Mwagezza emitima gyammwe nga muli ng’abeetegekera olunaku olw’okubaagirako ebyassava. (F)Atasobyanga mwamusalira omusango okumusinga ne mumutta, ng’ate ye talina bwe yeerwanirako.

Okugumiikiriza

(G)Noolwekyo abooluganda mugumiikirize, okutuusa amadda ga Mukama waffe, ng’omulimi bw’agumiikiriza ng’alindirira enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo okukuza ebibala bye biryoke byengere. (H)Mugumiikirize, era mugume omwoyo, kubanga amadda ga Mukama waffe gali kumpi. (I)Temwemulugunyizagananga mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango, kubanga Omulamuzi ayimiridde ku luggi.

10 (J)Ekyokulabirako eky’okugumiikiriza n’okubonaabona, be bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama. 11 (K)Laba tubayita ba mukisa abo abaagumiikiriza. Yobu yeesiga Mukama, era obulamu bwe butulaga ng’entegeka ya Mukama bwe yatuukirizibwa obulungi; kubanga Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.

12 (L)Naye okusingira ddala byonna, abooluganda, temulayiranga ggulu, oba ensi, oba ekintu kyonna ekirala. Ensonga bw’ebeeranga weewaawo, gamba weewaawo. Bw’ebeeranga si weewaawo gamba si weewaawo, mulyoke mwewale okusalirwa omusango okubasinga.

Okusaba okw’okukkiriza

13 (M)Waliwo mu mmwe ali mu buzibu? Kirungi asabenga olw’obuzibu obwo. N’abo abeetaaga okwebaza, kirungi bayimbirenga Mukama bulijjo ennyimba ez’okumutendereza. 14 (N)Waliwo omulwadde mu mmwe? Kirungi atumye abakulembeze b’Ekkanisa, bamusabire, era bamusiige amafuta, nga bwe basaba Mukama amuwonye. 15 Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo n’okukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa. 16 (O)Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba n’omutima omumalirivu ogw’omuntu omutuukirivu, kubeera n’obuyinza bungi, era n’ebivaamu biba bya ttendo.

17 (P)Eriya yali muntu ddala nga ffe, naye bwe yeewaayo n’asaba enkuba ereme okutonnya, enkuba teyatonnya okumalira ddala emyaka esatu n’ekitundu! 18 (Q)Ate n’asaba enkuba n’etonnya, omuddo n’ebisimbe byonna ne biddamu okumera. 19 (R)Abooluganda, singa omu ku mmwe akyama n’ava ku mazima, ne wabaawo amukomyawo, 20 omuntu oyo akomyawo munne eri Katonda, aba awonyezza omwoyo gwa munne okufa era ng’amuleetedde n’okusonyiyibwa ebibi byonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.