M’Cheyne Bible Reading Plan
Ekiweebwayo Ekya buli Lunaku
28 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 2 (A)“Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Mutegekenga ekiweebwayo kyange mu biseera bye nnyini, ye mmere ey’ebiweebwayo byange ebyokye, nga bivaamu akawoowo akalungi akansanyusa.’ 3 (B)Bagambe nti, ‘Ekiweebwayo ekyokye ky’ojjanga okuwaayo eri Mukama, kinaabanga bwe kiti: endiga ennume bbiri ezitaliiko kamogo nga buli emu ya mwaka gumu ogw’obukulu: zaakuweebwangayo nga njokye buli lunaku. 4 Endiga emu munaagiwangayo mu makya, n’endiga eyookubiri munaagiwangayo akawungeezi; 5 (C)nga muteekeddeko ne kilo emu n’ekitundu ez’obuwunga obulungi nga butabuddwamu lita ng’emu ey’amafuta ge zeyituuni. 6 (D)Ekyo ky’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera nga bwe kyalagirwa ku lusozi Sinaayi, nga ke kawoowo akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokye eri Mukama. 7 (E)Ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako kinaabanga kya lita ng’emu ku buli ndiga. Ekiweebwayo ekyokunywa eri Mukama Katonda munaakifukiranga mu watukuvu. 8 (F)Endiga eyookubiri mugiteekateekanga kawungeezi, mu ngeri y’emu n’eyo ey’omu makya. Ekyo kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa, omuva akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda.’
Ebiweebwayo eby’oku Ssabbiiti
9 (G)“Ku lunaku lwa Ssabbiiti munaaleetanga ekiweebwayo eky’endiga ennume ez’omwaka ogumu ogw’obukulu, ezitaliiko kamogo, wamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, n’ekiweebwayo eky’obuwunga obulungi ekiweza nga kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu nga butabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni. 10 (H)Kino kye kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli Ssabbiiti, nga kyongerwa ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.
Ekiweebwayo ng’Omwezi Gwakaboneka
11 (I)“Ku buli lunaku olw’olubereberye olwa buli mwezi onooleetanga eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ennume ento bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu; byonna nga tebiriiko kamogo. 12 (J)Ku buli nte nnume ento munaaleeterangako kilo ttaano ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; ku ndiga ento ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke epima kilo ssatu n’obutundutundu bubiri n’ekitundu ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; 13 (K)ku buli mwana gw’endiga ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eky’obuwunga obulungi obupima kilo emu n’ekitundu obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni. Ebyo byonna bye by’ekiweebwayo ekyokebwa, ekivaamu akawoowo akalungi ak’ekiweebwayo ekiri ku muliro, ekiweereddwayo eri Mukama Katonda. 14 (L)Ku buli nte ennume ento kunaaleeterwangako ekiweebwayo ekyokunywa ekya lita emu n’obutundu munaana eza wayini; ku ndiga ennume ento ekya wayini apima lita emu n’obutundu bubiri, ne ku buli mwana gw’endiga ennume ekyokunywa ekya lita emu n’obutundu bubiri eza wayini. Ekyo kye kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli mwezi nga gwakaboneka mu mwaka. 15 (M)Ng’oggyeko ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, munaaleetanga embuzi ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi eri Mukama Katonda.
Embaga ey’Okuyitako
16 (N)“Olunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi ogw’olubereberye kwe kunaabanga Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama Katonda. 17 (O)Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo kwe kunaabeeranga embaga; munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu. 18 (P)Ku lunaku olw’olubereberye munaabeeranga n’okukuŋŋaana okutukuvu; era temulukolerangako mirimu gyonna egy’okukakaalukana. 19 Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda, ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente eza sseddume ento bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka gumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo. 20 (Q)Ku buli nte ento ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ng’eweza kilo ssatu ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; ku ndiga ennume ento munaaleeterangako kilo bbiri; 21 ne ku buli emu ku baana b’endiga ennume omusanvu, kilo emu. 22 (R)Munaaleeterangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi olw’okwetangiririza. 23 Ebyo byonna munaabiteekateekanga nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo ekya buli makya. 24 Munaategekanga mu ngeri eyo, buli lunaku, emmere ey’ekiweebwayo ekyokebwa, okumala ennaku musanvu, nga ke kawoowo akasanyusa Mukama Katonda; ekyo kinaateekebwateekebwanga okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako. 25 Ku lunaku olw’omusanvu munaakubangawo olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyonna egya bulijjo egy’okukakaalukana.
Embaga ey’Ebibala Ebibereberye
26 (S)“Ku lunaku olw’ebibala ebibereberye, kwe munaaleeteranga ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ey’obuwunga, eri Mukama Katonda, ku Mbaga ya Wiiki, munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu; era temuukolerengako mirimu gyonna egya bulijjo egy’okukakaalukana. 27 Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ento eza sseddume bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu, nga ke kawoowo akasanyusa Mukama Katonda. 28 Ku buli nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obupima kilo ttaano; ne ku ndiga ennume ento, obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu; 29 (T)ne ku buli emu ku baana b’endiga ennume omusanvu, obupima kilo emu n’ekitundu. 30 Munaagattangako n’embuzi ennume emu ento olw’okwetangiririza. 31 (U)Ebyo byonna munaabiwangayo awamu n’ekiweebwayo kyabyo ekyokunywa; okwo kwe munaagattanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ekiweebwayo kyako eky’emmere ey’empeke. Mwegenderezenga okulaba ng’ensolo ezo zonna teziriiko kamogo.”
Zabbuli ya Sulemaani.
72 Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
2 (A)alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
n’abaavu abalamulenga mu mazima.
3 Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana
n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
4 (B)Anaalwaniriranga abaavu,
n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,
n’omujoozi n’amusaanyaawo.
5 Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma
okwaka mu mirembe gyonna.
6 (C)Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
7 (D)Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,
n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!
8 (E)Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,[a]
n’okuva ku mugga Fulaati[b] okutuuka ku nkomerero z’ensi!
9 Ebika eby’omu malungu bimugonderenga,
n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.
10 (F)Bakabaka b’e Talusiisi[c] n’ab’oku bizinga eby’ewala
bamuwenga omusolo;
bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba[d]
bamutonerenga ebirabo.
11 Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;
amawanga gonna ganaamuweerezanga.
12 Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga,
n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.
13 Anaasaasiranga omunafu n’omwavu;
n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
14 (G)Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;
kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.
15 (H)Awangaale!
Aleeterwe zaabu okuva e Syeba.
Abantu bamwegayiririrenga
era bamusabirenga emikisa buli lunaku.
16 (I)Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi,
ebikke n’entikko z’ensozi.
Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni;
n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.
17 (J)Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna,
n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba.
Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye,
era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.
18 (K)Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri,
oyo yekka akola ebyewuunyisa.
19 (L)Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe!
Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.
Amiina era Amiina!
20 Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.
Obunnabbi Obukwata ku Misiri
19 (A)Obunnabbi obukwata ku Misiri:
Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekidduka ennyo
ajja mu Misiri.
Ne bakatonda b’e Misiri balijugumira mu maaso ge,
n’emitima gy’Abamisiri girisaanuukira munda mu bo.
2 (B)Era ndiyimusa Abamisiri okulwana n’Abamisiri,
balwane buli muntu ne muganda we,
na buli muntu ne muliraanwa we;
ekibuga n’ekibuga,
obwakabaka n’obwakabaka.
3 (C)Abamisiri baliggwaamu omwoyo
era entegeka zaabwe zonna ndizitta;
era baliragulwa ebifaananyi ebibajje, n’abasamize,
n’abaliko emizimu n’abalogo.
4 (D)Era ndigabula Abamisiri
mu mukono gw’omufuzi omukambwe,
era kabaka ow’entiisa alibafuga,[a]
bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.
5 (E)Omugga gulikalira
n’entobo y’omugga ekale ejjemu enjatika.
6 (F)N’emikutu giriwunya ekivundu,
n’emyala egiyiwa mu mugga omunene nagyo gikale;
ebitoogo n’essaalu nabyo biwotoke.
7 (G)Ebimera ebiri ku Kiyira,
ku lubalama lwa Kiyira kwennyini,
ne byonna ebyasimbibwa ku Kiyira,
birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala.
8 (H)Era n’abavubi balisinda ne bakungubaga,
n’abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira
balijjula ennaku, abatega obutimba baliggweeramu ddala amaanyi.
9 (I)Era nate n’abo abakozesa obugoogwa obusunsule balinafuwa,
n’abo abaluka engoye enjeru mu linena nabo bakeŋŋentererwe.
10 Abakozi balikwatibwa ennaku,
bonna abakolera empeera ne baggwaamu omwoyo.
11 (J)Abakulu ab’e Zowani basiruwalidde ddala,
n’abagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa.
Mugamba mutya Falaawo nti,
“Ndi mwana w’abagezi, omwana wa bassekabaka ab’edda”?
12 (K)Kale nno abasajja bo ab’amagezi bali ludda wa?
Leka bakubuulire bakutegeeze
Mukama Katonda ow’Eggye
ky’ategese okutuusa ku Misiri.
13 (L)Abakungu ab’e Zowani basiriwadde,
abakungu ab’e Noofu balimbiddwa,
abo ababadde ejjinja ery’oku nsonda ery’ebika by’eggwanga
bakyamizza Misiri.
14 (M)Mukama abataddemu
omwoyo omubambaavu
era baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna by’ekola,
ng’omutamiivu atagalira mu bisesemye bye.
15 (N)Tewali mukulembeze newaakubadde afugibwa,
agasa ennyo oba agasa ekitono mu Misiri alibaako ky’akola.
16 (O)Ku lunaku luli Abamisiri balibeera ng’abakazi. Balikankana n’entiisa olw’omukono gwa Mukama Katonda ow’Eggye ogugoloddwa gye bali. 17 (P)N’ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anagibuulirwangako anatyanga, olw’okuteesa kwa Mukama Katonda ow’Eggye kw’ateesa ku yo.
18 (Q)Ku lunaku olwo walibaawo ebibuga bitaano mu nsi y’e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, era birirayira okwekwata ku Mukama Katonda ow’Eggye. Ekimu kiriyitibwa Ekibuga Ekyokuzikirira. 19 (R)Ku olwo waliteekebwawo ekyoto kya Mukama wakati mu nsi y’e Misiri, era n’ekijjukizo kya Mukama Katonda kiteekebwe ku nsalo. 20 (S)Kaliba kabonero era bujulizi eri Mukama Katonda ow’Eggye mu nsi y’e Misiri. Kubanga balikoowoola Mukama nga balumbiddwa, naye alibaweereza omulokozi, era abalwanirira, era alibalokola. 21 (T)Noolwekyo Mukama alimanyibwa mu Misiri, n’Abamisiri balimanya Mukama era bamusinze ne ssaddaaka, n’ebirabo era balyeyama obweyamo eri Mukama ne babutuukiriza. 22 (U)Era Mukama alibonereza Misiri, ng’akuba, ate ng’awonya. Nabo balidda gy’ali, balimwegayirira era alibawonya.
23 (V)Ku olwo walibaawo oluguudo olugazi oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n’Omwasuli alijja mu Misiri, n’Omumisiri n’agenda mu Bwasuli; n’Abamisiri balisinziza wamu n’Abaasuli. 24 Ku olwo Isirayiri eriba yakusatu wamu ne Misiri n’Obwasuli, baliweesa ensi omukisa. 25 (W)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye abawadde omukisa, ng’ayogera nti, “Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n’Obwasuli omulimu gw’emikono gyange, ne Isirayiri obusika bwange.”
Obunnabbi Obukwata ku Misiri ne Kuusi
20 (X)Mu mwaka Talutani omuduumizi w’oku ntikko mwe yajjira mu Asudodi ng’atumiddwa Salugoni kabaka we Bwasuli n’alwana ne Asudodi n’akiwamba; 2 (Y)mu kiseera ekyo Mukama Katonda n’ayogera ne Isaaya mutabani wa Amozi nti, “Genda osumulule ebibukutu mu kiwato kyo era oyambulemu engatto mu bigere byo.” N’akola bw’atyo n’atambula engatto ng’aziggyemu.
3 (Z)Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ng’omuddu wange Isaaya bwe yatambula obwereere emyaka esatu nga tayambadde ngoye wadde engatto okuba akabonero n’ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi; 4 (AA)bw’atyo kabaka w’e Bwasuli bw’aliwambira ddala Abamisiri, aliwaŋŋangusa Abakuusi, abato n’abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, amakugunyu gaabwe nga tegabikiddwako, Misiri ekwatibwe ensonyi. 5 (AB)Era balitya bakwatibwe ensonyi olwa Kuusi essuubi lyabwe, n’olwa Misiri ekitiibwa kyabwe. 6 (AC)Ku olwo abantu abatuula ku lubalama lw’ennyanja baligamba nti, ‘Mulabe ekigudde ku bantu be tubadde twesiga okutukuuma, gye twadda tuwonyezebwe nga tudduka kabaka w’e Bwasuli! Kaakano ffe tunaawonyezebwa tutya?’ ”
1 (A)Nze Simooni Peetero omuddu era omutume wa Yesu Kristo mpandiikira abo abaafuna okukkiriza okw’omuwendo nga ffe, mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo, 2 (B)ekisa n’emirembe byeyongerenga mu mmwe nga mutegeera Katonda ne Yesu Mukama waffe.
Okuyita n’okulonda kwa Katonda
3 (C)Kubanga mu maanyi g’obwakatonda bwe, mwe twaweerwa ebintu byonna olw’obulamu buno n’okutya Katonda mu kumanya oyo eyatuyita olw’ekitiibwa kye n’obulungi bwe ye. 4 (D)Ebyo bye byatuweesa ebisuubizo eby’omuwendo ebikulu, mu byo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bw’obwakatonda, muwone okuzikirira okuva mu kwegomba okubi okw’omu nsi.
5 (E)Noolwekyo mufubenga nnyo, okukkiriza kwammwe mukwongereko obulungi, ne ku bulungi mwongereko okutegeera, 6 (F)ne ku kutegeera mwongereko okwefuganga, ne ku kwefuganga mwongereko obugumiikiriza, ne ku bugumiikiriza mwongereko okutya Katonda, 7 (G)ne ku kutya Katonda mwongereko okufaayo ku booluganda abalala bonna ne ku kufaayo ku booluganda bonna abalala mwongereko okwagalananga. 8 (H)Kubanga bwe muba n’ebyo ne byeyongera obungi, bibafuula ba mugaso era ababala ebibala olw’okutegeera Mukama waffe Yesu Kristo. 9 (I)Oyo atalina ebyo muzibe wa maaso era awunaawuna, era yeerabidde bwe yanaazibwako ebibi bye eby’edda.
10 (J)Kale, abooluganda mweyongerenga okunywerera mu kulondebwa kwammwe ne mu kuyitibwa kwammwe. Kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temulyesittala n’omulundi n’ogumu. 11 Era mulyanirizibwa n’essanyu lingi nnyo mu bwakabaka bwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
12 (K)Noolwekyo, ebyo nzija kubibajjukizanga buli kiseera, newaakubadde nga mubimanyi, era nga ddala munyweredde mu mazima ge mwategeera. 13 (L)Era ndowooza nti kiŋŋwanira nga nkyali mu mubiri guno, okubakubirizanga nga nneeyongera okubibajjukiza. 14 (M)Kubanga mmanyi nga nnaatera okuva mu mubiri guno, nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza. 15 (N)Kyenva nfuba ennyo okukola kyonna kye nsobola, ne bwe ndivaawo mube ng’ebyo byonna mubijjukira.
16 (O)Kubanga tetwagoberera ngero bugero ezaagunjibwa wabula twabategeeza ebyo bye twalabirako ddala, eby’amaanyi n’okukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era n’obukulu bwe. 17 (P)Kubanga Katonda Kitaffe yamuwa ekitiibwa n’ettendo, eddoboozi bwe lyawulikika okuva mu ggulu mu kitiibwa ekingi ekimasamasa nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.” 18 (Q)Ffe bwe twali awamu naye ku lusozi olutukuvu, twawulirira ddala eddoboozi eryo eryava mu ggulu.
19 (R)Kyetuvudde tweyongera okukakasa ebyo bannabbi bye baategeeza, era bwe munaabigonderanga munaabanga mukoze bulungi. Kubanga biri ng’ettaala eyaka mu kizikiza okutuusa obudde lwe bukya, emunyeenye ey’enkya n’eryoka eyaka mu mitima gyammwe. 20 Okusooka mukimanye nga buli bunnabbi obuli mu byawandiikibwa, tewali ayinza kubunnyonnyola ku bubwe yekka. 21 (S)Kubanga bannabbi tebaayogeranga byabwe ku bwabwe, wabula baategeezanga ebyo Katonda bye yabalagiranga nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabibawanga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.