M’Cheyne Bible Reading Plan
24 (A)Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama Katonda asiimye okuwa Isirayiri omukisa, n’ataddayo kunoonya bya bulaguzi, nga bwe yakola ku mirundi emirala, naye n’ayolekeza amaaso ge eddungu. 2 (B)Balamu n’alengera ewala, n’alaba Isirayiri gye yasiisira ng’ebika bwe byali, n’ajjirwa Omwoyo wa Katonda, 3 n’alagula nti,
“Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli,
okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
4 (C)okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda
alaba okwolesebwa kw’Ayinzabyonna,
eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula:
5 “Eweema zo nga nnungi, Ayi Yakobo,
ebifo byo mw’obeera, Ayi Isirayiri!
6 (D)“Byeyaliiridde ng’ebiwonvu,
ng’ennimiro ku mabbali g’omugga,
ng’emigavu egisimbiddwa Mukama
ng’emivule egiri okumpi n’amazzi.
7 (E)Amazzi ganaakulukutanga mu bulobo bwabwe; ne gabooga
ensigo zaabwe zirifunanga amazzi mangi.
“Kabaka waabwe aliba wa kitiibwa okukira Agagi
obwakabaka bwabwe bunaagulumizibwanga.
8 (F)“Katonda ye yabaggya mu Misiri
balina amaanyi nga aga sseddume ey’omu nsiko.
Basaanyaawo amawanga g’abalabe
ne bamenyaamenya amagumba gaabwe mu butundutundu,
ne babalasa n’obusaale bwabwe.
9 (G)Ng’empologoma ensajja, beekulula ne bagalamira wansi,
ng’empologoma enkazi; ani ayaŋŋanga okubagolokosa?
“Akusabiranga omukisa aweebwenga omukisa
n’oyo akukolimira akolimirwenga!”
10 (H)Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira ku Balamu. N’akuba mu ngalo omulundi gumu, n’amugamba nti, “Nakuyita okolimire abalabe bange, naye obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule. 11 (I)Kale nno situka oddeyo ewammwe! Nagamba nti nnandikuwadde ebitiibwa bingi, naye Mukama akuziyizza okuweebwa ebitiibwa ebyo.”
12 (J)Balamu n’agamba Balaki nti, “Ababaka bo be wantumira, saabagamba nti, 13 (K)‘Balaki ne bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde zaabu ne ffeeza, sigenda kusukka kiragiro kya Mukama ne nkola ekyange ku bwange oba nga kirungi oba nga kibi, wabula nga ndyogera ebyo byokka Mukama by’alindagira okwogera?’ 14 (L)Kaakano nno nzirayo ewaffe mu bantu bange, naye wuliriza nga nkulabula abantu bano kye balikola abantu bo mu nnaku ezijja.”
Okulagula kwa Balamu Okwokuna
15 N’alagula bw’ati nti,
“Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli,
okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
16 okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda,
aggya okutegeera eri oyo Ali Waggulu Ennyo
alaba okulabikirwa kw’Ayinzabyonna
eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula.
17 (M)“Mmulaba, naye si kaakano;
mmutunuulira, naye tali kumpi.
Emmunyeenye eriva ewa Yakobo;
omufuzi alisituka ng’ava mu Isirayiri.
Alibetenta Mowaabu,
obuwanga bw’abatabani ba Seezi.
18 (N)Edomu[a] aliwangulwa;
Seyiri, omulabe we, aliwangulwa,
naye Isirayiri alyeyongera amaanyi.
19 (O)Omufuzi alisituka ng’ava mu Yakobo
n’azikiriza ab’omu kibuga abaliba bawonyeewo.”
Okulagula kwa Balamu Okusembayo
20 (P)Balamu n’alaba Amaleki, n’alagula nti,
“Amaleki ye yakulemberanga mu mawanga,
naye ku nkomerero agenda kuzikirira.”
21 (Q)N’alaba Abakeeni, n’alagula nti:
“Ekifo kyo w’obeera wagumu,
ekisu kyo kiri mu lwazi
22 (R)naye era mmwe Abakeeni mugenda kuzikirizibwa
Asuli bw’alibatwala mu busibe.”
23 Ate n’alagula nti,
“Woowe! Ani aba omulamu nga Katonda asazeewo eky’okukola?
24 (S)Ebyombo birijja nga biva ku mbalama za Kittimu;
birifufuggaza Asuli ne Eberi[b],
naye nabyo birizikirira.”
25 (T)Awo Balamu n’asituka n’addayo ewaabwe, ne Balaki n’akwata agage.
Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.
66 (A)Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
2 (B)Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
3 (C)Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
Olw’amaanyi go amangi
abalabe bo bakujeemulukukira.
4 (D)Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,
bakutendereza,
bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”
5 (E)Mujje mulabe Katonda ky’akoze;
mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
6 (F)Ennyanja yagifuula olukalu.
Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi,
kyetuva tujaguza.
7 (G)Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;
amaaso ge agasimba ku mawanga,
ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.
8 (H)Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga;
eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.
9 (I)Oyo y’atukuumye ne tuba balamu,
n’ataganya bigere byaffe kuseerera.
10 (J)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza,
n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
11 (K)Watuteeka mu kkomera,
n’otutikka emigugu.
12 (L)Waleka abantu ne batulinnyirira;
ne tuyita mu muliro ne mu mazzi,
n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.
13 (M)Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa,
ntuukirize obweyamo bwange gy’oli,
14 nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza;
akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.
15 (N)Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava,
mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume;
mpeeyo ente ennume n’embuzi.
16 (O)Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda,
mbategeeze ebyo by’ankoledde.
17 Namukaabirira n’akamwa kange,
ne mutendereza n’olulimi lwange.
18 (P)Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,
Mukama teyandimpulirizza;
19 (Q)ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.
20 (R)Katonda atenderezebwenga,
atagobye kusaba kwange,
wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.
67 (S)Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,
era otwakize amaaso go.
2 (T)Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,
n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.
3 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
4 (U)Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.
Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,
n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
5 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
14 (A)Mukama Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa,
addemu alonde Isirayiri
abazze ku ttaka lyabwe.
Ne bannamawanga balibeegattako
era babeere wamu nga babeeyungiddeko ddala.
2 (B)N’amawanga mangi galibayamba
okudda mu nsi yaabwe,
n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantu
abamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi.
Baliwamba abaali babawambye,
bafuge abo abaabakijjanyanga.
3 (C)Awo olunaku Mukama Katonda lw’alibawa okuwummula okuva mu kulumwa kwammwe n’okukijjanyizibwa kwe mubaddemu nga mukozesebwa, 4 (D)oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n’oyogera nti:
Omujoozi ng’agudde n’aggwaawo!
Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo!
5 (E)Mukama Katonda amenye omuggo ogw’abakozi b’ebibi,
omuggo gw’obwakabaka ogw’abo abafuga.
6 (F)Ogwakubanga olutata
amawanga n’obusungu,
ogwafugisanga amawanga ekiruyi,
ne gubayigganyanga nga tewali aguziyiza.
7 (G)Ensi yonna ewummudde eri mu mirembe,
era batandise okuyimba.
8 (H)Si ekyo kyokka n’enfugo n’emivule gya Lebanooni,
nagyo gikuyeeyeereza nti,
“Kasookanga ogwa
tebangayo ajja kututema.”
9 (I)Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo
okukusisinkana ng’ojja,
gagolokosa emyoyo gy’abafu ku lulwo,
bonna abaali abakulembeze b’ensi;
gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe,
bonna abaali bakabaka baamawanga.
10 (J)Abo bonna balyogera
ne bakugamba nti,
“Naawe oweddemu amaanyi nga ffe!
Naawe ofuuse nga ffe!”
11 (K)Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe,
awamu n’amaloboozi g’ennanga zo;
bakwalidde envunyu,
n’ensiriŋŋanyi zikubisseeko.
12 (L)Ng’ogudde okuva mu ggulu,
ggwe emunyeenye ey’enkya, omwana w’emambya!
Ng’otemeddwa n’ogwa ku ttaka,
ggwe eyamegganga amawanga!
13 (M)Wayogera mu mutima gwo nti,
“Ndirinnya mu ggulu,
ndigulumiza entebe yange
okusinga emunyeenye za Katonda;
era nditeeka entebe yange waggulu ntuule
ku lusozi olw’okukuŋŋaanirako ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiikakkono;
14 (N)ndyambuka okusinga ebire we bikoma,
ndyoke nfuuke ng’oyo ali waggulu ennyo.”
15 (O)Naye ossibbwa wansi emagombe,
ku ntobo y’obunnya.
16 (P)Abo abanaakulabanga banaakwekalirizanga
bakwewuunye nga bagamba nti,
“Ono si ye musajja eyayugumyanga ensi,
ng’anyeenyanyeenya obwakabaka!
17 (Q)Eyafuula ensi okuba eddungu
n’asuula ebibuga byayo,
atakkirizanga bawambe kudda waabwe!”
18 Bakabaka bonna ab’ensi bagalamidde mu kitiibwa,
buli omu mu ntaana ye,
19 (R)naye osuulibbwa okukuggya mu malaalo go
ng’ettabi ery’omuzizo eryakyayibwa,
ng’oteekeddwa wamu n’abattibwa, abaafumitibwa n’ekitala,
abakka eri amayinja g’obunnya;
ng’omulambo ogulinyiriddwa.
20 (S)Toligattibwa n’abo mu kuziikibwa
kubanga wazikiriza ensi yo n’otta abantu bo;
ezzadde ly’abo abaakola ebibi
teriryongerwako n’akatono.
21 (T)Mutegeke ekifo batabani be we banattirwa
olw’obutali butuukirivu bwa bakitaabwe,
baleme okugolokoka ne balya ensi,
ne bajjuza ensi yonna ebibuga byabwe.
22 (U)“Nange ndibagolokokerako,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye,
“ne mmalawo mu Babulooni erinnya lye, n’abalifikkawo,
n’omwana n’omuzzukulu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
23 (V)“Era ndimufuula obutaka bw’ebiwuugulu,
n’entobazzi
era mwere n’olweyo oluzikiriza,”
bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
Obunnabbi bw’Okusuulibwa kwa Bwasuli
24 (W)Mukama Katonda ow’Eggye alayidde n’ayogera nti,
“Ddala nga bwe nalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo
era nga bwe nateesa,
bwe kirinywera bwe kityo.
25 (X)Ndimenyera Omwasuli mu nsi yange,
era ndimulinnyirira ku nsozi zange.
Ekikoligo kye kiribavaako,
n’omugugu gwe guliggyibwa ku kibegabega kye.”
26 (Y)Eno y’entegeka eyategekerwa ensi yonna:
era guno gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna.
27 (Z)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula?
Omukono gwe gugoloddwa, kale ani ayinza okuguzzaayo?
Obunnabbi Obukwata ku Bufirisuuti
28 (AA)Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo obubaka buno.
29 (AB)Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna,
kubanga omuggo ogwakukuba gumenyese,
ne ku kikolo ky’omusota kulivaako enswera,
n’ezzadde lyalyo liriba musota ogw’obusagwa oguwalabuka.
30 (AC)Abasingirayo ddala okuba abaavu balifuna ekyokulya,
n’abali mu kwetaaga balifuna ku tulo
naye ekikolo kyo ndikittisa enjala
ate abo abalisigalawo mbattise ekitala.
31 (AD)Leekaana ggwe wankaaki, kaaba ggwe ekibuga,
osaanuuke olw’entiisa ggwe Bufirisuuti yonna!
Kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka,
eggye ery’abalwanyi omutali munafu.
32 (AE)Kale kiki kye banaddamu
ababaka b’eggwanga eryo?
“Mukama yassaawo Sayuuni,
ne mu kyo abantu be ababonyaabonyezebwa mwe balifuna obuddukiro.”
Ejjinja Eddamu n’Eggwanga Ettukuvu
2 (A)Kale mukomye buli ngeri yonna ey’ettima, n’obulimba bwonna, n’obukuusa, n’obuggya, n’okwogera ekibi kwonna. 2 (B)Ng’abaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata ag’omwoyo, muganywenga mukule era mulokolebwe, 3 (C)kubanga mwalega ku bulungi bwa Mukama.
4 (D)Mujje gy’ali kubanga ye ly’ejjinja eddamu, abantu lye baasuula nga balowooza nti terigasa, kyokka eryalondebwa Katonda era ery’omugaso omunene ennyo. 5 (E)Mujje gy’ali nga muli ng’amayinja amalamu, muzimbibwemu ennyumba ey’omwoyo. Mulyoke mube bakabona be abaweereza ssaddaaka ey’omwoyo, esiimibwa Katonda mu Yesu Kristo Mukama waffe. 6 (F)Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti,
“Laba, nteeka mu Sayuuni,
ejjinja ery’oku nsonda ery’omuwendo omungi eddonde,
oyo eyeesiga Kristo,
taliswazibwa.”
7 (G)Ejjinja eryo lya muwendo mungi nnyo eri mmwe abakkiriza. Naye eri abatakkiriza,
“Lye jjinja abazimbi lye baagaana,
lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.”
8 (H)Era
“Lye jjinja abantu lye beekoonako,
lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.”
Beesittala kubanga bajeemera ekigambo kya Katonda, nga bwe ky’ateekebwateekebwa.
9 (I)Naye mwe muli kika kironde, bakabona bw’obwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza n’abayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika. 10 (J)Edda temwali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda, era mwali temusaasirwa, naye kaakano Katonda abasaasidde.
Abaweereza ba Katonda
11 (K)Abaagalwa, mutegeerere ddala nti ku nsi kuno muli bayise. Kyenva mbeegayirira mwewale okwegomba kw’omubiri, kubanga kulwanagana n’omwoyo. 12 (L)Mukuumenga empisa zammwe ennungi, abo be mubeera nabo abatakkiriza, newaakubadde baboogerako nti ebikolwa byammwe bibi, basobole okulaba ebirungi bye mukola, balyoke bagulumize Katonda ku lunaku lw’alirabikirako.
13 (M)Ku lwa Mukama waffe, mugonderenga buli kiragiro ky’abo abali mu buyinza, oba kabaka alina obufuzi obw’oku ntikko, 14 (N)oba abafuzi abalala b’atuma okubonerezanga abakola ebikolwa ebibi, era n’okusiimanga abo abakola ebikolwa ebirungi. 15 (O)Kubanga Katonda asiima mukolenga ebirungi, mulyoke musirisenga abantu abasirusiru era abatalina kye bamanyi. 16 (P)Mubenga ba ddembe, kyokka nga temulyesigamya ku kukola bitasaana, wabula mulikozese ng’abaweereza ba Katonda. 17 (Q)Mussengamu abantu bonna ekitiibwa, mwagalenga nnyo abooluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa abafuzi.
Tulabire ku Kristo
18 (R)Abaddu, mugonderenga bakama bammwe, nga mubassaamu ekitiibwa ekijjuvu, si abo bokka abalungi n’abakwatampola naye n’abo abakambwe. 19 (S)Kubanga kya mukisa omuntu bw’abonyaabonyezebwa awatali nsonga, n’agumiikiriza olw’okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala. 20 (T)Kale kitiibwa ki kye mufuna bwe mugumiikiriza mu kubonaabona olw’okukola ekibi? Naye Katonda abasiima bwe mugumiikiriza nga mubonyaabonyezebwa olw’okukola obulungi. 21 (U)Ekyo kye mwayitirwa kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako kye musaana okugoberera.
22 (V)“Kristo teyakola kibi
wadde okwogera ebyobukuusa.”
23 Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Era abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda alamula awatali kusaliriza. 24 (W)Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olw’ebiwundu bye, muwonyezebbwa. 25 Kubanga mwali muwabye ng’endiga, naye kaakano mukomezebbwaawo eri Omusumba era alabirira obulamu bwammwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.