M’Cheyne Bible Reading Plan
Abamoli Bawangulwa
10 (A)Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi bwe yawulira nga Yoswa awambye Ayi era ng’akizikiririzza ddala nga bwe yakola Yeriko ne kabaka waayo, era bwe yawulira nti abantu b’omu Gibyoni bakoze endagaano y’emirembe n’Abayisirayiri era nga kaakano babeera nabo, 2 Adonizedeki n’atya nnyo kubanga Gibyoni kyali kibuga gagadde ng’ebibuga bya bakabaka bwe byali, nga kisingira ddala Ayi ate nga n’abasajja baamu bakirimaanyi. 3 (B)Bw’atyo Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi n’atumira bakabaka bano: Kokamu ow’e Kebbulooni, ne Piramu ow’e Yalamusi, ne Yafiya ow’e Lakisi ne Debiri ow’e Eguloni n’abagamba nti, 4 (C)“Mujje munziruukirire tuzikirize ekibuga Gibyoni kubanga abantu baamu bakoze endagaano y’emirembe ne Yoswa n’Abayisirayiri.”
5 (D)Bwe batyo bakabaka abataano Abamoli, n’ow’e Yerusaalemi, n’ow’e Kebbulooni, n’ow’e Yalamusi, n’ow’e Lakisi n’owe Eguloni ne beekobaana ne bayungula amaggye gaabwe ne bagakuluumulula ne balumba Gibyoni.
6 Abasajja b’omu Gibyoni ne batumira Yoswa mu lusiisira e Girugaali ne bamugamba nti, “Totulekulira basajja bo, yanguwako otudduukirire kubanga bakabaka bonna Abamoli ababeera eyo mu gasozi beekobaanye okututabaala.”[a] 7 (E)Bw’atyo Yoswa n’ava e Girugaali n’abasajja be abalwanyi ba nnamige. 8 (F)Mukama n’agamba Yoswa nti, “Tobatya kubanga bonna mbagabudde mu mukono gwo, teri n’omu ku bo anaalama.”
9 Yoswa n’abasajja be ne bakeesa obudde nga batambula okuva e Girugaali ne balyoka bagwa ku b’Amoli ekiyiifuyiifu. 10 (G)Mukama n’abaleetera okutya mu maaso g’Abayisirayiri ne babatta olutta lunene nnyo e Gibyoni ne babafubutula okubambusa e Besukolooni, ne bagenda nga babatta okuyitira ddala e Azeka okutuuka e Makkeda. 11 (H)Bwe baali badduka Abayisirayiri nga bavuunuka Besukolooni, Mukama n’abasuulako amayinja amanene ag’omuzira okutuukira ddala mu Azeka; abaafa omuzira ne baba bangi okusinga n’abattibwa Abayisirayiri.
Enjuba Esikattira
12 (I)Yoswa n’agamba Mukama ku lunaku olwo Abayisirayiri lwe battirako Abamoli, nga n’Abayisirayiri bonna bawulira nti,
“Ggwe enjuba, yimirira butengerera waggulu wa Gibyoni,
naawe omwezi kola bw’otyo waggulu w’ekiwonvu Ayalooni.”
13 (J)Enjuba n’omwezi ne bikola nga bwe babiragidde
okutuusa Abayisirayiri lwe baamala okuseseggula abalabe baabwe.
Bino byonna byawandiikibwa mu kitabo kya Yasali.
Enjuba n’eyimirira butengerera ku ggulu n’eteva mu kifo okumala olunaku lulamba. 14 (K)Tewali lunaku lwali lubadde nga luno, Mukama okuwulira omuntu obwenkaniddaawo; Mukama yalwanirira nnyo Isirayiri.
15 (L)Oluvannyuma lw’ebyo Yoswa n’Abayisirayiri ne bakomawo ne basiisira e Girugaali.
16 Bakabaka bali abataano ne badduka ne beekukuma mu mpuku e Makkeda. 17 Ne bagamba Yoswa nti, “Bakabaka abataano bazuuliddwa, beekwese mu mpuku.” 18 Yoswa n’alagira nti, “Muyiringise agayinja aganene mugateeke ku mumwa gw’empuku era mufuneeyo n’abasajja bagikuume; 19 naye mmwe abalwanyi temubeerawo wabula mugobe abalabe bammwe, temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe, kubanga ebyo Mukama Katonda wammwe abibawadde.”
20 (M)Awo Yoswa n’Abayisirayiri bwe baamala okutta abalabe baabwe olutta ssinziggu olubamalirawo ddala, abo abaali basigaddewo baddukira mu bibuga ebiriko ebigo, 21 olwo abantu bonna ne bakomawo mirembe eri Yoswa mu lusiisira e Girugaali. Teri muntu yaddayo kwogerera Bayisirayiri mafuukuule.
22 Oluvannyuma Yoswa n’abagamba nti, “Mugguleewo omumwa gw’empuku mundeetere bakabaka abo abataano.” 23 Ne bakola nga bwalagidde ne bamuleetera kabaka w’e Yerusaalemi, n’ow’e Kebbulooni, n’ow’e Yalamusi, n’ow’e Lakisi n’ow’e Eguloni. 24 (N)Bwe baabamuleetera, Yoswa n’akoowoola Abayisirayiri bonna, n’alagira abaduumizi b’eggye abaali naye nti, “Musembere wano kumpi, mulinnye ku nsingo za bakabaka bano.” Nabo ne basembera kumpi ne bakola nga bw’abalagidde.
25 (O)Yoswa n’abagamba nti, “Temutya wadde okuterebuka, mube n’amaanyi era n’obuvumu kubanga eno y’engeri Mukama gy’anaakola abalabe bammwe be mulwana nabo.” 26 Yoswa bwe yamala okwogera ebyo n’addira bakabaka bali n’abatta, emirambo gyabwe n’agiwanika buli gumu ku muti okutuusiza ddala akawungeezi.
27 (P)Enjuba bwe yamala okugwa Yoswa n’alagira emirambo ne giwanulwa ku miti ne gisuulibwa mu mpuku bakabaka bano mwe basooka okwekukuma, ne bayiringisa agayinja aganene ne bagasaanikira ku mumwa gw’empuku n’okutuusa kaakano amayinja ago gakyaliko.
Abamoli Bazikiririzibwa Ddala
28 (Q)Ku lunaku olwo Yoswa n’alumba Makkeda n’akizikiriza ne kabaka waayo n’amuttisa obwogi bw’ekitala, abaayo bonna n’abazikiriza, kye yakola kabaka w’e Yeriko era kye yakola n’ow’e Makkeda.
29 Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bava e Makkeda, ne bagenda e Libuna ne bakizinda, 30 era nakyo Mukama n’akibawanguza, n’atta abaakirimu bonna n’obwogi bw’ekitala, tewali n’omu gwe yalekawo. Kye yakola kabaka we Yeriko era kye yakola n’ow’e Libuna.
31 Yoswa n’Abayisirayiri ne bava e Libuna ne bazinda Lakisi, ne bakyetooloola ne bakikuba. 32 Ku lunaku olwokubiri Mukama n’akibawanguza, ne bazikiriza n’ekitala buli muntu yenna eyakirimu era nga bwe baakola e Libuna. 33 (R)Kolamu kabaka w’e Gezeri n’agezaako okudduukirira Lakisi oyo naye Yoswa n’amutta era n’atalekaawo yadde n’omu ku bantu be.
34 Yoswa n’Abayisirayiri bonna bwe baava e Lakisi ne bagenda e Eguloni, ne bakyetooloola kyonna ne bakikuba. 35 Ku lunaku olwo lwennyini ne bazikiriza n’obwogi bw’ekitala buli eyakirimu nga bwe baakola Lakisi.
36 (S)Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bava mu Eguloni ne bazinda Kebbulooni, 37 ne bakikuba; ne bazikiriza n’ekitala abantu baayo bonna era ne kabaka waabwe n’obubuga bwamu bwonna nga bwe baakola mu Eguloni.
38 (T)Yoswa n’Abayisirayiri bonna ate ne bawetamu ne baddayo e Debiri ne bakikuba. 39 Ne bakiwamba ne bazikiriza n’ekitala kabaka waakyo n’abantu baakyo bonna n’obubuga bwakyo bwonna, era nga bwe baakola e Kebbulooni ne Libuna bwe baakola ne Debiri.
40 (U)Bw’atyo Yoswa n’awangula ensi eyo yonna ey’agasozi, n’ebiwonvu, n’ensenyi ne bakabaka baayo bonna, tewali kiramu na kimu kye yaleka nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira. 41 (V)Yoswa n’awangulira ddala okuva e Kadesubanea okutuuka e Gaaza mu nsi yonna ey’e Goseni[b] okutuukira ddala e Gibyoni. 42 (W)N’awamba bakabaka bano bonna n’ensi zaabwe mu lulumba lumu lwokka kubanga Mukama Katonda wa Isirayiri yalwanirira Isirayiri.
43 (X)Awo Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bakomawo mu lusiisira e Girugaali.
Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.
142 (A)Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
neegayirira Mukama ansaasire.
2 (B)Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
ne mmwanjulira ebinteganya byonna.
3 (C)Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
4 (D)Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.
5 (E)Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”
6 (F)Owulire okukaaba kwange,
kubanga njeezebwa nnyo!
Mponya abanjigganya,
kubanga bansinza nnyo amaanyi.
7 (G)Nziggya mu kkomera,
ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo.
Abatuukirivu balinneetooloola,
ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.
Zabbuli Ya Dawudi.
143 (H)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
wulira okwegayirira kwange!
Ggwe omwesigwa
era omutuukirivu jjangu ombeere.
2 (I)Tonsalira musango,
kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
3 Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi;
anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
4 (J)Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi,
n’omutima gwange gwennyise.
5 (K)Nzijukira ennaku ez’edda,
ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna,
ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
6 (L)Ngolola emikono gyange gy’oli,
ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.
7 (M)Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama,
kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi.
Tonkisa maaso go,
nneme okufaanana ng’abafu.
8 (N)Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
9 (O)Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange,
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10 (P)Njigiriza okukola by’oyagala,
kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.
4 (A)“Bw’oba odda, ggwe Isirayiri,” bw’ayogera Mukama,
“eri nze gy’olina okudda.
Bw’oneggyako eby’omuzizo byonna
n’otosagaasagana,
2 (B)era singa olayira mu mazima, mu bwenkanya
era mu ngeri entuufu yennyini nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu,’
olwo amawanga gonna mu ye mwe gajja okuweerwa omukisa
era mu ye mwe ganeenyumiririzanga.”
3 (C)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama eri abantu ba Yuda era n’eri abantu b’omu Yerusaalemi nti,
“Mulime ennimiro zammwe ezitali nnime,
temusiga mu maggwa.
4 (D)Mukoowoole Mukama,
mweweeyo mutukuze emitima gyammwe
mwe abantu ba Yuda ne Yerusaalemi,
obusungu bwange buleme okubuubuuka ng’omuliro, olw’ebikolwa byammwe ebibi,
ne wataba ayinza kubuzikiza.”
Yuda Erumbibwa
5 (E)“Kirangirire mu Yuda
era okitegeeze mu Yerusaalemi ogambe nti,
‘Mufuuwe ekkondeere mu nsi yonna!
Mulangirire nga mugamba nti, Mukuŋŋaane,
tuddukire mu bibuga ebiriko ebigo!’
6 (F)Weereza obubaka eri Sayuuni nti,
Mudduke temulwa,
kubanga ndireeta okuzikiriza okuva mu bukiikakkono,
okuzikiriza okw’amaanyi.”
7 (G)Empologoma evudde mu kisaka kyayo,
omuzikiriza w’amawanga afulumye gy’abeera, azze okumalawo ensi yo.
Ebibuga byammwe bijja kuzikirizibwa
bibuleko abibeeramu.
8 (H)Noolwekyo mwambale ebibukutu mukungubage,
mukube ebiwoobe
kubanga obusungu bwa Mukama obw’amaanyi tebutuvuddeeko.
9 (I)Mukama n’agamba nti, “Ku lunaku olwo,
kabaka n’omukungu baliggwaamu omwoyo,
bakabona basamaalirire
ne bannabbi beewuunye.”
10 (J)Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Woowe Mukama Katonda, mazima olimbidde ddala abantu bano ne Yerusaalemi ng’ogamba nti, ‘Mulibeera n’emirembe,’ ate nga ekitala kiri ddala ku mimiro gyaffe.”
11 (K)Mu biseera ebyo abantu bano ne Yerusaalemi balibuulirwa nti, “Embuyaga ezookya eziva ku nsozi ezaakala ez’omu ddungu zifuuwa abantu bange nga teziwujja buwuzzi wadde okulongoosa obulongoosa 12 (L)embuyaga ezisingako awo ze ziriva gye ndi. Era kaakano mbasalira emisango.”
13 (M)Laba ajja ng’ebire,
amagaali ge ng’empewo y’akazimu,
embalaasi ze zidduka okusinga empungu;
zitusanze ffe kubanga tuzikiridde!
14 (N)Ayi Yerusaalemi, naaza omutima gwo guve mu kukola ebibi olyoke olokolebwe.
Olikomya ddi ebirowoozo ebibi?
15 (O)Eddoboozi lyawulirwa okuva mu Ddaani,
nga lirangirira okuzikirizibwa okuva mu nsozi za Efulayimu.
16 (P)“Labula amawanga nti ajja:
kirangirirwe mu Yerusaalemi nti,
‘Abalabe bajja okuva mu nsi ey’ewala nga bayimba ennyimba ez’entalo
nga balumba ebibuga bya Yuda.
17 (Q)Bakyetoolodde ng’abasajja abakuuma ennimiro
kubanga Yuda yanjeemera,’ ”
bw’ayogera Mukama.
18 (R)“Empisa zammwe,
n’ebikolwa byammwe bye bibaleeseeko bino.
Kino kye kibonerezo kyammwe.
Nga kya bulumi!
Nga kifumita omutima.”
19 (S)Obulumi, Ayi Obulumi!
Neenyoolera mu bulumi!
Ayi obulumi bw’omutima gwange!
Omutima gunkubagana munda, sisobola kusirika,
kubanga mpulidde eddoboozi ly’ekkondeere,
mpulidde enduulu z’olutalo.
20 (T)Okuzikirizibwa kweyongeddeko
era ensi yonna eyonooneddwa.
Eweema zange zisaanyiziddwawo mu kaseera buseera,
n’entimbe zange nga kutemya kikowe.
21 Ndituusa ddi nga ndaba bbendera z’olutalo
n’okuwulira amaloboozi g’amakondeere?
22 (U)“Kubanga abantu bange basirusiru,
tebammanyi.
Baana abatalina magezi;
abatategeera.
Bakagezimunnyu mu kukola ebibi,
tebamanyi kukola birungi.”
23 (V)Natunuulira ensi,
nga njereere,
ate ne ntunula ne ku ggulu,
ng’ekitangaala kigenze.
24 (W)Natunuulira agasozi
nga gajugumira,
n’ensozi zonna zaali ziyuuguuma.
25 (X)Natunula, era laba, waali tewasigadde muntu n’omu,
era n’ebinyonyi byonna eby’omu bbanga byali bidduse.
26 Natunula, era laba, ensi ey’ebibala ebingi ng’efuuse ddungu,
era n’ebibuga byayo byonna nga byonoonese, mu maaso ga Mukama,
olw’obusungu bwe obungi.
27 (Y)Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“Ensi yonna eriyonoonebwa,
wadde nga sirigizikiririza ddala.
28 (Z)Noolwekyo ensi erikungubaga
era n’eggulu waggulu lirikwata ekizikiza,
kubanga njogedde
era maliridde sijja kwejjusa wadde okukyusaamu.”
29 (AA)Olw’okuyoogona kw’abeebagazi b’embalaasi n’abalasa obusaale,
ebibuga byonna biribuna emiwabo,
abamu beesogge ebisaka;
n’abalala balinnye waggulu ku njazi.
Ebibuga byonna birekeddwa ttayo;
tewali abibeeramu.
30 (AB)Okola ki ggwe,
ggwe eyayonoonebwa?
Lwaki oyambala engoye entwakaavu,
ne weeteekako eby’obugagga ebya zaabu,
n’amaaso n’ogasiiga langi?
Omala biseera nga weeyonja.
Baganzi bo bakunyoomoola; era baagala kukutta.
31 (AC)Mpulira okukaaba ng’okw’omukazi alumwa okuzaala,
okusinda ng’okw’oyo asindika omwana we asooka,
okukaaba kw’omuwala wa Sayuuni ng’awejjawejja anoonya w’anassiza omukka,
ng’agolola emikono gye ng’agamba nti,
“Zinsanze nze, nzirika.
Obulamu bwange buweereddwayo mu batemu.”
Omukulu mu Bwakabaka obw’Omu Ggulu
18 Mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu?”
2 Yesu n’ayita omwana omuto n’amussa mu makkati gaabwe. 3 (A)N’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. 4 (B)Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.
5 (C)“Na buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange ng’asembeza Nze. 6 (D)Naye alyesittaza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.”
7 (E)“Ensi zigisanze! Kubanga ejjudde ebibi bingi. Okukemebwa okukola ebibi tekulema kubaawo, naye zimusanze oyo akuleeta. 8 (F)Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde oba ng’olemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ng’olina emikono ebiri n’ebigere bibiri. 9 (G)Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ng’olina eriiso limu okusinga okusuulibwa mu muliro gwa ggeyeena ng’olina amaaso go gombi.”
Olugero lw’Endiga Eyabula
10 (H)“Mwekuume obutanyoomanga n’omu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 11 Kubanga Omwana w’Omuntu yajja okulokola ekyabula[a].
12 “Mulowooza kiki ekituufu? Omuntu bw’aba n’endiga ze ekikumi, emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku lusozi n’agenda anoonya eri emu ebuze? 13 Ddala ddala mbagamba nti, bw’agiraba agisanyukira nnyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze. 14 Kale bwe kityo ne Kitammwe ali mu ggulu tasiima kulaba ng’omu ku bato bano ng’azikirira.”
Owooluganda Okusonyiwa Muganda we
15 (I)“Muganda wo bw’akusobyanga ogendanga gy’ali n’omutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bw’akkirizanga n’akwetondera olwo ng’oggyeemu omuntu mu muganda wo. 16 (J)Naye bw’agaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bw’abantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo. 17 (K)Naye bw’agaananga okubawuliriza ng’ensonga ozitwala eri Ekkanisa. Singa agaana okuwuliriza Ekkanisa, abeere nga munnaggwanga, era omuwooza w’omusolo.
18 (L)“Ddala ddala mbagamba nti byonna bye mulisiba ku nsi, ne mu ggulu birisibwa ne bye mulisumulula ku nsi, ne mu ggulu bigenda kusumululwa.
19 (M)“Era ddala ddala mbagamba nti bwe munaabanga babiri mu nsi ne mukkiriziganya ku ekyo kye mwagala okusaba, Kitange ali mu ggulu alikibakolera. 20 Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”
Olugero lw’Omuddu Atasonyiwa
21 (N)Awo Peetero n’ajja n’abuuza Yesu nti, “Mukama wange, muganda wange bw’ansobyanga musonyiwanga emirundi emeka? Emirundi musanvu?”
22 (O)Yesu n’amuddamu nti, “Sikugamba nti emirundi musanvu naye emirundi nsanvu emirundi musanvu.”
23 (P)Awo Yesu n’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa nga kabaka eyayagala okubala ebitabo bye eby’ensimbi, n’abaddu be. 24 Bwe yatandika okubikebera ne bamuleetera gw’abanja ettalanta[b] omutwalo gumu. 25 (Q)Naye olw’okuba ng’omusajja teyalina nsimbi za kusasula bbanja eryo, mukama we kyeyava alagira batunde omusajja oyo ne mukazi we n’abaana be n’ebintu bye byonna ebbanja liggwe.
26 (R)“Naye omuddu oyo n’agwa wansi mu maaso ga mukama we, n’amwegayirira nti, ‘Ngumiikiriza, nzija kukusasula ebbanja lyonna.’
27 “Mukama we n’asaasira omuddu oyo n’amusonyiwa ebbanja lyonna!
28 “Omuddu oyo bwe yafuluma n’asanga munne gwe yali abanja eddinaali[c] kikumi, n’amugwa mu bulago nga bw’amugamba nti, ‘Ssasula kye nkubanja.’
29 “Naye munne n’agwa wansi, n’amwegayirira ng’agamba nti, ‘Ngumiikiriza, nnaakusasula.’
30 “Naye amubanja n’agaana okumuwuliriza, n’amuteeka mu kkomera akuumirwe omwo okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna. 31 Awo baddu banne bwe baakiraba ne banakuwala nnyo, ne bagenda bategeeza mukama we ebigambo bye balabye.
32 “Awo mukama we n’atumya omuddu gwe yali asonyiye n’amugamba nti, ‘Oli muddu mubi nnyo. Nakusonyiye ebbanja eryo lyonna, kubanga wanneegayiridde, 33 naye ggwe kyali tekikugwanira kusaasira muddu munno nga nange bwe nakusaasidde?’ 34 Mukama we kyeyava asunguwala nnyo, n’amukwasa abaserikale bamusse mu kkomera okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna.
35 (S)“Kale ne Kitange ali mu ggulu bw’atyo bw’alibakola singa mmwe abooluganda temusonyiwa okuva mu mitima gyammwe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.