Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yoswa 18-19

Okugabana Ettaka eryali Lisigaddewo

18 (A)Ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu Siiro[a] ne basimba eyo Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Ensi yali mu mikono gyabwe, wabula waali wakyaliwo ebika musanvu ebya Isirayiri ebyali tebinnafuna mugabo gwabyo.

Yoswa n’agamba abaana ba Isirayiri nti, “Mulituusa ddi okulinda nga temunnafuna mugabo Mukama Katonda wa bajjajjammwe gwe yabawa? (B)Mulonde abantu basatu mu buli kika mbatume bayite mu nsi bagyetegereze, ng’emigabo gyabwe bwe giri era bawandiike ng’emigabo gyabwe bwe giri bakomewo bantegeeze. (C)Baligigabanyaamu ebitundu musanvu Yuda esigale mu bitundu byayo mu bukiikaddyo n’ennyumba ya Yusufu mu bitundu byayo mu bukiikakkono. (D)Nga mumaze okugabanya ensi mu bitundu musanvu mundeetere bye muwandiise mbakubire obululu mu maaso ga Mukama Katonda waffe. (E)Abaleevi tebalina mugabo mu mmwe kubanga obwakabona bwa Mukama gwe mugabo gwabwe, ne Gaadi, ne Lewubeeni n’ekitundu eky’ekika kya Manase bo baamala okuweebwa omugabo gwabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba, Musa omuweereza wa Mukama gwe yabawa.”

(F)Abantu ne bagenda okulaba ensi bw’efaanana, Yoswa n’alagira be baali batumye nti, “Mugende mutambuletambule mu nsi mugyetegereze bw’efaanana, mukomewo mbakubire obululu wano mu maaso ga Mukama e Siiro.” Awo ne bagenda ne bayita mu nsi, ne bawandiika ebitundu musanvu ebifa ku bibuga mu kitabo, ne bakomawo ewa Yoswa mu lusiisira e Siiro. 10 (G)Awo Yoswa n’abakubira obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama n’agabanyiza abaana ba Isirayiri ensi ng’ebitundu byabwe bwe byali.

Omugabo gwa Benyamini

11 Awo akalulu k’ekika kya Benyamini, okusinziira ku nnyumba mwe bazaalibwa, ne katuuka era omugabo gwe baafuna ne guba mu makkati g’abaana ba Yuda n’abaana ba Yusufu.

12 (H)Ku luuyi olw’obukiikakkono ensalo yaabwe ne tandikira ku Yoludaani ne yeeyongera ku njegoyego z’obukiikakkono bwa Yeriko n’eyambuka mu nsi ey’ensozi ebugwanjuba n’ekomekkereza mu ddungu ly’e Besaveni. 13 (I)Ensalo n’esala okuva mu bukiikaddyo n’etuuka e Luzi ye Beseri ne yeeyongera mu bukiikaddyo e Atalosuaddali kumpi n’olusozi oluli wammanga mu bukiikaddyo obwa Besukolooni.

14 (J)Ensalo ne yeeyongerayo okuva ku lusozi olutunuulidde Besukolooni n’eraga ku bukiikaddyo n’edda ebuvanjuba n’etuuka e Kiriasubaali, ye Kiriyasuyalimu, kye kibuga ky’abaana ba Yuda. Olwo lwe luuyi olw’ebugwanjuba.

15 (K)Oluuyi olw’obukiikaddyo lwatandikira ku njegoyego za Kiriyasuyalimu gye kikoma n’edda ebuvanjuba, ensalo ne yeeyongerayo ku nsulo ez’amazzi aga Nefutoa. 16 (L)Ate era ensalo n’ekkirira olusozi we lukoma, olutunudde mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri mu bukiikakkono lw’ekiwonvu kya Lefa, n’ekkirira mu kiwonvu kya Kinomu ekiri mu bukiikaddyo bw’ekibuga Yebusi, n’ekka ku Enerogeri. 17 (M)N’eryoka yeebungulula ng’eva mu bukiikakkono n’etuuka ku Ensomesi ne yeeyongerayo e Gerirosi ekitunuulidde ekkubo eryambuka okugenda Adummiru n’eyita n’etuuka ku jjinja lya Bokani mutabani wa Lewubeeni, 18 (N)ne yeeyongerayo mu bukiikakkono ku luuyi lwa Besi Alaba okutuuka ku Alaba, 19 (O)ne yeeyongerayo mu bukiikakkono obwa Besukogula bw’etyo ensalo n’ekoma ku bukiikakkono bw’Ennyanja ey’Omunnyo mu bukiikaddyo bw’omugga Yoludaani. Eyo y’ensalo ey’oku bukiikaddyo.

20 (P)Yoludaani ye yali ensalo ku luuyi olw’ebuvanjuba. Guno gwe gwali omugabo gw’ekika kya Benyamini ng’enju bwe zaali, ng’ensalo bwe zaali era ng’enju zaabwe bwe zaali.

21 Kale nno ebibuga by’ekika ky’abaana ba Benyamini ng’enju zaabwe bwe zaali byali:

Yeriko ne Besukogula ne Emekkezizi, 22 (Q)ne Besualaba ne Zemalayimu ne Beseri, 23 ne Avvimu ne Pala ne Ofula, 24 (R)ne Kefalamoni ne Ofuni ne Geba ebibuga kkumi na bibiri n’ebyalo byabyo.

25 (S)Gibyoni ne Laama ne Beerosi, 26 (T)ne Mizupe ne Kefira ne Moza, 27 ne Lekemu ne Irupeeri ne Talala, 28 (U)ne Zeera, Erefu n’Omuyebusi, ye Yerusaalemi, ne Gibeasi ne Kiriasi ebibuga kkumi na bina n’ebyalo byabyo.

Ogwo gwe gwali omugabo ogw’abaana ba Benyamini ng’enju zaabwe bwe zaali.

Omugabo gwa Simyoni

19 (V)N’akalulu akookubiri kaagwa ku Simyoni, kye kika ky’abaana ba Simyoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali n’omugabo gwabwe bwe gwali mu makkati g’omugabo gw’ekika kya Yuda. (W)Kyali kitwaliramu

Beeruseba, oba Seba, ne Molada, ne Kazalusuwali ne Bala, ne Ezemu, ne Erutoladi ne Besuli, ne Koluma, ne Zikulagi ne Besumalukabosi, ne Kazalususa ne Besulebaosi ne Salukeni ebibuga kkumi na bisatu n’ebyalo byabyo.

(X)Ayini ne Limmoni ne Eseri, ne Asani ebibuga bina n’ebyalo byabyo, (Y)n’ebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuuka ku Baalasubeeri, ye Laama ekiri mu bukiikaddyo.

Ebyo bye bitundu abaana ba Simyoni bye baagabana ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. (Z)Ettaka abaana ba Simyoni lye baagabana lyali wamu n’ery’abaana ba Yuda. Kubanga omugabo gw’abaana ba Yuda gwabasukkirira obunene; abaana ba Simyoni kyebaava bagabana wakati mu bitundu by’omugabo gwabwe.

Ensi ya Zebbulooni

10 (AA)Akakulu akookusatu ne kagwa ku kika kya Zebbulooni, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.

Era n’omugabo gwabwe ne gutuukira ddala ku Salidi. 11 (AB)Ensalo yaabwe n’eraga ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka e Malala, n’etuuka n’e Dabbesesi; ng’egendera ku kagga akali ku buvanjuba bwa Yokuneamu. 12 Okuva ebuvanjuba wa Salidi ne yeeyongerayo enjuba gy’eva ng’egendera ku nsalo y’e Kisulosutaboli, ne Daberasi, ne yeebalama Yafiya. 13 (AC)Okuva eyo n’edda ebuvanjuba e Gasukeferi, okudda e Esukazini; ne yeeyongerayo e Limmoni, n’edda ku luuyi oluliko Nea. 14 Ne yeebungulula mu bukiikakkono n’etuuka ku Kannasoni n’ekoma mu Kiwonvu kya Ifutakeri; 15 (AD)ne Kattasi, ne Nakalali, ne Simuloni, ne Idala, ne Besirekemu[b], ebibuga kkumi na bibiri, n’ebyalo byabyo.

16 (AE)Ogwo gwe mugabo gw’abaana ba Zebbulooni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n’ebyalo byabyo.

Omugabo gwa Isakaali

17 (AF)Akalulu akookuna ne kagwa ku Isakaali, lye zadde lya Isakaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali: 18 (AG)Omugabo gwabwe gwalimu

Yezuleeri ne Kesulosi ne Sunemu, 19 ne Kafalaimu ne Sioni ne Anakalasi, 20 ne Labbisi ne Kisioni ne Ebezi, 21 ne Lemesi ne Engannimu ne Enkadda ne Besupazzezi.

22 (AH)Ensalo n’ekwata ku Taboli ne Sakazuma ne Besusemesi n’ekoma ku mugga Yoludaani.

Ebibuga byonna awamu byali kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.

23 (AI)Ogwo gwe mugabo gw’ekika ky’abaana ba Isakaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.

Omugabo gwa Aseri

24 (AJ)N’akalulu akookutaano ne kagwa ku kika ky’abaana ba Aseri ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. 25 Ekitundu kyabwe kyalimu

Kerukasi ne Kali ne Beteni ne Akusafu, 26 (AK)ne Alammereki ne Amadi ne Misali ne kituuka ku Kalumeeri ku luuyi olw’ebuvanjuba ne ku Sikolulibunasi, 27 (AL)ne kidda ebuvanjuba ne kyeyongerayo ku Besudagoni ne kituuka ku Zebbulooni ne ku kiwonvu Ifutakeri ku luuyi olw’omu bukiikakkono okutuuka ku Besuemeki ne Neyeri ne kikoma ku Kabuli mu bukiikakkono. 28 (AM)Ne kyeyongerayo ku Ebuloni ne Lekobu ne Kammoni ne Kana okutuuka ku Sidoni Ekinene. 29 (AN)Ensalo n’edda ku Laama n’ekibuga ekiriko ekigo ekya Tuulo ne kyeyongerayo e Kosa n’eryoka ekoma ku nnyanja mu nsi eriraanye Akuzibu, 30 ne Uma ne Afiki ne Lekobu byonna awamu ebibuga amakumi abiri n’ebyalo byabyo.

31 (AO)Ogwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Aseri ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.

Ensi ya Nafutaali

32 Akalulu akoomukaaga ne kagwa ku Nafutaali, be baana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.

33 N’ensalo yaabwe n’eva ku mwera oguli mu Zaanannimu e Kerefu ne Adaminekebu ne Yabuneeri okutuuka ku Lakkumu n’eryoka ekoma ku mugga Yoludaani. 34 N’ewetera ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku Azunnosutaboli ne yeeyongerayo ku Kukkoki, ne yeeyongerayo e Zebbulooni mu bukiikaddyo, n’ekwata ku Aseri mu bugwanjuba, ne ku Yuda ekiri ku Yoludaani ebuvanjuba.

35 (AP)N’ebibuga ebiriko ebigo byali Ziddimu, ne Zeri, ne Kammasi, ne Lakkasi, ne Kinneresi, 36 (AQ)ne Adama ne Laama ne Kazoli, 37 (AR)ne Kasedi ne Ederei, ne Enkazoli, 38 ne Ironi ne Migudaleri, ne Kolemu ne Besuanasi ne Besusemesi,

ebibuga kkumi na mwenda n’ebyalo byabyo.

39 (AS)Ogwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.

Omugabo gwa Ddaani

40 Akalulu akoomusanvu kaagwa ku kika ky’abaana ba Ddaani ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. 41 N’ekitundu ky’omugabo gwabwe ne kitwaliramu

Zola ne Esutaoli ne Irusemesi 42 (AT)ne Saalabbini ne Ayalooni ne Isula 43 (AU)ne Eroni ne Timuna ne Ekuloni 44 ne Eruteke ne Gibbesoni ne Baalasi 45 (AV)ne Yekudi ne Beneberaki ne Gasulimmoni 46 (AW)ne Meyalakoni ne Lakoni n’ensalo etunuulidde Yafo.

47 (AX)Naye abaana ba Ddaani baalina obuzibu okutwala omugabo gwabwe ne bagenda ne balumba Lesemu ne bakiwangula ne batta abantu baamu n’ekitala ne babeera omwo, ne bakituuma Ddaani ly’erinnya lya jjajjaabwe.

48 (AY)Ogwo gwe mugabo gw’abaana ba Ddaani ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.

Omugabo gwa Yoswa

49 Nga bamaze okugabana ensi mu bitundu eby’enjawulo abaana ba Isirayiri ne bawa Yoswa mutabani wa Nuuni omugabo mu bo 50 (AZ)ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali, ne bamuwa ekibuga kye yasaba, Timunasusera mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu. Omwo mwe yazimba ekibuga mwe yabeera.

51 (BA)Bino bye bitundu Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n’abakulu b’ebika bya Isirayiri bye bagabana okuyita mu kalulu e Siiro nga beebuuza ku Mukama mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe batyo bwe baamaliriza okugabanyaamu ensi.

Zabbuli 149-150

149 (A)Mutendereze Mukama!

Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
    mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.

(B)Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;
    n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!
(C)Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina,
    bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.
(D)Kubanga Mukama asanyukira abantu be,
    n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.
(E)Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;
    bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.

(F)Batenderezenga Katonda waabwe,
    bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,
bawoolere eggwanga,
    babonereze n’amawanga,
bateeke bakabaka baago mu njegere,
    n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,
(G)babasalire omusango ogwabawandiikirwa.
    Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna.

Mutendereze Mukama.
150 (H)Mutendereze Mukama!

Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu;
    mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi.
(I)Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge;
    mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde.
(J)Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere,
    mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere.
(K)Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina;
    mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere!
(L)Mumutendereze nga mukuba ebitaasa;
    mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo!

(M)Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama!

Mutendereze Mukama.

Yeremiya 9

(A)Woowe, singa omutwe gwange gubadde mugga
    n’amaaso gange luzzi lwa maziga,
nnandikaabye emisana n’ekiro
    olw’abantu bange be batta!
(B)Woowe singa mbadde n’ekisulo
    ky’abatambuze mu ddungu,
nnandivudde ku bantu bange
    ne mbaleka
kubanga bonna benzi,
    bibiina by’abasajja ab’enkwe.

(C)“Bategeka olulimi lwabwe
    ng’omutego ogunasula obulimba;
bakulaakulanye mu ggwanga
    naye nga tebayimiridde ku mazima,
kubanga bakola ekibi kino ate ne bongera ekirala;
    era tebammanyi,”
    bw’ayogera Mukama.
(D)“Mwegendereze mikwano gyammwe
    era temwesiganga baganda bammwe:
kubanga buli wa luganda mulimba
    na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.
Buli muntu alimba muliraanwa we
    era tewali n’omu ayogera mazima.
Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba
    ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.
(E)Mubeera wakati mu bulimba;
    mu bulimba bwabwe bagaana okummanya,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

(F)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Laba, ndibalongoosa ne mbagezesa,
    kiki ate kye nnaakolera abantu bange
    kubanga boonoonye?
(G)Olulimi lwabwe kasaale akatta,
    lwogera bya bulimba,
buli muntu ayogeza mirembe n’akamwa ke,
    naye mu mutima gwe ategeka kumutega.
(H)Nneme okubabonereza olw’ebintu bino?”
    bw’ayogera Mukama.
“Seesasuze ku ggwanga
    eriri nga lino?”

10 (I)Ndikaaba ne nkungubagira ensozi
    era ne nkungubagira amalundiro ag’omu ddungu.
Galekeddwa awo era tegayitwamu,
    n’okukaaba kw’ente tekuwulirwa.
Ebinyonyi eby’omu bbanga tebikyawulirwa
    n’ensolo ez’omu nsiko zidduse.

11 (J)“Ndifuula Yerusaalemi entuumu y’ebifunfugu,
    ekisulo ky’ebibe.
Era ndyonoona ebibuga bya Yuda
    waleme kubaawo muntu yenna abeeramu.”

12 (K)Mugezigezi ki anaayinza okutegeera kino? Ani oyo Mukama gw’abuulidde alyoke akinnyonnyole? Lwaki ensi eyonoonese ng’eddungu ne wataba agiyitamu?

13 (L)Mukama n’agamba nti, “Kubanga balese amateeka gange, ge nabateekerawo. Tebaŋŋondedde wadde okugoberera amateeka gange. 14 (M)Naye, bagoberedde obukakanyavu bw’emitima gyabwe ne basinza ebifaananyi bya Babaali nga bajjajjaabwe bwe baabayigiriza.” 15 (N)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Laba ndiriisa abantu bano emmere ekaawa ne mbanyweesa n’amazzi ag’obutwa. 16 (O)Ndibasaasaanya mu mawanga bakitaabwe ge bataamanya; era ndibasindiikiriza n’ekitala, okutuusa nga mbazikirizza.”

17 (P)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Mulowooze kaakano, muyite abakazi abakungubazi, bajje;
    era mutumye abasingayo obumanyirivu.
18 (Q)Leka bajje mangu
    batukaabireko
okutuusa amaaso gaffe lwe ganaakulukuta amaziga,
    n’obukoowekoowe bwaffe ne butiiriika amazzi.
19 (R)Kubanga amaloboozi ag’okukungubaga gawuliddwa mu Sayuuni;
    ‘Nga tunyagiddwa!
    Nga tuswadde nnyo!
Tuteekwa okuva mu nsi yaffe
    kubanga amayumba gaffe gazikiriziddwa.’ ”

20 (S)Kaakano mmwe abakazi, muwulirize ekigambo kya Katonda,
    era mutege okutu kwammwe kuwulire ekigambo ky’akamwa ke.
Muyigirize bawala bammwe okukaaba,
    era buli muntu ayigirize munne okukungubaga.
21 (T)Kubanga okufa kutuyingiridde mu madirisa,
    kuyingidde mu mbiri zaffe,
okugoba abaana okubaggya ku nguudo,
    n’abavubuka okubaggya mu bifo ebisanyukirwamu.

22 (U)“Yogera,” bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Emirambo gy’abasajja abafudde
    gijja kugwa ng’obusa ku ttale
ng’ebinywa by’eŋŋaano ensale bwe bigwa
    emabega w’omukunguzi nga tebiriiko alonda.’ ”

23 (V)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Omusajja omugezi aleme kwenyumiririza mu magezi ge,
    oba omusajja ow’amaanyi okwenyumiririza mu maanyi ge
    oba omugagga mu bugagga bwe.
24 (W)Naye leka oyo eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu kino:
    nti antegeera era ammanyi,
nti nze Mukama akola ebyekisa
    n’eby’ensonga n’eby’obutuukirivu mu nsi,
    kubanga mu byo mwe nsanyukira,”
    bw’ayogera Mukama.

25 (X)“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “lwe ndibonereza abo bonna abakomole obukomozi mu mubiri: 26 (Y)Misiri, ne Yuda, ne Edomu, n’abaana ba Amoni, ne Mowaabu, era n’abo bonna ababeera mu ddungu mu bifo eby’ewala. Kubanga amawanga gano gonna ddala si makomole, ate era n’ennyumba ya Isirayiri yonna si nkomole mu mutima.”

Matayo 23

23 Awo Yesu n’ayogera eri ebibiina n’abayigirizwa be ng’agamba nti, (A)“Abawandiisi n’Abafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa. Noolwekyo mukole era mwekuume buli kye babagamba wabula temugoberera bikolwa byabwe. Kubanga boogera naye ne batakola bye bagamba. (B)Basiba emigugu emizito ne bagitikka abalala, so nga bo n’okugezaako tebagezaako kukwatako n’engalo yaabwe.

(C)“Buli kye bakola bakikola abantu babalabe. Bambala ku mikono gyabwe obusawo[a] omuli ennyiriri eziva mu Byawandiikibwa, ne bawanvuya amatanvuuwa ku byambalo byabwe, agajjukiza abagambala okudda eri Mukama, nga babikola okulaga ababalaba. (D)Baagala nnyo ebifo eby’oku mwanjo ku mbaga, ne mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro. (E)Banyumirwa nnyo okuweebwa ekitiibwa mu butale n’okuyitibwa ‘Labbi.’

“Temweyitanga ‘Labbi[b] ,’ kubanga Katonda yekka ye Muyigiriza wammwe, naye mmwe muli baaluganda. (F)Era temuyitanga muntu yenna ku nsi ‘Kitammwe,’ kubanga Katonda ali mu ggulu ye yekka gwe muteekwa okuyita bwe mutyo. 10 Era temuganyanga muntu yenna kubayita ‘bayigiriza,’ kubanga omuyigiriza wammwe ali omu yekka, ye Kristo. 11 (G)Oyo ayagala abantu okumussaamu ekitiibwa. Asaana abeere muweereza waabwe. 12 (H)Naye buli alyegulumiza alikkakkanyizibwa, na buli alyetoowaza aligulumizibwa.

13 (I)“Zibasanze mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo. Bannanfuusi mmwe! Muziyiza abantu abalala okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, ate nammwe ne mutayingira.

14 “Bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulowoozesa abantu nti muli batuukirivu nga musaba essaala, so ng’ate mwekyusa ne mugobaganya bannamwandu mu mayumba gaabwe. 15 (J)Zibasanze bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Kubanga mutambula okwetooloola ennyanja ne ku lukalu musobole okukyusa omuntu, naye bw’akyuka, mumufuula mwana wa ggeyeena okusingawo emirundi ebiri.

16 (K)“Zibasanze mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso abagamba nti, ‘Okulayira Yeekaalu, si nsonga, naye oyo alayira zaabu ali mu Yeekaalu, asaana okukituukiriza!’ 17 (L)Mmwe abatalina magezi abazibe b’amaaso! Ku ebyo byombi kiruwa ekisingako obukulu, zaabu oba Yeekaalu efuula zaabu okuba entukuvu? 18 Ate mugamba nti, ‘Omuntu okulayira ekyoto, kirina amakulu, naye bw’alayira ebirabo ebireeteddwa ku kyoto, asaana okukituukiriza!’ 19 (M)Mmwe abazibe b’amaaso, ku byombi kiruwa ekisinga kinnaakyo obukulu, ekirabo ekiri ku kyoto oba ekyoto kyennyini ekifuula ekirabo ekyo okuba ekitukuvu? 20 Bwe mulayira ekyoto, muba mulayira ekyoto n’ebikiriko byonna, 21 (N)era bwe mulayira Yeekaalu muba mulayira Yeekaalu ne Katonda agibeeramu. 22 (O)Era bwe mulayira eggulu, muba mulayira n’entebe ya Katonda ey’obwakabaka n’oyo yennyini agituulako.

23 (P)“Zibasanze, mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muwaayo ekimu eky’ekkumi ku buli kintu, ne ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, okutuukira ddala ne ku kalagala akasinga obutono, naye ne mulagajjalira ebintu ebisinga obukulu eby’amateeka, ng’obwenkanya, n’okusaasira n’okukkiriza. Weewaawo musaanidde okuwaayo ekitundu eky’ekkumi, naye ebintu ebirala ebisinga obukulu temusaanidde kubiragajjalira. 24 (Q)Mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso! Musengejja akabu muleme kukanywera mu mazzi, naye ne munyweramu eŋŋamira!

25 (R)“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Muzigula kungulu kw’ekikopo ne kungulu kw’ebbakuli, naye nga munda mujjudde omululu n’okwefaako mwekka. 26 Mmwe Abafalisaayo abazibe b’amaaso! Musooke mulongoose munda w’ekikopo olwo nno mulongoose ne kungulu.

27 (S)“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulabika ng’amalaalo agatemagana kungulu,[c] songa munda gajjudde amagumba g’abafu n’obuvundu obwa buli ngeri. 28 Mulabika ng’abantu abatuukirivu kungulu, songa munda mujjudde obunnanfuusi n’obumenyi bw’amateeka.

29 (T)“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muzimbira bannabbi ebijjukizo, ne mutimba ebijjukizo, by’abatuukirivu, 30 ne mulyoka mugamba nti, ‘Naye ddala singa twaliwo mu biseera bya bajjajjaffe tetwandisizza kimu nabo mu kuyiwa omusaayi gw’abannabbi.’ 31 (U)Bwe mwogera mutyo muba mwessaako omusango nga bwe muli abaana b’abo abatta bannabbi. 32 (V)Mugenda nga mutuukiriza ebyo bajjajjammwe bye bataamaliriza.

33 (W)“Mmwe emisota! Abaana b’embalasaasa muliwona mutya omusango ogugenda okubatwaza mu ggeyeena? 34 (X)Kyenva mbaweereza bannabbi, n’abasajja ab’amagezi, n’abawandiisi, abamu mulibatta nga mubakomerera ku musaalaba, n’abalala mulibakuba embooko mu makuŋŋaaniro gammwe, ne mubagobaganya mu bibuga byammwe. 35 (Y)Bwe mutyo omusango gw’okutemula abatuukirivu, okutandikira ku Aberi omutuukirivu okutuuka ku Zaakaliya, mutabani wa Balakiya gwe mwattira wakati wa yeekaalu n’ekyoto, ne gubasingira ddala. 36 (Z)Ddala ddala mbagamba nti ebyo byonna birituuka ku mulembe guno.

37 (AA)“Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana. 38 (AB)Laba kaakano ennyumba yo esigalidde awo, kifulukwa. 39 (AC)Kubanga nkugamba nti toliddayo kundaba nate, okutuusa ng’oyogedde nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.