M’Cheyne Bible Reading Plan
Okufuga kwa Debola
4 (A)Ekudi bwe yamala okufa Abayisirayiri ne bakola nate ebibi eri Mukama. 2 (B)Mukama n’abawaayo mu mikono gya Yabini Kabaka wa Kanani, eyabeeranga e Kazoli; omuduumizi w’eggye lye nga ye Sisera eyabeeranga e Kalosesi eky’abamawanga. 3 (C)Yabini yalina amagaali ag’ekyuma lwenda, era n’ajoogera Abayisirayiri emyaka amakumi abiri, kyebaava balaajaanira Mukama abayambe.
4 Awo Nnabbi Debola mukazi wa Leppidosi ye yali akulembera Abayisirayiri mu kiseera ekyo. 5 (D)Era bulijjo yatuulanga wansi w’olukindu olwayitibwanga olwa Debola wakati w’e Lama ne Beseri mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi: Abayisirayiri ne bajjanga gyali okubalamula. 6 (E)N’atumya Baraki mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesi ekitundu kya Nafutaali, n’amugamba nti, “Mukama Katonda w’Abayisirayiri akulagidde nti, ‘Ggenda okuŋŋaanyize abasajja bo ku lusozi Taboli, obalondemu omutwalo gumu okuva mu kika ekya Nafutaali n’ekya Zebbulooni. 7 (F)Ndisindika gy’oli ku mugga Kisoni, Sisera omuduumizi w’eggye lya Yabini, n’amagaali ge n’abalwanyi be era ndibawaayo mu mikono gyo.’ ” 8 Baraki n’amuddamu nti, “Kale nnaagenda bw’onokkiriza ŋŋende naawe, naye bw’otokkirize nange siigende.”
9 (G)Debola n’amugamba nti, “Wewaawo nnaagenda naawe, naye ekitiibwa n’obuwanguzi tebiibe bibyo, kubanga Mukama aliwaayo Sisera awangulwe mu mikono gy’omukazi.” Baraki n’addayo ne Debola e Kedesi. 10 (H)Baraki n’ayita ab’ekika kya Zebbulooni n’ekya Nafutaali bakuŋŋaanire e Kedesi, abasajja omutwalo gumu ne bamugoberera awamu ne Debola.
Baraki awangula Sisera
11 (I)Keberi Omukeeni[a] yazimba eweema ye okumpi n’omuti omwera e Zaanannimu ekiri okumpi ne Kedesi oluvannyuma lw’okwawukana ne Bakeeni banne, bazzukulu ba Kobabu mukoddomi wa Musa.
12 Awo Sisera bwe yamanya nga Baraki mutabani wa Abinoamu atuuse ku Lusozi Taboli, 13 (J)n’akuŋŋaanya amagaali ge gonna lwenda ag’ekyuma, n’abalwanyi be bonna okuva ku Kalosesi eky’abamawanga okutuuka ku mugga Kisoni.
14 (K)Debola n’agamba Baraki nti, “Mukama si y’akukulembedde! Noolwekyo situkiramu kubanga olwa leero Mukama awaddeyo Sisera mu mikono gyo.” Awo Baraki n’ava ku lusozi Taboli n’abalwanyi be omutwalo gumu. 15 (L)Mukama n’afufuggaza n’ekitala Sisera n’amagaali gonna n’eggye lye lyonna nga Baraki alaba; Sisera n’abuuka mu ggaali lye, n’adduka. 16 (M)Baraki n’afubutula eggye lya Sisera n’amagaali gaalyo okutuuka e Keloseesi eky’amawanga; era n’abatta n’ekitala obutalekaawo yadde n’omu.
Okuttibwa Kwa Sisera
17 Naye Sisera n’addukira eri eweema ya Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi: Kubanga waaliwo enkolagana wakati wa kabaka w’e Kazoli, Yabini n’ab’omu maka g’Omukeeni Keberi. 18 Yayeeri n’afuluma okusisinkana Sisera; n’amugamba nti, “Mukama wange yingira mu weema yange, totya.” Sisera n’ayingira mu weema. Yayeeri n’amubikkako omunagiro. 19 (N)Namwegayirira nti, “Mpa ku tuzzi nnyweko kubanga ennyonta enzita.” N’asumulula eddiba omufukibwa amata n’amunywesa oluvannyuma n’amubikkako. 20 Sisera n’agamba Yayeeri nti, “Yimirira mu mulyango gwa weema eno, omuntu yenna bw’ajja n’akubuuza obanga muno mulimu omusajja yenna, omuddamu nti, ‘Temuli.’ ”
21 (O)Awo Sisera bwe yali nga ali mu tulo tungi, Yayeeri mukazi wa Keberi n’addira enkondo ya weema n’ennyondo n’amusooberera n’amukomerera enkondo mu kyenyi, n’eyitamu n’ekwata n’ettaka n’afa.
22 Awo Baraki bwe yali nga anoonya Sisera, Yayeeri n’afuluma okumusisinkana, n’amugamba nti, “Jjangu nkulage omusajja gw’onoonya. Baraki n’ayingira mu weema n’alaba omulambo ggwa Sisera nga gukubiddwamu enkondo mu kyenyi.”
23 (P)Ku lunaku olwo Katonda n’awa Abayisirayiri obuwanguzi ku Yabini kabaka wa Kanani. 24 Abayisirayiri ne beeyongera okufufuggaza Yabini kabaka wa Kanani okutuusa lwe bamuzikiririzza ddala.
Ekkanisa Eyigganyizibwa
8 (A)Sawulo yali omu ku abo abaawagira okuttibwa kwa Suteefano. Era ku lunaku olwo okuyigganya Ekkanisa ne kutandika n’amaanyi mangi nnyo mu Yerusaalemi.
Abakkiriza bonna, okuggyako abatume, ne basaasaanira mu Buyudaaya ne mu Samaliya. 2 Abantu ba Katonda ne baggyawo Suteefano ne bamutwala ne bamuziika mu kwaziirana okungi. 3 (B)Naye Sawulo n’akolerera okuzikiriza Ekkanisa; n’agenda buli wantu ng’akwata abasajja n’abakazi n’abatwala mu kkomera.
Firipo Abuulira mu Samaliya
4 (C)Naye abakkiriza abadduka mu Yerusaalemi ne bagenda mu buli kifo nga babuulira Enjiri ya Yesu. 5 (D)Awo Firipo, n’alaga mu kimu ku bibuga bya Samaliya n’abuulira abantu Enjiri ya Kristo. 6 Ebibiina ne bimuwuliriza nnyo kubanga abantu bonna baalaba ebyamagero bye yakola. 7 (E)Baddayimooni bangi ne bava ku bantu nga bwe baleekaana; abaali bakoozimbye n’abalema bonna ne bawonyezebwa; 8 ekibuga ne kijjula essanyu.
Simooni Omufumu
9 (F)Waaliwo omusajja erinnya lye Simooni eyali omufumu omwatiikirivu mu kibuga omwo era nga yeewuunyisa nnyo abantu bonna mu Samaliya. Yeeyogerangako nti muntu mukulu era wa kitiibwa. 10 (G)Era abantu bangi ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa baamwogerangako nti, “Omusajja oyo ge maanyi ga Katonda agayitibwa, ‘Amangi.’ ” 11 Ne bamussangako nnyo omwoyo olw’ebyobufuusa bye yakolanga. 12 (H)Naye bwe bakkiriza obubaka bwa Firipo ng’abuulira ku bwakabaka bwa Katonda n’erinnya lya Yesu Kristo abasajja n’abakazi ne babatizibwa. 13 (I)Awo ne Simooni yennyini n’akkiriza era n’abatizibwa, n’agobereranga Firipo buli gye yalaganga; era ebyamagero Firipo bye yakolanga, Simooni n’abyewuunya nnyo.
14 (J)Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira ng’abantu mu Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana. 15 (K)Bwe baatuuka ne basabira abakkiriza bano abaggya bafune Mwoyo Mutukuvu, 16 (L)kubanga yali tannaba kubakkako, kubanga baali babatizibbwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu kyokka. 17 (M)Awo Peetero ne Yokaana ne bassa emikono gyabwe ku bakkiriza abo, ne bafuna Mwoyo Mutukuvu.
18 Simooni, Omufumu, bwe yalaba ng’abantu bafunye Mwoyo Mutukuvu olw’abatume okubassaako emikono kyokka, kyeyava atoola ensimbi aziwe abatume bamuguze obuyinza obwo. 19 N’abagamba nti, “Mumpe obuyinza obwo, buli gwe nnassangako emikono gyange afune Mwoyo Mutukuvu!”
20 (N)Naye Peetero n’amugamba nti, “Ensimbi zo zizikirire naawe olw’okulowooza nti ekirabo kya Katonda kiyinza okugulibwa obugulibwa n’ensimbi. 21 (O)Mu nsonga eno tolinaamu mugabo kubanga omutima gwo si mulongoofu mu maaso ga Katonda. 22 Noolwekyo weenenye ekikolwa ekyo ekibi weegayirire Mukama, oboolyawo Katonda ayinza okukusonyiwa ebirowoozo byo ebyo ebibi. 23 Kubanga ndaba nga mu mutima gwo mujjudde obuggya, era oli muddu wa kibi.”
24 (P)Simooni n’abeegayirira nti, “Munsabire eri Mukama ebintu ebyo bye mwogedde bireme okuntuukako.”
25 (Q)Awo Peetero ne Yokaana bwe baamala okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu, ne basitula okuddayo mu Yerusaalemi, nga bagenda babuulira Enjiri mu bibuga bingi bye baayitangamu mu Samaliya.
Firipo n’Omwesiyopya
26 (R)Awo malayika wa Mukama n’agamba Firipo nti, “Kwata ekkubo eriraga mu bukiikaddyo, eriva e Yerusaalemi nga liyita mu ddungu okugenda e Ggaaza.” 27 (S)Firipo n’akwata ekkubo eryo. Mu kiseera ekyo waaliwo omusajja Omwesiyopya mu kkubo eryo ng’ava mu kusinza e Yerusaalemi. Yali mulaawe nga mukungu mu lubiri lwa Kandake, kabaka omukazi owa Esiyopya, era ye yali omuwanika we omukulu. 28 Yali atudde mu ggaali lye ng’addayo ewaabwe nga bw’asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya. 29 (T)Awo Mwoyo Mutukuvu n’agamba Firipo nti, “Semberera eggaali eryo oligendereko.”
30 Firipo n’adduka n’atuuka ku ggaali, n’awulira Omwesiyopya ng’asoma mu kitabo kya nnabbi Isaaya. N’amubuuza nti, “By’osoma obitegeera?”
31 Omwesiyopya n’addamu nti, “Nnaabitegeera ntya nga sirina abinnyinnyonnyola?” N’asaba Firipo ayingire mu ggaali lye batuule bombi.
32 Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti:
“Yatwalibwa ng’endiga egenda okuttibwa.
Ng’omwana gw’endiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya,
naye bw’atyo teyayasamya kamwa ke.
33 (U)Yajoogebwa n’atalamulwa mu bwenkanya.
Ani alyogera ku bazzukulu be?
Kubanga ekiseera kye eky’obulamu bwe ku nsi kyakoma!”
34 Omulaawe kwe kubuuza Firipo nti, “Nnyinnyonnyola, munnange, nnabbi gw’ayogerako; yeeyogerako yekka oba ayogera ku mulala?” 35 (V)Awo Firipo n’atandika n’Ekyawandiikibwa ekyo n’amubuulira Enjiri ya Yesu Kristo.
36 (W)Bwe baali bagenda ne batuuka awali amazzi, omulaawe n’agamba nti, “Laba amazzi! Kale lwaki sibatizibwa?” 37 Awo Firipo n’amugamba nti, “Oyinza okubatizibwa, bw’oba ng’okkiriza n’omutima gwo gwonna.” Omulaawe n’addamu nti, “Nzikiriza nga Yesu Kristo Mwana wa Katonda.” 38 Awo n’alagira omugoba w’eggaali lye okuyimirira, ne bakka mu mazzi, Firipo n’amubatiza. 39 (X)Bwe baava mu mazzi amangwago Omwoyo wa Mukama n’atwala Firipo, Omulaawe n’ataddayo kumulaba nate, naye n’atambula olugendo lwe ng’ajjudde essanyu. 40 (Y)Naye Firipo n’alabikira mu Azoto, n’agenda ng’abuulira Enjiri mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo okutuukira ddala e Kayisaliya.
Ekibi n’Ekibonerezo kya Yuda
17 (A)“Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n’ekkalaamu ey’ekyuma
n’ejjinja essongovu;
kirambiddwa ku mitima gyabwe
ne ku mayembe g’ebyoto byabwe.
2 (B)N’abaana baabwe basinziza
ku byoto bya bakatonda ba Asera
ebiri ku buli muti oguyimiridde
era ne ku busozi obuwanvu.
3 (C)Olusozi lwange oluli mu nsi,
obugagga bwammwe n’ebintu byo eby’omuwendo byonna,
ndibiwaayo byonna binyagibwe
n’ebifo byammwe ebigulumivu kwe musaddaakira
olw’ekibi ekibunye mu nsi yonna.
4 (D)Musango gwo ggwe nti olifiirwa ensi gye nakuwa okuba omugabo gwo,
ndikufuula muddu wa balabe bo mu nsi gy’otomanyangako,
kubanga mu busungu bwange omuliro gukoleezeddwa
ogunaayakanga emirembe gyonna.”
5 (E)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu
era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge,
era alina omutima oguva ku Katonda.
6 (F)Aliba ng’ekisaka mu ddungu,
ataliraba birungi bwe birijja,
naye alibeera mu biwalakate mu ddungu,
ensi ey’omunnyo omutali abeeramu.
7 (G)Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama,
nga Mukama ly’essuubi lye.
8 (H)Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi,
ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga,
nga wadde omusana gujja, tegutya
n’amakoola gaagwo tegawotoka,
so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya
era teguliremwa kubala bibala.
9 (I)Omutima mulimba okusinga ebintu byonna,
era gulwadde endwadde etawonyezeka.
Ani ayinza okugutegeera?
10 (J)“Nze Mukama nkebera omutima,
ngezesa emmeeme,
okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali,
ng’ebikolwa bye bwe biri.”
11 (K)Ng’enkwale bw’eyalula amagi geetebiikanga,
bw’atyo bw’abeera oyo afuna obugagga mu makubo amakyamu;
obulamu bwe nga bwakabeerawo kaseera buseera,
bulimuggwaako era oluvannyuma alizuulibwa nga musiru.
12 (L)Ekifo kyaffe ekitukuvu,
ntebe ey’ekitiibwa eyagulumizibwa okuva ku lubereberye.
13 (M)Ayi Mukama essuubi lya Isirayiri,
bonna abakuvaako baliswala.
Abo abakuvaako ne bakuleka baliba ng’abawandiikiddwa mu nfuufu,
kubanga bavudde ku Mukama,
oluzzi olw’amazzi amalamu.
14 (N)Mponya, Ayi Mukama, nange nnaawona,
ndokola nange nnaalokoka,
kubanga ggwe gwe ntendereza.
15 (O)Tobakkiriza kuŋŋamba nti,
“Ekigambo kya Mukama kiri ludda wa?
Ka kituukirire nno kaakano!”
16 Sirekeddaawo kuba musumba wa ndiga zo,
omanyi nga sikusabanga kubaleetako nnaku.
Byonna ebiva mu kamwa kange tebikukwekeddwa, obimanyi.
17 (P)Toba wa ntiisa gye ndi,
ggwe oli buddukiro bwange mu kiseera eky’okulabiramu ennaku.
18 (Q)Abo abanjigganya leka baswale,
era onkuume nneme kuswala;
leka bagwemu ekyekango
nze onkuume nneme okwekanga,
batuuse ku lunaku olw’ekikangabwa,
bazikiririze ddala.
Okukuuma Ssabbiiti nga Ntukuvu
19 (R)Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda oyimirire ku mulyango gw’abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira n’okufuluma; yimirira ne ku nzigi endala eza Yerusaalemi. 20 (S)Bagambe nti, ‘Muwulirize ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda n’abantu bonna ababeera mu Yerusaalemi, abayita mu miryango gy’ekibuga. 21 (T)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Weegendereze oleme kufulumya mugugu gwonna mu nnyumba yo wadde okukola omulimu gwonna ku ssabbiiti, naye mukuume olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga temulukolerako mulimu gwonna, 22 (U)era kuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga bwe nalagira bajjajjammwe.’ 23 (V)Naye tebaawuliriza wadde okukkiriza okunenyezebwa. 24 Kyokka bwe muneegendereza ne muŋŋondera, bw’ayogera Mukama, ‘ne mutayisa kintu kyonna kye mwetisse mu miryango gy’ekibuga ku ssabbiiti, naye ne mukuuma olwa Ssabbiiti nga lutukuvu obutakolerako mulimu gwonna, 25 (W)olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi bajja kuyita mu miryango gy’ekibuga n’abakungu baabwe. Bo n’abakungu baabwe baakujja ng’abamu bavuga amagaali abalala nga beebagadde embalaasi, nga bawerekeddwako abasajja ba Yuda n’abo abali mu Yerusaalemi era ekibuga kino kiribeerwamu emirembe gyonna. 26 (X)Abantu balijja okuva mu bibuga bya Yuda ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemi, okuva mu bitundu bya Benyamini ne mu biwonvu ne mu nsozi z’ebugwanjuba, n’okuva mu nsi ey’ensozi ey’e Negevu, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa, ne ssaddaaka, ebiweebwayo eby’empeke, n’obubaane era n’ebiweebwayo eby’okwebaza mu nnyumba ya Mukama. 27 (Y)Naye bwe mutaŋŋondere kukuuma lunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu ne mwetikkirako emigugu gyammwe nga mufuluma mu nguudo za Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti, ndikoleeza omuliro ogutazikira mu miryango gya Yerusaalemi oguliyokya ebigo byakyo.’ ”
3 (A)Awo Yesu n’ayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze. 2 (B)Baali balindirira okulaba obanga anaamuwonya ku Ssabbiiti balyoke bamuwawaabire. 3 Yesu n’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Yimirira wakati.” 4 N’abagamba nti, “Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Okuwonya bulamu oba okubuzikiriza?” Naye ne batamuddamu. 5 Yesu n’abatunuulira ng’akambuwadde era nga munakuwavu nnyo olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe, n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agolola omukono gwe, ne guwona. 6 (C)Amangwago Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa n’Abakerodiyaani nga bwe banaamuzikiriza.
Ebibiina Bigoberera Yesu
7 (D)Awo Yesu n’abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja. Ekibiina kinene ekyava mu Ggaliraaya ne mu Buyudaaya ne kimugoberera. 8 (E)N’abalala ne bava mu kibuga Yerusaalemi, n’abalala mu Idumaya, n’abalala ne bava emitala w’omugga Yoludaani n’okwetooloola Ttuulo ne Sidoni ne bamugoberera. Ekibiina ky’abantu bwe baawulira bye yali akola ne bajja gy’ali. 9 Yesu n’agamba abayigirizwa be eryato limubeere kumpi olw’ekibiina ekinene, ekibiina kireme kumunyigiriza. 10 (F)Kubanga yawonya bangi, bangi ne baagala okumugwira bamukwateko olw’endwadde zaabwe. 11 (G)Awo emyoyo emibi bwe gyamulaba ne gigwa mu maaso ge nga gireekaana nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” 12 (H)Naye n’agikomako gireme okumwatuukiriza.
Yesu Alonda Abayigirizwa Ekkumi n’Ababiri
13 (I)Awo Yesu n’alinnya ku lusozi, n’ayita abo be yayagala, ne bajja gy’ali. 14 (J)N’alonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira. 15 (K)N’abawa n’obuyinza okugobanga baddayimooni. Ekkumi n’ababiri be yalonda be bano:
16 (L)Awo n’alonda ekkumi na babiri era be bano:
Simooni, gwe yatuuma “Peetero” ne
17 Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo, Yesu be yatuuma “Bowanerege” amakulu nti, “Abaana b’Okubwatuka.”
18 Andereya,
ne Firipo,
ne Battolomaayo,
ne Matayo,
ne Tomasi,
ne Yakobo, omwana wa Alufaayo
ne Saddayo,
ne Simooni, Omukananaayo,
19 ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe.
Yesu ne Beeruzebuli
20 (M)Awo Yesu n’ayingira mu nnyumba ekibiina kinene ne bakuŋŋaanira nate w’ali, ye ne be yali nabo ne batasobola kulya. 21 (N)Awo baganda be bwe baakiwulira ne bagenda bamuggyeyo, kubanga baalowooza nti alaluse. 22 (O)Naye abannyonnyozi b’amateeka abaava e Yerusaalemi ne bagamba nti, “Aliko Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, era obuyinza bwe bw’akozesa okugoba baddayimooni.”
23 (P)Awo Yesu n’abayita n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti, “Setaani ayinza atya okugoba Setaani? 24 Obwakabaka bwe bwawukana tebuyinza kubaawo. 25 N’ennyumba eyawukanye, teyinza kubeerawo. 26 Ne Setaani bw’atyo bw’alwanagana yekka na yekka tayinza kubaawo. Wabula yeezikiriza yekka. 27 (Q)Naye tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya muntu w’amaanyi, okunyaga ebintu bye nga tasoose kumusiba n’alyoka anyaga ebintu bye. 28 Ddala ddala mbagamba nti buli kintu kyonna omuntu ky’akola kirisonyiyibwa abaana b’abantu, ebibi n’okuvvoola kwonna kwe bavvoola. 29 (R)Naye buli alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa, emirembe n’emirembe naye alisingibwa omusango olw’ekibi eky’emirembe n’emirembe.”
30 Yayogera atyo gye bali kubanga baagamba nti, “Aliko omwoyo omubi.”
Baganda ba Yesu ne Nnyina
31 (S)Awo baganda ba Yesu ne nnyina ne bajja gy’ali ebweru nga baagala okumulaba. Awo ne bamutumira bamuyite ajje ayogere nabo. 32 Ekibiina ky’abantu kyali kimwetoolodde, ne bamugamba nti, “Nnyoko ne baganda bo ne bannyoko bali wabweru bakunoonya.”
33 Naye n’abaddamu nti, “Mmange ye ani, ne baganda bange be baani?”
34 Awo bwe yeetoolooza amaaso abo abaali batudde nga bamwebunguludde, n’abagamba nti, “Bano be mulaba be bammange era be baganda bange! 35 Kubanga buli muntu akola Katonda by’asiima ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.