Add parallel Print Page Options

Amenya Etteeka lya Ssabbiiti Anattibwanga

32 (A)Abaana ba Isirayiri bwe baali nga bakyali mu ddungu, ne basisinkana omusajja omu ku b’omu kibiina ky’Abayisirayiri eyali atyaba enku ku lunaku lwa Ssabbiiti. 33 Abo abaamusanga ng’atyaba enku ne bamuleeta eri Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna, 34 (B)ne bamuggalira mu kkomera, kubanga baali tebamanyi bulungi kya kumukolera. 35 (C)Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Omusajja oyo ateekwa kuttibwa. Ekibiina kyonna kimukubire amayinja ebweru w’olusiisira.” 36 Ekibiina kyonna ne kimufulumya wabweru w’olusiisira ne kimukuba amayinja n’afa, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Read full chapter

15 (A)Mu biro ebyo, ne ndaba abasajja mu Yuda, nga basogola omwenge ku Ssabbiiti, era nga baleeta emmere ey’empeke awamu ne wayini, n’emizabbibu, n’ettiini, n’emigugu emirala egya buli ngeri, nga babitisse endogoyi. Bino baali babiyingiza mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. Kyenava mbalabula obutatunda mmere ku lunaku olwo. 16 (B)Abantu b’e Ttuulo abaatuulanga mu Yerusaalemi, baaleetanga ebyennyanja n’ebyamaguzi eby’engeri ez’enjawulo, nga babitunza abantu ba Yuda mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. 17 Nanenya abakulembeze ba Yuda ne mbagamba nti, “Kiki kino eky’ekivve kye mukola nga mwonoona olunaku lwa Ssabbiiti? 18 (C)Bajjajjammwe tebaakola bintu bye bimu, Katonda waffe n’alyoka aleeta ekikangabwa kino kyonna ku ffe ne ku kibuga kyaffe kino? Kaakano mwongera kusiikula kiruyi kirala eri Isirayiri nga mwonoona Ssabbiiti?”

19 (D)Awo ebisiikirize ebya kawungeezi bwe byali bitandise okugwa ku miryango gya Yerusaalemi, nga Ssabbiiti tennatuuka, ne ndagira emiryango okuggalwa era gireme okuggulwa okutuusa nga Ssabbiiti eweddeko. Nateeka abamu ku basajja bange ku miryango, waleme kubaawo mugugu guyingizibwa wadde ogufulumizibwa ku Ssabbiiti. 20 Omulundi gumu oba ebiri, abasuubuzi n’abatundanga ebintu eby’engeri zonna baasula ebweru w’ekibuga Yerusaalemi. 21 Kyokka ne mbalabula nga mbagamba nti, “Lwaki musula awo ku bbugwe? Bwe munaddamu okukikola nzija kubabonereza.” Okuva ku olwo tebaddayo kujja ku Ssabbiiti.

Read full chapter

10 (A)Abayudaaya kyebaava bagamba omusajja awonyezebbwa nti, “Toteekwa kwetikka mukeeka gwo ku Ssabbiiti, oba omenye etteeka lya Ssabbiiti.”

Read full chapter