M’Cheyne Bible Reading Plan
5 (A)Awo bakabaka ba ab’Amoli abaali emitala ebugwanjuba bw’omugga Yoludaani, ne bakabaka b’Abakanani abaliraanye ennyanja bwe baawulira nga Mukama yakaliza amazzi g’omugga Yoludaani Abayisirayiri basobole okusomoka, ne batekemuka omwoyo olw’Abayisirayiri.
Yoswa akomola Abayisirayiri
2 (B)Mu kiseera ekyo Mukama n’agamba Yoswa nti, “Weekolere obwambe obw’amayinja amoogi, okomole abasajja bonna Abayisirayiri abatakomolwanga.” 3 Bw’atyo Yoswa n’akola obwambe mu mayinja amoogi n’akomolera abasajja Abayisirayiri ku lusozi oluyitibwa Gibeyakalaloosi. 4 (C)Ensonga Yoswa kyeyava abakomola y’eno: abasajja Abayisirayiri abaava e Misiri nga mwe muli n’abalwanyi bonna, baafiira mu ddungu. 5 Abaava e Misiri bonna baali bamaze okukomolebwa, kyokka abaana baabwe abaazaalirwa mu ddungu tebaali bakomole. 6 (D)Abayisirayiri baamala emyaka amakumi ana nga batambula mu ddungu okutuusa bonna, nga mwe muli n’abalwanyi, lwe baafa ne baggwaawo, kubanga baagaana okugondera eddoboozi lya Mukama era kyeyava abalayirira nti talibaganya kutuuka mu nsi eyo gye yasuubiza bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki. 7 Kale mu bifo byabwe Mukama yazzaawo baana baabwe era abo Yoswa be yakomola kubanga tebaakomolerwa mu kkubo. 8 (E)Bonna nga bamaze okukomolwa tebaava mu weema zaabwe mu lusiisira, okutuusa nga bamaze okuwona. 9 Mukama n’agamba Yoswa nti, “Okuva olwa leero mbaggyeeko ekivume ky’e Misiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Girugaali n’okutuusa kaakano.
Abayisirayiri bakwata Okuyitako e Girugaali
10 (F)Awo Abayisirayiri bwe baali bakyasiisidde e Girugaali embaga ey’Okuyitako n’etuuka era ne bagirya akawungeezi ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi, mu lusenyi lw’e Yeriko. 11 (G)Enkeera ne balya emmere ey’omu nsi y’e Kanani: emigaati egitali mizimbulukuse n’empeke ensiike. 12 (H)Okuva ku lunaku olwo lwe baalya ku mmere y’omu Kanani tebaddamu kufuna Maanu; olwo ne batandika kulyanga mmere ya mu nsi eyo.
Yoswa Asisinkana Omukulu w’Eggye lya Mukama
13 (I)Awo Yoswa bwe yali anaatera okutuuka e Yeriko bwe yayimusa amaaso n’alaba omusajja akutte ekitala ekisowole ng’amwolekedde. Yoswa kyeyava amusemberera n’amubuuza nti, “Oli ku ludda lwaffe oba ku lwa balabe baffe?” Ye n’amuddamu nti, 14 (J)“Siriiko ludda. Nze mukulu w’eggye lya Mukama era ntuuse.” Yoswa n’agwa wansi, n’avuunama n’amusinza era n’amubuuza nti, “Mukama wange, oŋŋamba ki omuddu wo?” 15 (K)Naye omukulu w’eggye lya Mukama n’amuddamu nti, “Yambulamu engatto zo kubanga ekifo kino mw’oli kitukuvu.” Ne Yoswa naye n’akola nga bwe yalagirwa.
Ekibuga Yeriko kizingizibwa
6 (L)Ekibuga Yeriko kyali kigaddwawo ng’enzigi zonna zisibiddwa be gulugulu olw’okutya Abayisirayiri era nga tewali afuluma wadde ayingira. 2 (M)Mukama n’agamba Yoswa nti, “Laba, Yeriko ne kabaka waakyo n’abasajja baamu bakirimaanyi mbawaddeyo mu mukono gwammwe. 3 Basajja bammwe abalwanyi bonna bajja ku kyetooloolanga omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga. 4 (N)Bakabona musanvu bajja kwambaliranga amakondeere agaakolebwa mu mayembe g’endiga ennume, nga bakulembedde Essanduuko. Ku lunaku olw’omusanvu balyetooloola ekibuga emirundi musanvu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe. 5 (O)Olunaawulira amakondeere nga gavuga, Abayisirayiri bonna baleekaanire waggulu era amangwago ekisenge kya bbugwe ekyetoolodde kineegonnomola wansi; amangwago Abayisirayiri bonna beefubitike ekibuga.”
Oluyimba nga balinnya amadaala.
132 Ayi Mukama jjukira Dawudi
n’okubonaabona kwe yagumiikiriza kwonna.
2 (A)Nga bwe yalayirira Mukama,
ne yeeyama eri Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo,
3 ng’agamba nti, “Siriyingira mu nnyumba yange,
wadde okulinnya ku kitanda kyange.
4 Sirikkiriza tulo kunkwata
newaakubadde okuzibiriza amaaso gange,
5 (B)okutuusa lwe ndimala okufunira Mukama ekifo;
ekifo eky’okubeeramu ekya Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo.”
6 (C)Laba, twakiwulirako mu Efulasa,
ne tukizuula mu nnimiro ya Jaali.
7 (D)Kale tugende mu kifo kye mw’abeera,
tumusinzirize awali entebe y’ebigere bye.
8 (E)Golokoka, Ayi Mukama, ogende mu kifo kyo mw’owummulira;
ggwe n’Essanduuko yo ey’Endagaano, eraga obuyinza bwo.
9 (F)Bakabona bo bambazibwe obutuukirivu,
n’abatukuvu bo bayimbe n’essanyu.
10 Ku lulwe Dawudi omuddu wo,
tomugaana oyo gwe wafukako amafuta.
11 (G)Mukama Katonda yalayirira Dawudi
ekirayiro ekitaliggwaawo, era talikivaako.
Kubanga yamugamba nti, “Omu ku batabani bo
gwe ndituuza ku ntebe yo ey’obwakabaka.
12 (H)Batabani bo bwe banaakuumanga Endagaano yange
n’ebiragiro byange bye nnaabayigirizanga,
ne batabani baabwe nabo banaatuulanga
ku ntebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.”
13 (I)Kubanga Mukama yalonda Sayuuni,
nga kye yasiima okutuulangamu, n’agamba nti:
14 (J)“Kino kye kifo mwe nnaawummuliranga emirembe gyonna;
omwo mwe nnaatuulanga nga ndi ku ntebe ey’obwakabaka kubanga nkisiimye.
15 (K)Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n’ebirungi,
era n’abaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya.
16 (L)Bakabona baakyo, obulokozi bunaabanga kyambalo kyabwe;
n’abatukuvu baakyo banaayimbanga ennyimba ez’essanyu n’essanyu.
17 (M)“Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza;
ne muteekerawo ettabaaza olw’oyo gwe nayiwako amafuta.
18 (N)Abalabe be ndibajjuza ensonyi,
naye ye ndimwambaza engule ey’ekitiibwa ekingi.”
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
133 (O)Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,
abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.
2 (P)Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni
ne gakulukutira mu kirevu;
gakulukutira mu kirevu kya Alooni,
ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.
3 (Q)Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni,
ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;
kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa
n’obulamu emirembe gyonna.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
134 (R)Mulabe, mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama,
abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama.
2 (S)Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu,
mutendereze Mukama.
3 (T)Mukama eyakola eggulu n’ensi
akuwe omukisa ng’asinziira mu Sayuuni.
Omusango n’Obulokozi
65 (A)Mukama n’alyoka agamba nti,
“Nze nnali mwetegefu okweyoleka eri abo abaali tebannoonya.
Neeraga abo abaali tebannoonya.
Eri eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange nneyoleka gye bali ng’aŋŋamba nti, ‘Ndi wano, Ndi wano.’
2 (B)Nagolola emikono gyange olunaku lwonna okutuusa obudde okuziba
eri abantu abeewagguzze,
abatambulira mu makubo amabi
abagoberera entegeka ezaabwe ku bwabwe;
3 (C)abantu bulijjo
abansomooza mu maaso gange gennyini
nga bawaayo ebiweebwayo mu nnimiro
ne bookera n’ebiweebwayo ku byoto eby’amatoffaali;
4 (D)abatuula mu malaalo
ne bamalako ekiro kyonna mu bifo ebyekusifu,
abalya ennyama y’embizzi,
era n’amaseffuliya gaabwe gajjudde ennyama etali nnongoofu.
5 (E)Bagamba nti, ‘Beera wala, tojja kumpi nange,
kubanga ndi mutuukirivu nnyo ggwe okunsaanira!’
Abantu bwe batyo mukka mu nnyindo zange,
omuliro ogwaka olunaku lwonna.
6 (F)“Laba kiwandiikiddwa mu maaso gange.
Sijja kusirika naye nzija kusasula mu bujjuvu,
nzija kubasasula bibatuukireko ddala;
7 (G)olw’ebibi byammwe byonna era n’olw’ebibi bya bakitammwe,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Kubanga baayokera ebiweebwayo byabwe ku lusozi
era ne bannyoomera ku busozi,
ndibalira mu mikono gyabwe empeera yennyini enzijuvu
ey’ebikolwa byabwe eby’edda.”
8 Bw’atyo bw’ayogera Mukama:
“Ng’omubisi bwe gusangibwa mu kirimba ky’emizabbibu
abantu ne bagamba nti, ‘Togwonoona,
gukyalimu akalungi,’
bwe ntyo bwe ndikibakolera olw’obulungi bw’abaweereza bange.
Sijja kubasaanyaawo bonna.
9 (H)Ndiggya ezzadde okuva mu Yakobo
era ne mu Yuda abo abalitwala ensozi zange;
abantu bange abalonde balizigabana,
era eyo abaweereza bange gye balibeera.
10 (I)Awo Saloni kiribeera ddundiro lya bisibo,
era n’ekiwonvu kya Akoli kifo kya nte we zigalamira
olw’abantu bange abannoonya.
11 (J)“Naye mmwe abava ku Mukama
ne mwerabira olusozi lwange olutukuvu
ne muteekerateekera emmeeza katonda wammwe, Mukisa,
ne mujuliza katonda wammwe, Kusalawo, ebikopo eby’envinnyo,
12 (K)ndibawaayo eri ekitala
era mwenna mukutaamirire musalibwe,
kubanga nabayita naye temwayitaba,
nayogera naye temwampuliriza.
Mwakola ebitasaana
era ne musalawo okukola ebitansanyusa.”
13 (L)Noolwekyo kino Mukama Ayinzabyonna ky’agamba:
“Abaweereza bange bajja kulya,
naye mmwe mujja kulumwa enjala,
abaweereza bange bajja kunywa,
naye mmwe mulumwe ennyonta;
abaweereza bange bajja kujaguza,
naye mmwe mukwatibwe ensonyi.
14 (M)Abaweereza bange bajja kuyimba
olw’essanyu erinaaba mu mitima gyabwe,
naye mmwe muli ba kukaaba olw’okulumwa okunaabeera mu mitima gyammwe
era mukaabe olw’okulumwa emyoyo.
15 (N)Ekikolimo kiryoke kibagwire,
Nze Mukama Katonda ow’Eggye mbatte
amannya gammwe geerabirwe,
naye mpe amannya amaggya abo abaŋŋondera.
16 (O)Kiryoke kibeere nti buli muntu ananoonya okufuna omukisa
anaagunoonya kuva eri Katonda Ow’amazima
buli anaalayiranga mu ggwanga
anaalayiranga Katonda ow’amazima.
Kubanga emitawaana egyayita gya kwerabirwa
gikwekebwe okuva mu maaso gange.
Eggulu Epya n’Ensi Empya
17 (P)“Laba nditonda eggulu eriggya
n’ensi empya.
Ebintu eby’edda tebijja kujjukirwa
wadde okulowoozebwako mu mutima.
18 (Q)Naye musanyukire ekyo kye ntonda
mujaguze emirembe n’emirembe,
kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyu
n’abantu baamu okuba okujaguza.
19 (R)Ndijaguza olwa Yerusaalemi
era nsanyukire abantu bange;
amaloboozi ag’okukaaba
tegaliddayo kuwulirwamu.
20 (S)“Teriddayo kuba mu kyo mwana muwere
anaaberawo ennaku obunaku,
oba omusajja omukulu ataamalengayo myaka gye;
oyo alifiira ku myaka ekikumi
alitwalibwa ng’omuvubuka obuvubuka.
Oyo atalituusa kikumi
abalibwe ng’eyakolimirwa.
21 (T)Balizimba ennyumba bazisulemu,
balisimba emizabbibu balye ebibala byagyo.
22 (U)Tebalizimba nnyumba ate omulala agisulemu,
tebalisimba ate omulala abirye.
Kubanga emyaka gy’emiti nga bwe giba
bwe gityo bwe giribeera emyaka gy’abantu bange.
Abalonde bange balirwawo nga bawoomerwa
emirimu gy’emikono gyabwe.
23 (V)Tebalikolera bwereere
oba okuzaala abaana ab’okugwa mu katyabaga,
kubanga balibeera abantu abaweebwa Mukama Katonda omukisa,
bo awamu n’ab’enda yaabwe.
24 (W)Nga tebanakoowoola ndibaddamu,
nga bakyayogera bati mbaddemu.
25 (X)Omusege n’omwana gw’endiga biriire wamu,
era empologoma erye omuddo ng’ennume,
era ettaka libeere emmere y’omusota.
Tewaliba kulumya
wadde kuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
Olugero lw’Omusizi
13 (A)Ku lunaku olwo Yesu n’afuluma mu nnyumba n’agenda n’atuula ku lubalama lw’ennyanja. 2 (B)Ekibiina kinene ne kimukuŋŋaanirako. Kwe kuyingira mu lyato n’atuula omwo abantu bonna ne bayimirira ku lubalama. 3 N’ababuulira ebintu bingi mu ngero ng’agamba nti, “Omulimi yali asiga ensigo mu nnimiro ye. 4 Bwe yagenda ng’amansa ensigo, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya. 5 Endala ne zigwa ku lwazi okutali ttaka lingi era ne zimera mangu kubanga ettaka teryali ggwanvu. 6 Naye omusana bwe gwayaka ne ziwotoka kubanga emirandira gyazo gyali kumpi. 7 Endala ne zigwa mu maggwa, bwe zaamera amaggwa nago ne gakula ne gazisinga amaanyi, obulimi obwali bwakamera ne bukala. 8 (C)Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zimera ne zibala bulungi, ne zivaamu emirundi amakumi asatu, n’endala emirundi nkaaga n’endala emirundi kikumi. 9 (D)Alina amatu agawulira, awulire.”
10 Abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamubuuza nti, “Lwaki oyogera nabo mu ngero?”
11 (E)N’abaddamu nti, “Mmwe mulina omukisa kubanga mwaweebwa okutegeera ebyama eby’obwakabaka obw’omu ggulu, naye bo tebaakiweebwa. 12 (F)Kubanga buli alina alyongerwako abeerere ddala na bingi, naye oyo atalina aliggyibwako n’ako akatono k’alina. 13 (G)Kyenva njigiriza mu ngero:
“Abalaba baleme okulaba,
n’abawulira baleme okuwulira wadde okutegeera.
14 Kino kituukiriza nnabbi Isaaya kye yagamba nti,
“ ‘Muliwulira naye temulitegeera
n’okulaba muliraba naye temulimanya.
15 (H)Kubanga omutima gw’abantu bano
gwesibye,
n’amatu gaabwe tegawulira bulungi.
N’amaaso gaabwe gazibiridde baleme okulaba n’amaaso wadde okuwulira n’amatu,
wadde omutima gwabwe okutegeera,
ne bakyuka
ne mbawonya.’
16 (I)Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba, n’amatu gammwe kubanga gawulira. 17 (J)Ddala ddala mbagamba nti, Waaliwo bannabbi bangi, n’abatuukirivu bangi abeegombanga okulaba ku bino bye mulaba, n’okuwulira bye muwulira kyokka ne batafuna mukisa ogwo.
18 “Noolwekyo muwulirize olugero lw’omulimi eyasiga ensigo. 19 (K)Ensigo eyagwa ku mabbali g’ekkubo efaanana ng’omuntu awulira ekigambo kya Katonda n’atakitegeera era omulabe Setaani n’ajja n’akimusikulako okuva ku mutima. 20 Ensigo eyagwa ku byaziyazi efaanana ng’omuntu awulira ekigambo, amangwago n’akyaniriza n’essanyu, 21 (L)naye olw’okuba nga talina mmizi mu ye, wa kaseera buseera, ennaku n’okuyigganyizibwa bwe bijja olw’ekigambo, amangwago n’agwa. 22 (M)N’ensigo eyagwa mu maggwa efaanana ng’omuntu awulira ekigambo naye okweraliikirira kw’ebintu by’ensi n’obugagga obutaliimu ne bibuutikira ekigambo ne kitabala bibala. 23 (N)Naye ensigo eyagwa ku ttaka eddungi efaanana ng’omuntu awulira ekigambo n’akitegeera, n’abalira ddala ebibala, n’abala ebibala amakumi asatu, oba nkaaga oba kikumi.”
24 (O)N’abagerera olugero olulala nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye, 25 naye ekiro nga yeebase abasajja abalabe ne bajja ne basiga omuddo wakati mu ŋŋaano ye ne bagenda. 26 Naye eŋŋaano ennungi bwe yamera, n’omuddo ne gumerera wamu nayo.
27 “Naye abaddu b’omwami w’ennyumba bwe baamusemberera ne bamugamba nti, ‘Mukama waffe, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? Naye ate omuddo guvudde wa?’
28 “Ye n’abaddamu nti, ‘Omulabe ye yakola ekyo.’ Abaddu kyebaava bamubuuza nti, ‘Tugende tugukoolemu?’
29 “N’abaddamu nti, ‘Nedda, kubanga bwe munaaba mukuulamu omuddo mujja kukuuliramu n’eŋŋaano. 30 (P)Kale mubireke byonna bikulire wamu, okukungula bwe kulituuka ne ndyoka ndagira abakunguzi basooke bakuŋŋaanye omuddo bagusibeko n’oluvannyuma bagwokye, naye yo eŋŋaano bagikuŋŋaanyize mu tterekero lyange.’ ”
Olugero lw’Akaweke ka Kaladaali n’olw’Ekizimbulukusa
31 (Q)N’abagerera olugero olulala ng’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’akaweke ka kaladaali, omusajja ke yasiga mu nnimiro. 32 (R)Kaladaali kaweke katono nnyo okusinga ensigo endala zonna. Naye bwe kasimbibwa ne kakula kavaamu omuti omunene ennyo, n’ennyonyi ez’omu bbanga ne zijja ne zibeera ku matabi gaagwo.”
33 (S)N’abongerayo olugero olulala nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu buyinza okugeraageranyizibwa n’ekizimbulukusa omukazi kye yakweka mu buwunga bw’eŋŋaano, n’apima ebigero bisatu okutuusa lwe bwazimbulukuka bwonna.”
34 (T)Bino byonna Yesu yabyogerera mu ngero eri ebibiina era teyayogera gye bali awatali ngero. 35 (U)Ekyayogerwa nnabbi ne kiryoka kituukirira nti,
“Ndyogerera mu ngero,
njogere ebintu ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw’ensi.”
Okunnyonnyola Olugero lw’Eŋŋaano y’omu Nsiko
36 (V)Awo bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamusaba abannyonnyole amakulu g’olugero lw’omuddo ogwali mu nnimiro.
37 (W)N’abannyonnyola ng’agamba nti, “Omwana w’Omuntu ye yasiga ensigo ennungi. 38 (X)Ennimiro y’ensi, n’ensigo ennungi be baana b’obwakabaka, naye omuddo be baana ba Setaani. 39 (Y)Omulabe eyasiga ensigo ez’omuddo ye Setaani, amakungula y’enkomerero y’ensi n’abakunguzi be bamalayika.
40 “Noolwekyo ng’omuddo bwe gwakuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa mu muliro, bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y’ensi. 41 (Z)Omwana w’Omuntu alituma bamalayika be mu bwakabaka bakuŋŋaanye ebintu byonna ebyesittaza, n’abajeemu, 42 (AA)babasuule mu nkoomi y’omuliro. Omwo mwe muliba okukaaba n’okuluma obujiji. 43 (AB)Naye abatuukirivu balyakaayakana ng’enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu agawulira, awulire.
44 (AC)“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’ekyobugagga ekyakwekebwa[a] mu nnimiro omuntu omu bwe yakigwikiriza. Olw’essanyu lye yafuna n’agenda n’atunda bye yalina byonna, n’agula ennimiro eyo.
45 (AD)“Ate era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’omusuubuzi w’amayinja ag’omuwendo omungi eyali anoonya amayinja ag’omuwendo, 46 bwe yazuula ejjinja erimu ery’omuwendo n’agenda n’atunda bye yalina byonna n’aligula.
Olugero lw’Akatimba
47 (AE)“Era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’akatimba akategebwa mu nnyanja ne kakwasa ebyennyanja ebya buli ngeri, 48 akatimba bwe kajjula ne bakawalulira ku lubalama ne balondamu ebirungi nga babikuŋŋaanyiza mu bisero, ebibi nga babisuula. 49 (AF)Bwe kiriba bwe kityo ne ku nkomerero y’ensi, bamalayika balijja ne baawulamu abantu abatuukirivu n’ababi. 50 (AG)Ababi balibasuula mu nkoomi y’omuliro eriba okukaaba n’okuluma obujiji.”
51 Yesu n’ababuuza nti, “Ebintu bino byonna mubitegedde?”
Ne bamuddamu nti, “Weewaawo.”
52 Kyeyava abagamba nti, “Noolwekyo omuwandiisi eyayiga obulungi amateeka g’Ekiyudaaya ate n’afuuka omuyigiriza w’obwakabaka obw’omu ggulu, ali ng’omusajja nnyini nnyumba, aggyayo mu tterekero lye ebipya n’ebikadde.”
Yesu Bamwegana e Nazaaleesi
53 (AH)Awo Yesu bwe yamala okugera engero ezo n’avaayo, 54 (AI)n’addayo mu kibuga ky’ewaabwe n’ayigiriza mu kuŋŋaaniro lyabwe. N’abeewuunyisa ne bagamba nti, “Yaggya wa amagezi n’ebyamagero ebyo?” 55 (AJ)Ne beebuuza nti, “Ono si ye mutabani w’omubazzi? Nnyina ye Maliyamu ne baganda be ba Yakobo, ne Yusufu, ne Simooni ne Yuda. 56 Ne bannyina babeera kuno. Kale, ebyo byonna yabiggya wa?” 57 (AK)Ne bamunyiigira nga balowooza nti abeeragirako. Naye Yesu n’abagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa mu buli kifo, okuggyako mu kitundu ky’ewaabwe ne mu nnyumba y’ewaabwe.”
58 Era yakolerayo ebyamagero bitono olw’obutakkiriza bwabwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.