Chronological
Isirayiri Bajeemera Lekobowaamu
12 Lekobowaamu n’alaga e Sekemu, Abayisirayiri bonna gye baali bakuŋŋaanidde okumufuula kabaka. 2 (A)Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yawulira ekyo, ng’ali e Misiri, gye yali yeewaŋŋangusirizza, n’akomawo. 3 Abantu ne batumira Yerobowaamu, ye n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri ne bagenda ewa Lekobowaamu, ne bamugamba nti, 4 (B)“Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye kaakano wewula ku mirimu emizibu ne ku kikoligo ekizito kye yatuteekako, naffe tunaakuweereza.”
5 Lekobowaamu n’abaddamu nti, “Mumpe ebbanga lya nnaku ssatu, n’oluvannyuma nnaabaddamu.” Abantu ne beetambulira.
6 (C)Awo kabaka Lekobowaamu n’agenda ne yeebuuza ku bakadde abaaweerezanga kitaawe Sulemaani, mu biseera bwe yali ng’akyali mulamu. N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki, ku nsonga abantu bano gye bansabye?”
7 (D)Ne bamuddamu nti, “Leero bw’onoobeera omuwulize eri abantu bano ne weetoowaza, n’obaweereza, era n’obaddamu n’eggonjebwa, kale banaabeeranga baweereza bo.”
8 Naye Lekobowaamu n’atawuliriza magezi abakadde ge baamuwa, n’agenda ne yeebuuza ku bavubuka be yali akuze nabo, era nga be bamuweereza. 9 N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki okuddamu abantu abasabye okuwewula ku kikoligo kitange kye yabateekako?”
10 Abavubuka abaakulira awamu naye ne bamuddamu nti, “Gamba abantu abo abakusabye nti, ‘Okendeeze ku kikoligo kitaawo kye yabateekako nti, “Engalo yange eya nasswi esinga ekiwato kya kitange obunene. 11 Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze ndyongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze nnaabakangavvulanga n’enjaba ez’obusagwa.” ’ ”
12 Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, Yerobowaamu n’abantu bonna, ne baddayo eri Lekobowaamu, nga bwe yali abagambye okudda oluvannyuma lw’ennaku essatu. 13 Awo kabaka n’addamu abantu n’ebboggo, n’agaana amagezi abakadde ge baamuwa, 14 (E)n’agoberera ag’abavubuka, n’ayogera nti, “Kitange yafuula ekikoligo kyammwe okuba ekizito, naye nze nnaayongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nno nze nnaabakangavvula na njaba ez’obusagwa.” 15 (F)Kabaka n’atawuliriza bantu. Bino byonna byabaawo Mukama atuukirize ekigambo kye yayogera eri Yerobowaamu mutabani wa Nebati ng’ayita mu Akiya Omusiiro.
16 (G)Awo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti,
“Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi,
oba kitundu ki kye tulina mu mutabani wa Yese?
Mudde mu weema zammwe ayi Isirayiri!
Weerabirire ggwe ennyumba ya Dawudi.”
Awo Abayisirayiri[a] ne beddirayo ewaabwe. 17 (H)Naye abaana ba Isirayiri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, ne bafugibwa Lekobowaamu.
18 (I)Lekobowaamu yalagira Adolaamu eyakuliranga emirimu egy’obuwaze okugenda eri Abayisirayiri, okubalagira eby’okukola, naye ne bamukuba amayinja ne bamutta. Naye ye Kabaka Lekobowaamu n’awona, n’alinnya eggaali lye n’addukira e Yerusaalemi. 19 (J)Bw’atyo Isirayiri n’ajeemera ennyumba ya Dawudi n’okutuusa leero.
20 (K)Abayisirayiri bonna bwe baawulira nti Yerobowaamu akomyewo, ne bamutumira ajje eri ekibiina, ne bamutikkira okuba kabaka wa Isirayiri yonna. Ekika kya Yuda kyokka kye kyasigala nga kigoberera ennyumba ya Dawudi.
21 (L)Awo Lekobowaamu bwe yatuuka mu Yerusaalemi n’akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda yonna, n’ekika kya Benyamini, abasajja abalwanyi emitwalo kkumi na munaana, okulwanagana n’ennyumba ya Isirayiri, asobole okweddiza obwakabaka.
22 (M)Naye ekigambo kya Katonda ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nti, 23 “Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda, n’ennyumba ya Yuda yonna n’eya Benyamini, era n’abantu bonna nti, 24 ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temwambuka kulwana ne baganda bammwe, Abayisirayiri. Buli omu ku mmwe addeyo eka kubanga kino nze nkisazeewo.’ ” Awo ne bagondera ekigambo kya Mukama, ne baddayo ewaabwe, nga Mukama bwe yalagira.
Yerobowaamu Asinza Ennyana eza Zaabu e Beseri n’e Ddaani
25 (N)Awo Yerobowaamu n’azimba Sekemu mu Efulayimu ensi ey’ensozi, era n’abeera eyo. Eyo gye yava n’agenda n’azimba Penieri.
26 Yerobowaamu ne yeerowooza munda ye nti, “Obwakabaka sikulwa nga budda mu nnyumba ya Dawudi! 27 (O)Abantu bano bwe banayambukanga okuwaayo ebiweebwayo mu yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi, olunaku olumu emitima gyabwe giyinza okukyukira mukama waabwe, Lekobowaamu, kabaka wa Yuda. Balinzita ne badda gy’ali.”
28 (P)Awo Kabaka Yerobowaamu n’aweebwa amagezi okukola ennyana bbiri eza zaabu. N’agamba abantu nti, “Kijja kubazitoowerera nnyo okwambukanga e Yerusaalemi. Baabano bakatonda bammwe, Ayi Isirayiri, abaabaggya mu Misiri.” 29 (Q)Emu n’agiteeka mu Beseri n’endala mu Ddaani. 30 (R)Ekintu ekyo ne kiba kibi nnyo, kubanga abantu baatuuka n’okugenda e Ddaani okusinza ekifaananyi ky’ennyana ekyali kiteekeddwa eyo.
31 (S)Yerobowaamu n’azimba amasabo mu bifo ebigulumivu n’alonda bakabona[b] ng’abaggya mu bantu abaabulijjo, newaakubadde nga tebaali ba kika kya Leevi. 32 (T)N’akola embaga ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogw’omunaana, okufaanana n’embaga ebeerawo mu Yuda, era n’awaayo ebyokebwa ku kyoto. Kino yakikola mu Beseri ng’awaayo ssaddaaka eri ennyana ze yakola. N’assa bakabona mu bifo ebigulumivu bye yali akoze e Beseri. 33 (U)Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogw’omunaana gwe yeerondera, n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kye yazimba e Beseri. Era n’assaawo embaga Abayisirayiri gye baakuumanga, n’ayambukanga ne ku kyoto okuwaayo ebyokebwa.
Omusajja wa Katonda Ava mu Yuda
13 Omusajja wa Katonda n’ajja e Beseri okuva mu Yuda olw’ekigambo kya Mukama, n’asanga Yerobowaamu ng’ayimiridde mu maaso g’ekyoto ng’ateekateeka okwotereza obubaane. 2 (V)N’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri ekyoto olw’ekigambo kya Mukama ng’agamba nti, “Ayi ekyoto, ekyoto! Kino Mukama ky’agamba nti, ‘Omwana erinnya lye Yosiya alizaalibwa mu nnyumba ya Dawudi, ku ggwe kw’aliweerayo bakabona ab’ebifo ebigulumivu ng’ebiweebwayo era n’amagumba g’abantu galyokerwa ku ggwe.’ ” 3 (W)Ku lunaku olwo omusajja wa Katonda n’awa akabonero: “Kano ke kabonero Mukama kalangirira. Ekyoto kiryatika n’evvu lyakyo liriyiyibwa ebweru.”
4 Awo kabaka Yerobowaamu bwe yawulira omusajja wa Katonda bye yayogera, n’ayogera n’eddoboozi eddene ku kyoto e Beseri ng’awanise omukono gwe mu maaso g’ekyoto nti, “Mumukwate!” Omukono gwe yawanika eri omusajja wa Katonda ne gukala ne gukalambalirayo n’okuyinza n’atayinza kuguzza. 5 N’ekyoto ne kyatikamu, n’evvu ne liyiika ng’akabonero omusajja wa Katonda ke yawa olw’ekigambo kya Mukama.
6 (X)Awo Kabaka n’agamba omusajja wa Katonda nti, “Negayiririra Mukama Katonda wo, onsabire omukono gwange guwonyezebwe.” Omusajja wa Katonda n’amwegayiririra eri Mukama, omukono gwe ne guddawo nga bwe gwali olubereberye.
7 (Y)Kabaka n’agamba omusajja wa Katonda nti, “Jjangu eka ewange obeeko ky’olya, n’okukuwa nkuweeyo ekirabo.”
8 (Z)Naye omusajja wa Katonda n’agamba kabaka nti, “Ne bw’onompa ekitundu ky’obugagga bwo, sijja kugenda naawe, wadde okulya omugaati oba okunywa amazzi wano. 9 Kubanga nkuutiddwa ekigambo kya Mukama nti, ‘Tolya mugaati newaakubadde okunywa amazzi wadde okuddira mu kkubo ly’ojjiddemu.’ ” 10 Awo n’addirayo mu kkubo eddala, so si mu eryo lye yajjiramu e Beseri.
11 Awo mu biro ebyo waaliwo nnabbi omukadde eyabeeranga mu Beseri, eyategeezebwa batabani be ebyo byonna omusajja wa Katonda bye yali akoze ku lunaku olwo, ne bye yali agambye kabaka. 12 Kitaabwe n’ababuuza nti, “Akutte kkubo ki?” Awo batabani be ne bamulaga ekkubo omusajja wa Katonda ow’e Yuda ly’akutte. 13 Awo n’agamba batabani be nti, “Munteekereteekere endogoyi.” Bwe baamala okumutegekera endogoyi, n’agyebagala, 14 n’akwata ekkubo omusajja wa Katonda lye yali akutte. Yamusanga atudde wansi w’omwera, n’amubuuza nti, “Gwe musajja wa Katonda eyavudde e Yuda?” N’addamu nti, “Nze nzuuno.”
15 Awo nnabbi n’amugamba nti, “Tuddeyo eka olye ku mmere.”
16 (AA)Omusajja wa Katonda n’amuddamu nti, “Siyinza kuddayo newaakubadde okugenda naawe, wadde okulya omugaati oba okunywa amazzi naawe mu kifo kino. 17 Ndagiddwa ekigambo kya Mukama nti, ‘Toteekwa kulyayo ku mmere newaakubadde okunywayo amazzi, wadde okuddirayo mu kkubo lye wajjiddemu.’ ”
18 (AB)Awo nnabbi omukadde n’amuddamu nti, “Nze nange ndi nnabbi nga ggwe. Era malayika yaŋŋambye ekigambo kya Katonda nti, ‘Mukomyewo mu nnyumba yo alye ku mmere anywe ne ku mazzi.’ ” Naye yali amulimba. 19 Awo omusajja wa Katonda n’addayo naye mu nnyumba ye n’alya era n’anywa. 20 Bwe baali batudde nga balya, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi omukadde eyali amukomezzaawo. 21 (AC)N’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri omusajja wa Katonda eyava mu Yuda nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ojeemedde ekigambo kya Mukama era tokuumye kiragiro Mukama Katonda kye yakulagidde. 22 Wakomyewo n’olya emmere era n’onywa amazzi mu kifo kye yakugaanye okulyamu wadde okunywamu amazzi. Noolwekyo omulambo gwo teguliziikibwa mu ntaana ya bajjajjaabo.’ ”
23 Omusajja wa Katonda bwe yamala okulya n’okunywa, nnabbi oli eyali amukomezzaawo, n’ategeka endogoyi y’omusajja wa Katonda. 24 (AD)Awo bwe yali ng’ali ku lugendo lwe, empologoma n’emusangiriza n’emutta, era n’esuula omulambo gwe ku kkubo, empologoma n’endogoyi ne biyimirira okumpi nagwo. 25 Laba, abantu abamu abaalaba omulambo nga gusuuliddwa wansi, nga n’empologoma eyimiridde kumpi nagwo, ne bagenda mu kibuga nnabbi mwe yabeeranga ne bategeeza abaayo. 26 Nnabbi eyali amukomezzaawo bwe yakiwulira n’ayogera nti, “Ye musajja wa Katonda ataagondedde kigambo kya Mukama. Mukama amuwaddeyo eri empologoma emutaagudde n’emutta, ng’ekigambo kya Mukama bwe ky’amulabudde.”
27 Awo nnabbi n’agamba batabani be nti, “Muntegekere endogoyi.” Ne bagimutegekera. 28 Nagenda n’asanga omulambo gw’omusajja wa Katonda nga gusuuliddwa mu kkubo n’endogoyi n’empologoma nga ziyimiridde kumpi nagwo; empologoma nga teridde mulambo so nga tetaaguddetaagudde ndogoyi. 29 Nnabbi n’asitula omulambo gw’omusajja wa Katonda n’aguteeka ku ndogoyi, era n’aguzzaayo mu kibuga kye n’amukungubagira, omulambo n’aguziika. 30 (AE)N’ateeka omulambo gwe mu ntaana ye ye, ne bamukungubagira nga bakaaba nti, “Woowe, muganda wange!”
31 (AF)Awo bwe baamala okumuziika, n’agamba batabani be nti, “Bwe nfanga, munziikanga mu ntaana omusajja wa Katonda mw’aziikiddwa; muteekanga amagumba gange kumpi n’amagumba ge. 32 (AG)Ekigambo kya Mukama, omusajja wa Katonda kye yayogera n’eddoboozi ery’omwanguka ku kyoto ekiri mu Beseri ne ku masabo ag’ebifo ebigulumivu ebiri mu bibuga eby’e Samaliya, tekirirema kutuukirira.”
33 (AH)Oluvannyuma lw’ekigambo ekyo Yerobowaamu n’atakyuka kuleka amakubo ge amabi, naye ne yeeyongera nate okussaawo bakabona ab’ebifo ebigulumivu ng’abaggya mu bantu abaabulijjo. Buli eyayagalanga okubeera kabona, n’amwawulanga okubeera mu bifo ebigulumivu. 34 (AI)Kino kye kyali ekibi ky’ennyumba ya Yerobowaamu ekyagireetera okugwa, okugimalawo n’okugizikiriza okuva ku nsi.
Akiya Alagula Yerobowaamu
14 Awo mu biro ebyo Abiya mutabani wa Yerobowaamu n’alwala, 2 (AJ)Yerobowaamu n’agamba mukyala we nti, “Golokoka ogende e Siiro, nga weefuddefudde baleme kumanya nga bw’oli mukazi wa Yerobowaamu. Akiya nnabbi, eyanjogerako nti ndiba kabaka w’abantu bano ali eyo. 3 (AK)Twala emigaati kkumi, ne bukeeke, n’ensumbi ey’omubisi gw’enjuki, ogende gy’ali era ye alikubuulira omwana bw’aliba.” 4 Awo muka Yerobowaamu n’akola bw’atyo, n’agenda ewa Akiya e Siiro.
Akiya yali muzibe, kubanga amaaso ge gaali gayimbadde olw’obukadde. 5 Naye Mukama yali alabudde Akiya nga muka Yerobowaamu bw’anajja okumubuuza ebifa ku mutabani waabwe, eyali alwadde era nga bw’ajja okumuddamu, nga bw’anaatuuka ajja kwefuula okuba omuntu omulala.
6 Awo Akiya bwe yawulira enswagiro ku mulyango, n’amugamba nti, “Yingira muka Yerobowaamu. Lwaki weefuula okuba omuntu omulala? Ntumiddwa gy’oli n’amawulire amabi. 7 (AL)Genda ogambe Yerobowaamu nti kino Mukama, Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, ‘Nakugulumiza nga nkuggya mu bantu, ne nkufuula omukulembeze wa bantu bange Isirayiri. 8 (AM)Naggya obwakabaka mu nnyumba ya Dawudi, ne mbukuwa, naye tobadde ng’omuddu wange Dawudi, eyagondera ebiragiro byange era n’abigoberera n’omutima gwe gwonna, ng’akola ekyo ekyali ekirungi mu maaso gange. 9 (AN)Oyonoonye nnyo okusinga bonna abaakusooka. Weekoledde bakatonda abalala, n’okola n’ebifaananyi ebisaanuuse n’onneerabira; onsunguwazizza nnyo.
10 (AO)“ ‘Kyendiva nsanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu, era ndiggyawo ku Yerobowaamu buli mwana owoobulenzi yenna mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu. Ndiyokya ennyumba ya Yerobowaamu, ng’omuntu bw’ayokya obusa, okutuusa lwe liggweerawo ddala. 11 (AP)Abo bonna aba Yerobowaamu abalifiira mu kibuga, embwa zirirya emirambo gyabwe, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirirya egy’abo abalifiira ku ttale, kubanga Mukama y’akyogedde!’
12 “Wabula ggwe, ddayo eka. Bw’onooba wakalinnya ekigere mu kibuga kyo, omulenzi anaafa. 13 (AQ)Isirayiri yonna banaamukaabira era ne bamuziika. Ye yekka ow’ennyumba ya Yerobowaamu aliziikibwa, kubanga ye yekka mu nnyumba ya Yerobowaamu Mukama Katonda wa Isirayiri, gw’alabyemu akalungi.
14 “Mukama alyeyimusiza kabaka wa Isirayiri alisaanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu mu kiseera ekitali ky’ewala nnyo. 15 (AR)Mukama aliva ku Isirayiri, abeere ng’ekitoogo bwe kinyeenyezebwa mu mazzi, era alisimbula Isirayiri okubaggya mu nsi eno ennungi eya bajjajjaabwe, n’abasaasaanyiza emitala w’Omugga,[c] kubanga baasunguwaza Mukama bwe baakola bakatonda Baaseri. 16 (AS)Era aliva ku Isirayiri olw’ebibi bya Yerobowaamu n’ebyo by’ayonoonesezza Isirayiri.”
17 (AT)Awo muka Yerobowaamu n’agolokoka okugenda e Tiruza. Olwayingira mu nnyumba yaabwe, omulenzi n’afa. 18 Ne bamuziika, era Isirayiri yonna ne bamukungubagira ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu nnabbi Akiya bwe kyali.
19 N’ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Yerobowaamu, entalo ze, n’okufuga kwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 20 Yafugira emyaka amakumi abiri mu ebiri, oluvannyuma ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Nadabu mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.
Lekobowaamu Kabaka wa Yuda
21 (AU)Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani n’alya obwakabaka bwa Yuda, ng’alina emyaka amakumi ana mu gumu. Yafugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri olw’erinnya lye. Nnyina yayitibwanga Naama, Omwamoni.
22 (AV)Yuda ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, okusinga ne bajjajjaabwe bye baakola era ebibi byabwe ne bikwasa Mukama obuggya. 23 (AW)Beezimbira ebifo ebigulumivu n’empagi za Baaseri ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omugazi. 24 (AX)Era waaliwo n’abaalyanga ebisiyaga mu nsi, ne bakolanga eby’emizizo byonna abamawanga Katonda be yagoba mu maaso g’Abayisirayiri bye baakolanga.
25 (AY)Mu mwaka ogwokutaano ogw’obufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi. 26 (AZ)N’atwala eby’obugagga eby’omu yeekaalu ya Mukama, n’ebyobugagga eby’omu lubiri lwa kabaka byonna, ng’okwo kw’otadde engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze. 27 Awo kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ebikomo okuzzaawo ziri, era n’azikwasa abaduumizi b’abambowa abaakuumanga wankaaki w’olubiri lwa kabaka. 28 Buli Kabaka lwe yalaganga mu yeekaalu ya Mukama, abambowa ne bambalira engabo ezo, era Oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge ky’abambowa we zaaterekebwanga.
29 Ebyafaayo ebirala byonna eby’omulembe gwa Lekobowaamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 30 (BA)Waabangawo entalo ez’olubeerera wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu. 31 (BB)Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Nnyina yayitibwanga Naama Omwamoni. Abiyaamu mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.