Chronological
Amagezi aga Leero n’Ebiseera eby’omu mu Maaso
27 (A)Teweenyumirizanga mu bya nkya,
kubanga olunaku bye lunaaleeta tobimanyi.
2 (B)Leka omulala akutenderezenga so si kamwa ko ggwe,
omuntu omulala so si mimwa gyo.
3 (C)Ejjinja lizitowa, n’omusenyu muzito,
naye obulumbaganyi bw’omusirusiru businga byonna okuzitowa.
4 (D)Obusungu bwa ttima, n’ekiruyi kifugira ddala nnyo,
naye ani ayinza okwolekera amaaso g’obuggya?
5 Okunenya mu lwatu,
kisinga okwagala okukisibbwa.
6 (E)Okunywegera kw’omulabe kwandiba okungi,
naye ebiwundu by’okunenya kw’owoomukwano tebitiisa.
7 Oyo akkuse akyawa omubisi gw’enjuki,
naye eri omuyala n’ekikaawa kiba kiwoomerera.
8 (F)Ng’akanyonyi akadduka mu kisu kyako,
bw’atyo bw’abeera omuntu abula mu maka ge.
9 (G)Ebyakaloosa bisanyusa omutima,
n’obuwoomerevu bw’omukwano gw’omuntu bwe butyo bwe buvaamu okubuulirira okw’amazima.
10 (H)Mukwano gwo ne mukwano gwa kitaawo tobaabuuliranga,
olemenga okutawaana okuswala ewa muganda wo ng’ogudde mu mitawaana.
Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.
11 (I)Beeranga n’amagezi mwana wange, osanyusenga omutima gwange,
ndyoke nyanukule oyo yenna ansekerera.
12 (J)Omuntu omutegeevu alaba akabenje ne yeekweka,
naye abatalina magezi batambula butambuzi ne bagwa mu kabi.
13 (K)Twalanga ekyambalo ky’oyo eyeeyimirira gw’atamanyi,
era kwatanga eky’oyo eyeeyimirira omukazi omwenzi kye yeeyamye.
14 Okulamusa ku muliraanwa wo mu makya ennyo, ng’oleekaana,
obanga amukolimidde.
15 (L)Omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata,
ku lunaku olw’enkuba ennyingi.
16 Okumuziyiza obanga aziyiza empewo oba
ng’anyweza omuzigo mu ngalo.
17 Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma,
n’omuntu bw’abangula muntu munne.
18 (M)Buli alabirira omutiini alirya ku bibala byagwo,
n’oyo aweereza mukama we alissibwamu ekitiibwa.
19 Ng’amazzi bwe galaga omuntu bw’afaanana mu maaso,
bwe gutyo omutima gw’omuntu bwe gulaga omuntu bw’afaanana.
20 (N)Amagombe ne ggeyeena tebikkuta,
n’amaaso g’abantu nago bwe gatyo tegakkuta.
21 (O)Entamu erongoosa ya ffeeza n’ekikoomi kikola ku zaabu,
naye omuntu ekimugezesa kutenderezebwa.
22 Ne bw’osekula omusirusiru mu kinu,
nga bw’osekula emmere y’empeke mu kinu,
obusirusiru bwe tobumuggyaamu.
23 (P)Okakasanga nti omanyi bulungi embeera z’ekisibo kyo,
ossangayo omwoyo ku ggana lyo.
24 (Q)Kubanga eby’obugagga tebibeerera mirembe gyonna,
n’engule tebeerera mirembe gyonna.
25 Ng’omuddo gw’ensolo omukulu gumaze okusalibwawo, ng’omutoototo gutandise okusibukawo,
nga n’omuddo ogw’omu busozi guleeteddwa,
26 abaana b’endiga balikuwa engoye ez’okwambala,
n’embuzi ziritundibwa ne zivaamu ensimbi.
27 Olibeera n’amata mangi g’onoggyanga mu mbuzi, okukuliisa ggwe n’ab’omu nnyumba yo,
n’okuliisa abaweereza bo abawala.
28 (R)Abakozi b’ebibi badduka nga tewali abagoba,
naye abatuukirivu babeera n’obuvumu ng’empologoma.
2 Eggwanga bwe lijeema, liba n’abafuzi bangi,
naye olw’omuntu alina okutegeera n’okumanya obutebenkevu budda nate mu nsi.
3 Omufuzi anyigiriza abaavu,
afaanana nga enkuba etonnya ezikiriza n’eterekaawo birime.
4 Abo abava ku mateeka ga Mukama batendereza aboonoonyi,
naye abo abagakuuma babawakanya.
5 Abantu abakozi b’ebibi tebategeera bwenkanya,
naye abo abanoonya Mukama babutegeerera ddala bulungi.
6 (S)Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu,
asinga omugagga ow’amakubo amakyamu.
7 (T)Oyo akuuma amateeka ga Mukama mwana eyeegendereza,
naye mukwano gw’ab’omululu akwasa kitaawe ensonyi.
8 (U)Ayongera ku bugagga bwe mu bukumpanya,
abukuŋŋaanyiza omulala anaayinza okuba ow’ekisa eri abaavu.
9 (V)Atassaayo mwoyo kuwulira mateeka ga Mukama,
n’okusaba kwe tekukkirizibwa.
10 (W)Buli akyamya abatuukirivu mu kkubo ebbi,
aligwa mu katego ke ye,
naye abatuukirivu balisikira ebirungi.
11 Omugagga alowooza nti mugezi,
naye omwavu alina okutegeera, amunyooma.
12 (X)Abatuukirivu bwe bawangula wabaawo okujaguza okw’amaanyi,
naye abakakanyalira mu kukola ebikyamu bwe bafuna obuyinza abantu beekweka.
13 (Y)Oyo akweka ebibi bye, talifuna mukisa kukulaakulana,
naye buli abyatula n’abireka, alisaasirwa.
14 Alina omukisa omuntu atya Mukama ebbanga lyonna,
naye oyo akakanyaza omutima gwe abonaabona.
15 Ng’empologoma ewuluguma oba eddubu eritiisatiisa,
bw’abeera omufuzi omubi atulugunya abateesobola.
16 Omufuzi nantagambwako tafuga na bwenkanya,
naye oyo akyawa amagoba agafuniddwa mu bukyamu alibeera n’essanyu ery’obulamu obuwangaazi.
17 (Z)Omuntu alumirizibwa olw’okutta munne,
alibeera mu kutegana okutuusa okufa,
tewabanga n’omu amuyamba.
18 (AA)Omuntu atambulira mu bugolokofu alinunulibwa talibeerako kabi,
naye oyo ow’amakubo amabi aligwa mbagirawo.
19 (AB)Omuntu alima ennimiro ye aliba n’emmere nnyingi,
naye oyo ali mu birowoozo ebitaliimu alifa bwavu.
20 (AC)Omusajja omwesigwa aliweebwa emikisa mingi,
naye oyo ayanguyiriza okugaggawala talirema kubonerezebwa.
21 (AD)Okuttira abantu ku liiso ng’osala emisango si kirungi,
naye ate olw’okunoonya akookulya omuntu ayinza okuzza omusango.
22 (AE)Omusajja omukodo yeegomba okugaggawala,
naye nga tamanyi nti obwavu bumulindiridde.
23 (AF)Oyo anenya omuntu, oluvannyuma aliganja,
okusinga oyo awaaniriza n’olulimi.
24 (AG)Buli anyaga kitaawe, oba nnyina,
n’agamba nti, “Si nsonga,” afaanana n’oyo azikiriza.
25 (AH)Omuntu ow’omululu aleeta oluyombo,
naye oyo eyeesiga Mukama aligaggawazibwa.
26 (AI)Eyeesiga omutima gwe, musirusiru,
naye oyo atambulira mu magezi alifuna emirembe.
27 (AJ)Agabira abaavu talibaako ne kye yeetaaga,
naye abakodowalira anaabanga n’ebikolimo bingi.
28 (AK)Abakozi b’ebibi bwe babeera mu buyinza, abantu beekweka,
naye abakozi b’ebibi bwe bazikirira, abatuukirivu bakulaakulana.
Obukulembeze bw’Abatuukirivu
29 (AL)Omuntu akakanyaza omutima gwe oluvannyuma lw’okunenyezebwa emirundi emingi,
alizikirira ng’atamanyiridde awatali kuwona.
2 (AM)Abatuukirivu bwe bakulaakulana, abantu basanyuka,
naye abakakanyalira mu kukola ebikyamu bwe bafuga abantu babeera mu kusinda.
3 (AN)Ayagala amagezi asanyusa kitaawe,
naye munne w’abamalaaya ayiwaayiwa obugagga bwe.
4 (AO)Kabaka afuga n’obwenkanya, abantu be baba mu butebenkevu,
naye oyo alulunkanira enguzi, ensi agyonoona.
5 Omuntu awaanawaana munne,
aba yeetega yekka ekitimba.
6 (AP)Ebibi by’omwonoonyi bye bimutega,
naye omutuukirivu abeera mu kuyimba na kusanyuka.
7 (AQ)Omutuukirivu afaayo ku nsonga z’abaavu,
naye abakozi b’ebibi tebakola bwe batyo.
8 (AR)Abakudaazi basasamaza ekibuga,
naye abantu abalina amagezi baziyiza entalo.
9 Omuntu ow’amagezi bw’awoza n’omusirusiru,
omusirusiru ayongera kusunguwala, n’okujerega ne wataba mirembe.
10 (AS)Abeegomba okuyiwa omusaayi bakyawa omuntu ow’amazima,
era banoonya okusaanyaawo obulamu bwe.
11 (AT)Omusirusiru alaga obusungu bwe bwonna,
naye omuntu ow’amagezi abuziyiza n’abukkakkanya.
12 Omufuzi bw’awuliriza eby’obulimba,
abakungu be bonna bafuuka babi.
13 (AU)Omwavu n’oyo amubonyaabonya balina ekibagatta:
Mukama bombi ye yabawa amaaso.
14 (AV)Kabaka bw’asalira abaavu emisango n’obwesigwa,
obufuzi bwe bubeerera emirembe gyonna.
15 (AW)Akaggo akakangavvula, kaleeta amagezi,
naye omwana alekeddwa awo, aswaza nnyina.
16 (AX)Abakozi b’ebibi bwe beeyongera obungi, okumenya amateeka kweyongera,
naye abatuukirivu baliraba okugwa kwabwe.
17 (AY)Kangavvula omwana wo, alikuwa emirembe,
alireetera emmeeme yo essanyu.
18 (AZ)Awatali kwolesebwa abantu tebaba beegendereza,
naye wa mukisa oyo akuuma amateeka ga Mukama.
19 Omuweereza tayinza kubuulirirwa na bigambo byokka;
ne bw’aba ategedde tafaayo.
20 (BA)Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye?
Omusirusiru alina essuubi okumusinga.
21 Atiitiibya omuweereza we ekiyitiridde ng’akyali mwana muto,
oluvannyuma omuweereza aleetera mukama we obuyinike.
22 (BB)Omuntu ow’obusungu aleeta ennyombo,
n’omuntu asunguwala amangu ayonoona nnyo.
23 (BC)Amalala g’omuntu galimuleetera okugwa,
naye omuntu ow’omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.
24 (BD)Buli assa ekimu n’omubbi akyawa obulamu bwe ye,
era ne bw’alayizibwa tasaanira kubaako ky’ayogera.
25 (BE)Okutya omuntu kuleeta ekyambika,
naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.
26 (BF)Bangi abanoonya okuganja mu maaso g’omufuzi,
naye obwenkanya obwa nnama ddala buva eri Mukama.
27 (BG)Atali mutuukirivu wa muzizo eri abatuukirivu;
era omwesimbu wa muzizo eri abakozi b’ebibi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.