Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Engero 7-9

Emitawaana Egiva mu Kukwana Omukazi Omwenzi

(A)Mutabani nyweeza ebigambo byange,
    era okuumenga ebiragiro byange.
(B)Kwata ebiragiro byange obeere mulamu,
    n’amateeka gange ogakuume ng’emmunye y’eriiso lyo;
(C)togalekanga kuva mu ngalo zo,
    gawandiike ku mutima gwo.
Amagezi gatwalire ddala nga mwannyoko,
    n’okutegeera, ng’owooluganda ow’omu kika kyo.
(D)Binaakuwonyanga omukazi omwenzi,
    omukazi omutambuze awaanawaana n’ebigambo ebisendasenda.

Lumu nnali nnyimiridde
    ku ddirisa ly’ennyumba yange.
(E)Ne ndaba mu bavubuka abatoototo,
    omulenzi atalina magezi,
ng’ayita mu luguudo okumpi n’akafo k’omukazi omwenzi,
    n’akwata ekkubo eridda ku nnyumba y’omukazi oyo,
(F)olw’eggulo ng’obudde buzibye,
    ekizikiza nga kikutte.

10 Awo omukazi n’ajja okumusisinkana
    ng’ayambadde nga malaaya, ng’ajjudde ebirowoozo eby’obukaba mu mutima gwe.
11 (G)Omukazi omukalukalu,
    atambulatambula ennyo atabeerako waka,
12 (H)wuuyo mu luguudo, wuuyo mu bifo ebikuŋŋaanirwamu,
    mu buli kafo konna ng’ateega!
13 (I)N’amuvumbagira, n’amunywegera
    era ng’amutunuulidde nkaliriza n’amaaso agatatya n’amugamba nti:

14 (J)“Nnina ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe,
    leero ntukiriza obweyamo bwange.
15 Noolwekyo nzize okukusisinkana,
    mbadde njagala nnyo okukulaba, era kaakano nkusanze.
16 Obuliri bwange mbwaze bulungi
    n’engoye eza linena ava mu Misiri.
17 (K)Mbukubye n’akaloosa,
    n’omugavu, n’obubaane, ne kinamoni, ne kalifuuwa.
18 (L)Jjangu tuwoomerwe omukwano okutuusa obudde okukya;
    leka twesanyuse ffembi mu mukwano.
19 Kubanga baze taliiyo eka;
    yatambula olugendo luwanvu:
20 Yagenda n’ensawo y’ensimbi;
    era alikomawo nga wayiseewo wiiki bbiri.”

21 (M)Yamusendasenda n’ebigambo ebisikiriza;
    n’amuwabya n’ebigambo ebiwoomerera.
22 (N)Amangwago omuvubuka n’amugoberera
    ng’ente etwalibwa okuttibwa
obanga empeewo egwa mu mutego,
23     (O)okutuusa akasaale lwe kafumita ekibumba kyayo,
ng’akanyonyi bwe kanguwa okugwa mu mutego,
    so tamanyi ng’alifiirwa obulamu bwe.

24 (P)Kaakano nno batabani bange mumpulirize,
    era musseeyo nnyo omwoyo eri ebigambo byange.
25 (Q)Temukkiriza mitima gyammwe kugoberera bigambo bye;
    temukkiriza bigere byammwe kukyamira mu makubo ge.
26 Kubanga bangi bazikiridde,
    ddala ab’amaanyi bangi bagudde.
27 (R)Ennyumba ye, lye kkubo eridda emagombe,
    nga likka mu bisenge eby’okufa.

Amagezi Gakoowoola

(S)Amagezi tegakoowoolera waggulu,
    n’okutegeera ne kuyimusa eddoboozi lyakwo?
Ku ntikko y’ebifo ebigulumivu okumpi n’ekkubo,
    mu masaŋŋanzira, amagezi we gayimirira butengerera,
(T)ku mabbali g’enzigi eziyingira mu kibuga,
    ku miryango, gakoowoolera waggulu nga gagamba nti,
Mmwe abantu, mmwe b’empita;
    nnyimusa eddoboozi lyange eri buli omu ali ku nsi.
(U)Mmwe abatategeera mufune okutegeera;
    nammwe abasirusiru mufune amagezi.
Muwulirize kubanga nnina ebintu ebikulu eby’okubagamba,
    era mu kamwa kange muvaamu ebituufu.
(V)Akamwa kange koogera bituufu byereere;
    kubanga emimwa gyange gikyawa ebitali bya butuukirivu.
Ebigambo by’emimwa gyange byonna bya bwenkanya
    tewali na kimu kikyamu oba kya bukuusa.
Ebigambo byange byonna bitegeerekeka eri oyo ategeera,
    era tebirina kabi eri oyo alina amagezi.
10 (W)Mu kifo kya ffeeza, londawo okuyigiriza kwange,
    era n’okumanya mu kifo kya zaabu ennongoose obulungi,
11 (X)kubanga amagezi gasinga amayinja ag’omuwendo omungi,
    era n’ebyo byonna bye weegomba tebiyinza kugeraageranyizibwa nago.

12 (Y)Nze Magezi, mbeera wamu n’okuteesa okulungi,
    era mu nze mulimu okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi.
13 (Z)Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi;
    nkyawa amalala n’okwemanya,
    n’obuteeyisa bulungi n’enjogera ey’obubambaavu.
14 (AA)Okuteesa okulungi n’okusalawo okw’amagezi bye byange;
    ntegeera era ndi wa buyinza.
15 (AB)Ku bwange, Magezi, bakabaka bafuga,
    abafuzi ne bakola amateeka ag’obwenkanya.
16 Abalangira bafuga ku bwange,
    n’abakungu bonna abafuga ku nsi.
17 (AC)Njagala abo abanjagala,
    n’abo abanyiikira okunnoonya bandaba.
18 (AD)Obugagga n’ekitiibwa biri mu nze,
    obugagga obutakoma n’okukulaakulana.
19 (AE)Ekibala kyange kisinga zaabu ennongoose,
    n’ebinvaamu bisinga ffeeza ey’omuwendo omungi.
20 Ntambulira mu kkubo ery’obutuukirivu,
    mu kkubo ery’obwenkanya,
21 (AF)n’abo abanjagala mbagaggawaza
    era nzijuza amawanika gaabwe.

22 Mukama nze gwe yasooka okwoleka
    nga tannabaako kirala ky’akola.
23 Nateekebwawo dda nnyo,
    ku lubereberye ng’ensi tennabaawo.
24 (AG)Nateekebwawo ng’obuziba bw’ennyanja tebunnateekebwawo,
    nga n’emigga egireeta amazzi teginnabaawo,
25 (AH)ng’ensozi tezinnateekebwa mu bifo byazo,
    nga n’obusozi tebunnabaawo;
26 (AI)nga tannakola nsi newaakubadde amalundiro gaakwo,
    wadde enfuufu eyasooka ey’oku nsi.
27 (AJ)Naliwo ng’ateekawo eggulu mu kifo kyalyo,
    ne bwe yakola enkulungo kungulu ku buziba,
28 ate ne bwe yawanika ebire n’abinywereza waggulu mu bbanga,
    n’anywereza ddala ensulo z’amazzi,
29 (AK)bwe yawa ennyanja ensalo zaazo we zikoma,
    amazzi galeme kusukka we yagalagira,
    ne bwe yali ng’alamba emisingi gy’ensi.
30 (AL)Nnali naye ng’omukozi omukugu,
    nga nzijudde essanyu lye erya buli lunaku,
    nga nsanyukira mu maaso ge bulijjo,
31 (AM)nga nsanyukira mu nsi ye yonna,
    era nga ne nesiima olw’abaana b’abantu.

32 (AN)Kale nno, batabani bange mumpulirize;
    balina omukisa abo abakwata amakubo gange!
33 Muwulirizenga okuyigirizibwa, mubenga n’amagezi,
    so temugalekanga.
34 (AO)Alina omukisa omuntu ampuliriza,
    alindirira nga bw’akuuma ku nzigi zange
    buli lunaku.
35 (AP)Kubanga buli andaba afuna obulamu,
    era afuna okuganja eri Mukama.
36 (AQ)Oyo atannoonya yeerumya yekka,
    era n’abo bonna abankyawa banoonya kufa.

Empagi z’Amagezi Omusanvu

(AR)Amagezi gazimbye ennyumba yaago,
    gagizimbidde ku mpagi musanvu.
(AS)Gategese ennyama yaago ne wayini[a] waago;
    gategese ekijjulo.
(AT)Gatumye abawala abaweereza bakoowoolere
    mu bifo ebigulumivu nti,
(AU)“Buli atalina kutegeera akyameko wano!”
    Eri abo abatalina magezi gabagamba nti,
(AV)“Mujje mulye ku mmere yange
    era munywe ne ku nvinnyo gwe ntabudde.
(AW)Mulekeraawo obutaba na kutegeera mubeere balamu,
    era mutambulire mu kkubo ly’okumanya.”

(AX)Oyo anenya omunyoomi ayolekera kuvumwa,
    n’oyo abuulirira omukozi w’ebibi yeeretera kuvumibwa.
(AY)Tonenyanga munyoomi, aleme okukukyawa, naye
    nenya ow’amagezi naye anaakwagalanga.
(AZ)Yigirizanga ow’amagezi naye aneeyongeranga okuba n’amagezi,
    yigirizanga omutuukirivu, aneeyongerangako okuyiga.

10 (BA)“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
    era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.
11 (BB)Ku lwange oliwangaala emyaka mingi nnyo,
    era olyongerwako emyaka.
12 Bw’obeera omugezi, amagezi go gakuyamba,
    naye bw’onyooma amagezi weerumya wekka.”

13 (BC)Omukazi omusirusiru aleekaana,
    taba na mpisa era taba na magezi!
14 (BD)Era atuula mu mulyango gw’ennyumba ye,
    ne ku ntebe mu bifo eby’ekibuga ebisinga obugulumivu,
15 ng’akoowoola abo abayitawo,
    ababa batambula amakubo gaabwe abali ku byabwe.
16 Abagamba nti, “Buli alina okumanya okutono ajje muno.”
    Era eri oyo atalina kutegeera agamba nti,
17 (BE)“Amazzi amabbe nga gawooma!
    emmere eriibwa mu kyama ng’ewooma!”
18 (BF)Naye oyo agwa mu kitimba kye tamanya nti nnyumba yakuzikirira,
    era nti abagenyi be bali mu buziba obw’emagombe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.