Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Engero 13-15

Ensibuko y’Obugagga Obungi

13 (A)Omwana omugezi assaayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawe,
    naye omunyoomi tafaayo ku kunenyezebwa.

(B)Omuntu asanyuka olw’ebirungi ebiva mu bibala bya kamwa ke,
    naye atali mwesigwa yeegomba kuleeta ntalo.

(C)Oyo eyeegendereza by’ayogera akuuma obulamu bwe,
    naye oyo amala googera, alizikirira.

Omuntu omugayaavu yeegomba kyokka n’atabaako ky’afuna,
    naye omunyiikivu byayagala byonna abifuna.

Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba,
    naye omukozi w’ebibi yeereetera kunyoomebwa.

(D)Obutuukirivu bukuuma omuntu omwesimbu,
    naye okukola ebibi kuzikiriza omwonoonyi.

(E)Omuntu omu ayinza okwefuula omugagga ate nga taliiko ky’alina,
    ate omulala ne yeefuula okuba omwavu so nga mugagga nnyo.

Obugagga bw’omuntu buyinza okumununula,
    naye omwavu talina ky’atya.

(F)Ekitangaala ky’abatuukirivu kyaka nnyo,
    naye ettaala y’abakozi b’ebibi ezikira.

10 Amalala gazaala buzaazi nnyombo,
    naye amagezi gasangibwa mu abo abakkiriza okulabulwa.

11 (G)Ensimbi enkumpanye ziggwaawo,
    naye ezijja empolampola zeeyongera obungi.

12 Essuubi erirwawo okutuukirira lirwaza omutima,
    naye ekyegombebwa bwe kituukirira kiba muti gwa bulamu.

13 (H)Omuntu anyooma ebiragiro aligwa mu mitawaana,
    naye oyo awuliriza ebimulagirwa aliweebwa empeera.

14 (I)Okuyigiriza kw’omuntu alina amagezi nsulo ya bulamu,
    era kuggya omuntu mu mitego gy’okufa.

15 Okutegeera okulungi kuleeta okuganja,
    naye ekkubo ly’abateesigibwa liba zzibu.

16 (J)Omuntu omwegendereza akola amaze kulowooza,
    naye omusirusiru alaga obutamanya bwe.

17 (K)Omubaka omubi yeesuula mu mitawaana,
    naye omubaka omwesigwa aleeta kuwonyezebwa.

18 (L)Anyooma okukangavvulwa yeereetako obwavu n’obuswavu,
    naye oyo assaayo omwoyo ku kunenyezebwa aweebwa ekitiibwa.

19 Ekyegombebwa bwe kituukirira kisanyusa omutima,
    naye okulekayo okukola ebibi kya muzizo eri abasirusiru.

20 (M)Oyo atambula n’abantu abagezi ageziwala,
    naye oyo atambula n’abasirusiru alaba ennaku.

21 (N)Emitawaana gigoberera aboonoonyi,
    naye okukulaakulana y’empeera y’abatuukirivu.

22 (O)Omuntu omulungi alekera bazzukulu be ebyobusika,
    naye obugagga bw’omwonoonyi buterekerwa omutuukirivu.

23 Ennimiro z’abaavu ziyinza okuvaamu emmere nnyingi,
    naye obutali bwenkanya ne bugyera yonna.

24 (P)Atakozesa kaggo akyawa omwana we,
    naye oyo amwagala afaayo okumukangavvula.

25 (Q)Omutuukirivu alya emmere ye n’akkuta,
    naye abakozi b’ebibi basigala nga bayala.

14 (R)Omukazi ow’amagezi yeezimbira ennyumba ye,
    naye omusirusiru eyiye agyemenyera n’emikono gye.

Omuntu atambulira mu bugolokofu atya Mukama,
    naye ow’amakubo amakyamu anyooma Mukama.

(S)Ebigambo by’omusirusiru bye bimuviirako okukubwa,
    naye eby’abatuukirivu binaabakuumanga.

Awataba nte nnume ezirima ebyagi biba bikalu,
    naye emmere ennyingi eva mu maanyi gaazo.

(T)Omujulizi ow’amazima talimba,
    naye ow’obulimba ayogera bya bulimba.

Omukudaazi anoonya amagezi n’atagalaba,
    naye okumanya kwanguyira omuntu ategeera.

Teweeretereza muntu musirusiru,
    kubanga tewali by’amagezi biva mu kamwa ke.

(U)Omutegeevu mugezi kubanga afaayo okutegeera by’akola,
    naye atalina magezi musirusiru kubanga yeerimba nti amanyi.

Abasirusiru banyooma okugololwa nga bakoze ensobi,
    naye abalongoofu baagala emirembe.

10 Buli mutima gumanya okulumwa kwagwo,
    tewali ayinza kugusanyukirako.

11 (V)Ennyumba y’abakozi b’ebibi erizikirizibwa,
    naye eweema y’abatuukirivu erikulaakulana.

12 (W)Waliwo ekkubo erirabika nga ttuufu eri omuntu,
    naye ng’enkomerero yaalyo kufa.

13 (X)Enseko zandibaawo naye ng’omutima gujjudde ennaku,
    era n’enkomerero y’essanyu eyinza okufuuka obuyinike.

14 (Y)Omuntu atalina kukkiriza alisasulwa empeera emusaanira olw’ebikolwa bye,
    n’omuntu omulungi naye alisasulwa eyiye.

15 Ow’amagezi amatono amala gakkiriza buli kigambo ky’awulira,
    naye omuntu omutegeevu yeegendereza amakubo ge.

16 (Z)Omuntu ow’amagezi atya Mukama n’aleka okukola ebibi,
    naye omusirusiru yeepankapanka era teyeegendereza.

17 (AA)Omuntu asunguwala amangu akola eby’obusirusiru,
    n’omukalabakalaba akyayibwa.

18 Abatalina magezi basikira butaliimu,
    naye abategeevu batikkirwa engule ey’okumanya.

19 (AB)Abakozi b’ebibi balivuunamira abatuukirivu,
    n’aboonoonyi ne bavuunama mu miryango gy’abatuukirivu.

Omugagga n’Omwavu

20 (AC)Omwavu alagajjalirwa abantu nga ne muliraanwa we omutwaliddemu,
    naye abagagga baba n’emikwano mingi.

21 (AD)Anyooma muliraanwa we akola kibi,
    naye alina omukisa oyo asaasira abaavu.

22 Abateekateeka okukola ebibi, tebawaba?
    Naye okwagala n’amazima binaabeeranga n’abo abateesa okukola obulungi.

23 Buli mulimu ogukolebwa n’amaanyi gubaako amagoba,
    naye okwogera obwogezi kireeta bwavu bwokka.

24 Abagezi bafuna engule ey’obugagga,
    naye obusirusiru bw’abatalina magezi buzaala busirusiru.

25 (AE)Omujulizi ow’amazima awonya obulamu bw’abantu,
    naye omujulizi ow’obulimba aba mulimba.

26 (AF)Atya Mukama alina ekiddukiro eky’amaanyi,
    era n’abaana be balibeera n’obuddukiro.

27 (AG)Okutya Mukama ye nsulo y’obulamu,
    kuleetera omuntu okwewala emitego gy’okufa.

28 Ekitiibwa kya kabaka kiri mu kuba n’abantu bangi,
    naye omukulembeze ataba n’abantu abeera mu kabi.

29 (AH)Omuntu omugumiikiriza aba n’okutegeera kungi,
    naye oyo asunguwala amangu ayolesa obusirusiru.

30 (AI)Omutima ogulina emirembe guwangaaza omuntu,
    naye obuggya buvunza amagumba ge.

31 (AJ)Omuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda,
    naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda.

32 (AK)Akacwano bwe kajja, omukozi w’ebibi agwa,
    naye omutuukirivu ne mu kufa aba n’obuddukiro.

33 (AL)Amagezi gabeera mu mutima gw’omuntu alina okutegeera,
    era yeeyoleka ne mu basirusiru.

34 (AM)Obutuukirivu buzimba eggwanga,
    naye ekibi kiswaza abantu ab’engeri zonna.

35 (AN)Kabaka asanyukira omuddu akola eby’amagezi,
    naye obusungu bwa kabaka bunaabuubuukiranga ku oyo akola ebiswaza.

15 (AO)Okuddamu n’eggonjebwa kumalawo ekiruyi,
    naye ekigambo eky’obukambwe kisaanuula obusungu.

(AP)Olulimi lw’omugezi lwogera by’amagezi,
    naye akamwa k’abasirusiru kafukumula busirusiru bwereere.

(AQ)Amaaso ga Mukama galaba buli wantu,
    alaba abatuukirivu n’abakozi b’ebibi.

Olulimi oluzimba muti gwa bulamu,
    naye olulimi olulimba lubetenta omutima.

(AR)Omusirusiru anyooma okubuulirirwa kwa kitaawe,
    naye omutegeevu assaayo omwoyo eri okunenyezebwa.

(AS)Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu obugagga bungi,
    naye omukozi w’ebibi by’afuna, bimuleetera emitawaana.

Akamwa k’amagezi kabunyisa okumanya,
    naye omutima gw’abasirusiru si bwe gukola.

(AT)Ssaddaaka y’aboonoonyi ya muzizo eri Mukama,
    naye okusaba kw’abalongoofu lye ssanyu lye.

(AU)Ekkubo ly’omwonoonyi lya muzizo eri Mukama,
    naye Mukama ayagala oyo anoonya obutuukirivu.

10 (AV)Oyo aleka ekkubo ettuufu alikangavvulwa n’amaanyi,
    n’oyo akyawa okunenyezebwa alifa.

11 (AW)Okufa n’okuzikirira biri mu maaso ga Mukama,
    n’okulaba alaba nnyo emitima gy’abaana b’abantu!

12 (AX)Omunyoomi tayagala kunenyezebwa,
    era teeyeebuuza ku b’amagezi.

13 (AY)Omutima omusanyufu guleeta essanyu ku maaso,
    naye omutima omunyiikaavu gunafuya emmeeme.

14 (AZ)Omutima omutegeevu gunoonya okumanya,
    naye akamwa k’abasirusiru kalya busirusiru.

15 (BA)Omuntu bw’aba omunyiikaavu, buli kimu kimwononekera,
    naye omutima omusanyufu gujaguza buli kaseera.

16 (BB)Okuba n’akatono ng’otya Mukama,
    kusinga okuba n’ebingi naye ng’oli mu mitawaana.

17 (BC)Okulya emmere ng’eriko enva endiirwa awali okwagalana,
    kisinga okuliirako ebyassava awali obukyayi.

18 (BD)Omuntu asunguwala amangu asaanuula oluyombo,
    naye omugumiikiriza akakkanya embeera.

19 (BE)Ekkubo ly’omugayaavu lijjula amaggwa,
    naye ekkubo ly’omutuukirivu golokofu.

20 (BF)Omwana omugezi asanyusa kitaawe,
    naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.

21 (BG)Obusirusiru ssanyu eri oyo atalina magezi,
    naye omuntu ategeera atambulira mu kkubo eggolokofu.

22 (BH)Awatali kuluŋŋamizibwa entegeka zifa,
    naye awali abawi b’amagezi abangi ziyitamu.

23 (BI)Okuddamu obulungi kisanyusa,
    era kirungi ekigambo ekirungi okujjira mu kiseera ekituufu.

24 Ekkubo ery’obulamu liyimusa omugezi,
    ne limuziyiza okukka emagombe.

25 (BJ)Mukama azikiriza ennyumba y’ab’amalala,
    kyokka akuuma ensalo za nnamwandu.

26 (BK)Enkwe za muzizo eri Mukama,
    naye ebigambo ebisaanidde, bimusanyusa.

27 (BL)Oyo anoonya okugaggawalira mu bukyamu aleetera ennyumba ye emitawaana,
    naye oyo akyawa enguzi aliba mulamu.

28 (BM)Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza bye gunaayanukula,
    naye akamwa k’omwonoonyi kafubutula ebitasaana.

29 (BN)Mukama ali wala n’aboonoonyi,
    naye awulira okusaba kw’abatuukirivu.

30 Amaaso agajjudde essanyu gasanyusa omutima,
    n’amawulire amalungi galeetera amagumba obulamu.

31 (BO)Oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa okuleeta obulamu,
    alituula wamu n’abagezi.

32 (BP)Agayaalirira okubuulirirwa yeerumya yekka,
    naye oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa afuna okutegeera.

33 (BQ)Okutya Mukama kuyigiriza omuntu amagezi,
    n’obwetoowaze kye kitiibwa ky’omuntu oyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.