Chronological
Omugaso gw’Erinnya Eddungi
22 (A)Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga eby’obugagga ebingi,
n’okuganja kusinga ffeeza oba zaabu.
2 (B)Abagagga n’abaavu balina kimu ekibagatta,
Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.
3 (C)Omuntu omutegeevu bw’alaba akabi yeekweka,
naye abatalina magezi bagenda bugenzi mu maaso ne balumizibwa.
4 Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu
y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.
5 (D)Amaggwa n’emitego biri mu kkubo ly’omubambaavu;
naye oyo akuuma emmeeme ye anaabyewalanga.
6 (E)Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,
ne bw’alikula talirivaamu.
7 Omugagga afuga abaavu,
naye eyeewola aba muddu w’oyo amuwola.
8 (F)Asiga obutali butuukirivu akungula mitawaana,
n’oluga olw’obusungu bwe lulizikirizibwa.
9 (G)Omuntu omugabi anaabanga n’omukisa,
kubanga emmere ye agirya n’abaavu.
10 (H)Goba omunyoomi, entalo zinaagenda,
ennyombo n’okuvumagana binaakoma.
11 (I)Omuntu eyeegomba omutima omulongoofu
era ayogera n’eggonjebwa, talirema kuganja ewa kabaka.
12 Amaaso ga Mukama galabirira amazima,
era adibya entegeka z’abatali beesigwa.
13 (J)Omugayaavu ayogera nti, “Ebweru eriyo empologoma,”
oba nti, “Nnyinza okutemulirwa mu kkubo.”
14 (K)Malaaya mutego gwa kabi,
akolimiddwa Mukama mw’afiira.
15 (L)Obusirusiru busibiddwa ku mutima gw’omwana omuto,
naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.
16 Omuntu atulugunya abaavu ne yeeyongera okugaggawala,
n’oyo agabira omugagga awa abagagga enguzi, enkomerero ya bombi bwavu.
17 (M)Ossangayo omwoyo okuwuliriza ebigambo by’omugezi,
n’omutima gwo eri ebyo bye njigiriza.
18 Kibeera kya ssanyu bw’obikwata ku mutima gwo,
n’oba mwetegefu okubiddamu byonna.
19 Mbikumanyisa leero ggwe,
obwesige bwo bubeerenga mu Mukama.
20 Kale sikuwandiikidde ebintu amakumi asatu ebikuwabula
era ebikuwa okumanya?
21 (N)Sikulaze ekirungi n’ekituufu,
olyoke obe n’eky’okuddamu eri oyo eyakutuma?
22 (O)Tonyaganga mwavu, kubanga mwavu,
oba okutulugunyanga aleeteddwa mu mbuga.
23 (P)Kubanga Mukama alibawolereza,
n’abo ababanyaga alibanyaga.
24 Tokwananga muntu wa busungu,
oba okuyitanga n’omuntu anyiiganyiiga amangu,
25 (Q)oleme okuyiga amakubo ge
ne weesuula mu mitawaana.
26 (R)Teweegattanga ku abo abeeyama,
newaakubadde ku abo abeeyimirira ab’amabanja.
27 (S)Bw’oliba nga tolina kya kusasula
ekitanda kyo kyennyini kye kirikuggyibwako.
28 (T)Tojjululanga nsalo
bajjajjaabo gye bassaawo edda.
29 (U)Omanyi omuntu omunyiikivu era omukugu mu mulimu gwe?
Aliweereza bakabaka; taliweereza bantu batamanyiddwa.
23 Bw’otuulanga okulya n’omufuzi,
weetegerezanga ebiri mu maaso go;
2 era weegendereze
bw’obanga omanyi ng’olulunkanira ebyokulya.
3 (V)Tolulunkanira mmere ye ennungi,
kubanga erimbalimba.
4 Teweemalangako mirembe ng’oyaayaanira obugagga;
weefuge obeere mukkakkamu.
5 (W)Eby’obugagga obikubako eriiso limu nga by’agenze dda,
kubanga ddala bimera ebiwaawaatiro
ne bibuuka mu bbanga ng’empungu.
6 (X)Tolyanga mmere ya muntu mukodo,
wadde okwegomba ebirungi by’alya.
7 Kubanga ye muntu
abalirira ensimbi z’asaasaanyizza,
n’akugamba nti, “Weeriire, weenywere,”
naye ng’omutima gwe tegukusanyukira.
8 Akatono k’onooba olidde onookasesema,
ebigambo byo ebirungi eby’okwebaza bibe bya bwereere.
9 (Y)Totegana kubuulirira musirusiru,
kubanga ajja kunyooma ebigambo byo eby’amagezi.
10 (Z)Tojjululanga nsalo ey’edda,
so toyingiriranga nnimiro za bamulekwa,
11 (AA)kubanga abalwanirira w’amaanyi,
alikuggulako omusango.
12 Ossangayo omwoyo eri okuyigirizibwa,
n’amatu go eri ebigambo by’okutegeera.
13 Tolekangayo kukangavvula mwana,
bw’omubonereza n’akaggo tekimutta.
14 Mubonerezenga n’akaggo,
kiwonye emmeeme ye okufa.
15 Mwana wange, bw’oba n’omutima ogw’amagezi,
kinsanyusa.
16 (AB)Nnaajjaguzanga okuva ku ntobo y’omutima gwange,
bw’onooyogeranga ebituufu.
17 (AC)Omutima gwo gulemenga okukwatirwa aboonoonyi obuggya,
kyokka nyiikira okutya Mukama ebbanga lyonna.
18 (AD)Mazima ddala onoobanga n’essuubi mu biseera eby’omu maaso,
n’essuubi lyo eryo teririggwaawo.
19 Mwana wange wulirizanga, obeerenga n’amagezi,
okumenga omutima gwo mu kkubo ettuufu.
20 (AE)Teweegattanga ku abo abeekamirira omwenge,
n’abalulunkanira ennyama:
21 (AF)Kubanga omutamiivu n’omuluvu baavuwala,
n’okubongoota olutata kubambaza enziina.
22 (AG)Wulirizanga kitaawo eyakuzaala,
so togayanga nnyoko ng’akaddiye.
23 (AH)Gula amazima so togatunda,
ffuna amagezi, n’okuyigirizibwa n’okutegeera.
24 (AI)Kitaawe w’omutuukirivu alina essanyu lingi,
n’oyo azaala omwana ow’amagezi amwenyumiririzaamu.
25 Leka kitaawo ne nnyoko basanyuke,
omukazi eyakuzaala ajaguzenga.
26 (AJ)Mwana wange mpa omutima gwo,
n’amaaso go geekalirize amakubo gange,
27 (AK)kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu,
n’omukazi omubambaavu luzzi lufunda.
28 (AL)Ateega ng’omutemu,
n’ayongera ku muwendo gw’abasajja abatali beesigwa eri bakazi baabwe.
29 Ani alina obuyinike? Ani alina ennaku?
Ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya?
Ani alina ebiwundu eby’obwereere? Ani amyuse amaaso?
30 (AM)Abo abatava ku mwenge,
nga bagenda baloza ku mwenge omutabule.
31 Totunuulira wayini ng’amyuse,
bw’atemaganira mu ggiraasi
ng’akka empolampola;
32 ku nkomerero aluma ng’omusota,
wa busagwa ng’essalambwa.
33 Amaaso go galiraba ebyewuunyo,
n’omutwe gwo ne gulowooza ebitategeerekeka.
34 Oliba ng’omuntu eyeebase wakati mu nnyanja,
obanga oyo alengejjera waggulu ku mulongooti.
35 Olyogera nti, “Bankubye, naye sirumiddwa.
Bankubye naye sirina kye mpuliddemu.
Nnaazuukuka ddi,
neeyongere okunywa?”
24 (AN)Teweegombanga bakozi ba bibi
era tobeesemberezanga.
2 (AO)Kubanga emitima gyabwe giteesa kukola bya butemu,
era akamwa kaabwe koogera ku kukola bya ffujjo.
3 (AP)Amagezi ge gazimba ennyumba,
n’okutegeera kwe kugiggumiza.
4 (AQ)Olw’amagezi ebisenge by’ayo bijjula ebintu ebirungi,
eby’obugagga ebitalabikalabika eby’omuwendo omungi.
5 Omuntu ow’amagezi aba n’obuyinza,
n’omuntu alina okumanya yeeyongera amaanyi.
6 (AR)Kubanga okulwana olutalo weetaaga okuluŋŋamizibwa,
n’okuluwangula, weetaaga abawi b’amagezi bangi.
7 Amagezi gasukkirira nnyo omusirusiru,
talina ky’asobola kwogera mu lukuŋŋaana olw’oku wankaaki.
8 Oyo asala enkwe ez’okukola ebibi,
aliyitibwa mukujjukujju.
9 Entegeka ez’obusirusiru muvaamu kwonoona,
abantu beetamwa omukudaazi.
10 (AS)Bw’oyongobera mu kiseera eky’ebizibu,
olwo ng’olina amaanyi matono!
11 (AT)Odduukiriranga n’owonya abo abatwalibwa okuttibwa,
n’abo abali ku njegoyego z’okuttibwa, obawonye okuttirwa obwemage.
12 (AU)Bw’ogambanga nti, “Laba kino twali tetukimanyi,”
oyo akebera emitima aba talaba?
Oyo akuuma obulamu bwo takimanyi?
Talisasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli?
13 Mwana wange olyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi,
omubisi oguva mu bisenge byagwo guwoomerera.
14 (AV)Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo,
bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso,
n’essuubi lyo teririkoma.
15 Toteeganga, ng’omunyazi bw’akola ku nnyumba y’omutuukirivu,
tonyaganga maka ge.
16 (AW)Omuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu, addamu n’ayimuka,
naye abakozi b’ebibi basuulibwa mu mitawaana.
17 (AX)Tosanyukanga ng’omulabe wo agudde,
bwe yeesittalanga omutima gwo gulemenga okujaguza.
18 Si kulwa nga Mukama akiraba ne kitamusanyusa,
n’amusunguwalira.
19 (AY)Teweeraliikiriranga olw’abo abakola ebibi,
so abakozi b’ebibi tobakwatirwanga buggya.
20 (AZ)Kubanga omuntu omubi talina ssuubi mu maaso,
ettabaaza y’abakozi b’ebibi erizikizibwa.
21 (BA)Mwana wange otyanga Mukama, ne kabaka,
era teweetabanga na bajeemu.
22 Kubanga obusungu bwabwe bulibuubuukira ku bajeemu
era ani amaanyi akabi akalibatuukako?
Ebigambo Eby’amagezi
23 (BB)Bino nabyo era bigambo by’abalina amagezi.
Okwekubiira ng’osala emisango si kirungi.
24 (BC)Kale oyo agamba azizza omusango nti, “Toliiko ky’ovunaanibwa,”
abantu banaamukolimiranga, n’amawanga ganaamwetamwanga.
25 Naye abo abasalira omusobya omusango ne gumusinga banaabanga n’essanyu,
n’omukisa omulungi gulibatuukako.
26 Eky’okuddamu eky’amazima,
kiri ng’okunywegerwa.
27 Malirizanga omulimu gwo ogw’ebweru,
oteeketeeke ennimiro zo,
n’oluvannyuma olyoke weezimbire ennyumba yo.
28 (BD)Towanga bujulizi bwa bulimba ku muliraanwa wo,
so akamwa ko tekalimbanga.
29 (BE)Toyogeranga nti, “Omuntu oyo ndimukola nga bw’ankoze,
era ndimusasuza nga bw’ampisizza.”
30 (BF)Nayita ku nnimiro ey’omugayaavu,
ne mpita ne ku nnimiro y’emizabbibu ey’oyo atalina kutegeera.
31 Kale laba, ng’ennimiro eyo ebunye amaggwa,
wansi wonna nga wabikkiddwa omuddo,
n’olukomera lwayo olw’amayinja nga lugudde.
32 Ne neekaliriza ne ntegeera
ne nfuna ekyokuyiga mu bye nalaba.
33 (BG)Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
n’okufunya emikono okuwummulako,
34 (BH)obwavu bulikutuukako ng’omutemu,
era n’obwetaavu ng’omutemu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.